3640 | NUM 1:35 | Abaabalibwa okuva mu kika kya Manase baali emitwalo esatu mu enkumi bbiri mu ebikumi bibiri (32,200). |
3644 | NUM 1:39 | Abaabalibwa okuva mu kika kya Ddaani baali emitwalo mukaaga mu enkumi bbiri mu lusanvu (62,700). |
3680 | NUM 2:21 | Ab’omu kibinja kye abaabalibwa baali emitwalo esatu mu enkumi bbiri mu ebikumi bibiri (32,200). |
3685 | NUM 2:26 | Ab’omu kibinja kye abaabalibwa baali emitwalo mukaaga mu enkumi bbiri mu lusanvu (62,700). |
3727 | NUM 3:34 | Abaana aboobulenzi okuva ku w’omwezi ogumu n’okusingawo abaabalibwa baali kakaaga mu ebikumi bibiri (6,200). |
3732 | NUM 3:39 | Omuwendo gwonna ogw’Abaleevi abaabalibwa ng’empya zaabwe bwe zaali, nga mwe muli abaana aboobulenzi okuva ku w’omwezi ogumu n’okusingawo, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa ne Alooni, baali emitwalo ebiri mu enkumi bbiri (22,000). |
3780 | NUM 4:36 | nga bababala ng’empya zaabwe bwe zaali; baawera enkumi bbiri mu lusanvu mu amakumi ataano (2,750). |
3784 | NUM 4:40 | baabalibwa ng’empya zaabwe n’ennyumba z’abakadde baabwe bwe zaali, ne bawera enkumi bbiri mu lukaaga mu amakumi asatu (2,630). |
3788 | NUM 4:44 | abaabalibwa ng’empya zaabwe bwe zaali baali bawera enkumi ssatu mu ebikumi bibiri (3,200). |
4505 | NUM 26:14 | Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Simyoni. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo ebiri mu enkumi bbiri mu ebikumi bibiri (22,200). |
4525 | NUM 26:34 | Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Manase; abaabalibwa baawera abasajja emitwalo etaano mu enkumi bbiri mu lusanvu (52,700). |
4528 | NUM 26:37 | Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Efulayimu; n’abaabalibwa baawera abasajja emitwalo esatu mu enkumi bbiri mu ebikumi bitaano (32,500). Abo bonna baava mu Yusufu ng’ebika byabwe bwe byali n’ennyiriri zaabwe bwe zaali. |
4553 | NUM 26:62 | Abasajja bonna okuva ku mwezi ogumu ogw’obukulu n’okusingawo, abaabalibwa, baali emitwalo ebiri mu enkumi ssatu (23,000). Tebaabalirwa wamu na baana ba Isirayiri nga babalibwa, kubanga Abaleevi bo tebaaweebwa mugabo gwa butaka ng’abaana ba Isirayiri bagabana. |
4699 | NUM 31:33 | Ente, emitwalo musanvu mu enkumi bbiri (72,000). |
4701 | NUM 31:35 | n’abakazi abatamanyangako basajja emitwalo esatu mu enkumi bbiri (32,000). |
4704 | NUM 31:38 | Ente, emitwalo esatu mu kakaaga (36,000), ng’ez’omusolo gwa Mukama Katonda nsanvu mu bbiri (72). |
4706 | NUM 31:40 | Abantu omutwalo gumu mu kakaaga (16,000); ng’ab’omusolo gwa Mukama Katonda baali amakumi asatu mu babiri (32). |
9426 | 1KI 20:15 | Awo Akabu n’ayita abavubuka ab’abaduumizi b’amasaza, ne bawera ebikumi bibiri mu asatu mu babiri (232). Era n’akuŋŋaanya ne Isirayiri yenna, bonna awamu ne baba kasanvu (7,000). |
11543 | 2CH 17:15 | n’eyamuddiriranga yali Yekokanani omuduumizi ow’abasajja emitwalo amakumi abiri mu munaana (280,000); |
11544 | 2CH 17:16 | n’eyamuddiriranga yali Amasiya mutabani wa Zikuli, eyeewaayo obwebange okuweerezanga Mukama, omuduumizi ow’abasajja emitwalo amakumi abiri (200,000). |
11545 | 2CH 17:17 | Okuva mu Benyamini: Eriyada, omuserikale omuzira, eyaduumiranga abasajja ab’obusaale n’engabo emitwalo amakumi abiri (200,000), |
11749 | 2CH 26:12 | Omuwendo gwonna awamu ogw’abakulu b’ennyumba ez’abasajja abalwanyi gwali enkumi bbiri mu lukaaga (2,600). |
12030 | EZR 1:9 | Guno gwe gwali omuwendo gwabyo: Esowaani eza zaabu amakumi asatu 30, Esowaani eza ffeeza lukumi 1,000, Ebiso ebya ffeeza amakumi abiri mu mwenda 29, |
12035 | EZR 2:3 | bazzukulu ba Palosi enkumi bbiri mu kikumi mu nsavu mu babiri (2,172), |
12036 | EZR 2:4 | bazzukulu ba Sefatiya bisatu mu nsavu mu babiri (372), |
12038 | EZR 2:6 | bazzukulu ba Pakasumowaabu ab’olunnyiriri olwa Yesuwa ne Yowaabu enkumi bbiri mu lunaana mu kkumi na babiri (2,812), |
12039 | EZR 2:7 | bazzukulu ba Eramu lukumi mu bibiri mu ataano mu bana (1,254), |
12042 | EZR 2:10 | bazzukulu ba Bani lukaaga mu ana mu babiri (642), |
12043 | EZR 2:11 | bazzukulu ba Bebayi lukaaga mu abiri mu basatu (623), |
12044 | EZR 2:12 | bazzukulu ba Azugaadi lukumi mu bibiri mu abiri mu babiri (1,222), |
12046 | EZR 2:14 | bazzukulu ba Biguvaayi enkumi bbiri mu amakumi ataano mu mukaaga (2,056), |
12049 | EZR 2:17 | bazzukulu ba Bezayi ebikumi bisatu mu amakumi abiri mu basatu (323), |
12050 | EZR 2:18 | bazzukulu ba Yola kikumi mu kumi na babiri (112), |
12051 | EZR 2:19 | bazzukulu ba Kasumu ebikumi bibiri mu abiri mu basatu (223), |
12053 | EZR 2:21 | Abazzukulu ab’e Besirekemu kikumi mu abiri mu basatu (123), |
12055 | EZR 2:23 | abazzukulu ab’e Anasosi kikumi abiri mu munaana (128), |
12056 | EZR 2:24 | abazzukulu ab’e Azumavesi amakumi ana mu babiri (42), |
12058 | EZR 2:26 | abazzukulu ab’e Laama n’e Geba lukaaga mu abiri mu omu (621), |
12059 | EZR 2:27 | abazzukulu ab’e Mikumasi kikumi mu abiri mu babiri (122), |
12060 | EZR 2:28 | abazzukulu ab’e Beseri n’e Ayi ebikumi bibiri mu abiri mu basatu (223), |
12061 | EZR 2:29 | abazzukulu ab’e Nebo amakumi ataano mu babiri (52), |
12063 | EZR 2:31 | abazzukulu ab’e Eramu omulala lukumi mu bibiri mu ataano mu bana (1,254), |
12064 | EZR 2:32 | abazzukulu ab’e Kalimu ebikumi bisatu mu amakumi abiri (320), |
12065 | EZR 2:33 | abazzukulu ab’e Loodi, n’e Kadidi, n’e Ono lusanvu mu abiri mu bataano (725), |
12069 | EZR 2:37 | bazzukulu ba Immeri lukumi mu amakumi ataano mu babiri (1,052), |
12070 | EZR 2:38 | bazzukulu ba Pasukuli lukumi mu bibiri mu amakumi ana mu musanvu (1,247), |
12073 | EZR 2:41 | Bano be bayimbi: bazzukulu ba Asafu kikumi mu amakumi abiri mu munaana (128). |
12090 | EZR 2:58 | Omuwendo ogw’abaaweerezanga mu yeekaalu ne bazzukulu b’abaweereza ba Sulemaani bonna awamu, gwali ebikumi bisatu mu kyenda mu babiri (392). |
12092 | EZR 2:60 | Baali bazzukulu ba Deraya, bazzukulu ba Tobiya, ne bazzukulu ba Nekoda n’omuwendo gwabwe gwali lukaaga mu amakumi ataano mu babiri (652). |
12096 | EZR 2:64 | Bonna awamu baali emitwalo ena mu enkumi bbiri mu bisatu mu nkaga (42,360), |
12097 | EZR 2:65 | okwo nga kw’otadde abaddu n’abaddu abakazi abaali kasanvu mu bisatu mu amakumi asatu mu musanvu (7,337), n’abayimbi abasajja n’abakazi abaali ebikumi bibiri (200). |
12098 | EZR 2:66 | Baalina embalaasi lusanvu mu asatu mu mukaaga (736), n’ennyumbu ebikumi bibiri mu amakumi ana mu ttaano (245), |
12099 | EZR 2:67 | n’eŋŋamira ebikumi bina mu amakumi asatu mu ttaano (435), n’endogoyi kakaaga mu lusanvu mu abiri (6,720). |
12159 | EZR 6:3 | Mu mwaka ogw’olubereberye ogw’obufuzi bwa kabaka Kuulo, kabaka yateeka etteeka erikwata ku yeekaalu ya Katonda mu Yerusaalemi, nga ligamba nti: Yeekaalu eddaabirizibwe ebeere ekifo eky’okuweerangayo ssaddaaka, n’emisingi gyayo giteekebwewo ginywezebwe. Eriba mita amakumi abiri mu musanvu obugulumivu (27), ne mita amakumi abiri mu musanvu obugazi (27), |
12210 | EZR 8:4 | n’okuva mu bazzukulu ba Pakasumowaabu, Eriwenayi mutabani wa Zekkaliya, era wamu naye abasajja ebikumi bibiri (200); |
12215 | EZR 8:9 | n’okuva mu bazzukulu ba Yowaabu, Obadiya mutabani wa Yekyeri, era wamu naye abasajja ebikumi bibiri mu kkumi na munaana (218); |
12217 | EZR 8:11 | n’okuva mu bazzukulu ba Bebayi, Zekkaliya mutabani wa Bebayi, era wamu naye abasajja amakumi abiri mu munaana (28); |
12433 | NEH 7:8 | bazzukulu ba Palosi baali enkumi bbiri mu kikumi mu nsavu mu babiri (2,172), |
12434 | NEH 7:9 | bazzukulu ba Sefatiya baali bisatu mu nsavu mu babiri (372), |
12435 | NEH 7:10 | bazzukulu ba Ala baali lukaaga mu ataano mu babiri (652), |
12436 | NEH 7:11 | bazzukulu ba Pakasumowaabu abaali ab’olunnyiriri lwa Yesuwa ne Yowaabu baali enkumi bbiri mu lunaana mu kumi na munaana (2,818), |
12437 | NEH 7:12 | bazzukulu ba Eramu baali lukumi mu bibiri mu ataano mu bana (1,254), |
12441 | NEH 7:16 | bazzukulu ba Bebayi baali lukaaga mu abiri mu munaana (628), |
12442 | NEH 7:17 | bazzukulu ba Azugaadi baali enkumi bbiri mu bisatu mu abiri mu babiri (2,322), |
12444 | NEH 7:19 | bazzukulu ba Biguvaayi baali enkumi bbiri mu nkaaga mu musanvu (2,067), |
12447 | NEH 7:22 | bazzukulu ba Kasumu baali bisatu mu abiri mu munaana (328), |
12448 | NEH 7:23 | bazzukulu ba Bezayi baali bisatu mu abiri mu bana (324), |
12449 | NEH 7:24 | bazzukulu ba Kalifu baali kikumi mu kumi na babiri (112), |
12452 | NEH 7:27 | ab’e Anasosi baali kikumi mu abiri mu munaana (128), |
12453 | NEH 7:28 | ab’e Besuwazumavesi baali amakumi ana mu babiri (42), |
12455 | NEH 7:30 | ab’e Laama n’e Geba lukaaga mu abiri mu omu (621), |
12456 | NEH 7:31 | ab’e Mikumasi kikumi mu abiri mu babiri (122), |
12457 | NEH 7:32 | ab’e Beseri n’e Ayi baali kikumi mu abiri mu basatu (123), |
12458 | NEH 7:33 | ab’e Nebo ekyokubiri baali amakumi ataano mu babiri (52), |
12459 | NEH 7:34 | ab’e Eramu ekyokubiri baali lukumi mu bibiri mu ataano mu bana (1,254), |
12460 | NEH 7:35 | ab’e Kalimu baali bisatu mu abiri (320), |
12462 | NEH 7:37 | ab’e Loodi, n’e Kadidi ne Ono baali lusanvu mu abiri mu omu (721), |
12465 | NEH 7:40 | bazzukulu ba Immeri baali lukumi mu amakumi ataano mu babiri (1,052), |
12466 | NEH 7:41 | bazzukulu ba Pasukuli baali lukumi mu bibiri mu ana mu musanvu (1,247), |
12485 | NEH 7:60 | Omuwendo ogw’abaaweerezanga mu yeekaalu ne bazzukulu b’abaweereza ba Sulemaani bonna awamu, gwali bisatu mu kyenda mu babiri (392). |
12487 | NEH 7:62 | bazzukulu ba Deraya, bazzukulu ba Tobiya, ne bazzukulu ba Nekoda baali lukaaga mu amakumi ana mu babiri (642). |
12491 | NEH 7:66 | Ekibiina kyonna awamu kyali emitwalo ena mu enkumi bbiri mu bisatu mu nkaaga (42,360), |
12492 | NEH 7:67 | obutassaako baweereza baabwe abasajja n’abaweereza baabwe abakazi abaali akasanvu mu bisatu mu asatu mu musanvu (7,337); ate nga baalina n’abayimbi abasajja n’abakazi bibiri mu ana mu bataano (245). |
12493 | NEH 7:68 | Baalina embalaasi lusanvu mu asatu mu mukaaga (736), ennyumbu ebikumi bibiri mu ana mu ttaano (245), n’eŋŋamira ebikumi bina mu asatu mu ttaano (435), n’endogoyi kakaaga mu lusanvu mu abiri (6,720). |
12600 | NEH 11:8 | n’abagoberezi be Gabbayi ne Sallayi, bonna ne bawera abasajja lwenda mu abiri mu munaana (928). |
12604 | NEH 11:12 | ne baganda baabwe abaakolanga emirimu mu yeekaalu, be basajja lunaana mu abiri mu babiri (822); Adaya mutabani wa Yerokamu, muzzukulu wa Peraliya, muzzukulu wa Amuzi, muzzukulu wa Zekkaliya, muzzukulu wa Pasukuli, muzzukulu wa Malukiya, |
12605 | NEH 11:13 | ne baganda be, abaali abakulu b’ennyumba; abasajja ebikumi bibiri mu ana mu babiri (242); Amasusaayi mutabani wa Azaleri, muzzukulu wa Azayi, muzzukulu wa Mesiremoosi, muzzukulu wa Immeri, |
12606 | NEH 11:14 | ne baganda be, abaali abalwanyi abazira; abasajja kikumi mu abiri mu munaana (128). Omukulu waabwe ye yali Zabudyeri mutabani wa Kaggedolimu. |
12610 | NEH 11:18 | Abaleevi abaabeeranga mu kibuga ekitukuvu bonna awamu, baali ebikumi bibiri mu kinaana mu bana (284). |
12611 | NEH 11:19 | Abakuumi b’emiryango baali: Akkubu, ne Talumoni ne baganda baabwe; abaakuumanga emiryango nga bawera abasajja kikumi mu nsanvu mu babiri (172). |
12707 | EST 1:1 | Kino kye kyabaawo ku mirembe gya Akaswero, eyafuga amasaza kikumi mu abiri mu musanvu (127) okuva e Buyindi okutuuka e Buwesiyopya. |
12830 | EST 8:9 | Ku lunaku olw’amakumi abiri mu esatu mu mwezi ogwokusatu, gwe mwezi Sivaani abawandiisi ba Kabaka ne bayitibwa ne bawandiika byonna Moluddekaayi bye yalagira Abayudaaya, ebbaluwa n’eweerezebwa eri abaamasaza, ne bagavana n’abakungu abaafuganga mu bitundu ekikumi mu abiri mu omusanvu (127) okuva e Buyindi okutuusa ku Buwesiyopya. Ebiragiro by’awandiikibwa eri buli ssaza ng’empandiika yaalyo bwe yali, n’eri buli ggwanga ng’olulimi lwabwe bwe lwali, n’eri Abayudaaya mu mpandiika yaabwe era ne mu lulimi lwabwe. |