258 | GEN 10:23 | Batabani ba Alamu: Uzi, ne Kuuli, ne Ggeseri ne Masi. |
262 | GEN 10:27 | ne Kadolaamu, ne Uzali, ne Dikula, |
295 | GEN 11:28 | Kalani yafa nga kitaawe Teera tannafa. Yafiira mu Uli ey’Abakaludaaya mwe yazaalirwa. |
298 | GEN 11:31 | Teera n’atwala Ibulaamu mutabani we Lutti muzzukulu we mutabani wa Kalani, ne Salaayi muka mutabani we Ibulaamu, ne bagenda bonna okuva mu Uli eky’Abakaludaaya okugenda mu nsi ya Kalani; bwe baatuuka mu Kalani, ne babeera omwo. |
368 | GEN 15:7 | N’amugamba nti, “Nze Mukama eyakuggya mu Uli ensi ey’Abakaludaaya, nkuwe ensi eno ebeere yiyo.” |
568 | GEN 22:20 | Awo mu biro ebyo ne babuulira Ibulayimu nti, “Laba Mirika azaalidde Nakoli muganda wo abaana: Uzi ye mubereberye, |
1069 | GEN 36:28 | Ate aba Disani be ba Uzi ne Alani. |
2324 | EXO 28:30 | Mu ky’omu kifuba eky’okumala ensonga, onooteekamu Ulimu ne Sumimu, era binaabeeranga ku mutima gwa Alooni buli lw’anaayingiranga awali Mukama. Bw’atyo Alooni anaasitulanga ekkubo omuyitwa okumala ensonga z’abaana ba Isirayiri okumpi n’omutima gwe buli lw’anaagendanga awali Mukama. |
2423 | EXO 31:2 | “Laba, nnonze Bezaaleeri mutabani wa Uli, muzzukulu wa Kuuli, ow’omu kika kya Yuda; |
2562 | EXO 35:30 | Awo Musa n’agamba abaana ba Isirayiri nti, “Muwulire. Mukama alonze Bezaaleeri mutabani wa Uli, muzzukulu wa Kuuli, ow’omu kika kya Yuda. |
2656 | EXO 38:22 | Bezaaleeri, mutabani wa Uli muzzukulu wa Kuuli, ow’omu kika kya Yuda, n’akola ebyo byonna Mukama bye yalagira Musa; |
2926 | LEV 8:8 | N’amuteekako ekyomukifuba, era mu kyomukifuba n’ateekamu Ulimu ne Sumimu. |
4577 | NUM 27:21 | Anajjanga n’ayimirira mu maaso ga Eriyazaali kabona anaamutegeezanga ebinaabanga bisaliddwawo ng’akozesa Ulimu mu maaso ga Mukama Katonda. Abaana ba Isirayiri bonna, bw’anaalagiranga banaafulumanga, era bw’anaalagiranga banaayingiranga.” |
5820 | DEU 33:8 | Bino bye yayogera ku Leevi: “Sumimu wo ne Ulimu wo biwe omusajja oyo gw’oyagala ennyo. Wamukebera e Masa n’omugezesa ku mazzi ag’e Meriba. |
6353 | JOS 19:30 | ne Uma ne Afiki ne Lekobu byonna awamu ebibuga amakumi abiri n’ebyalo byabyo. |
8163 | 2SA 6:3 | Ne bateeka essanduuko ya Katonda ku ggaali empya ne bagiggya mu nnyumba ya Abinadaabu eyali ku lusozi, Uzza ne Akiyo batabani be ne bagikulembera |
8166 | 2SA 6:6 | Awo bwe baatuuka mu gguuliro lya Nakoni, ente bwe zeesittala, Uzza n’agolola omukono gwe n’akwata ku ssanduuko ya Katonda. |
8167 | 2SA 6:7 | Obusungu bwa Mukama ne bubuubuukira ku Uzza olw’ekikolwa ekyo, Katonda n’amuttira awo okumpi n’essanduuko ya Katonda. |
8168 | 2SA 6:8 | Awo Dawudi n’anyiiga kubanga obusungu bwa Mukama bwagwa ku Uzza, n’atuuma ekifo ekyo Peruzuzza, ne leero. |
8265 | 2SA 11:3 | Dawudi n’atuma omuntu okugenda okumunoonyerezaako. Ne bakomawo ne bamutegeeza nti, “Oyo ye Basuseba muwala wa Eriyaamu mukyala wa Uliya Omukiiti.” |
8268 | 2SA 11:6 | Awo Dawudi n’atumira Yowaabu nti, “Mpeereza Uliya Omukiiti.” Yowaabu n’aweereza Uliya eri Dawudi. |
8269 | 2SA 11:7 | Uliya bwe yagenda gy’ali, Dawudi n’abuuza Yowaabu n’abaserikale bwe baali, n’olutalo bwe lwali. |
8270 | 2SA 11:8 | Awo Dawudi n’agamba Uliya nti, “Serengeta mu nnyumba yo, onaabe ku bigere.” Uliya n’afuluma olubiri, kabaka n’amuweereza ekirabo. |
8271 | 2SA 11:9 | Naye Uliya n’ataserengeta wuwe, n’asula ku mulyango gw’olubiri n’abaddu ba mukama we, Dawudi. |
8272 | 2SA 11:10 | Dawudi bwe yategeezebwa nti, “Uliya teyazeeyo waka we,” n’abuuza Uliya nti, “Waakava olugendo, kiki ekikulobedde okuddayo eka ewuwo?” |
8273 | 2SA 11:11 | Uliya n’addamu Dawudi nti, “Essanduuko ne Isirayiri ne Yuda baasigadde mu weema, ne mukama wange Yowaabu n’abaddu ba mukama wange basiisidde ku ttale. Kale nnyinza ntya okugenda mu nnyumba yange okulya n’okunywa, n’okwebaka ne mukyala wange? Mazima nga bw’oli omulamu, sijja kukola kigambo bwe kityo.” |
8274 | 2SA 11:12 | Awo Dawudi n’agamba Uliya nti, “Sigalawo olunaku olulala olabe obanga enkya siikusindike kuddayo.” Bwatyo Uliya n’asigalawo olunaku olwo n’olw’enkya. |
8275 | 2SA 11:13 | Dawudi n’ayita Uliya alye naye ekyekiro, n’amutamiiza akawungeezi ak’olunaku olwo, Uliya n’agenda n’agalamira ku mukeeka gwe n’abaddu ba mukama we, n’ataddayo wuwe. |
8276 | 2SA 11:14 | Enkeera Dawudi n’awandiikira Yowaabu ebbaluwa n’agiwa Uliya agitwale. |
8277 | 2SA 11:15 | Yawandiika mu bbaluwa nti, “Uliya muteeke mu maaso ddala olutalo we luli olw’amaanyi, mumwabulire, afumitibwe afe.” |
8278 | 2SA 11:16 | Awo Yowaabu bwe yali ng’ataayizza ekibuga, n’addira Uliya n’amuteeka mu kifo kye yamanya nga waaliyo abalabe ab’amaanyi. |
8279 | 2SA 11:17 | Abasajja ab’ekibuga bwe baafuluma okulwana ne Yowaabu, abamu ku basajja ba Dawudi ne battibwa, ne Uliya Omukiiti yali omu ku abo abattibwa. |
8283 | 2SA 11:21 | Ani eyatta Abimereki mutabani wa Yerubbesesi? Teyali mukazi e Sebezi eyamukanyugako ejjinja eddene, kwe baseera emmere ey’empeke, ng’asinziira ku bbugwe, n’afiirawo? Lwaki mwasembedde okumpi ennyo ne bbugwe?’ Awo onoomutegeeza nti, ‘Omuddu wo Uliya Omukiiti naye afudde.’ ” |
8286 | 2SA 11:24 | Naye abalasi basinzidde ku bbugwe ne balasa abaddu, era abamu ku baddu ba kabaka baafudde, n’omuddu wo Uliya Omukiiti naye mwe yafiiridde.” |
8288 | 2SA 11:26 | Awo mukyala wa Uliya bwe yawulira nti bba afudde, n’amukungubagira. |
8298 | 2SA 12:9 | Kiki ekikunyoomezza ekigambo kya Mukama, n’okukola n’okola ekibi bwe kityo mu maaso ge? Watta Uliya Omukiiti n’ekitala, n’otwala mukyala we n’omufuula owuwo.’ |
8299 | 2SA 12:10 | Wamutta n’ekitala eky’Abaana ba Amoni. Noolwekyo ekitala tekiriva mu nnyumba yo, kubanga onnyoomye n’otwala mukyala wa Uliya Omukiiti n’omufuula owuwo. |
8304 | 2SA 12:15 | Nasani bwe yaddayo eka, Mukama n’alwaza nnyo omwana muka wa Uliya gwe yazaala. |
8695 | 2SA 23:39 | ne Uliya Omukiiti. Bonna awamu baali amakumi asatu mu musanvu. |
8866 | 1KI 4:19 | Geberi mutabani wa Uli, mu Gireyaadi, ensi ya Sikoni kabaka w’Abamoli, n’ensi ya Ogi kabaka w’e Basani. Ye yali omwami yekka akulira essaza. |
9257 | 1KI 15:5 | Dawudi yakola ebirungi mu maaso ga Mukama, n’agondera ebiragiro bya Mukama ennaku zonna ez’obulamu bwe, okuggyako ensonga ya Uliya Omukiiti. |
9942 | 2KI 15:13 | Awo Sallumu mutabani wa Yabesi n’atandika okufuga mu mwaka ogw’amakumi asatu mu mwenda ogw’obufuzi bwa Uzziya kabaka wa Yuda, era n’afugira omwezi gumu mu Samaliya. |
9959 | 2KI 15:30 | Awo Koseya mutabani wa Era n’asala olukwe okutta Peka mutabani wa Lemaliya, n’amulumba era n’amutta, n’alya obwakabaka mu mwaka ogw’amakumi abiri ogw’obwakabaka bwa Yosamu mutabani wa Uzziya. |
9961 | 2KI 15:32 | Mu mwaka ogwokubiri ogw’obufuzi bwa Peka mutabani wa Lemaliya, Yosamu mutabani wa Uzziya n’alya obwakabaka bwa Yuda. |
9963 | 2KI 15:34 | N’akola ebirungi mu maaso ga Mukama, nga kitaawe Uzziya bwe yakola. |
9977 | 2KI 16:10 | Awo kabaka Akazi n’agenda e Ddamasiko okusisinkana Tigulasupireseri kabaka w’e Bwasuli, era eyo n’alabayo ekyoto ekyali mu Ddamasiko. Amangwago kabaka Akazi n’aweereza Uliya kabona ekifaananyi ky’ekyoto ekyo, n’engeri gye kiteekwa okuzimbibwa. |
9978 | 2KI 16:11 | Awo Uliya kabona n’azimba ekyoto, ng’ebiragiro bya kabaka Akazi bye yaweereza okuva e Ddamasiko bwe byali, era n’agimaliriza nga kabaka Akazi tannava Ddamasiko. |
9982 | 2KI 16:15 | Awo kabaka Akazi n’alagira Uliya kabona nti, “Ku kyoto ekinene, weerayo ekiweebwayo ekyokebwa eky’enkya n’ekiweebwayo eky’obutta eky’akawungeezi, eky’okuwaayo ekyokebwa ekya kabaka, n’ekyokuwaayo kye eky’obutta, n’ekyokuwaayo ekyokebwa eky’abantu ab’omu nsi, n’ekiweebwayo kyabwe eky’obutta, n’ekiweebwayo kyabwe ekyokunywa. Omansire ku kyoto omusaayi gwonna ogw’ebiweebwayo ebyokebwa, n’omusaayi gwonna ogwa ssaddaaka. Wabula ekyoto eky’ekikomo kinaabeeranga kyange nga kya kwebuuzaako.” |
9983 | 2KI 16:16 | Uliya kabona n’akola byonna, nga kabaka Akazi bwe yamulagira. |
10141 | 2KI 21:18 | Awo Manase n’afa, n’aziikibwa mu nnimiro ey’olubiri lwe, ye nnimiro ya Uzza, ne mutabani we Amoni n’amusikira okuba kabaka. |
10149 | 2KI 21:26 | Kabaka n’aziikibwa mu ntaana ye mu nnimiro ya Uzza, mutabani we Yosiya n’amusikira okuba kabaka. |
10273 | 1CH 1:17 | Batabani ba Seemu baali: Eramu, ne Asuli, ne Alupakusaadi, ne Ludi ne Alamu. Ate batabani ba Alamu baali: Uzi, ne Kuuli, ne Geseri, ne Meseki. |
10277 | 1CH 1:21 | ne Kadolaamu, ne Uzali, ne Dikula; |
10298 | 1CH 1:42 | Batabani ba Ezeri baali Birukani, ne Zaavani ne Yaakani; batabani ba Disani baali Uzi ne Alani. |
10330 | 1CH 2:20 | Kuuli n’azaala Uli, Uli n’azaala Bezaleeri. |
10463 | 1CH 5:31 | Abisuwa n’azaala Bukki, ate Bukki n’azaala Uzzi; |
10464 | 1CH 5:32 | Uzzi n’azaala Zerakiya, ne Zerakiya n’azaala Merayoosi; |
10482 | 1CH 6:9 | Takasi muzzukulu we, Uliyeri muzzukulu we, Uzziya muzzukulu we, ne Sawuli muzzukulu we. |
10487 | 1CH 6:14 | Bazzukulu ba Merali baali Makuli, ne Libuni, ne Simeeyi, ne Uzza, |
10509 | 1CH 6:36 | muzzukulu we Bukki, muzzukulu we Uzzi, muzzukulu we Zerakiya, |
10541 | 1CH 7:2 | Batabani ba Tola baali Uzzi, Lefaya, Yeryeri, Yamayi, Ibusamu ne Semweri, era be baali abakulu b’enda zaabwe. Ku mulembe gwa Dawudi, bazzukulu ba Tola baali abasajja abalwanyi nga bawera emitwalo ebiri mu enkumi bbiri mu lukaaga. |
10542 | 1CH 7:3 | Uzzi n’azaala Izulakiya. Izulakiya n’azaala Mikayiri, ne Obadiya, ne Yoweeri ne Issiya, era bonna baali bakulu. |
10546 | 1CH 7:7 | Batabani ba Bera baali Ezuboni, ne Uzzi, ne Wuziyeeri, ne Yerimosi ne Iri, be baana bataano, ate nga bonna bakulu b’enda zaabwe. Mu kubalibwa baali abasajja abalwanyi emitwalo ebiri mu enkumi bbiri mu amakumi asatu mu bana. |
10555 | 1CH 7:16 | Maaka mukyala wa Makiri n’azaala omwana wabulenzi n’amutuuma Peresi. Muganda we ye yali Seresi, nga ne batabani ba Seresi be ba Ulamu ne Lekemu. |
10556 | 1CH 7:17 | Mutabani wa Ulamu yali Bedani, era bano nga be batabani ba Gireyaadi, mutabani wa Makiri, mutabani wa Manase. |
10563 | 1CH 7:24 | Ne muwala we yali Sera, era oyo yazimba Besukoloni ekya eky’emmanga n’eky’engulu, ne Uzzemmuseera. |
10578 | 1CH 7:39 | Batabani ba Ulla baali Ala, ne Kanieri ne Liziya. |
10586 | 1CH 8:7 | Naamani, ne Akiya, ne Gera eyabakulembera nga bagenda mu buwaŋŋanguse, ate nga ye kitaawe wa Uzza ne Akikudi. |
10618 | 1CH 8:39 | Batabani ba muganda we Eseki baali Ulamu omubereberye, ne Yewusi nga ye owookubiri ne Erifereti nga ye wookusatu. |
10619 | 1CH 8:40 | Batabani ba Ulamu baali basajja bazira era nga b’amaanyi, nga balasi ba busaale, nga n’abaana n’abazzukulu bangi ddala. Bonna awamu baali kikumi mu ataano. Abo bonna baali bazzukulu ba Benyamini. |
10623 | 1CH 9:4 | Usayi mutabani wa Ammikudi, muzzukulu wa Omuli, muzzukulu wa Imuli, muzzukulu wa Bani, muzzukulu wa Pereezi, mutabani wa Yuda. |
10627 | 1CH 9:8 | ne Ibuneya mutabani wa Yerokamu, ne Era mutabani wa Uzzi, muzzukulu wa Mikuli, ne Mesullamu mutabani wa Sefatiya, muzzukulu wa Leweri, muzzukulu wa Ibuniya. |
10712 | 1CH 11:35 | ne Akiyamu mutabani wa Sakali Omukalali, ne Erifali mutabani wa Uli, |
10718 | 1CH 11:41 | ne Uliya Omukiiti, ne Zabadi mutabani wa Akulayi, |
10721 | 1CH 11:44 | ne Uzziya Omwasutaloosi, ne Samma ne Yeyeri batabani ba Kosamu Omwaloweri, |
10772 | 1CH 13:7 | Ne basitulira essanduuko ya Katonda ku ggaali eriggya okuva mu nnyumba ya Abinadaabu, nga Uzza ne Akiyo be bagikulembera. |
10774 | 1CH 13:9 | Bwe baatuuka ku gguuliro lya Kidoni, ente ezaali zisika essanduuko ne zeesittalamu, Uzza n’agolola omukono gwe okutereeza essanduuko. |
10775 | 1CH 13:10 | Obusungu bwa Mukama ne bubuubuukira Uzza, n’afiirawo, kubanga yakwata ku ssanduuko. N’afiira mu maaso ga Katonda. |
10776 | 1CH 13:11 | Awo Dawudi n’anyiiga nnyo kubanga obusungu bwa Mukama bwagwa ku Uzza, era ekifo ekyo ne kituumibwa Perezuzza, ne leero. |
10801 | 1CH 15:5 | ku bazzukulu ba Kokasi, Uliyeri omukulembeze ne baganda be kikumi mu abiri; |
10807 | 1CH 15:11 | Awo Dawudi n’atumya Zadooki ne Abiyasaali bakabona, ne Uliyeri, ne Asaya, ne Yoweeri, ne Semaaya, ne Eryeri ne Amminadaabu Abaleevi, |
10814 | 1CH 15:18 | ne baganda baabwe abaabaddiriranga nga be ba Zekkaliya, ne Yaaziyeri, ne Semiramosi, ne Yeyeri, ne Unni, ne Eriyaabu, ne Benaaya, ne Maaseya, ne Mattisiya, ne Erifereku, ne Mikuneya, n’abaggazi Obededomu ne Yeyeeri, |
10816 | 1CH 15:20 | ne Zekkaliya, ne Aziyeri, ne Semiramosi, ne Yekyeri, ne Unni, ne Eriyaabu, ne Maaseya ne Benaya baali baakukuba entongooli ez’ekyalamosi; |
11139 | 1CH 27:25 | Azumavesi mutabani wa Adyeri yavunaanyizibwanga amawanika ga kabaka, ne Yonasaani mutabani wa Uzziya n’avunaanyizibwanga amawanika ag’amasaza n’ag’ebibuga, ag’ebyalo, n’ag’ebigo. |
11204 | 2CH 1:5 | Era n’ekyoto eky’ekikomo Bezaaleeri mutabani wa Uli, muzzukulu wa Kuuli kye yali azimbye, kyali eyo mu lusiisira lwa Mukama, ne Sulemaani n’ekibiina kyonna gye beebuulizanga ku Mukama. |
11460 | 2CH 13:2 | era n’afugira mu Yerusaalemi emyaka esatu. Erinnya lya nnyina yali Mikaaya muwala wa Uliyeri ow’e Gibea. Ne waba olutalo wakati wa Abiya ne Yerobowaamu. |
11738 | 2CH 26:1 | Awo Uzziya bwe yali ng’aweza emyaka kkumi na mukaaga egy’obukulu, abantu bonna aba Yuda, ne bamufuula kabaka n’asikira kitaawe Amaziya. |
11740 | 2CH 26:3 | Uzziya yali awezezza emyaka kkumi na mukaaga we yaliira obwakabaka, n’afugira emyaka amakumi ataano mu ebiri mu Yerusaalemi. Nnyina ye yali Yekkiriya ow’e Yerusaalemi. |
11745 | 2CH 26:8 | Abamoni ne bawanga Uzziya busuulu, era n’erinnya lye ne lyatiikirira n’okutuusa ku nsalo ya Misiri, kubanga yali afuuse wa maanyi nnyo. |
11746 | 2CH 26:9 | Uzziya n’azimba eminaala mu Yerusaalemi ku wankaaki ow’oku Nsonda, ne ku wankaaki ow’omu Kiwonvu, ne mu kifo bbugwe w’akyukira, era n’agissaako bbugwe. |
11748 | 2CH 26:11 | Uzziya yalina eggye ery’abasajja abalwanyi abaatendekebwa obulungi, abaatabaalanga mu bibinja ng’emiwendo gyabwe bwe gyali, Yeyeri omuwandiisi gye yabala ne Maaseya omukungu, eyali wansi wa Kananiya, omu ku baduumizi b’eggye lya kabaka. |
11751 | 2CH 26:14 | Uzziya n’awa eggye lyonna, engabo, n’amafumu, n’enkuufiira ez’ebyuma, n’ebizibaawo eby’ebyuma, n’emitego emigumu, n’envuumuulo. |
11753 | 2CH 26:16 | Kyokka Uzziya bwe yatutumuka, ne yeegulumiza, n’okugwa n’agwa kubanga teyali mwesigwa eri Mukama Katonda we, n’okuyingira n’ayingira mu yeekaalu ya Mukama okwotereza obubaane ku kyoto eky’obubaane. |
11755 | 2CH 26:18 | ne bamuziyiza, nga bamugamba nti, “Si mulimu gwo, Uzziya, okwotereza Mukama obubaane, naye mulimu gwa bakabona bazzukulu ba Alooni abaayawulibwa okwotezanga obubaane. Ffuluma ove mu watukuvu, kubanga osobezza, era tojja kusiimibwa Mukama Katonda.” |
11756 | 2CH 26:19 | Awo Uzziya n’asunguwala ng’akyakutte ekyoterezo mu mukono gwe. Mu kiseera ekyo ng’asunguwalidde bakabona ng’ayimiridde ku mabbali g’ekyoto eky’obubaane mu yeekaalu ya Mukama, ebigenge ne bimukwata ekyenyi kyonna. |
11758 | 2CH 26:21 | Kabaka Uzziya n’aba mugenge okutuusa lwe yafa, ng’abeera mu nnyumba eyayawulibwa ku ndala zonna olw’obugenge bwe, nga n’obuvunaanyizibwa bwonna bumuggyibbwako, ate era nga takkirizibwa kuyingira mu yeekaalu ya Mukama. Yosamu mutabani we n’atwala obuvunaanyizibwa obw’olubiri n’afuga abantu ab’eggwanga. |
11759 | 2CH 26:22 | Ebyafaayo ebirala eby’omu mirembe gya Uzziya, okuva ku ntandikwa okutuusa ku nkomerero, byawandiikibwa Isaaya nnabbi, mutabani wa Amozi. |
11760 | 2CH 26:23 | Uzziya n’afa, n’aziikibwa okumpi ne bajjajjaabe mu kiggya kya bakabaka, kubanga, yali mugenge. Yosamu mutabani we n’amusikira, bw’atyo n’afuga mu kifo kye. |
11762 | 2CH 27:2 | Newaakubadde ng’abantu beeyongera okukola ebitali bya butuukirivu, Yosamu yakola ebirungi mu maaso ga Mukama, nga kitaawe Uzziya bwe yakola; naye obutafaanana nga kitaawe bwe yakola, teyayingira mu yeekaalu ya Mukama. |