98 | GEN 4:18 | Enoka n’azaalirwa Iradi ne Iradi n’azaala Mekujeeri, ne Mekujeeri n’azaala Mesuseera, ne Mesuseera n’azaala Lameka. |
293 | GEN 11:26 | Teera bwe yaweza emyaka nsanvu, n’azaala Ibulaamu, ne Nakoli ne Kalani. |
294 | GEN 11:27 | Bino bye bifa ku b’olulyo lwa Teera: Teera ye kitaawe wa Ibulaamu, ne Nakoli ne Kalani; Kalani ye yali kitaawe wa Lutti. |
296 | GEN 11:29 | Ibulaamu ne Nakoli ne bawasa; erinnya lya mukazi wa Ibulaamu lyali Salaayi, ate mukazi wa Nakoli nga ye Mirika, muwala wa Kalani, kitaawe wa Mirika ne Isika. |
298 | GEN 11:31 | Teera n’atwala Ibulaamu mutabani we Lutti muzzukulu we mutabani wa Kalani, ne Salaayi muka mutabani we Ibulaamu, ne bagenda bonna okuva mu Uli eky’Abakaludaaya okugenda mu nsi ya Kalani; bwe baatuuka mu Kalani, ne babeera omwo. |
300 | GEN 12:1 | Awo Mukama n’agamba Ibulaamu nti, “Vva mu nsi yannyo ne mu bantu bo ne mu nnyumba ya kitaawo ogende mu nsi gye ndikulaga. |
303 | GEN 12:4 | Bw’atyo Ibulaamu n’agenda nga Mukama bwe yamugamba, ne Lutti n’agenda wamu naye. Ibulaamu we yaviira mu Kalani yali aweza emyaka nsanvu mu etaano. |
304 | GEN 12:5 | Ibulaamu n’atwala Salaayi mukazi we, ne Lutti mutabani wa muganda we ne byonna bye baalina bye baali bafunye, n’abantu baabwe be baafunira mu Kalani, ne basitula okugenda mu Kanani. Ne batuuka mu nsi ya Kanani. |
305 | GEN 12:6 | Ibulaamu n’ayita mu nsi n’atuuka mu kifo ekiyitibwa Sekemu awali emivule gya Mole. Mu biro ebyo Abakanani be baali mu nsi omwo. |
306 | GEN 12:7 | Awo Mukama n’alabikira Ibulaamu n’agamba nti, “Ensi eno ndigiwa abo abaliva mu ggwe.” Awo Ibulaamu n’azimbira eyo Mukama ekyoto eyamulabikira. |
308 | GEN 12:9 | Ibulaamu ne yeeyongera okutambula ng’ayolekera Negevu. |
309 | GEN 12:10 | Ne wagwa enjala mu nsi. Bw’atyo Ibulaamu n’aserengeta e Misiri asengukireko eyo, kubanga enjala nnyingi eyali mu nsi. |
313 | GEN 12:14 | Ibulaamu bwe yayingira mu Misiri, Abamisiri ne balaba Salaayi nga mukazi mulungi nnyo. |
315 | GEN 12:16 | Ku lwa Salaayi, Falaawo n’ayisa bulungi Ibulaamu. Ibulaamu n’aweebwa endiga, n’ente, n’endogoyi, n’abaweereza abasajja, n’abaweereza abakazi, n’endogoyi enkazi, n’eŋŋamira. |
316 | GEN 12:17 | Naye Mukama n’aleetera Falaawo n’ennyumba ye endwadde enkambwe olwa Salaayi mukazi wa Ibulaamu. |
317 | GEN 12:18 | Awo Falaawo n’ayita Ibulaamu n’amugamba nti, “Kiki kino ky’onkoze? Lwaki tewantegeeza nti mukazi wo? |
319 | GEN 12:20 | Falaawo n’alagira basajja be ebikwata ku Ibulaamu, ne bamusindiikiriza n’ava mu nsi ne mukazi we ne byonna bye yalina. |
320 | GEN 13:1 | Bw’atyo Ibulaamu n’ayambuka okuva mu Misiri ye ne mukazi we, ne byonna bye yalina, ne Lutti ne bayingira mu Negevu. |
321 | GEN 13:2 | Mu kiseera ekyo Ibulaamu yalina ente nnyingi, ne ffeeza ne zaabu nnyingi nnyo. |
323 | GEN 13:4 | mu kifo we yasooka okuzimbira Mukama ekyoto, Ibulaamu n’akoowoolera eyo erinnya lya Mukama. |
324 | GEN 13:5 | Ne Lutti eyagenda ne Ibulaamu naye yalina ebisibo by’endiga n’amagana g’ente n’ab’enju ye nga bangi, |
327 | GEN 13:8 | Awo Ibulaamu n’agamba Lutti nti, “Tewasaana kubaawo kuyombagana wakati wange naawe, wadde wakati w’abalunzi bo n’abange, kubanga tuli baaluganda. |
331 | GEN 13:12 | Ibulaamu n’abeera mu nsi ya Kanani, ye Lutti n’abeera mu bibuga eby’omu lusenyi n’atwala eweema ye n’agisimba okumpi ne Sodomu. |
333 | GEN 13:14 | Mukama n’agamba Ibulaamu ng’amaze okwawukana ne Lutti nti, “Yimusa amaaso go ng’osinziira mu kifo mw’oli, otunule ku bukiikakkono, ne ku bukiikaddyo, n’ebuvanjuba n’ebugwanjuba; |
337 | GEN 13:18 | Awo Ibulaamu n’asimbula eweema ye n’agenda n’abeera okumpi n’emivule gya Mamule, ekiri e Kebbulooni, n’azimbira eyo Mukama ekyoto. |
349 | GEN 14:12 | Era ne batwala ne Lutti, mutabani wa muganda wa Ibulaamu eyali mu Sodomu, n’ebintu bye ne bagenda nabyo kubanga naye yali abeera mu Sodomu. |
350 | GEN 14:13 | Awo Omwamoli omu eyali abadduseeko n’ajja n’ategeeza Ibulaamu Omwebbulaniya, eyali abeera okumpi n’emivule gya Mamule, muganda wa Esukoli ne Aneri abaalina endagaano ne Ibulaamu. |
351 | GEN 14:14 | Ibulaamu bwe yawulira nti muganda we atwalibbwa nga munyage, n’akulembera basajja be abatendeke, abazaalirwa mu nnyumba ye, ebikumi bisatu mu kkumi na munaana, ne bawondera abaatwala Lutti okutuuka e Ddaani. |
354 | GEN 14:17 | Ibulaamu bwe yakomawo ng’amaze okuwangula Kedolawomeeri ne bakabaka abaali naye, kabaka wa Sodomu n’afuluma okumusisinkana mu kiwonvu ky’e Save (kye kiwonvu kya kabaka). |
356 | GEN 14:19 | N’asabira Ibulaamu omukisa ng’agamba nti, “Katonda Ali Waggulu Ennyo Omutonzi w’eggulu n’ensi awe Ibulaamu omukisa. |
357 | GEN 14:20 | Era Katonda Ali Waggulu Ennyo agulumizibwe agabudde abalabe bo mu mikono gyo.” Awo Ibulaamu n’amuwa ekitundu eky’ekkumi ekya buli kimu. |
358 | GEN 14:21 | Ne kabaka wa Sodomu n’agamba Ibulaamu nti, “Mpa abantu, gwe otwale ebintu.” |
359 | GEN 14:22 | Naye Ibulaamu n’addamu kabaka wa Sodomu nti, “Ndayira Mukama Katonda Ali Waggulu Ennyo, Omutonzi w’eggulu n’ensi, |
360 | GEN 14:23 | sijja kutwala wadde akawuzi oba akakoba akasiba engatto, oba ekintu kyonna ekikyo, oleme okugamba nti, ‘Ngaggawazza Ibulaamu.’ |
362 | GEN 15:1 | Ebyo nga biwedde, ekigambo kya Mukama ne kijjira Ibulaamu mu kwolesebwa nti, “Totya Ibulaamu, Nze ngabo yo era empeera yo ennene ennyo.” |
363 | GEN 15:2 | Naye Ibulaamu n’addamu nti, “Kiki ky’olimpa Ayi Mukama Katonda, kubanga sirina mwana, n’omusika w’ennyumba yange ye Eryeza ow’omu Ddamasiko?” |
364 | GEN 15:3 | Ibulaamu ne yeeyongera n’agamba nti, “Laba tompadde mwana; omuddu eyazaalibwa mu nnyumba yange ye musika wange.” |
367 | GEN 15:6 | Ibulaamu n’akkiriza Mukama, n’akimubalira okuba obutuukirivu. |
369 | GEN 15:8 | Ibulaamu n’addamu nti, “Ayi Mukama nnaamanya ntya nti eriba yange?” |
371 | GEN 15:10 | Ibulaamu n’abireeta byonna n’abisalamu wakati n’ateeka buli kitundu kungulu ku kinnaakyo, naye ebinyonyi byo teyabisalamu bitundu nga biri. |
372 | GEN 15:11 | Ensega bwe zajja okubirya, Ibulaamu n’azigoba. |
373 | GEN 15:12 | Enjuba yali egwa, Ibulaamu ne yeebaka otulo tungi; era laba, ekizikiza ekingi eky’amaanyi ne kimubuutikira. |
374 | GEN 15:13 | Awo Mukama n’agamba Ibulaamu nti, “Manyira ddala nti ezzadde lyo baliba batambuze mu nsi eteri yaabwe, era baliba baddu eyo, balibonyaabonyezebwa eyo okumala emyaka ebikumi bina. |
379 | GEN 15:18 | Ku lunaku olwo Mukama n’akola endagaano ne Ibulaamu ng’agamba nti, “Ezadde lyo ndiwa ensi eno, okuva ku mugga ogw’e Misiri okutuuka ku mugga omunene, omugga Fulaati: |
383 | GEN 16:1 | Salaayi mukyala wa Ibulaamu yali teyamuzaalira mwana; |
384 | GEN 16:2 | Salaayi n’agamba Ibulaamu nti, “Laba Mukama tampadde mwana; weebake n’omuweereza wange, oboolyawo nnyinza okufuna abaana mu ye.” Awo Ibulaamu n’awulira eddoboozi lya Salaayi. |
385 | GEN 16:3 | Bw’atyo Ibulaamu bwe yali yaakamala emyaka kkumi mu nsi ya Kanani, Salaayi mukazi we n’addira Agali Omumisiri, omuweereza we n’amuwa Ibulaamu abeere mukazi we. |
386 | GEN 16:4 | Ibulaamu ne yeegatta ne Agali, Agali n’aba olubuto. Agali bwe yalaba ng’ali lubuto, n’anyooma Salaayi, mugole we. |
387 | GEN 16:5 | Salaayi n’agamba Ibulaamu nti, “Ekibi ekinkoleddwako kibeere ku ggwe. Nakuwa omuweereza wange mu kifuba kyo naye bw’alabye ng’ali lubuto n’annyooma. Mukama atulamule nze naawe!” |
388 | GEN 16:6 | Naye Ibulaamu n’agamba Salaayi nti, “Laba, omuweereza wo ali mu buyinza bwo; mukole nga bw’oyagala.” Awo Salaayi natandika okubonyaabonya Agali; Agali n’adduka okuva w’ali. |
393 | GEN 16:11 | Ate malayika wa Mukama n’amugamba nti, “Laba, olina omwana mu nda yo, aliba wabulenzi, olimutuuma Isimayiri, kubanga Mukama ategedde okubonaabona kwo. |
397 | GEN 16:15 | Awo Agali n’azaalira Ibulaamu omwana owoobulenzi, Ibulaamu n’atuuma mutabani wa Agali gwe yamuzaalira, erinnya Isimayiri. |
398 | GEN 16:16 | Ibulaamu yali wa myaka kinaana mu mukaaga Agali bwe yamuzaalira Isimayiri. |
399 | GEN 17:1 | Ibulaamu bwe yaweza emyaka kyenda mu mwenda, Mukama n’amulabikira, n’amugamba nti, “Ndi Katonda Ayinzabyonna, tambulira mu maaso gange obe nga toliiko kya kunenyezebwa. |
401 | GEN 17:3 | Awo Ibulaamu n’avuunama; Katonda n’amugamba nti, |
403 | GEN 17:5 | Erinnya lyo tokyayitibwa Ibulaamu, wabula onooyitibwanga Ibulayimu, kubanga nkufudde kitaawe w’amawanga mangi. |
407 | GEN 17:9 | Awo Katonda n’agamba Ibulayimu nti, “Ggwe ky’olina okukola kwe kukwata endagaano yange, ggwe n’ezzadde lyo eririddawo emirembe gyabwe gyonna. |
413 | GEN 17:15 | Katonda n’agamba Ibulayimu nti, “Era Salaayi mukazi wo, tokyamuyita Salaayi, erinnya lye linaabanga Saala. |
415 | GEN 17:17 | Awo Ibulayimu n’avuunama n’aseka, n’agamba munda ye nti, “Omwana alizaalirwa oyo eyaakamala emyaka ekikumi? Saala ow’emyaka ekyenda alizaala omwana?” |
416 | GEN 17:18 | Ibulayimu n’agamba Katonda nti, “Isimayiri abeerenga mulamu mu maaso go!” |
417 | GEN 17:19 | Katonda n’amugamba nti, “Nedda, naye Saala mukazi wo alikuzaalira omwana owoobulenzi, olimutuuma erinnya Isaaka. Ndinyweza endagaano yange naye okuba endagaano etaliggwaawo ku zadde lye eririddawo. |
418 | GEN 17:20 | Ku Isimayiri nkuwulidde: Laba, ndimuwa omukisa, alyeyongera, ndimwaliza ddala nnyo, aliba jjajja w’abalangira kkumi na babiri, era ndimufuula eggwanga ery’amaanyi. |
419 | GEN 17:21 | Kyokka ndinyweza endagaano yange ne Isaaka, Saala gw’alikuzaalira mu kiseera nga kino omwaka ogujja.” |
420 | GEN 17:22 | Katonda bwe yamala okwogera naye, Ibulayimu n’ava we yali. |
421 | GEN 17:23 | Awo Ibulayimu n’atwala Isimayiri mutabani we n’abaddu bonna abaazaalirwa mu nnyumba ye n’abo abaagulibwa n’ensimbi ze, buli musajja yenna mu nnyumba ya Ibulayimu n’akomolwa buli omu ekikuta ky’omubiri gwe ku lunaku olwo lwennyini, nga Katonda bwe yamugamba. |
422 | GEN 17:24 | Ibulayimu yali aweza emyaka kyenda mu mwenda bwe yakomolebwa ekikuta ky’omubiri gwe. |
423 | GEN 17:25 | Ne Isimayiri mutabani we yali wa myaka kkumi n’esatu bwe yakomolebwa ekikuta ky’omubiri gwe. |
424 | GEN 17:26 | Ku lunaku olwo lwennyini Ibulayimu ne mutabani we Isimayiri lwe baakomolebwa. |
426 | GEN 18:1 | Awo Mukama n’alabikira Ibulayimu mu mivule gya Mamule, mu ttuntu ng’atudde mu mulyango gwa weema ye. |
431 | GEN 18:6 | Ibulayimu n’ayanguwa okugenda eri Saala, n’amugamba nti, “Teekateeka mangu kilo kkumi na mukaaga ez’obutta okande ofumbire mangu abagenyi emmere.” |
432 | GEN 18:7 | Ibulayimu n’agenda bunnambiro mu kisibo n’aggyamu ennyana, ento era ennungi n’agiwa omu ku bavubuka eyayanguwa okugifumba. |
436 | GEN 18:11 | Mu kiseera kino Ibulayimu ne Saala baali bakaddiye nnyo nga Saala takyali na mu nsonga z’abakazi. |
438 | GEN 18:13 | Mukama n’abuuza Ibulayimu nti, “Lwaki Saala asese ng’agamba nti, ‘Ndiyinza okuzaala omwana nga nkaddiye?’ |
441 | GEN 18:16 | Awo abasajja bwe bavaayo ne bagenda, ne boolekera oluuyi lwa Sodomu; Ibulayimu n’abawerekerako. |
442 | GEN 18:17 | Mukama n’agamba mu mutima gwe nti, “Ibulayimu namukweka kye ŋŋenda okukola? |
443 | GEN 18:18 | Ibulayimu agenda kufuuka eggwanga eddene, ery’amaanyi, era mu ye, amawanga gonna mwe galiweerwa omukisa. |
444 | GEN 18:19 | Mmulonze alagire abaana be n’abantu be abaliddawo okukwatanga ekkubo lya Mukama nga bakola eby’obutuukirivu era nga ba mazima, Mukama alyoke atuukirize ekyo kye yasuubiza Ibulayimu.” |
447 | GEN 18:22 | Awo abasajja ne bakyuka okuva awo, ne batambula okwolekera Sodomu; naye Ibulayimu n’asigala ng’akyayimiridde mu maaso ga Mukama. |
448 | GEN 18:23 | Awo Ibulayimu n’amusemberera n’agamba nti, “Ddala olizikiriza abatuukirivu awamu n’ababi? |
452 | GEN 18:27 | Ibulayimu n’addamu nti, “Laba nnyinziza okwogera ne Mukama, nze ani, nze enfuufu n’evvu! |
454 | GEN 18:29 | Ate Ibulayimu n’amugamba nti, “Singa musangibwamu amakumi ana.” N’amuddamu nti, “Ku lw’amakumi ana sijja kukizikiriza.” |
458 | GEN 18:33 | Mukama bwe yamala okwogera ne Ibulayimu n’agenda, ne Ibulayimu n’addayo ewuwe. |
485 | GEN 19:27 | Awo ku makya ennyo Ibulayimu n’agenda mu kifo mwe yayimiririra mu maaso ga Mukama; |
487 | GEN 19:29 | Bwe kityo bwe kyali Katonda bwe yazikiriza ebibuga eby’omu kiwonvu. Katonda n’ajjukira Ibulayimu n’afulumya Lutti ebweru n’amuggya wakati mu kuzikirizibwa, bwe yazikiriza ebibuga Lutti mwe yabeeranga. |
497 | GEN 20:1 | Ibulayimu bwe yava eyo n’atambula okwolekera Negevu, n’abeera wakati wa Kadesi ne Ssuuli; n’agenda mu Gerali. |
498 | GEN 20:2 | Ibulayimu n’ayogera ku Saala mukazi we nti, “Mwannyinaze.” Abimereki kabaka we Gerali n’atumya n’atwala Saala. |
505 | GEN 20:9 | Awo Abimereki n’ayita Ibulayimu n’amugamba nti, “Otukoze ki? Era nsobi ki gye nkukoze, n’ondeetera nze n’obwakabaka bwange ekibi ekinene ekyenkana awo? By’onkoze tebisaana kukolebwa muntu.” |
506 | GEN 20:10 | Era Abimereki n’agamba Ibulayimu nti, “Wali olowooza ki okukola ekintu kino?” |
507 | GEN 20:11 | Ibulayimu n’addamu nti, “Nakikola kubanga nalowooza nti mu kifo kino temuliimu kutya Katonda n’akamu, era balinzita olwa mukazi wange. |
510 | GEN 20:14 | Awo Abimereki n’atwala endiga n’ente, abaweereza abasajja n’abaweereza abakazi, n’abiwa Ibulayimu, n’amuddiza Saala mukyala we. |
513 | GEN 20:17 | Awo Ibulayimu n’asabira Abimereki eri Katonda, ne Katonda n’awonya Abimereki era n’awonya ne mukazi we; n’abaweereza be abakazi ne balyoka bazaala abaana. |
514 | GEN 20:18 | Kubanga Mukama yali aggalidde embuto z’ab’omu nnyumba y’Abimereki olwa Saala mukazi wa Ibulayimu. |
515 | GEN 21:1 | Awo Mukama n’akwatirwa Saala ekisa nga bwe yagamba Ibulayimu, era n’akolera Saala kye yasuubiza. |