4 | GEN 1:4 | Katonda n’alaba obutangaavu nga bulungi; n’ayawula obutangaavu n’ekizikiza. |
14 | GEN 1:14 | Awo Katonda n’agamba nti, “Wabeewo ebyaka mu bbanga ly’eggulu, okwawula emisana n’ekiro; bibeerenga obubonero okwawulanga ebiro, n’ennaku, n’emyaka. |
23 | GEN 1:23 | Ne buba akawungeezi, ate ne buba enkya; olwo lwe lunaku olwokutaano. |
27 | GEN 1:27 | Bw’atyo Katonda n’atonda omuntu mu kifaananyi kye, mu kifaananyi kya Katonda mwe yamutondera; n’abatonda omusajja n’omukazi. |
33 | GEN 2:2 | Ku lunaku olw’omusanvu Katonda yali amaze ebyo byonna bye yali akola; n’awummulira ku lunaku olwo ng’ava ku mirimu gye gyonna gye yakola. |
34 | GEN 2:3 | Bw’atyo Katonda olunaku olw’omusanvu n’aluwa omukisa n’alutukuza; kubanga ku olwo Katonda kwe yawummulira emirimu gye yakola mu kutonda. |
42 | GEN 2:11 | Erinnya ly’ogusooka Pisoni, gwe gwo ogukulukuta okwetooloola ensi ya Kavira, awali zaabu; |
43 | GEN 2:12 | ne zaabu y’ensi eyo nnungi; mulimu bideriamu n’amayinja onuku. |
52 | GEN 2:21 | Mukama Katonda n’aleetera omusajja otulo tungi nnyo ne yeebaka; bwe yali nga yeebase n’amuggyamu olubirizi lumu, n’azzaawo ennyama. |
54 | GEN 2:23 | Omusajja n’agamba nti, “Lino lye ggumba ery’omu magumba gange, ye nnyama ey’omu nnyama yange, anaayitibwanga mukazi; kubanga aggyibbwa mu musajja.” |
62 | GEN 3:6 | Awo omukazi bwe yalaba ng’omuti mulungi nga gusanyusa okutunulako era gwegombebwa okuleeta amagezi, n’anoga ekibala kyagwo n’alya; n’awaako ne bba naye n’alya. |
63 | GEN 3:7 | Awo amaaso gaabwe bombi ne gazibuka, ne bategeera nga baali bwereere; ne baluka amalagala g’emiti ne beekolera ebyokwambala. |
66 | GEN 3:10 | N’addamu nti, “Mpulidde eddoboozi lyo mu nnimiro, ne ntya, kubanga mbadde bwereere; ne nneekweka.” |
71 | GEN 3:15 | Nteeka obulabe wakati wo n’omukazi, ne wakati w’ezzadde lyo n’ezzadde ly’omukazi; ezzadde lye linaakubetentanga omutwe, naawe onoolibojjanga ekisinziiro. |
72 | GEN 3:16 | N’agamba omukazi nti, “Nnaayongeranga nnyo ku bulumi bwo ng’oli lubuto, onoozaaliranga mu bulumi; musajja wo anaakukoleranga bye weetaaga kyokka anaakufuganga.” |
73 | GEN 3:17 | N’agamba Adamu nti, “Kubanga owulidde eddoboozi lya mukazi wo, n’olya ku muti gwe nakulagira obutagulyangako, “ensi ekolimiddwa ku lulwo; mu ntuuyo zo mw’onoofuniranga ekyokulya ennaku zonna ez’obulamu bwo. |
78 | GEN 3:22 | Awo Mukama Katonda n’agamba nti, “Laba omuntu afuuse ng’omu ku ffe okumanyanga ekirungi n’ekibi; kale kaakano talwa kugolola mukono gwe n’anoga ku muti ogw’obulamu n’alya, n’awangaala emirembe gyonna.” |
89 | GEN 4:9 | Awo Mukama n’abuuza Kayini nti, “Muganda wo Aberi ali ludda wa?” N’amuddamu nti, “Ssimanyi; nze mukuumi wa muganda wange?” |
92 | GEN 4:12 | Bw’onoolimanga ettaka teriikuwenga bibala byalyo; onoobanga momboze ku nsi.” |
94 | GEN 4:14 | Laba, ongobye okuva ku nsi ne mu maaso go; era nnaabanga momboze ne buli anandaba ananzita.” |
103 | GEN 4:23 | Lameka n’agamba bakazi be nti, “Ada ne Zira, muwulire eddoboozi lyange; mwe bakazi ba Lameka, muwulirize kye ŋŋamba; nzise omusajja olw’okunfumita, nga muvubuka, olw’okunkuba. |
117 | GEN 5:11 | Bwe gityo emyaka gyonna Enosi gye yamala ne giba lwenda mu etaano; n’alyoka afa. |
133 | GEN 5:27 | Bwe gityo emyaka gyonna Mesuseera gye yamala ne giba lwenda mu nkaaga mu mwenda; n’afa. |
141 | GEN 6:3 | Awo Mukama n’agamba nti, “Omwoyo wange taawakanenga na muntu emirembe gyonna, kubanga muntu buntu; n’ennaku ze ziriba emyaka kikumi mu abiri.” |
142 | GEN 6:4 | Mu nnaku ezo, abaana ba Katonda bwe beegatta n’abawala b’abantu abo, ne babazaalamu abaana; be Banefuli abaali abatutumufu ennyo era abalwanyi abeekitalo mu biseera ebyo era ne mu biro ebyaddirira. |
143 | GEN 6:5 | Mukama n’alaba ng’ekibi ky’omuntu kiyinze nnyo ku nsi; nga buli ndowooza y’omutima gw’omuntu mbi njereere ebbanga lyonna. |
151 | GEN 6:13 | Katonda kwe kugamba Nuuwa nti, “Mmaliridde okuzikiriza buli muntu, kubanga ensi ejjudde eddalu; laba, nzija kubazikiriza mbamalewo ku nsi. |
155 | GEN 6:17 | Ndireeta amataba ku nsi, okuzikiriza buli kiramu, ekissa omukka, ekiri wansi w’eggulu; buli ekiri ku nsi kya kufa. |
157 | GEN 6:19 | Oliyingira mu lyato na buli kiramu ekirina omubiri; oliyingiza bibiri bibiri ekisajja n’ekikazi bibeere biramu naawe. |
159 | GEN 6:21 | Era twala buli ngeri ya mmere eriibwa, ogitereke; eriba mmere yo n’ebiramu byo.” |
176 | GEN 7:16 | Byonna ne biyingira mu lyato, ekisajja n’ekikazi; byayingira nga Katonda bwe yalagira Nuuwa, Mukama n’aggalawo eryato. |
185 | GEN 8:1 | Katonda n’ajjukira Nuuwa n’ensolo zonna ez’awaka n’ez’omu nsiko ezaali naye mu lyato, n’asindika empewo ku nsi, amazzi ne gakendeera; |
187 | GEN 8:3 | n’amazzi ne geeyongera okukendeera ku nsi. Ku nkomerero y’ennaku kikumi mu ataano amazzi gaali gakalidde; |
192 | GEN 8:8 | Oluvannyuma n’atuma ejjuba ne liva w’ali okulaba ng’amazzi gakalidde ku nsi; |
194 | GEN 8:10 | N’alinda ennaku endala musanvu n’atuma ate ejjuba okuva mu lyato; |
221 | GEN 9:15 | ne nzijukira endagaano yange nammwe na buli kiramu; era amazzi tegakyaddayo kuzikiriza biramu. |
225 | GEN 9:19 | Bonna abasatu be baali batabani ba Nuuwa; era okuva mu bano ensi yonna yajjula abantu. |
226 | GEN 9:20 | Nuuwa n’atandika okulima n’asimba emizabbibu; |
243 | GEN 10:8 | Kuusi ye yazaala Nimuloodi; ye yasooka okuba omuntu ow’amaanyi ennyo ku nsi. |
247 | GEN 10:12 | Leseni, wakati wa Nineeve ne Kala; Leseni kye kyali ekibuga ekikulu. |
264 | GEN 10:29 | ne Ofiri, ne Kavira ne Yobabu; bano bonna baali batabani ba Yokutaani. |
267 | GEN 10:32 | Abo ze nnyumba za batabani ba Nuuwa ng’okuzaalibwa kwabwe bwe kwali, n’amawanga gaabwe; era okuva mu bano amawanga gonna mwe gaayalira ne gabuna ensi yonna oluvannyuma lw’amataba. |
271 | GEN 11:4 | Awo ne bagamba nti, “Mujje twezimbire ekibuga, tutuuse omunaala gwakyo ku ggulu; twekolere erinnya, tuleme okusaasaanyizibwa okubuna ensi yonna.” |
273 | GEN 11:6 | Mukama n’ayogera nti, “Laba, bali omuntu omu, era boogera olulimi lumu! Era eno ntandikwa butandikwa ey’ebyo bye banaakola; era tewali kye banaateesa kukola ekinaabalemerera. |
294 | GEN 11:27 | Bino bye bifa ku b’olulyo lwa Teera: Teera ye kitaawe wa Ibulaamu, ne Nakoli ne Kalani; Kalani ye yali kitaawe wa Lutti. |
296 | GEN 11:29 | Ibulaamu ne Nakoli ne bawasa; erinnya lya mukazi wa Ibulaamu lyali Salaayi, ate mukazi wa Nakoli nga ye Mirika, muwala wa Kalani, kitaawe wa Mirika ne Isika. |
298 | GEN 11:31 | Teera n’atwala Ibulaamu mutabani we Lutti muzzukulu we mutabani wa Kalani, ne Salaayi muka mutabani we Ibulaamu, ne bagenda bonna okuva mu Uli eky’Abakaludaaya okugenda mu nsi ya Kalani; bwe baatuuka mu Kalani, ne babeera omwo. |
299 | GEN 11:32 | Emyaka gya Teera gyali ebikumi bibiri mu etaano; Teera n’afiira mu Kalani. |
302 | GEN 12:3 | Ndiwa omukisa abo abakusabira omukisa, era buli alikukolimira nange namukolimiranga; era mu ggwe amawanga gonna ag’omu nsi mwe galiweerwa omukisa.” |
329 | GEN 13:10 | Lutti n’ayimusa amaaso ge, n’alaba ekiwonvu kya Yoludaani nga kirungi, nga kirimu amazzi buli wantu nga kifaanana ng’ennimiro ya Mukama; nga kiri ng’ensi ya Misiri ku luuyi olwa Zowaali. Kino kyaliwo nga Mukama tannazikkiriza Sodomu ne Ggomola. |
330 | GEN 13:11 | Bw’atyo Lutti ne yeeronderawo olusenyi lwa Yoludaani n’agenda ku luuyi olw’ebuvanjuba; bwe batyo ne baawukana. |
333 | GEN 13:14 | Mukama n’agamba Ibulaamu ng’amaze okwawukana ne Lutti nti, “Yimusa amaaso go ng’osinziira mu kifo mw’oli, otunule ku bukiikakkono, ne ku bukiikaddyo, n’ebuvanjuba n’ebugwanjuba; |
335 | GEN 13:16 | Ndyaza ezzadde lyo ng’enfuufu ey’oku nsi; omuntu bw’alisobola okubala enfuufu ey’oku nsi, n’ezzadde lyo aliribala. |
347 | GEN 14:10 | Ekiwonvu ky’e Sidimu kyali kijjudde ebinnya ebirimu kolaasi; bakabaka b’e Sodomu ne Ggomola bwe baddukanga ng’abamu babigwamu, n’abalala ne baddukira ku nsozi. |
361 | GEN 14:24 | Sijja kubaako kye ntwala; okuggyako ebyo abavubuka bye balidde, n’omugabo gw’abasajja abaagenda nange; leka Aneri ne Esukoli ne Mamule bo batwale omugabo gwabwe.” |
364 | GEN 15:3 | Ibulaamu ne yeeyongera n’agamba nti, “Laba tompadde mwana; omuddu eyazaalibwa mu nnyumba yange ye musika wange.” |
365 | GEN 15:4 | Laba ekigambo kya Mukama ne kimujjira nti, “Omusajja oyo tagenda kuba musika wo; mutabani wo, y’aliba omusika wo.” |
373 | GEN 15:12 | Enjuba yali egwa, Ibulaamu ne yeebaka otulo tungi; era laba, ekizikiza ekingi eky’amaanyi ne kimubuutikira. |
376 | GEN 15:15 | Naye ggwe oligenda mirembe eri bajjajjaabo; oliziikibwa ng’owangaalidde ddala nnyo. |
377 | GEN 15:16 | Era balikomawo wano mu mulembe ogwokuna; kubanga obutali butuukirivu bw’Omwamoli tebunnayitirira.” |
383 | GEN 16:1 | Salaayi mukyala wa Ibulaamu yali teyamuzaalira mwana; |
384 | GEN 16:2 | Salaayi n’agamba Ibulaamu nti, “Laba Mukama tampadde mwana; weebake n’omuweereza wange, oboolyawo nnyinza okufuna abaana mu ye.” Awo Ibulaamu n’awulira eddoboozi lya Salaayi. |
388 | GEN 16:6 | Naye Ibulaamu n’agamba Salaayi nti, “Laba, omuweereza wo ali mu buyinza bwo; mukole nga bw’oyagala.” Awo Salaayi natandika okubonyaabonya Agali; Agali n’adduka okuva w’ali. |
401 | GEN 17:3 | Awo Ibulaamu n’avuunama; Katonda n’amugamba nti, |
404 | GEN 17:6 | Ndikwaza nnyo nnyini; era ndikufuula amawanga, ne bakabaka baliva mu ggwe. |
406 | GEN 17:8 | Era ndikuwa ggwe n’ezzadde lyo eririddawo ensi mw’obadde omusenze, ensi yonna eya Kanani, okuba eyiyo emirembe gyonna; era ndiba Katonda waabwe.” |
433 | GEN 18:8 | Awo n’addira omuzigo n’amata n’ennyana eyafumbibwa n’abiteeka mu maaso gaabwe; n’ayimirira we baali, wansi w’omuti nga balya. |
441 | GEN 18:16 | Awo abasajja bwe bavaayo ne bagenda, ne boolekera oluuyi lwa Sodomu; Ibulayimu n’abawerekerako. |
447 | GEN 18:22 | Awo abasajja ne bakyuka okuva awo, ne batambula okwolekera Sodomu; naye Ibulayimu n’asigala ng’akyayimiridde mu maaso ga Mukama. |
459 | GEN 19:1 | Bamalayika ababiri ne batuuka mu Sodomu akawungeezi; Lutti yali atudde mu mulyango gwa Sodomu. Lutti bwe yabalaba n’agolokoka okubasisinkana, n’avuunama, |
461 | GEN 19:3 | Naye n’abawaliriza nnyo; awo ne bakyama ne bajja gy’ali ne bayingira mu nnyumba ye, n’abategekera ekijjulo n’emigaati egitali mizimbulukuse ne balya. |
462 | GEN 19:4 | Naye nga tebannaba kugenda kwebaka, abasajja ab’omu kibuga, abasajja ba Sodomu, abakulu n’abato, abantu bonna ne beetooloola ennyumba; |
466 | GEN 19:8 | Laba, nnina bawala bange embeerera babiri, ka mbabafulumize, mubakole kye mwagala; naye temubaako kye mukola basajja bano, bagenyi bange era nze mbalabirira.” |
470 | GEN 19:12 | Awo abasajja bali ababiri ne babuuza Lutti nti, “Olina abantu bo abalala wano, batabani bo, oba bakoddomi bo, oba bawala bo, oba omuntu omulala yenna mu kibuga? Bafulumye mu kifo kino; |
475 | GEN 19:17 | Bwe baabafulumya ne babagamba nti, “Mudduke muwonye obulamu bwammwe, temutunula mabega wadde okuyimirira mu kiwonvu; muddukire ku nsozi, muleme okuzikirizibwa.” |
476 | GEN 19:18 | Awo Lutti n’abagamba nti, “Nedda bakama bange; |
477 | GEN 19:19 | Laba, omuddu wammwe alabye ekisa mu maaso gammwe, era mundaze ekisa kingi nga muwonya obulamu bwange; naye siyinza kuddukira ku nsozi akabi tekalwa kunzingiza ne nfa. |
480 | GEN 19:22 | Yanguwa tolwa, ddukira eyo; kubanga siriiko kye nnaakola nga tonnatuuka eyo.” Erinnya ly’ekibuga kyeryava liba Zowaali. |
482 | GEN 19:24 | Awo Mukama n’atonnyesa ku Sodomu ne Ggomola omuliro n’obuganga okuva mu ggulu; |
485 | GEN 19:27 | Awo ku makya ennyo Ibulayimu n’agenda mu kifo mwe yayimiririra mu maaso ga Mukama; |
492 | GEN 19:34 | Ku lunaku olwaddirira, omuwala omukulu n’agamba omuto nti, “Laba, ekiro neebase ne kitange; Leka tumunywese omwenge ekiro kino, oyingire gy’ali weebake naye, tulyoke tusobole okukuuma ezzadde mu kitaffe.” |
497 | GEN 20:1 | Ibulayimu bwe yava eyo n’atambula okwolekera Negevu, n’abeera wakati wa Kadesi ne Ssuuli; n’agenda mu Gerali. |
502 | GEN 20:6 | Awo Katonda n’ayogera naye mu kirooto nti, “Ddala mmanyi nti okoze kino mu mutima omutuukirivu, era nze nakukuuma oleme okwonoona gye ndi; ne nkuziyiza okumukwatako. |
504 | GEN 20:8 | Awo Abimereki n’agolokoka mu makya ennyo n’ayita abakungu be bonna n’abategeeza ebintu bino byonna; abasajja ne batya nnyo. |
508 | GEN 20:12 | Naze ebyo nga biri awo ddala mwannyinaze, muwala wa kitange, naye si muwala wa mmange; era yafuuka mukazi wange. |
513 | GEN 20:17 | Awo Ibulayimu n’asabira Abimereki eri Katonda, ne Katonda n’awonya Abimereki era n’awonya ne mukazi we; n’abaweereza be abakazi ne balyoka bazaala abaana. |
526 | GEN 21:12 | Katonda n’agamba Ibulayimu nti, “Tonakuwala olw’omulenzi n’olw’omuweereza wo omukazi, buli Saala ky’akugamba kikole; kubanga mu Isaaka mwe ndituukiririza ebyo byonna bye nakusuubiza. |
593 | GEN 24:1 | Ibulayimu yawangaala n’akaddiwa nnyo; era Mukama yamuwa emikisa mingi mu byonna. |
641 | GEN 24:49 | Kale kaakano obanga mu mazima munaakolera mukama wange ebyekisa, mumbuulire, era obanga si bwe kityo mumbuulire; ndyoke mmanye eky’okukola.” |
646 | GEN 24:54 | Awo ye n’abasajja be yali nabo ne balyoka balya era ne banywa; ne basulayo ekiro ekyo. Bwe baagolokoka enkya n’agamba nti, “Ka nzireyo eri mukama wange.” |
665 | GEN 25:6 | Naye bo abaana b’abaweereza be n’abawa birabo, n’abasiibula bwe yali ng’akyali mulamu bagende ebuvanjuba mu nsi ey’ebuvanjuba; baviire mutabani we Isaaka. |
668 | GEN 25:9 | Batabani be Isaaka ne Isimayiri ne bamuziika mu mpuku ey’e Makupeera, mu nnimiro ya Efulooni, mutabani wa Zokali Omukiiti, ebuvanjuba bwa Mamule; |
685 | GEN 25:26 | Oluvannyuma ne muganda we n’azaalibwa, omukono gwe nga gukutte ekisinziiro kya Esawu; kyebaava bamuyita Yakobo. Isaaka yalina emyaka nkaaga Lebbeeka we yazaalira abaana abo. |
688 | GEN 25:29 | Lumu Yakobo yali afumba enva, Esawu n’ajja ng’ava ku ttale; enjala ng’emuluma nnyo. |
697 | GEN 26:4 | Ndyaza abaana b’enda yo ne baba ng’emmunyeenye ez’eggulu, era ndibawa n’ensi zino zonna. Era mu bo amawanga gonna ag’oku nsi mwe galiweerwa omukisa; |
707 | GEN 26:14 | Yalina ebisibo by’endiga bingi nnyo n’amagana g’ente, era n’abaweereza nfaafa; Abafirisuuti ne bamukwatirwa obuggya. |
726 | GEN 26:33 | N’alutuuma Siba; erinnya ly’ekibuga kyeriva liba Beeruseba na buli kati. |
741 | GEN 27:13 | Nnyina n’amuddamu nti, “Ekikolimo kyo kibe ku nze mwana wange; wulira ekigambo kyange ogende ozindeetere.” |
743 | GEN 27:15 | Lebbeeka n’addira ebyambalo ebisinga obulungi ebya Esawu, mutabani we omukulu, ebyali mu nnyumba; n’abyambaza Yakobo mutabani we omuto, |
764 | GEN 27:36 | Esawu n’ayogera nti, “Teyatuumibwa linnya lye Yakobo? Laba, anyingiridde emirundi gino gyombi; yanziggyako eby’obukulu bwange, ate kaakano antutteko n’omukisa gwange.” Kwe kubuuza kitaawe nti, “Tondekeddeewo mukisa n’akatono?” |