Wildebeest analysis examples for:   lug-lug   “    February 25, 2023 at 00:38    Script wb_pprint_html.py   by Ulf Hermjakob

3  GEN 1:3  Awo Katonda n’agamba nti, Wabeerewo obutangaavu,” ne waba obutangaavu.
6  GEN 1:6  Era Katonda n’agamba nti, Wabeewo ebbanga lyawule olufu n’amazzi.”
9  GEN 1:9  Awo Katonda n’ayogera nti, Amazzi agali wansi w’eggulu gakuŋŋaanire mu kifo kimu, wabeewo olukalu.” Ne kiba bwe kityo.
11  GEN 1:11  Awo Katonda n’agamba nti, Ensi ereete ebimera: emiti egizaala ensigo mu ngeri yaagyo, emiti egy’ebibala ebibaamu ensigo mu ngeri yaagyo, gibeere ku nsi.” Ne kiba bwe kityo.
14  GEN 1:14  Awo Katonda n’agamba nti, Wabeewo ebyaka mu bbanga ly’eggulu, okwawula emisana n’ekiro; bibeerenga obubonero okwawulanga ebiro, n’ennaku, n’emyaka.
20  GEN 1:20  Katonda n’ayogera nti, Amazzi galeete ebibinja by’ebiramu, n’ebinyonyi bibuukenga waggulu mu bbanga.”
22  GEN 1:22  Bw’atyo Katonda n’abiwa omukisa n’agamba nti, Muzaale mwale, mujjuze amazzi g’ennyanja, n’ebinyonyi byale ku nsi.”
24  GEN 1:24  Katonda n’ayogera nti, Ensi ereete ebiramu ebya buli ngeri: ente, n’ebyewalula, n’ensolo ez’omu nsiko eza buli ngeri.” Bwe kityo bwe kyali.
26  GEN 1:26  Awo Katonda n’agamba nti, Tukole omuntu mu kifaananyi kyaffe mu ngeri yaffe. Bafugenga ebyennyanja eby’omu nnyanja, n’ebinyonyi eby’omu bbanga, n’ensolo zonna, n’ensi yonna, era bafugenga na buli ekyewalulira ku nsi kyonna.”
28  GEN 1:28  Katonda n’abawa omukisa, n’abagamba nti, Mwale mujjuze ensi, mugifugenga. Mufugenga ebyennyanja ebiri mu nnyanja, n’ebinyonyi eby’omu bbanga na buli kiramu ekitambula ku nsi.”
29  GEN 1:29  Awo Katonda n’agamba nti, Laba mbawadde buli kimera eky’ensigo ekiri ku nsi na buli muti ogw’ensigo mu kibala kyagwo. Munaabiryanga.
47  GEN 2:16  Mukama Katonda n’alagira omuntu nti, Emiti gyonna egy’omu nnimiro olyangako,
49  GEN 2:18  Mukama Katonda n’ayogera nti, Si kirungi omuntu okuba yekka, nnaamukolera omubeezi amusaanira.”
54  GEN 2:23  Omusajja n’agamba nti, Lino lye ggumba ery’omu magumba gange, ye nnyama ey’omu nnyama yange, anaayitibwanga mukazi; kubanga aggyibbwa mu musajja.”
57  GEN 3:1  Kale nno omusota gwali mukalabakalaba okukira ensolo zonna ez’omu nsiko, Mukama Katonda ze yatonda. Ne gugamba omukazi nti, Kazzi Katonda yagamba nti, ‘Temulyanga ku muti gwonna ogw’omu nnimiro!’ ”
58  GEN 3:2  Omukazi n’addamu omusota nti, Tulya ku buli muti ogw’omu nnimiro,
60  GEN 3:4  Naye omusota ne gugamba omukazi nti, Temugenda kufa.
65  GEN 3:9  Naye Mukama Katonda n’ayita omusajja nti, Oli ludda wa?”
66  GEN 3:10  N’addamu nti, Mpulidde eddoboozi lyo mu nnimiro, ne ntya, kubanga mbadde bwereere; ne nneekweka.”
67  GEN 3:11  N’amubuuza nti, Ani akubuulidde nti oli bwereere? Olidde ku muti gwe nakulagira obutagulyangako?”
68  GEN 3:12  Omusajja n’addamu nti, Omukazi gwe wampa okubeeranga nange y’ampadde ekibala ne ndya.”
69  GEN 3:13  Mukama Katonda kwe kubuuza omukazi nti, Kiki kino ky’okoze?” Omukazi n’addamu nti, Omusota gwe gunsenzesenze ne ndya.”
72  GEN 3:16  N’agamba omukazi nti, Nnaayongeranga nnyo ku bulumi bwo ng’oli lubuto, onoozaaliranga mu bulumi; musajja wo anaakukoleranga bye weetaaga kyokka anaakufuganga.”
73  GEN 3:17  N’agamba Adamu nti, Kubanga owulidde eddoboozi lya mukazi wo, n’olya ku muti gwe nakulagira obutagulyangako, ensi ekolimiddwa ku lulwo; mu ntuuyo zo mw’onoofuniranga ekyokulya ennaku zonna ez’obulamu bwo.
78  GEN 3:22  Awo Mukama Katonda n’agamba nti, Laba omuntu afuuse ng’omu ku ffe okumanyanga ekirungi n’ekibi; kale kaakano talwa kugolola mukono gwe n’anoga ku muti ogw’obulamu n’alya, n’awangaala emirembe gyonna.”
81  GEN 4:1  Adamu n’amanya Kaawa, mukazi we, n’aba olubuto n’azaala Kayini n’agamba nti, Mukama annyambye nzadde omuntu.”
86  GEN 4:6  Mukama n’abuuza Kayini nti, Osunguwalidde ki? Era n’endabika y’amaaso go lwaki ewaanyisiddwa?
88  GEN 4:8  Kayini n’agamba Aberi muganda we nti, Tulageko mu nnimiro.” Bwe baali nga bali mu nnimiro Kayini n’agolokokera ku muganda we Aberi, n’amutta.
89  GEN 4:9  Awo Mukama n’abuuza Kayini nti, Muganda wo Aberi ali ludda wa?” N’amuddamu nti, Ssimanyi; nze mukuumi wa muganda wange?”
90  GEN 4:10  Mukama n’amugamba nti, Okoze ki? Eddoboozi ly’omusaayi gwa muganda wo oguyiyiddwa ku ttaka linkaabirira.
93  GEN 4:13  Kayini n’agamba Mukama nti, Ekibonerezo kyange kinzitooweredde sikisobola.
95  GEN 4:15  Awo Mukama n’amugamba nti, Nedda si bwe kiri. Buli alitta Kayini ndimuwalana emirundi musanvu.” Awo Mukama n’ateeka akabonero ku Kayini, buli amulaba aleme okumutta.
103  GEN 4:23  Lameka n’agamba bakazi be nti, Ada ne Zira, muwulire eddoboozi lyange; mwe bakazi ba Lameka, muwulirize kye ŋŋamba; nzise omusajja olw’okunfumita, nga muvubuka, olw’okunkuba.
105  GEN 4:25  Awo Adamu n’amanya mukazi we, n’azaala omwana wabulenzi n’amutuuma Seezi, kubanga yayogera nti, Katonda ampadde omwana omulala mu kifo kya Aberi, Kayini gwe yatta.”
108  GEN 5:2  Yabatonda omusajja n’omukazi, n’abawa omukisa n’abatuuma, abantu.”
135  GEN 5:29  n’amutuuma Nuuwa, ng’agamba nti, Okuva mu ttaka Mukama lye yakolimira, ono yalituweezaweeza mu mulimu gwaffe, ne mu kutegana kw’emikono gyaffe.”
141  GEN 6:3  Awo Mukama n’agamba nti, Omwoyo wange taawakanenga na muntu emirembe gyonna, kubanga muntu buntu; n’ennaku ze ziriba emyaka kikumi mu abiri.”
145  GEN 6:7  Awo Mukama n’agamba nti, Ndiggya ku nsi omuntu gwe natonda, ndisaanyaawo omuntu, n’ensolo n’ebinyonyi, kubanga nejjusizza olw’okubitonda.”
151  GEN 6:13  Katonda kwe kugamba Nuuwa nti, Mmaliridde okuzikiriza buli muntu, kubanga ensi ejjudde eddalu; laba, nzija kubazikiriza mbamalewo ku nsi.
161  GEN 7:1  Awo Mukama n’agamba Nuuwa nti, Yingira mu lyato, ggwe n’abantu bo bonna, kubanga nkulabye ng’oli mutuukirivu mu mulembe guno.
200  GEN 8:16  Vva mu lyato, ggwe, ne mukazi wo, ne batabani bo ne bakazi baabwe.
205  GEN 8:21  Mukama n’awulira akawoowo akalungi akamusanyusa, n’ayogera mu mutima gwe nti, Sikyaddayo kukolimira nsi olw’omuntu, newaakubadde ng’endowooza y’omutima gwe mbi okuva mu buto bwe. Sikyaddayo na kuzikiriza bitonde byonna ebiramu, nga bwe nkoze.
206  GEN 8:22  Ensi ng’ekyaliwo, okusiga n’amakungula, obunnyogovu n’ebbugumu, ebiseera eby’omusana n’eby’obutiti, emisana n’ekiro, tebiggwengawo.”
207  GEN 9:1  Awo Katonda n’awa Nuuwa ne batabani be omukisa n’agamba nti, Muzaale mwale mweyongerenga nnyo mujjuze ensi.
210  GEN 9:4  Naye toolyenga nnyama ng’ekyalimu omusaayi gwayo.
212  GEN 9:6  Buli anaayiwanga omusaayi gw’omuntu, n’ogugwe gunaayiibwanga, kubanga mu kifaananyi kya Katonda, Katonda mwe yakolera omuntu.
215  GEN 9:9  nti, Laba nkola endagaano yange nammwe ne bonna abaliva mu mmwe oluvannyuma lwammwe,
218  GEN 9:12  Katonda n’agamba nti, Kano ke kabonero ke nteeka wakati wange nammwe, na buli kitonde ekiramu ekiri nammwe, era n’ab’emirembe egiriddawo.
220  GEN 9:14  Kale olunaatuukanga, bwe nnaaleetaanga ekire ku nsi, musoke anaalabikiranga ku bire,
223  GEN 9:17  Katonda n’agamba Nuuwa nti, Kano ke kabonero ak’endagaano gye ntaddewo wakati wange ne buli kiramu ekiri ku nsi.”
231  GEN 9:25  N’akolimira ezzadde lya Kaamu n’agamba nti, Kanani akolimirwe, abeere muddu wa baddu eri baganda be.”
232  GEN 9:26  Era n’agamba nti, Mukama Katonda wange, awe Seemu omukisa, Kanani abeere muddu we.”
244  GEN 10:9  Yali muyizzi kkungwa, mu maaso ga Mukama, kyekyava kigambibwa nti, Afaanana Nimuloodi omuyizzi kkungwa mu maaso ga Mukama.”
270  GEN 11:3  Ne bateesa nti, Mujje tukole amatoffaali, tugookye bulungi.” Ne baba n’amatoffaali mu kifo ky’amayinja, ne kolaasi mu kifo ky’ettosi.
271  GEN 11:4  Awo ne bagamba nti, Mujje twezimbire ekibuga, tutuuse omunaala gwakyo ku ggulu; twekolere erinnya, tuleme okusaasaanyizibwa okubuna ensi yonna.”
273  GEN 11:6  Mukama n’ayogera nti, Laba, bali omuntu omu, era boogera olulimi lumu! Era eno ntandikwa butandikwa ey’ebyo bye banaakola; era tewali kye banaateesa kukola ekinaabalemerera.
300  GEN 12:1  Awo Mukama n’agamba Ibulaamu nti, Vva mu nsi yannyo ne mu bantu bo ne mu nnyumba ya kitaawo ogende mu nsi gye ndikulaga.
301  GEN 12:2  Nange ndikufuula eggwanga eddene, era ndikuwa omukisa, n’erinnya lyo ne ndifuula kkulu, olyoke obeere mukisa.
306  GEN 12:7  Awo Mukama n’alabikira Ibulaamu n’agamba nti, Ensi eno ndigiwa abo abaliva mu ggwe.” Awo Ibulaamu n’azimbira eyo Mukama ekyoto eyamulabikira.
310  GEN 12:11  Bwe yali anaatera okuyingira mu Misiri, n’agamba Salaayi mukazi we nti, Mmanyi ng’oli mukazi mulungi era mubalagavu,
317  GEN 12:18  Awo Falaawo n’ayita Ibulaamu n’amugamba nti, Kiki kino ky’onkoze? Lwaki tewantegeeza nti mukazi wo?
327  GEN 13:8  Awo Ibulaamu n’agamba Lutti nti, Tewasaana kubaawo kuyombagana wakati wange naawe, wadde wakati w’abalunzi bo n’abange, kubanga tuli baaluganda.
333  GEN 13:14  Mukama n’agamba Ibulaamu ng’amaze okwawukana ne Lutti nti, Yimusa amaaso go ng’osinziira mu kifo mw’oli, otunule ku bukiikakkono, ne ku bukiikaddyo, n’ebuvanjuba n’ebugwanjuba;
356  GEN 14:19  N’asabira Ibulaamu omukisa ng’agamba nti, Katonda Ali Waggulu Ennyo Omutonzi w’eggulu n’ensi awe Ibulaamu omukisa.
358  GEN 14:21  Ne kabaka wa Sodomu n’agamba Ibulaamu nti, Mpa abantu, gwe otwale ebintu.”
359  GEN 14:22  Naye Ibulaamu n’addamu kabaka wa Sodomu nti, Ndayira Mukama Katonda Ali Waggulu Ennyo, Omutonzi w’eggulu n’ensi,
362  GEN 15:1  Ebyo nga biwedde, ekigambo kya Mukama ne kijjira Ibulaamu mu kwolesebwa nti, Totya Ibulaamu, Nze ngabo yo era empeera yo ennene ennyo.”
363  GEN 15:2  Naye Ibulaamu n’addamu nti, Kiki ky’olimpa Ayi Mukama Katonda, kubanga sirina mwana, n’omusika w’ennyumba yange ye Eryeza ow’omu Ddamasiko?”
364  GEN 15:3  Ibulaamu ne yeeyongera n’agamba nti, Laba tompadde mwana; omuddu eyazaalibwa mu nnyumba yange ye musika wange.”
365  GEN 15:4  Laba ekigambo kya Mukama ne kimujjira nti, Omusajja oyo tagenda kuba musika wo; mutabani wo, y’aliba omusika wo.”
366  GEN 15:5  N’amufulumya ebweru n’amugamba nti, Tunuulira eggulu, obale emunyeenye, obanga osobola okuzibala.” Awo n’amugamba nti, N’ezzadde lyo bwe liriba bwe lityo.”
368  GEN 15:7  N’amugamba nti, Nze Mukama eyakuggya mu Uli ensi ey’Abakaludaaya, nkuwe ensi eno ebeere yiyo.”
369  GEN 15:8  Ibulaamu n’addamu nti, Ayi Mukama nnaamanya ntya nti eriba yange?”
370  GEN 15:9  Mukama n’amuddamu nti, Ndeetera ennyana eyaakamala emyaka esatu, embuzi ey’emyaka esatu, endiga ensajja ey’emyaka esatu, kaamukuukulu n’ejjiba.”
374  GEN 15:13  Awo Mukama n’agamba Ibulaamu nti, Manyira ddala nti ezzadde lyo baliba batambuze mu nsi eteri yaabwe, era baliba baddu eyo, balibonyaabonyezebwa eyo okumala emyaka ebikumi bina.
379  GEN 15:18  Ku lunaku olwo Mukama n’akola endagaano ne Ibulaamu ng’agamba nti, Ezadde lyo ndiwa ensi eno, okuva ku mugga ogw’e Misiri okutuuka ku mugga omunene, omugga Fulaati:
384  GEN 16:2  Salaayi n’agamba Ibulaamu nti, Laba Mukama tampadde mwana; weebake n’omuweereza wange, oboolyawo nnyinza okufuna abaana mu ye.” Awo Ibulaamu n’awulira eddoboozi lya Salaayi.
387  GEN 16:5  Salaayi n’agamba Ibulaamu nti, Ekibi ekinkoleddwako kibeere ku ggwe. Nakuwa omuweereza wange mu kifuba kyo naye bw’alabye ng’ali lubuto n’annyooma. Mukama atulamule nze naawe!”
388  GEN 16:6  Naye Ibulaamu n’agamba Salaayi nti, Laba, omuweereza wo ali mu buyinza bwo; mukole nga bw’oyagala.” Awo Salaayi natandika okubonyaabonya Agali; Agali n’adduka okuva w’ali.
390  GEN 16:8  N’agamba nti, Agali, omuweereza wa Salaayi, ovudde wa era ogenda wa?” N’amuddamu nti, Nziruka mugole wange Salaayi.”
391  GEN 16:9  Malayika wa Mukama n’amugamba nti, Ddayo eri mugole wo omugondere.”
392  GEN 16:10  Era Malayika n’amugamba nti, Ezadde lyo ndiryaza waleme kubeerawo asobola kulibala.”
393  GEN 16:11  Ate malayika wa Mukama n’amugamba nti, Laba, olina omwana mu nda yo, aliba wabulenzi, olimutuuma Isimayiri, kubanga Mukama ategedde okubonaabona kwo.
395  GEN 16:13  Awo n’akoowoola erinnya lya Mukama eyayogera naye, n’agamba nti, Oli Katonda alaba”, kubanga yagamba nti, Ndabidde ddala Katonda ne nsigala nga ndi mulamu nga maze okumulaba.”
399  GEN 17:1  Ibulaamu bwe yaweza emyaka kyenda mu mwenda, Mukama n’amulabikira, n’amugamba nti, Ndi Katonda Ayinzabyonna, tambulira mu maaso gange obe nga toliiko kya kunenyezebwa.
402  GEN 17:4  Laba, ndikola naawe endagaano, era onoobeeranga kitaawe w’amawanga mangi.
407  GEN 17:9  Awo Katonda n’agamba Ibulayimu nti, Ggwe ky’olina okukola kwe kukwata endagaano yange, ggwe n’ezzadde lyo eririddawo emirembe gyabwe gyonna.
413  GEN 17:15  Katonda n’agamba Ibulayimu nti, Era Salaayi mukazi wo, tokyamuyita Salaayi, erinnya lye linaabanga Saala.
415  GEN 17:17  Awo Ibulayimu n’avuunama n’aseka, n’agamba munda ye nti, Omwana alizaalirwa oyo eyaakamala emyaka ekikumi? Saala ow’emyaka ekyenda alizaala omwana?”
416  GEN 17:18  Ibulayimu n’agamba Katonda nti, Isimayiri abeerenga mulamu mu maaso go!”
417  GEN 17:19  Katonda n’amugamba nti, Nedda, naye Saala mukazi wo alikuzaalira omwana owoobulenzi, olimutuuma erinnya Isaaka. Ndinyweza endagaano yange naye okuba endagaano etaliggwaawo ku zadde lye eririddawo.
428  GEN 18:3  n’agamba nti, Mukama wange obanga ndabye ekisa mu maaso go, toyita ku muddu wo.
430  GEN 18:5  nga bwe ndeeta omugaati mulyeko muddemu amaanyi, mulyoke mugende, anti muzze eri muddu wammwe.” Ne bamugamba nti, Kola nga bw’ogambye.”
431  GEN 18:6  Ibulayimu n’ayanguwa okugenda eri Saala, n’amugamba nti, Teekateeka mangu kilo kkumi na mukaaga ez’obutta okande ofumbire mangu abagenyi emmere.”
434  GEN 18:9  Ne bamubuuza nti, Saala mukyala wo ali ludda wa?” N’addamu nti, Ali mu weema.”
435  GEN 18:10  Awo omu ku bo n’amugamba nti, Ddala ndikomawo gy’oli mu kiseera nga kino, era Saala mukazi wo alizaala omwana owoobulenzi.” Ne Saala yali awuliriza ng’ali mu mulyango gwa weema emabega we.
437  GEN 18:12  Awo Saala n’asekera muli ng’agamba nti, Nga nkaddiye, nga ne baze akaddiye, ndisanyusibwa?”
438  GEN 18:13  Mukama n’abuuza Ibulayimu nti, Lwaki Saala asese ng’agamba nti, ‘Ndiyinza okuzaala omwana nga nkaddiye?’
440  GEN 18:15  Naye Saala ne yeegaana ng’agamba nti, Si sese,” kubanga yali atidde. N’amuddamu nti, Nedda osese.”
442  GEN 18:17  Mukama n’agamba mu mutima gwe nti, Ibulayimu namukweka kye ŋŋenda okukola?