Wildebeest analysis examples for:   lug-lug   3    February 25, 2023 at 00:38    Script wb_pprint_html.py   by Ulf Hermjakob

3628  NUM 1:23  Abaabalibwa okuva mu kika kya Simyoni baali emitwalo etaano mu kenda mu ebikumi bisatu (59,300).
3640  NUM 1:35  Abaabalibwa okuva mu kika kya Manase baali emitwalo esatu mu enkumi bbiri mu ebikumi bibiri (32,200).
3642  NUM 1:37  Abaabalibwa okuva mu kika kya Benyamini baali emitwalo esatu mu enkumi ttaano mu ebikumi bina (35,400).
3648  NUM 1:43  Abaabalibwa okuva mu kika kya Nafutaali baali emitwalo etaano mu enkumi ssatu mu ebikumi bina (53,400).
3651  NUM 1:46  Obungi bwabwe bonna abaabalibwa okugatta awamu baali bawera emitwalo nkaaga mu enkumi ssatu mu ebikumi bitaano mu amakumi ataano (603,550).
3672  NUM 2:13  Abaabalibwa mu kibinja kye baali emitwalo etaano mu kenda mu ebikumi bisatu (59,300).
3680  NUM 2:21  Ab’omu kibinja kye abaabalibwa baali emitwalo esatu mu enkumi bbiri mu ebikumi bibiri (32,200).
3682  NUM 2:23  Ab’omu kibinja kye abaabalibwa baali emitwalo esatu mu enkumi ttaano mu ebikumi bina (35,400).
3689  NUM 2:30  Ab’omu kibinja kye abaabalibwa baali emitwalo etaano mu enkumi ssatu mu ebikumi bina (53,400).
3691  NUM 2:32  Abo be baana ba Isirayiri abaabalibwa ng’empya zaabwe bwe zaali. Okugatta abaali mu nsiisira bonna ng’ebibinja byabwe bwe byali, baawera emitwalo nkaaga mu enkumi ssatu mu ebikumi bitaano mu amakumi ataano (603,550).
3784  NUM 4:40  baabalibwa ng’empya zaabwe n’ennyumba z’abakadde baabwe bwe zaali, ne bawera enkumi bbiri mu lukaaga mu amakumi asatu (2,630).
3788  NUM 4:44  abaabalibwa ng’empya zaabwe bwe zaali baali bawera enkumi ssatu mu ebikumi bibiri (3,200).
4498  NUM 26:7  Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Lewubeeni. Abo abaabalibwa baawera emitwalo ena mu enkumi ssatu mu lusanvu mu amakumi asatu (43,730).
4516  NUM 26:25  Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Isakaali. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo mukaaga mu enkumi nnya mu ebikumi bisatu (64,300).
4528  NUM 26:37  Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Efulayimu; n’abaabalibwa baawera abasajja emitwalo esatu mu enkumi bbiri mu ebikumi bitaano (32,500). Abo bonna baava mu Yusufu ng’ebika byabwe bwe byali n’ennyiriri zaabwe bwe zaali.
4538  NUM 26:47  Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Aseri; n’abaabalibwa baawera abasajja emitwalo etaano mu enkumi ssatu mu ebikumi bina (53,400).
4542  NUM 26:51  Okugatta awamu omuwendo gwonna ogw’abaana ba Isirayiri abasajja abaabalibwa baawera emitwalo nkaaga mu lukumi mu lusanvu mu amakumi asatu (601,730).
4553  NUM 26:62  Abasajja bonna okuva ku mwezi ogumu ogw’obukulu n’okusingawo, abaabalibwa, baali emitwalo ebiri mu enkumi ssatu (23,000). Tebaabalirwa wamu na baana ba Isirayiri nga babalibwa, kubanga Abaleevi bo tebaaweebwa mugabo gwa butaka ng’abaana ba Isirayiri bagabana.
4701  NUM 31:35  n’abakazi abatamanyangako basajja emitwalo esatu mu enkumi bbiri (32,000).
4702  NUM 31:36  Ekitundu eky’omu makkati eky’omunyago eky’abo abaatabaala kyali bwe kiti: Endiga, obusiriivu busatu mu emitwalo esatu mu kasanvu mu bitaano (337,500);
4704  NUM 31:38  Ente, emitwalo esatu mu kakaaga (36,000), ng’ez’omusolo gwa Mukama Katonda nsanvu mu bbiri (72).
4705  NUM 31:39  Endogoyi, emitwalo esatu mu bitaano (30,500), ng’ez’omusolo gwa Mukama Katonda zaali nkaaga mu emu (61).
4706  NUM 31:40  Abantu omutwalo gumu mu kakaaga (16,000); ng’ab’omusolo gwa Mukama Katonda baali amakumi asatu mu babiri (32).
4709  NUM 31:43  ekitundu ekyo kyali bwe kiti: Endiga, emitwalo asatu mu esatu mu bitaano (337,500);
4710  NUM 31:44  Ente, emitwalo esatu mu kakaaga (36,000);
4711  NUM 31:45  Endogoyi, emitwalo esatu mu bitaano (30,500);
9426  1KI 20:15  Awo Akabu n’ayita abavubuka ab’abaduumizi b’amasaza, ne bawera ebikumi bibiri mu asatu mu babiri (232). Era n’akuŋŋaanya ne Isirayiri yenna, bonna awamu ne baba kasanvu (7,000).
11542  2CH 17:14  Okubalibwa ng’enju za bakitaabwe bwe zaali kwali bwe kuti: Okuva mu Yuda, abaduumizi ab’ebibinja eby’olukumi (1,000) baali: Aduna omuduumizi ow’abasajja abalwanyi emitwalo amakumi asatu (300,000),
11750  2CH 26:13  Abo be baaduumiranga eggye ery’abasajja abatendeke mu kulwana, abaawera emitwalo amakumi asatu mu kasanvu mu ebikumi bitaano (307,500), abaakuumanga kabaka.
12030  EZR 1:9  Guno gwe gwali omuwendo gwabyo: Esowaani eza zaabu amakumi asatu 30, Esowaani eza ffeeza lukumi 1,000, Ebiso ebya ffeeza amakumi abiri mu mwenda 29,
12031  EZR 1:10  Ebibya ebya zaabu amakumi asatu 30, n’ebibya ebya ffeeza ebigenderako ebikumi bina mu kumi 410, n’ebintu ebirala lukumi 1,000.
12036  EZR 2:4  bazzukulu ba Sefatiya bisatu mu nsavu mu babiri (372),
12043  EZR 2:11  bazzukulu ba Bebayi lukaaga mu abiri mu basatu (623),
12049  EZR 2:17  bazzukulu ba Bezayi ebikumi bisatu mu amakumi abiri mu basatu (323),
12051  EZR 2:19  bazzukulu ba Kasumu ebikumi bibiri mu abiri mu basatu (223),
12053  EZR 2:21  Abazzukulu ab’e Besirekemu kikumi mu abiri mu basatu (123),
12057  EZR 2:25  abazzukulu ab’e Kiriaswalimu, n’e Kefira n’e Beerosi lusanvu mu ana mu basatu (743),
12060  EZR 2:28  abazzukulu ab’e Beseri n’e Ayi ebikumi bibiri mu abiri mu basatu (223),
12064  EZR 2:32  abazzukulu ab’e Kalimu ebikumi bisatu mu amakumi abiri (320),
12066  EZR 2:34  abazzukulu ab’e Yeriko ebikumi bisatu mu amakumi ana mu bataano (345),
12067  EZR 2:35  n’abazzukulu ab’e Sena enkumi ssatu mu lukaaga mu amakumi asatu (3,630).
12068  EZR 2:36  Bano be bakabona: bazzukulu ba Yedaya ab’ennyumba ya Yesuwa lwenda mu nsavu mu basatu (973),
12074  EZR 2:42  Bano be baakuumanga enzigi za yeekaalu: bazzukulu ba Sallumu, bazzukulu ba Ateri, bazzukulu ba Talumoni, bazzukulu ba Akkubu, bazzukulu ba Katita, ne bazzukulu ba Sobayi kikumi mu amakumi asatu mu mwenda (139).
12090  EZR 2:58  Omuwendo ogw’abaaweerezanga mu yeekaalu ne bazzukulu b’abaweereza ba Sulemaani bonna awamu, gwali ebikumi bisatu mu kyenda mu babiri (392).
12096  EZR 2:64  Bonna awamu baali emitwalo ena mu enkumi bbiri mu bisatu mu nkaga (42,360),
12097  EZR 2:65  okwo nga kw’otadde abaddu n’abaddu abakazi abaali kasanvu mu bisatu mu amakumi asatu mu musanvu (7,337), n’abayimbi abasajja n’abakazi abaali ebikumi bibiri (200).
12098  EZR 2:66  Baalina embalaasi lusanvu mu asatu mu mukaaga (736), n’ennyumbu ebikumi bibiri mu amakumi ana mu ttaano (245),
12099  EZR 2:67  n’eŋŋamira ebikumi bina mu amakumi asatu mu ttaano (435), n’endogoyi kakaaga mu lusanvu mu abiri (6,720).
12101  EZR 2:69  Ne bawaayo mu ggwanika ng’obusobozi bwabwe bwe bwali; ne bawaayo kilo bitaano eza zaabu (500), ne tani ssatu (3), n’ebyambalo bya bakabona kikumi (100) mu ggwanika.
12211  EZR 8:5  n’okuva mu bazzukulu ba Sekaniya, mutabani wa Yakazyeri, era wamu naye abasajja ebikumi bisatu (300);
12434  NEH 7:9  bazzukulu ba Sefatiya baali bisatu mu nsavu mu babiri (372),
12442  NEH 7:17  bazzukulu ba Azugaadi baali enkumi bbiri mu bisatu mu abiri mu babiri (2,322),
12447  NEH 7:22  bazzukulu ba Kasumu baali bisatu mu abiri mu munaana (328),
12448  NEH 7:23  bazzukulu ba Bezayi baali bisatu mu abiri mu bana (324),
12454  NEH 7:29  ab’e Kiriyasuyalimu, n’e Kefira n’e Beerosi baali lusanvu mu ana mu basatu (743),
12457  NEH 7:32  ab’e Beseri n’e Ayi baali kikumi mu abiri mu basatu (123),
12460  NEH 7:35  ab’e Kalimu baali bisatu mu abiri (320),
12461  NEH 7:36  ab’e Yeriko baali bisatu mu ana mu bataano (345),
12463  NEH 7:38  n’ab’e Sena baali enkumi ssatu mu lwenda mu asatu (3,930).
12464  NEH 7:39  Bano be bakabona: bazzukulu ba Yedaya ow’olunnyiriri lwa Yesuwa baali lwenda mu nsavu mu basatu (973),
12470  NEH 7:45  Abaakuumanga wankaaki baali: bazzukulu ba Sallumu, bazzukulu ba Ateri, bazzukulu ba Talumoni, bazzukulu ba Akkubu, bazzukulu ba Katita, ne bazzukulu ba Sobayi nga bali kikumi mu amakumi asatu mu munaana (138).
12485  NEH 7:60  Omuwendo ogw’abaaweerezanga mu yeekaalu ne bazzukulu b’abaweereza ba Sulemaani bonna awamu, gwali bisatu mu kyenda mu babiri (392).
12491  NEH 7:66  Ekibiina kyonna awamu kyali emitwalo ena mu enkumi bbiri mu bisatu mu nkaaga (42,360),
12492  NEH 7:67  obutassaako baweereza baabwe abasajja n’abaweereza baabwe abakazi abaali akasanvu mu bisatu mu asatu mu musanvu (7,337); ate nga baalina n’abayimbi abasajja n’abakazi bibiri mu ana mu bataano (245).
12493  NEH 7:68  Baalina embalaasi lusanvu mu asatu mu mukaaga (736), ennyumbu ebikumi bibiri mu ana mu ttaano (245), n’eŋŋamira ebikumi bina mu asatu mu ttaano (435), n’endogoyi kakaaga mu lusanvu mu abiri (6,720).
12494  NEH 7:69  Abamu ku bakulu b’obusolya baawaayo ensimbi okukola omulimu. Gavana n’awaayo, kilo munaana n’ekitundu eza zaabu, n’ebbensani amakumi ataano (50), n’ebyambalo bya bakabona ebikumi bitaano mu asatu (530) mu ggwanika.
31015  REV 14:20  Emizabbibu egyo ne gisogolerwa ebweru w’ekibuga era omugga gw’omusaayi ne gukulukuta okuva mu ssogolero, obugulumivu bwagwo ne buba ng’okutuuka ku kyuma ky’omu kamwa k’embalaasi, ate obuwanvu bwagwo ne guweza nga kilomita ebikumi bisatu (300).