1 | GEN 1:1 | Ku lubereberye Katonda yatonda eggulu n’ensi. |
2 | GEN 1:2 | Ensi yali njereere nga yeetabuddetabudde, ekizikiza nga kibisse kungulu ku buziba, n’Omwoyo wa Katonda ng’atambulira ku mazzi. |
3 | GEN 1:3 | Awo Katonda n’agamba nti, “Wabeerewo obutangaavu,” ne waba obutangaavu. |
4 | GEN 1:4 | Katonda n’alaba obutangaavu nga bulungi; n’ayawula obutangaavu n’ekizikiza. |
5 | GEN 1:5 | Katonda obutangaavu n’abuyita emisana, n’ekizikiza n’akiyita ekiro. Ne wabaawo akawungeezi ate ne buba enkya. Olwo lwe lunaku olw’olubereberye. |
6 | GEN 1:6 | Era Katonda n’agamba nti, “Wabeewo ebbanga lyawule olufu n’amazzi.” |
7 | GEN 1:7 | Bw’atyo Katonda n’akola ebbanga okwawula wansi n’amazzi agali waggulu. Ne kiba bwe kityo. |
8 | GEN 1:8 | Katonda ebbanga n’aliyita eggulu. Ne buba akawungeezi, ate ne buba enkya, olwo lwe lunaku olwokubiri. |
9 | GEN 1:9 | Awo Katonda n’ayogera nti, “Amazzi agali wansi w’eggulu gakuŋŋaanire mu kifo kimu, wabeewo olukalu.” Ne kiba bwe kityo. |
10 | GEN 1:10 | Katonda olukalu n’aluyita ensi, amazzi agakuŋŋaanye go n’agayita ennyanja. Katonda n’alaba nga ky’akoze kirungi. |
11 | GEN 1:11 | Awo Katonda n’agamba nti, “Ensi ereete ebimera: emiti egizaala ensigo mu ngeri yaagyo, emiti egy’ebibala ebibaamu ensigo mu ngeri yaagyo, gibeere ku nsi.” Ne kiba bwe kityo. |
12 | GEN 1:12 | Ensi n’ereeta ebimera: ebimera eby’ensigo ebya buli ngeri, n’emiti egy’ebibala ebya buli ngeri n’ebijja ku nsi. Katonda n’alaba nga ky’akoze kirungi. |
13 | GEN 1:13 | Ne buba akawungeezi ate ne buba enkya. Olwo lwe lunaku olwokusatu. |
14 | GEN 1:14 | Awo Katonda n’agamba nti, “Wabeewo ebyaka mu bbanga ly’eggulu, okwawula emisana n’ekiro; bibeerenga obubonero okwawulanga ebiro, n’ennaku, n’emyaka. |
15 | GEN 1:15 | Bibeere ebyaka ku ggulu, bireetere ensi obutangaavu.” Ne kiba bwe kityo. |
16 | GEN 1:16 | Katonda n’akola ebyaka ebinene bibiri, ekyaka ekisinga obunene kifugenga emisana, n’ekitono kifugenga ekiro, n’akola n’emmunyeenye. |
17 | GEN 1:17 | Awo Katonda n’abiteeka mu bbanga ly’eggulu byakenga ku nsi, |