49 | GEN 2:18 | Mukama Katonda n’ayogera nti, “Si kirungi omuntu okuba yekka, nnaamukolera omubeezi amusaanira.” |
89 | GEN 4:9 | Awo Mukama n’abuuza Kayini nti, “Muganda wo Aberi ali ludda wa?” N’amuddamu nti, “Ssimanyi; nze mukuumi wa muganda wange?” |
105 | GEN 4:25 | Awo Adamu n’amanya mukazi we, n’azaala omwana wabulenzi n’amutuuma Seezi, kubanga yayogera nti, “Katonda ampadde omwana omulala mu kifo kya Aberi, Kayini gwe yatta.” |
106 | GEN 4:26 | Seezi n’azaala omwana owoobulenzi n’amutuuma Enosi. Mu kiseera ekyo abantu ne batandika okukoowoola erinnya lya Mukama. |
109 | GEN 5:3 | Adamu bwe yaweza emyaka kikumi mu asatu, n’azaala omwana owoobulenzi amufaanana, mu kifaananyi kye, n’amutuuma Seezi. |
110 | GEN 5:4 | Seezi bwe yamala okuzaalibwa, Adamu n’amala emyaka lunaana, n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala. |
112 | GEN 5:6 | Seezi bwe yaweza emyaka kikumi mu etaano n’azaala Enosi. |
113 | GEN 5:7 | Seezi bwe yamala okuzaala Enosi n’awangaala emyaka emirala lunaana mu musanvu n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala. |
114 | GEN 5:8 | Bwe gityo emyaka gyonna egya Seezi ne giba lwenda mu kkumi n’ebiri n’alyoka afa. |
138 | GEN 5:32 | Nuuwa bwe yaweza emyaka ebikumi bitaano n’azaala Seemu, ne Kaamu ne Yafeesi. |
148 | GEN 6:10 | Nuuwa yalina batabani be basatu: Seemu ne Kaamu ne Yafeesi. |
173 | GEN 7:13 | Ku lunaku olwo lwennyini Nuuwa ne mukazi ne batabani be, Seemu, ne Kaamu ne Yafeesi, ne bakazi baabwe bonsatule, ne bayingira mu lyato. |
205 | GEN 8:21 | Mukama n’awulira akawoowo akalungi akamusanyusa, n’ayogera mu mutima gwe nti, “Sikyaddayo kukolimira nsi olw’omuntu, newaakubadde ng’endowooza y’omutima gwe mbi okuva mu buto bwe. Sikyaddayo na kuzikiriza bitonde byonna ebiramu, nga bwe nkoze. |
224 | GEN 9:18 | Batabani ba Nuuwa abaava mu lyato ye Seemu, ne Kaamu ne Yafeesi. Kaamu ye yali kitaawe wa Kanani. |
232 | GEN 9:26 | Era n’agamba nti, “Mukama Katonda wange, awe Seemu omukisa, Kanani abeere muddu we.” |
233 | GEN 9:27 | Katonda yaza Yafeesi, abeere mu weema za Seemu, Kanani abeere muddu we. |
236 | GEN 10:1 | Bano be bazzukulu ba Nuuwa, Seemu ne Kaamu, ne Yafeesi be baazaala oluvannyuma lw’amataba. |
242 | GEN 10:7 | Batabani ba Kuusi be bano: Seeba, ne Kavira, ne Sabuta, ne Laama ne Sebuteka. Batabani ba Laama baali: Seeba ne Dedani. |
245 | GEN 10:10 | Obwakabaka bwe bwatandikira Baberi, ne Eneki ne Akudi ne Kalune, nga byonna bya mu nsi Sinali. |
250 | GEN 10:15 | Kanani ye yazaala Sidoni, omwana we omubereberye, ne Keesi, |
254 | GEN 10:19 | Ekitundu kya Kanani kyava ku Sidoni, okwolekera Gerali n’okutuukira ddala e Gaza okwolekera Sodomu, ne Ggomola, ne Aduma, ne Zeboyimu okutuukira ddala e Lasa. |
256 | GEN 10:21 | Seemu kitaawe w’abo bonna abaava mu Eberi, mukulu wa Yafeesi naye yazaalirwa abaana. |
257 | GEN 10:22 | Abaana ba Seemu be bano: Eramu, ne Asuli, ne Alupakusaadi, ne Ludi ne Alamu. |
259 | GEN 10:24 | Alupakusaadi ye kitaawe wa Seera. Seera ye kitaawe wa Eberi. |
261 | GEN 10:26 | Yokutaani ye yali kitaawe wa Alumodaadi, ne Serefu, ne Kazalumaveesi, ne Yera, |
263 | GEN 10:28 | ne Obali, ne Abimayeeri, ne Seeba, |
265 | GEN 10:30 | Ekitundu mwe baali kyava ku Mesa okwolekera Serali, okutuukira ddala ku kitundu eky’ensozi ku luuyi olw’ebuvanjuba. |
266 | GEN 10:31 | Abo be bazzukulu ba Seemu, mu nnyumba zaabwe, ne mu nnimi zaabwe, ne mu bitundu byabwe ne mu mawanga gaabwe. |
269 | GEN 11:2 | Abantu bwe baava oluuyi olw’ebuvanjuba ne batuuka mu lusenyi nsi ya Sinaali ne babeera omwo. |
277 | GEN 11:10 | Bino bye bifa ku b’olulyo lwa Seemu: Seemu bwe yali ng’aweza emyaka kikumi, n’azaala Alupakusaadi nga wakayita emyaka ebiri okuva ku mataba. |
278 | GEN 11:11 | Seemu n’amala emyaka ebikumi bitaano nga Alupakusaadi amaze okusaalibwa. N’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala. |
279 | GEN 11:12 | Alupakusaadi bwe yaweza emyaka asatu mu etaano n’azaala Seera, |
280 | GEN 11:13 | Alupakusaadi bwe yamala okuzaala Seera n’awangaala emyaka emirala ebikumi bina mu esatu, omwo n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala. |
281 | GEN 11:14 | Seera bwe yaweza emyaka amakumi asatu n’azaala Eberi, |
282 | GEN 11:15 | ate Seera n’aweza emyaka emirala ebikumi bina mu asatu ng’amaze okuzaala Eberi, era omwo n’azaaliramu abaana abalala aboobulenzi n’aboobuwala. |
287 | GEN 11:20 | Leewo bwe yaweza emyaka amakumi asatu mu ebiri n’azaala Serugi. |
289 | GEN 11:22 | Serugi bwe yaweza emyaka amakumi asatu n’azaala Nakoli, |
296 | GEN 11:29 | Ibulaamu ne Nakoli ne bawasa; erinnya lya mukazi wa Ibulaamu lyali Salaayi, ate mukazi wa Nakoli nga ye Mirika, muwala wa Kalani, kitaawe wa Mirika ne Isika. |
297 | GEN 11:30 | Salaayi yali mugumba, teyalina mwana. |
298 | GEN 11:31 | Teera n’atwala Ibulaamu mutabani we Lutti muzzukulu we mutabani wa Kalani, ne Salaayi muka mutabani we Ibulaamu, ne bagenda bonna okuva mu Uli eky’Abakaludaaya okugenda mu nsi ya Kalani; bwe baatuuka mu Kalani, ne babeera omwo. |
304 | GEN 12:5 | Ibulaamu n’atwala Salaayi mukazi we, ne Lutti mutabani wa muganda we ne byonna bye baalina bye baali bafunye, n’abantu baabwe be baafunira mu Kalani, ne basitula okugenda mu Kanani. Ne batuuka mu nsi ya Kanani. |
305 | GEN 12:6 | Ibulaamu n’ayita mu nsi n’atuuka mu kifo ekiyitibwa Sekemu awali emivule gya Mole. Mu biro ebyo Abakanani be baali mu nsi omwo. |
310 | GEN 12:11 | Bwe yali anaatera okuyingira mu Misiri, n’agamba Salaayi mukazi we nti, “Mmanyi ng’oli mukazi mulungi era mubalagavu, |
313 | GEN 12:14 | Ibulaamu bwe yayingira mu Misiri, Abamisiri ne balaba Salaayi nga mukazi mulungi nnyo. |
315 | GEN 12:16 | Ku lwa Salaayi, Falaawo n’ayisa bulungi Ibulaamu. Ibulaamu n’aweebwa endiga, n’ente, n’endogoyi, n’abaweereza abasajja, n’abaweereza abakazi, n’endogoyi enkazi, n’eŋŋamira. |
316 | GEN 12:17 | Naye Mukama n’aleetera Falaawo n’ennyumba ye endwadde enkambwe olwa Salaayi mukazi wa Ibulaamu. |
329 | GEN 13:10 | Lutti n’ayimusa amaaso ge, n’alaba ekiwonvu kya Yoludaani nga kirungi, nga kirimu amazzi buli wantu nga kifaanana ng’ennimiro ya Mukama; nga kiri ng’ensi ya Misiri ku luuyi olwa Zowaali. Kino kyaliwo nga Mukama tannazikkiriza Sodomu ne Ggomola. |
331 | GEN 13:12 | Ibulaamu n’abeera mu nsi ya Kanani, ye Lutti n’abeera mu bibuga eby’omu lusenyi n’atwala eweema ye n’agisimba okumpi ne Sodomu. |
332 | GEN 13:13 | Abasajja aba Sodomu baali babi era nga boonoonyi nnyo eri Mukama. |
336 | GEN 13:17 | Situka, tambula obuwanvu n’obukiika obw’ensi kubanga ngikuwadde.” |
338 | GEN 14:1 | Mu biro bya Amulafeeri kabaka wa Sinaali, ne Aliyooki kabaka wa Erasali, ne Kedolawomeeri kabaka wa Eramu ne Tidali kabaka wa Goyiyimu, |
339 | GEN 14:2 | bakabaka bano ne balumba ne balwana ne Bbeera kabaka wa Sodomu, ne Bbiruusa kabaka wa Ggomola, ne Sinaabu kabaka wa Aduma, ne Semebeeri kabaka wa Zeboyiyimu ne kabaka wa Bera, ye Zowaali. |
340 | GEN 14:3 | Bano bonna abooluvannyuma ne beegatta wamu mu kiwonvu kya Sidimu (y’Ennyanja ey’Omunnyo). |
342 | GEN 14:5 | Mu mwaka ogw’ekkumi n’ena Kedolawomeeri ne bakabaka abaali naye ne balumba Abaleefa mu Asuterosikalumayimu ne babawangula, n’Abazuuzi mu Kaamu, n’Abemi mu Savekiriyasayimu, |
343 | GEN 14:6 | n’Abakooli mu nsi ey’ensozi eya Seyiri n’okutuukira ddala Erupalaani okumpi n’eddungu. |
345 | GEN 14:8 | Awo kabaka wa Sodomu ne kabaka wa Ggomola, ne kabaka wa Aduma, ne kabaka wa Zeboyiyimu ne kabaka wa Bera, ye Zowaali ne beegatta mu lutalo mu kiwonvu ky’e Sidimu |
346 | GEN 14:9 | okulwanyisa Kedolawomeeri kabaka wa Eramu, ne Tidali kabaka wa Goyiyimu ne Amulafeeri kabaka wa Sinaali awamu ne Aliyooki kabaka wa Erasali, bakabaka bana nga balwanyisa bakabaka bataano. |
347 | GEN 14:10 | Ekiwonvu ky’e Sidimu kyali kijjudde ebinnya ebirimu kolaasi; bakabaka b’e Sodomu ne Ggomola bwe baddukanga ng’abamu babigwamu, n’abalala ne baddukira ku nsozi. |
348 | GEN 14:11 | Awo bakabaka abana ne batwala ebintu byonna ebyali mu Sodomu ne Ggomola, n’emmere yaabwe yonna gye baalina ne bagenda. |
349 | GEN 14:12 | Era ne batwala ne Lutti, mutabani wa muganda wa Ibulaamu eyali mu Sodomu, n’ebintu bye ne bagenda nabyo kubanga naye yali abeera mu Sodomu. |
354 | GEN 14:17 | Ibulaamu bwe yakomawo ng’amaze okuwangula Kedolawomeeri ne bakabaka abaali naye, kabaka wa Sodomu n’afuluma okumusisinkana mu kiwonvu ky’e Save (kye kiwonvu kya kabaka). |
355 | GEN 14:18 | Ne Merukizeddeeki kabaka wa Ssaalemi eyali kabona wa Katonda Ali Waggulu Ennyo n’aleeta omugaati n’envinnyo. |
358 | GEN 14:21 | Ne kabaka wa Sodomu n’agamba Ibulaamu nti, “Mpa abantu, gwe otwale ebintu.” |
359 | GEN 14:22 | Naye Ibulaamu n’addamu kabaka wa Sodomu nti, “Ndayira Mukama Katonda Ali Waggulu Ennyo, Omutonzi w’eggulu n’ensi, |
361 | GEN 14:24 | Sijja kubaako kye ntwala; okuggyako ebyo abavubuka bye balidde, n’omugabo gw’abasajja abaagenda nange; leka Aneri ne Esukoli ne Mamule bo batwale omugabo gwabwe.” |
383 | GEN 16:1 | Salaayi mukyala wa Ibulaamu yali teyamuzaalira mwana; |
384 | GEN 16:2 | Salaayi n’agamba Ibulaamu nti, “Laba Mukama tampadde mwana; weebake n’omuweereza wange, oboolyawo nnyinza okufuna abaana mu ye.” Awo Ibulaamu n’awulira eddoboozi lya Salaayi. |
385 | GEN 16:3 | Bw’atyo Ibulaamu bwe yali yaakamala emyaka kkumi mu nsi ya Kanani, Salaayi mukazi we n’addira Agali Omumisiri, omuweereza we n’amuwa Ibulaamu abeere mukazi we. |
386 | GEN 16:4 | Ibulaamu ne yeegatta ne Agali, Agali n’aba olubuto. Agali bwe yalaba ng’ali lubuto, n’anyooma Salaayi, mugole we. |
387 | GEN 16:5 | Salaayi n’agamba Ibulaamu nti, “Ekibi ekinkoleddwako kibeere ku ggwe. Nakuwa omuweereza wange mu kifuba kyo naye bw’alabye ng’ali lubuto n’annyooma. Mukama atulamule nze naawe!” |
388 | GEN 16:6 | Naye Ibulaamu n’agamba Salaayi nti, “Laba, omuweereza wo ali mu buyinza bwo; mukole nga bw’oyagala.” Awo Salaayi natandika okubonyaabonya Agali; Agali n’adduka okuva w’ali. |
389 | GEN 16:7 | Malayika wa Mukama n’amusanga ku nsulo y’amazzi mu ddungu, ensulo y’amazzi eri ku kkubo eriraga e Ssuuli. |
390 | GEN 16:8 | N’agamba nti, “Agali, omuweereza wa Salaayi, ovudde wa era ogenda wa?” N’amuddamu nti, “Nziruka mugole wange Salaayi.” |
413 | GEN 17:15 | Katonda n’agamba Ibulayimu nti, “Era Salaayi mukazi wo, tokyamuyita Salaayi, erinnya lye linaabanga Saala. |
415 | GEN 17:17 | Awo Ibulayimu n’avuunama n’aseka, n’agamba munda ye nti, “Omwana alizaalirwa oyo eyaakamala emyaka ekikumi? Saala ow’emyaka ekyenda alizaala omwana?” |
417 | GEN 17:19 | Katonda n’amugamba nti, “Nedda, naye Saala mukazi wo alikuzaalira omwana owoobulenzi, olimutuuma erinnya Isaaka. Ndinyweza endagaano yange naye okuba endagaano etaliggwaawo ku zadde lye eririddawo. |
419 | GEN 17:21 | Kyokka ndinyweza endagaano yange ne Isaaka, Saala gw’alikuzaalira mu kiseera nga kino omwaka ogujja.” |
431 | GEN 18:6 | Ibulayimu n’ayanguwa okugenda eri Saala, n’amugamba nti, “Teekateeka mangu kilo kkumi na mukaaga ez’obutta okande ofumbire mangu abagenyi emmere.” |
434 | GEN 18:9 | Ne bamubuuza nti, “Saala mukyala wo ali ludda wa?” N’addamu nti, “Ali mu weema.” |
435 | GEN 18:10 | Awo omu ku bo n’amugamba nti, “Ddala ndikomawo gy’oli mu kiseera nga kino, era Saala mukazi wo alizaala omwana owoobulenzi.” Ne Saala yali awuliriza ng’ali mu mulyango gwa weema emabega we. |
436 | GEN 18:11 | Mu kiseera kino Ibulayimu ne Saala baali bakaddiye nnyo nga Saala takyali na mu nsonga z’abakazi. |
437 | GEN 18:12 | Awo Saala n’asekera muli ng’agamba nti, “Nga nkaddiye, nga ne baze akaddiye, ndisanyusibwa?” |
438 | GEN 18:13 | Mukama n’abuuza Ibulayimu nti, “Lwaki Saala asese ng’agamba nti, ‘Ndiyinza okuzaala omwana nga nkaddiye?’ |
439 | GEN 18:14 | Waliwo ekirema Mukama? Omwaka ogujja, mu kiseera kyennyini, ndikomawo gy’oli, ne Saala alizaala omwana owoobulenzi.” |
440 | GEN 18:15 | Naye Saala ne yeegaana ng’agamba nti, “Si sese,” kubanga yali atidde. N’amuddamu nti, “Nedda osese.” |
441 | GEN 18:16 | Awo abasajja bwe bavaayo ne bagenda, ne boolekera oluuyi lwa Sodomu; Ibulayimu n’abawerekerako. |
445 | GEN 18:20 | Awo Mukama n’agamba nti, “Olw’okunkaabirira okusukkiridde olw’ebibi bya Sodomu ne Ggomola ebingi ennyo, |
447 | GEN 18:22 | Awo abasajja ne bakyuka okuva awo, ne batambula okwolekera Sodomu; naye Ibulayimu n’asigala ng’akyayimiridde mu maaso ga Mukama. |
449 | GEN 18:24 | Singa mu kibuga mulimu abatuukirivu amakumi ataano onookizikiriza n’otokisonyiwa olw’abatuukirivu amakumi ataano abakirimu? |
451 | GEN 18:26 | Mukama n’agamba nti, “Bwe nnaasanga mu Sodomu abatuukirivu amakumi ataano mu kibuga omwo nzija kusonyiwa ekibuga kyonna ku lwabwe.” |