26 | GEN 1:26 | Awo Katonda n’agamba nti, “Tukole omuntu mu kifaananyi kyaffe mu ngeri yaffe. Bafugenga ebyennyanja eby’omu nnyanja, n’ebinyonyi eby’omu bbanga, n’ensolo zonna, n’ensi yonna, era bafugenga na buli ekyewalulira ku nsi kyonna.” |
36 | GEN 2:5 | Tewaaliwo muddo gwonna ku nsi wadde ekimera kyonna, kubanga Mukama Katonda yali tannatonnyesa nkuba ku nsi era nga tewali muntu ow’okulima ettaka. |
45 | GEN 2:14 | N’erinnya ly’ogwokusatu ye Tigiriisi ogukulukutira ku buvanjuba bwa Bwasuli. Ogwokuna ye Fulaati. |
57 | GEN 3:1 | Kale nno omusota gwali mukalabakalaba okukira ensolo zonna ez’omu nsiko, Mukama Katonda ze yatonda. Ne gugamba omukazi nti, “Kazzi Katonda yagamba nti, ‘Temulyanga ku muti gwonna ogw’omu nnimiro!’ ” |
58 | GEN 3:2 | Omukazi n’addamu omusota nti, “Tulya ku buli muti ogw’omu nnimiro, |
59 | GEN 3:3 | kyokka Katonda yatulagira nti, ‘Temulyanga ku kibala ky’omuti oguli wakati mu nnimiro, wadde okugukwatako, muleme okufa.’ ” |
60 | GEN 3:4 | Naye omusota ne gugamba omukazi nti, “Temugenda kufa. |
88 | GEN 4:8 | Kayini n’agamba Aberi muganda we nti, “Tulageko mu nnimiro.” Bwe baali nga bali mu nnimiro Kayini n’agolokokera ku muganda we Aberi, n’amutta. |
102 | GEN 4:22 | Zira n’azaala Tubalukayini omuweesi w’eby’ekikomo n’eby’ekyuma. Ne mwannyina wa Tubalukayini nga ye Naama. |
162 | GEN 7:2 | Twala ku buli nsolo ennongoofu musanvu musanvu ensajja n’enkazi, |
237 | GEN 10:2 | Batabani ba Yafeesi: Gomeri, ne Magogi, ne Madayi, ne Yivani, ne Tubali ne Meseki ne Tirasi. |
238 | GEN 10:3 | Batabani ba Gomeri be bano: Asukenaazi, ne Lifasi, ne Togaluma. |
239 | GEN 10:4 | Batabani ba Yivani baali: Erisa, ne Talusiisi, ne Kittimu ne Dodanimu. |
291 | GEN 11:24 | Nakoli bwe yaweza emyaka amakumi abiri mu mwenda n’azaala Teera. |
292 | GEN 11:25 | Bwe yamala okuzaala Teera n’awangaala emyaka emirala kikumi mu kkumi na mwenda, era omwo n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala. |
293 | GEN 11:26 | Teera bwe yaweza emyaka nsanvu, n’azaala Ibulaamu, ne Nakoli ne Kalani. |
294 | GEN 11:27 | Bino bye bifa ku b’olulyo lwa Teera: Teera ye kitaawe wa Ibulaamu, ne Nakoli ne Kalani; Kalani ye yali kitaawe wa Lutti. |
295 | GEN 11:28 | Kalani yafa nga kitaawe Teera tannafa. Yafiira mu Uli ey’Abakaludaaya mwe yazaalirwa. |
298 | GEN 11:31 | Teera n’atwala Ibulaamu mutabani we Lutti muzzukulu we mutabani wa Kalani, ne Salaayi muka mutabani we Ibulaamu, ne bagenda bonna okuva mu Uli eky’Abakaludaaya okugenda mu nsi ya Kalani; bwe baatuuka mu Kalani, ne babeera omwo. |
299 | GEN 11:32 | Emyaka gya Teera gyali ebikumi bibiri mu etaano; Teera n’afiira mu Kalani. |
327 | GEN 13:8 | Awo Ibulaamu n’agamba Lutti nti, “Tewasaana kubaawo kuyombagana wakati wange naawe, wadde wakati w’abalunzi bo n’abange, kubanga tuli baaluganda. |
338 | GEN 14:1 | Mu biro bya Amulafeeri kabaka wa Sinaali, ne Aliyooki kabaka wa Erasali, ne Kedolawomeeri kabaka wa Eramu ne Tidali kabaka wa Goyiyimu, |
346 | GEN 14:9 | okulwanyisa Kedolawomeeri kabaka wa Eramu, ne Tidali kabaka wa Goyiyimu ne Amulafeeri kabaka wa Sinaali awamu ne Aliyooki kabaka wa Erasali, bakabaka bana nga balwanyisa bakabaka bataano. |
362 | GEN 15:1 | Ebyo nga biwedde, ekigambo kya Mukama ne kijjira Ibulaamu mu kwolesebwa nti, “Totya Ibulaamu, Nze ngabo yo era empeera yo ennene ennyo.” |
366 | GEN 15:5 | N’amufulumya ebweru n’amugamba nti, “Tunuulira eggulu, obale emunyeenye, obanga osobola okuzibala.” Awo n’amugamba nti, “N’ezzadde lyo bwe liriba bwe lityo.” |
431 | GEN 18:6 | Ibulayimu n’ayanguwa okugenda eri Saala, n’amugamba nti, “Teekateeka mangu kilo kkumi na mukaaga ez’obutta okande ofumbire mangu abagenyi emmere.” |
467 | GEN 19:9 | Naye ne bamugamba nti, “Tuviire! Omusajja omugwira ono, ate kati y’atulagira eky’okukola! Nedda, tujja kukukolako n’okusinga abagenyi bo.” Awo ne banyigiriza nnyo Lutti, era kaabula kata bamenye n’oluggi. |
526 | GEN 21:12 | Katonda n’agamba Ibulayimu nti, “Tonakuwala olw’omulenzi n’olw’omuweereza wo omukazi, buli Saala ky’akugamba kikole; kubanga mu Isaaka mwe ndituukiririza ebyo byonna bye nakusuubiza. |
531 | GEN 21:17 | Katonda n’awulira eddoboozi ly’omulenzi ng’akaaba, malayika wa Katonda n’ayita Agali ng’asinziira mu ggulu n’amugamba nti, “Kiki ekikuteganya? Totya, kubanga Katonda awulidde eddoboozi ly’omulenzi w’ali. |
550 | GEN 22:2 | Katonda n’amugamba nti, “Twala mutabani wo, mutabani wo omu yekka, Isaaka, gw’oyagala, ogende mu nsi Moliya ku lumu ku nsozi lwe ndikulaga omuweereyo eyo okuba ekiweebwayo ekyokebwa.” |
555 | GEN 22:7 | Isaaka n’agamba Ibulayimu nti, “Taata.” Ibulayimu n’amuddamu nti, “Nzuuno mwana wange.” Isaaka n’amubuuza nti, “Laba, omuliro n’enku biibino, naye omwana gw’endiga ogw’ekiweebwayo ekyokebwa guluwa?” |
560 | GEN 22:12 | “Togolola mukono gwo ku mulenzi so tomukola kintu na kimu, kubanga kaakano ntegedde nti otya Katonda, ndabye nti omwana wo tomunnyimye, omwana wo omu yekka bw’ati.” |
572 | GEN 22:24 | Ate ne mukazi we omulala Lewuma n’azaalira Nakoli, abaana aboobulenzi era be bano: Teba, ne Gakamu, ne Takasi, ne Maaka. |
578 | GEN 23:6 | “Tuwulirize mukama waffe. Laba, oli muntu mukulu wakati mu ffe. Ziika mukazi wo mu emu ku ntaana zaffe gy’oneeroboza. Tewali n’omu mu ffe anaakuuma ntaana ye, oba okukuziyiza okuziika omuntu wo.” |
587 | GEN 23:15 | “Mpuliriza mukama wange, ennimiro esaana ebitundu by’effeeza ebikumi bina. Kale ekyo ki eri ab’omukwano? Twala ennimiro oziikemu abafu bo.” |
594 | GEN 24:2 | Awo Ibulayimu n’agamba omuddu asinga obukulu mu nnyumba ye, eyali afuga byonna Ibulayimu bye yalina nti, “Teeka omukono gwo wansi w’ekisambi kyange |
598 | GEN 24:6 | Ibulayimu n’addamu nti, “Togezanga n’ozzaayo mutabani wange. |
617 | GEN 24:25 | N’ayongerako nti, “Tulina omuddo omukalu n’emmere endala ebimala, era n’ekisenge eky’okusulamu tukirina.” |
629 | GEN 24:37 | Mukama wange yandayiza n’aŋŋamba nti, ‘Towasizanga mutabani wange mukazi ava mu Bakanani ba nnyini nsi mwe mbeera. |
648 | GEN 24:56 | Ye n’abaddamu nti, “Temundwisa, kubanga Mukama awadde olugendo lwange omukisa.” |
674 | GEN 25:15 | ne Kadadi, ne Teema, ne Yetuli, ne Nafisi ne Kedema. |
695 | GEN 26:2 | Ne Mukama n’amulabikira, n’amugamba nti, “Toserengeta Misiri, beera mu nsi gye ndikulaga. |
721 | GEN 26:28 | Ne bamuddamu nti, “Tulabidde ddala nga Mukama ali naawe, kyetuva tugamba nti, ‘Wabeewo ekirayiro wakati wo naffe. Era tukole endagaano naawe, |
725 | GEN 26:32 | Ku lunaku olwo lwennyini, abaddu ba Isaaka ne bajja ne bamutegeeza eby’oluzzi lwe baasima, ne bamugamba nti, “Tuzudde amazzi.” |
764 | GEN 27:36 | Esawu n’ayogera nti, “Teyatuumibwa linnya lye Yakobo? Laba, anyingiridde emirundi gino gyombi; yanziggyako eby’obukulu bwange, ate kaakano antutteko n’omukisa gwange.” Kwe kubuuza kitaawe nti, “Tondekeddeewo mukisa n’akatono?” |
766 | GEN 27:38 | Esawu n’abuuza kitaawe nti, “Tolinaawo mukisa na gumu kitange? Nange mpa omukisa, ayi kitange.” Bw’atyo Esawu n’ayimusa eddoboozi lye n’akaaba. |
775 | GEN 28:1 | Awo Isaaka n’ayita Yakobo n’amuwa omukisa, n’amukuutira nti, “Towasanga, wadde omu ku bakazi Abakanani. |
780 | GEN 28:6 | Esawu n’ategeera nga Isaaka awadde Yakobo omukisa, era ng’amusindise e Padanalaamu afuneyo omukazi, era nga bwe yamuwa omukisa yamukuutira nti, “Towasanga ku bakazi Abakanani,” |
800 | GEN 29:4 | Awo Yakobo n’abuuza abasumba nti, “Abooluganda muva wa?” Ne bamuddamu nti, “Tuva Kalani.” |
801 | GEN 29:5 | Kwe kubabuuza nti, “Labbaani mutabani wa Nakoli mumumanyi?” Ne bamuddamu nti, “Tumumanyi.” |
862 | GEN 30:31 | Labbaani kwe ku mubuuza nti, “Nkuwe ki?” Yakobo n’amuddamu nti, “Tojja kubaako ky’ompa, okuggyako okunkolera kino, ndyoke nneeyongere okulunda ekisibo kyo: |
935 | GEN 32:7 | Ababaka bwe baakomawo eri Yakobo ne bamugamba nti, “Twatuuka ewa muganda wo Esawu era ajja okukusisinkana ng’alina abasajja ebikumi bina.” |
957 | GEN 32:29 | Awo n’amugamba nti, “Tokyaddayo kuyitibwa Yakobo. Wabula onooyitibwanga Isirayiri, kubanga omegganye ne Katonda, awamu n’abantu n’owangula.” |
976 | GEN 33:15 | Awo Esawu n’agamba Yakobo nti, “Kale ka ndeke abamu ku basajja abali nange.” Naye Yakobo n’amuddamu nti, “Tekyetaagisa. Kale nsaba ekisa mu maaso ga mukama wange.” |
997 | GEN 34:16 | Tulyoke tubawe bawala baffe, era naffe tuwase bawala bammwe, tubeere mu mmwe tufuuke eggwanga limu. |
1029 | GEN 35:17 | Bwe yali ng’alumwa bw’atyo omuzaalisa n’amugamba nti, “Totya kubanga kaakano onoofuna omwana omulala owoobulenzi.” |
1052 | GEN 36:11 | Batabani ba Erifaazi baali Temani, ne Omali, ne Zefo, ne Gatamu ne Kenazi. |
1053 | GEN 36:12 | Timuna yali mukazi wa Erifaazi, mutabani wa Esawu era yamuzaalira Ameleki. Abo be batabani ba Ada mukazi wa Esawu. |
1056 | GEN 36:15 | Bano be bakulu b’enda ya Esawu: Enda ya Erifaazi omubereberye wa Esawu: Temani, ne Omali, ne Zefo, ne Kenazi, |
1063 | GEN 36:22 | Batabani ba Lotani baali Kooli, ne Kemamu, era Lotani yalina mwannyina nga ye Timuna. |
1081 | GEN 36:40 | Bano be bakulu b’enda zaabo abaava mu Esawu, nga bwe baali mu bifo byabwe: Timuna, ne Aluva, ne Yesesi, |
1083 | GEN 36:42 | ne Kenazi, ne Temani, ne Mibuza, |
1091 | GEN 37:7 | Twali tusiba ebinywa by’eŋŋaano nga tuli mu nnimiro, ekinywa kyange ne kiyimuka ne kiyimirira; laba ebinywa byammwe ne bikyebungulula ne bikivuunamira.” |
1105 | GEN 37:21 | Naye Lewubeeni bwe yakiwulira n’agezaako okumuwonya mu mikono gyabwe n’agamba nti, “Tetumutta. |
1106 | GEN 37:22 | Tuleme kuyiwa musaayi; ka tumusuule mu bunnya buno wano mu nsiko. Temumuteekako mukono gwammwe.” Yayogera bw’atyo alyoke amuwonye mu mikono gyabwe, amuddize kitaawe. |
1111 | GEN 37:27 | Tumuguze Abayisimayiri. Omukono gwaffe guleme okumubaako, kubanga muganda waffe, omubiri gwaffe gwennyini.” Baganda be ne bakkiriziganya naye. |
1116 | GEN 37:32 | Ne baddira ekyambalo ekyo eky’amabala amangi ne bakitwalira kitaabwe ne bamugamba nti, “Twalaba ekyambalo kino, kikebere olabe obanga kye kya mutabani wo.” |
1126 | GEN 38:6 | Era Yuda n’awasiza mutabani we omukulu, Eri, omukazi erinnya lye Tamali. |
1131 | GEN 38:11 | Awo Yuda olw’okutya nti Seera ayinza okufa nga baganda be, n’agamba Tamali nti, “Ogira obeera nnamwandu, ng’oli mu nnyumba ya kitaawo okutuusa Seera lw’alikula.” Tamali kwe kugenda n’abeera mu nnyumba ya kitaawe. |
1132 | GEN 38:12 | Bwe waayitawo ebbanga mukazi wa Yuda, muwala wa Suwa n’afa. Yuda bwe yayita mu kukungubaga, n’agenda ne Kira Omudulamu e Timuna eri basajja be abasazi b’ebyoya by’endiga ze. |
1133 | GEN 38:13 | Tamali bwe kyamubuulirwa nti, “Sezaala wo agenda e Timuna okusala ebyoya by’endiga ze,” |
1134 | GEN 38:14 | n’asuula eri ebyambalo by’obwannamwandu ne yeeteekako ekiremba ne yeebikkirira, n’atuula ku mulyango gwa Enayimu, ekiri ku kkubo ng’ogenda e Timuna. Kubanga yamanya nti, Seera akuze, kyokka nga tamuweereddwa ku muwasa. |
1136 | GEN 38:16 | N’agenda gy’ali ku mabbali g’ekkubo, n’amugamba nti, “Jjangu, neetabe naawe,” kubanga teyamanya nti ye yali muka mutabani we. Tamali kwe ku mubuuza nti, “Onompa ki bwe neetaba naawe?” |
1139 | GEN 38:19 | Tamali n’agolokoka n’agenda, n’aggyako ekiremba n’ayambala ebyambalo by’obwannamwandu bwe. |
1144 | GEN 38:24 | Emyezi ng’esatu bwe gyayitawo ne bagamba Yuda nti, “Muka mwana wo Tamali yafuuka mwenzi. Ate ebyo nga biri awo obwenzi obwo yabufunamu n’olubuto.” Yuda kwe kwejuumuula nga bw’agamba nti, “Mumuleete ayokebwe.” |
1145 | GEN 38:25 | Tamali bwe yali atwalibwa n’atumira sezaala we Yuda n’amugamba nti, “Omusajja nannyini bintu bino ye kazaalabulwa. Nkusaba weetegereze ebintu bino: akabonero, akajegere n’omuggo, by’ani?” |
1181 | GEN 40:8 | Ne bamuddamu nti, “Twaloose ebirooto, naye tewali wa kubivvuunula.” Awo Yusufu n’abagamba nti, “Katonda y’abivvuunula. Kale mbasaba mubimbuulire.” |
1234 | GEN 41:38 | Falaawo n’agamba abaweereza be nti, “Tuyinza okufuna omuntu ng’ono Yusufu omuli Omwoyo wa Katonda?” |
1260 | GEN 42:7 | Yusufu n’abalaba n’abategeera, wabula n’abayisa nga b’atamanyi n’ayogera nabo n’obukambwe. N’ababuuza nti, “Muva wa?” Ne bamuddamu nti, “Tuva mu nsi ya Kanani, tuzze kugula mmere.” |
1284 | GEN 42:31 | Naye ne tumugamba nti, Tuli basajja b’amazima, tetuli bakessi, |
1294 | GEN 43:3 | Naye Yuda n’amuddamu nti, “Omusajja yatukuutirira ddala ng’agamba nti, ‘Temulinyanga ekigere mu maaso gange nga temuzze na muganda wammwe.’ |
1296 | GEN 43:5 | Naye bw’otomukkirize kugenda naffe, tetujja kuserengeta, kubanga omusajja yatugamba nti, ‘Temugenda kulaba maaso gange nga muganda wammwe tali nammwe.’ ” |
1298 | GEN 43:7 | Ne bagamba nti, “Omusajja yatubuuza nnyo ebitufaako awamu n’ebifa ku lulyo lwaffe, ng’abuuza nti, ‘Kitammwe gyali mulamu? Mulina muganda wammwe omulala?’ Kye twamutegeeza nga kiddamu buzzi ebibuuzo bye yatubuuzanga. Tetwamanya ng’anaatugamba okuserengesa muganda waffe.” |
1313 | GEN 43:22 | era tuleese n’endala olw’okugula emmere. Tetumanyi yateeka nsimbi mu nsawo zaffe. |
1340 | GEN 44:15 | Yusufu n’abagamba nti, “Kiki kino kye mukoze? Temumanyi nti omuntu ali nga nze asobola okuvumbula kye mukoze?” |
1341 | GEN 44:16 | Yuda n’addamu nti, “Tunaddamu ki mukama wange? Tunaayogera ki? Oba tuneggyako tutya omusango? Katonda avumbudde obwonoonyi bw’abaddu bo, laba tuli baddu ba mukama wange, ffenna, ffe n’oyo asangiddwa n’ekikopo.” |
1345 | GEN 44:20 | Ne tuddamu mukama wange nti, ‘Tulina kitaffe, musajja mukulu, ne muganda waffe atusinga obuto, omwana gwe yazaala mu bukadde bwe, ne muganda wa muto waffe, yafa; muto waffe yekka y’aliwo, eyasigalawo yekka ku baana ba nnyina; era kitaawe amwagala nnyo.’ |
1347 | GEN 44:22 | Twategeeza mukama wange nti, ‘Omulenzi tayinza kuva ku kitaawe, kubanga bw’amuvaako, kitaawe alifa bufi!’ |
1351 | GEN 44:26 | ne tumuddamu nti, ‘Tetusobola kuserengeta. Muto waffe bw’atagenda naffe tetujja kugenda kubanga tetusobola kulaba maaso ga musajja oli nga muto waffe tali naffe.’ |
1372 | GEN 45:13 | Muteekwa okutegeeza kitange ekitiibwa kye nnina mu Misiri, ne byonna bye mulabye. Temulwa, muserengese kitange wano.” |
1383 | GEN 45:24 | Awo n’asiibula baganda be. Bwe baali bagenda n’abagamba nti, “Temuyombera mu kkubo.” |
1400 | GEN 46:13 | Bo aba Isakaali baali: Tola, ne Puva, ne Yobu ne Simuloni. |
1425 | GEN 47:4 | Tuzze muno kunoonyeza bisibo byaffe muddo, kubanga abaddu bo tuva mu njala mpitirivu eri mu Kanani; ne kaakano abaddu bo tukusaba tubeere e Goseni.” |