3626 | NUM 1:21 | Abaabalibwa okuva mu kika kya Lewubeeni baali emitwalo ena mu kakaaga mu bitaano (46,500). |
3630 | NUM 1:25 | Abaabalibwa okuva mu kika kya Gaadi baali emitwalo ena mu enkumi ttaano mu lukaaga mu amakumi ataano (45,650). |
3632 | NUM 1:27 | Abaabalibwa okuva mu kika kya Yuda baali emitwalo musanvu mu enkumi nnya mu lukaaga (74,600). |
3634 | NUM 1:29 | Abaabalibwa okuva mu kika kya Isakaali baali emitwalo etaano mu enkumi nnya mu ebikumi bina (54,400). |
3636 | NUM 1:31 | Abaabalibwa okuva mu kika kya Zebbulooni baali emitwalo etaano mu kasanvu mu ebikumi bina (57,400). |
3638 | NUM 1:33 | Abaabalibwa okuva mu kika kya Efulayimu baali emitwalo ena mu ebikumi bitaano (40,500). |
3642 | NUM 1:37 | Abaabalibwa okuva mu kika kya Benyamini baali emitwalo esatu mu enkumi ttaano mu ebikumi bina (35,400). |
3646 | NUM 1:41 | Abaabalibwa okuva mu kika kya Aseri baali emitwalo ena mu lukumi mu ebikumi bitaano (41,500). |
3648 | NUM 1:43 | Abaabalibwa okuva mu kika kya Nafutaali baali emitwalo etaano mu enkumi ssatu mu ebikumi bina (53,400). |
3663 | NUM 2:4 | Mu kibinja kye nga mulimu abaabalibwa emitwalo musanvu mu enkumi nnya mu lukaaga (74,600). |
3665 | NUM 2:6 | Abaabalibwa mu kibinja kye baali emitwalo etaano mu enkumi nnya mu ebikumi bina (54,400). |
3667 | NUM 2:8 | Abaabalibwa mu kibinja kye baali emitwalo etaano mu kasanvu mu ebikumi bina (57,400). |
3668 | NUM 2:9 | Abasajja bonna abaali mu lusiisira lwa Yuda abaabalibwa ng’ebibinja by’amaggye gaabwe bwe byali baali emitwalo kkumi na munaana mu kakaaga mu ebikumi bina (186,400). Be banaakulemberanga. |
3670 | NUM 2:11 | Abaabalibwa mu kibinja kye baali emitwalo ena mu kakaaga mu ebikumi bitaano (46,500). |
3674 | NUM 2:15 | Abaabalibwa mu kibinja kye baali emitwalo ena mu enkumi ttaano mu lukaaga mu amakumi ataano (45,650). |
3675 | NUM 2:16 | Abasajja bonna okugatta awamu abaali mu lusiisira lwa Lewubeeni abaabalibwa, ng’ebibinja by’amaggye gaabwe bwe byali, baali emitwalo kkumi n’ettaano mu lukumi mu ebikumi bina mu amakumi ataano (151,450). Be banaabanga abookubiri okusitula ng’olugendo lutuuse. |
3678 | NUM 2:19 | Ab’omu kibinja kye abaabalibwa baali emitwalo ena mu ebikumi bitaano (40,500). |
3682 | NUM 2:23 | Ab’omu kibinja kye abaabalibwa baali emitwalo esatu mu enkumi ttaano mu ebikumi bina (35,400). |
3687 | NUM 2:28 | Ab’omu kibinja kye abaabalibwa baali emitwalo ena mu lukumi mu ebikumi bitaano (41,500). |
3689 | NUM 2:30 | Ab’omu kibinja kye abaabalibwa baali emitwalo etaano mu enkumi ssatu mu ebikumi bina (53,400). |
4498 | NUM 26:7 | Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Lewubeeni. Abo abaabalibwa baawera emitwalo ena mu enkumi ssatu mu lusanvu mu amakumi asatu (43,730). |
4509 | NUM 26:18 | Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Gaadi. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo ena mu ebikumi bitaano (40,500). |
4516 | NUM 26:25 | Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Isakaali. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo mukaaga mu enkumi nnya mu ebikumi bisatu (64,300). |
4532 | NUM 26:41 | Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Benyamini; n’abaabalibwa baawera abasajja emitwalo ena mu enkumi ttaano mu lukaaga (45,600). |
4534 | NUM 26:43 | Zonna zaali nnyiriri za Basukamu. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo mukaaga mu enkumi nnya mu ebikumi bina (64,400). |
4538 | NUM 26:47 | Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Aseri; n’abaabalibwa baawera abasajja emitwalo etaano mu enkumi ssatu mu ebikumi bina (53,400). |
4541 | NUM 26:50 | Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Nafutaali. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo ena mu enkumi ttaano mu ebikumi bina (45,400). |
12031 | EZR 1:10 | Ebibya ebya zaabu amakumi asatu 30, n’ebibya ebya ffeeza ebigenderako ebikumi bina mu kumi 410, n’ebintu ebirala lukumi 1,000. |
12032 | EZR 1:11 | Byonna awamu ebintu ebya zaabu ne ffeeza byali enkumi ttaano mu ebikumi bina (5,400). Sesubazzali n’agenda nabyo byonna e Yerusaalemi okuva e Babulooni mu buwaŋŋanguse. |
12039 | EZR 2:7 | bazzukulu ba Eramu lukumi mu bibiri mu ataano mu bana (1,254), |
12040 | EZR 2:8 | bazzukulu ba Zattu lwenda mu ana mu bataano (945), |
12042 | EZR 2:10 | bazzukulu ba Bani lukaaga mu ana mu babiri (642), |
12047 | EZR 2:15 | bazzukulu ba Adini ebikumi bina mu ataano mu bana (454), |
12056 | EZR 2:24 | abazzukulu ab’e Azumavesi amakumi ana mu babiri (42), |
12057 | EZR 2:25 | abazzukulu ab’e Kiriaswalimu, n’e Kefira n’e Beerosi lusanvu mu ana mu basatu (743), |
12063 | EZR 2:31 | abazzukulu ab’e Eramu omulala lukumi mu bibiri mu ataano mu bana (1,254), |
12066 | EZR 2:34 | abazzukulu ab’e Yeriko ebikumi bisatu mu amakumi ana mu bataano (345), |
12070 | EZR 2:38 | bazzukulu ba Pasukuli lukumi mu bibiri mu amakumi ana mu musanvu (1,247), |
12072 | EZR 2:40 | Ne bano be Baleevi: bazzukulu ba Yesuwa ne Kadumyeri ab’olunnyiriri olwa Kadaviya nsavu mu bana (74). |
12096 | EZR 2:64 | Bonna awamu baali emitwalo ena mu enkumi bbiri mu bisatu mu nkaga (42,360), |
12098 | EZR 2:66 | Baalina embalaasi lusanvu mu asatu mu mukaaga (736), n’ennyumbu ebikumi bibiri mu amakumi ana mu ttaano (245), |
12099 | EZR 2:67 | n’eŋŋamira ebikumi bina mu amakumi asatu mu ttaano (435), n’endogoyi kakaaga mu lusanvu mu abiri (6,720). |
12437 | NEH 7:12 | bazzukulu ba Eramu baali lukumi mu bibiri mu ataano mu bana (1,254), |
12438 | NEH 7:13 | bazzukulu ba Zattu baali lunaana mu ana mu bataano (845), |
12440 | NEH 7:15 | bazzukulu ba Binnuyi baali lukaaga mu ana mu munaana (648), |
12448 | NEH 7:23 | bazzukulu ba Bezayi baali bisatu mu abiri mu bana (324), |
12453 | NEH 7:28 | ab’e Besuwazumavesi baali amakumi ana mu babiri (42), |
12454 | NEH 7:29 | ab’e Kiriyasuyalimu, n’e Kefira n’e Beerosi baali lusanvu mu ana mu basatu (743), |
12459 | NEH 7:34 | ab’e Eramu ekyokubiri baali lukumi mu bibiri mu ataano mu bana (1,254), |
12461 | NEH 7:36 | ab’e Yeriko baali bisatu mu ana mu bataano (345), |
12466 | NEH 7:41 | bazzukulu ba Pasukuli baali lukumi mu bibiri mu ana mu musanvu (1,247), |
12468 | NEH 7:43 | Ne bano be Baleevi: bazzukulu ba Yesuwa ow’olunnyiriri lwa Kadumyeri mu nda ya Kodeva baali nsavu mu bana (74). |
12469 | NEH 7:44 | Abayimbi: bazzukulu ba Asafu baali kikumi mu amakumi ana mu munaana (148). |
12487 | NEH 7:62 | bazzukulu ba Deraya, bazzukulu ba Tobiya, ne bazzukulu ba Nekoda baali lukaaga mu amakumi ana mu babiri (642). |
12491 | NEH 7:66 | Ekibiina kyonna awamu kyali emitwalo ena mu enkumi bbiri mu bisatu mu nkaaga (42,360), |
12492 | NEH 7:67 | obutassaako baweereza baabwe abasajja n’abaweereza baabwe abakazi abaali akasanvu mu bisatu mu asatu mu musanvu (7,337); ate nga baalina n’abayimbi abasajja n’abakazi bibiri mu ana mu bataano (245). |
12493 | NEH 7:68 | Baalina embalaasi lusanvu mu asatu mu mukaaga (736), ennyumbu ebikumi bibiri mu ana mu ttaano (245), n’eŋŋamira ebikumi bina mu asatu mu ttaano (435), n’endogoyi kakaaga mu lusanvu mu abiri (6,720). |
12598 | NEH 11:6 | Bazzukulu ba Pereezi abaasenga mu Yerusaalemi baawerera ddala abasajja ebikumi bina mu nkaaga mu munaana (468), abaali abalwanyi abazira. |
12605 | NEH 11:13 | ne baganda be, abaali abakulu b’ennyumba; abasajja ebikumi bibiri mu ana mu babiri (242); Amasusaayi mutabani wa Azaleri, muzzukulu wa Azayi, muzzukulu wa Mesiremoosi, muzzukulu wa Immeri, |
12610 | NEH 11:18 | Abaleevi abaabeeranga mu kibuga ekitukuvu bonna awamu, baali ebikumi bibiri mu kinaana mu bana (284). |
30882 | REV 7:4 | Awo ne mpulira omuwendo gw’abo abaateekebwako akabonero k’envumbo nga baali emitwalo kkumi n’ena mu enkumi nnya (144,000) okuva mu bika ekkumi n’ebibiri ebya Isirayiri. |
30942 | REV 11:2 | Naye oluggya olw’ebweru lwo tolupima kubanga luweereddwayo eri amawanga, era balirinnyirira ekibuga ekitukuvu okumala emyezi amakumi ana mu ebiri (42). |
30996 | REV 14:1 | Awo ne ndaba Omwana gw’Endiga ng’ayimiridde ku lusozi Sayuuni, ng’ali n’abantu emitwalo kkumi n’ena mu enkumi nnya (144,000), ng’erinnya lye n’erya Kitaawe gawandiikiddwa mu byenyi by’abantu abo. |