Wildebeest analysis examples for:   lug-lug   Word’Word!    February 25, 2023 at 00:38    Script wb_pprint_html.py   by Ulf Hermjakob

450  GEN 18:25  Kireme okuba gy’oli okukola ekintu bwe kityo, okutta abatuukirivu awamu n’ababi, abatuukirivu ne benkana n’ababi! Kireme kuba bwe kityo! Omulamuzi ow’ensi yonna teyandisaanye akole kituufu?”
452  GEN 18:27  Ibulayimu n’addamu nti, “Laba nnyinziza okwogera ne Mukama, nze ani, nze enfuufu n’evvu!
467  GEN 19:9  Naye ne bamugamba nti, “Tuviire! Omusajja omugwira ono, ate kati y’atulagira eky’okukola! Nedda, tujja kukukolako n’okusinga abagenyi bo.” Awo ne banyigiriza nnyo Lutti, era kaabula kata bamenye n’oluggi.
1605  EXO 4:3  Mukama Katonda n’amugamba nti, “Gusuule wansi.” Musa n’agusuula wansi; ne gufuuka omusota, n’agudduka!
4221  NUM 16:26  N’agamba ekibiina kyonna nti, “Musembereeyo muve okumpi n’eweema z’abasajja bano abakozi b’ebibi! Temukwata ku kintu kyabwe n’ekimu, sikulwa nga mwenna muzikirizibwa olw’ebibi byabwe.”
4414  NUM 22:38  Balamu n’addamu nti, “Nzuuno kaakano nzize gy’oli! Naye olowooza nnina obuyinza okwogera kyonna kye njagala? Nteekwa okwogera ebyo byokka Katonda by’anassa mu kamwa kange.”
5985  JOS 7:7  Yoswa n’agamba nti, “Mukama Katonda nga kitalo kino! Wasomosezaaki Abayisirayiri omugga Yoludaani ate n’obaleka bazikirizibwe Abamoli? Bwe twali tukyali emitala wa Yoludaani tetwaliko kabi n’akatono!
6450  JOS 22:22  “Mukama Katonda ow’Amaanyi, Mukama ow’Amaanyi! Ye amanyi, era Isirayiri akimanye! Bwe kiba nga kyabadde mu kwediima oba kujeemera Mukama, temutusonyiwa leero.
6615  JDG 4:14  Debola n’agamba Baraki nti, “Mukama si y’akukulembedde! Noolwekyo situkiramu kubanga olwa leero Mukama awaddeyo Sisera mu mikono gyo.” Awo Baraki n’ava ku lusozi Taboli n’abalwanyi be omutwalo gumu.
8436  2SA 16:7  Simeeyi n’akolima, nga bw’ayogera nti, “Fuluma, vva wano, ggwe omusajja eyasaaba omusaayi, era ataliiko bw’ali!
8796  1KI 2:23  Awo Kabaka Sulemaani n’alayira ng’agamba nti, “Katonda ankole bw’atyo n’okusingawo, Adoniya bw’atasasule n’obulamu bwe olw’ekyo ky’asabye!
9578  2KI 2:23  Erisa bwe yava eyo n’akwata ekkubo erigenda e Beseri. Naye ng’ali mu kkubo, n’asisinkana abavubuka ab’omu kibuga ekyo ne bamusekerera nga bwe boogera nti, “Mulabe ow’ekiwalaata! Mulabe ow’ekiwalaata!”
12939  JOB 4:5  Naye kaakano kikutuuseeko, oweddemu amaanyi; kikutte ku ggwe n’oggwaawo!
13189  JOB 14:4  Ani ayinza okuggya ekirongoofu mu kitali kirongoofu? Tewali n’omu!
13198  JOB 14:13  “Singa kale onkweka emagombe era n’onziika okutuusa obusungu bwo lwe buliggwaawo! Singa ongerera ekiseera n’onzijukira!
13325  JOB 19:24  Singa byawandiikibwa n’ekyuma ku lubaati, oba okuwandiikibwa ku lwazi ne bibeerawo emirembe n’emirembe!
13426  JOB 23:3  Singa nnali mmanyi aw’okumusanga nandisobodde okulaga gy’abeera!
13485  JOB 26:14  Naye nga bino katundu butundu ku bye yakola. Nga kye tumuwulirako katundu butundu ku ekyo ky’ali! Ani ayinza okutegeera okubwatuka kw’obuyinza bwe?”
13723  JOB 34:36  Singa Yobu agezesebbwa okutuusa ku nkomerero, olw’okwogera ng’abasajja abakozi b’ebibi!
13802  JOB 38:5  Ani eyasalawo ebipimo byayo? Ddala oteekwa okuba ng’omanyi! Oba ani eyagipima n’olukoba?
14241  PSA 22:21  Omponye okuttibwa n’ekitala; obulamu bwange obw’omuwendo butaase mu maanyi g’embwa!
14267  PSA 24:9  Mweggulewo, mmwe bawankaaki, muggulwewo mmwe enzigi ez’edda! Kabaka ow’ekitiibwa ayingire.
14929  PSA 66:5  Mujje mulabe Katonda ky’akoze; mulabe eby’entiisa by’akoledde abaana b’abantu!
15054  PSA 71:23  Nnaayimusanga eddoboozi lyange olw’essanyu nga nkutendereza, nze gw’onunudde!
15063  PSA 72:8  Afugenga okuva ku nnyanja okutuuka ku nnyanja, n’okuva ku mugga Fulaati okutuuka ku nkomerero z’ensi!
15074  PSA 72:19  Erinnya lye ekkulu ligulumizibwenga emirembe n’emirembe! Ensi yonna ejjule ekitiibwa kye. Amiina era Amiina!
15210  PSA 78:39  Yajjukira nga baali mubiri bubiri; ng’empewo egenda n’etedda!
15322  PSA 84:2  Eweema zo nga nnungi, Ayi Mukama ow’Eggye!
15484  PSA 92:8  newaakubadde ng’abakola ebibi baloka ng’omuddo, n’aboonoonyi bonna ne bafuna ebirungi, boolekedde okuzikirira okw’emirembe n’emirembe!
15774  PSA 107:8  Kale singa beebazanga Mukama olw’okwagala kwe okutaggwaawo, n’olw’eby’ekitalo by’akolera abaana b’abantu!
15781  PSA 107:15  Kale singa beebazanga Mukama olw’okwagala kwe okutaggwaawo, n’olwebikolwa bye eby’ekitalo by’akolera abaana b’abantu!
15787  PSA 107:21  Kale singa beebazanga Mukama olw’okwagala kwe okutaggwaawo, n’olw’ebikolwa bye eby’ekyewuunyo by’akolera abaana b’abantu!
15797  PSA 107:31  Kale singa abantu beebazanga Mukama olw’okwagala kwe okutaggwaawo, n’olw’ebikolwa bye eby’ekyewuunyo by’akolera abaana b’abantu!
16468  PSA 150:4  Mumutendereze n’ebitaasa n’amazina; mumutendereze n’ebivuga eby’enkoba n’endere!
16657  PRO 7:12  wuuyo mu luguudo, wuuyo mu bifo ebikuŋŋaanirwamu, mu buli kafo konna ng’ateega!
16888  PRO 15:11  Okufa n’okuzikirira biri mu maaso ga Mukama, n’okulaba alaba nnyo emitima gy’abaana b’abantu!
17745  ISA 1:21  Laba ekibuga ekyesigwa bwe kifuuse ng’omwenzi! Oyo eyasalanga emisango mu bwenkanya! Obutuukirivu bwatuulanga mu ye, naye kaakano batemu bennyini nnyini!
17788  ISA 3:11  Zisanze abakozi b’ebivve! Banaatuuka mu kuzikirira! Balisasulibwa emikono gyabwe kye gikoze.
17897  ISA 8:20  Tudde eri amateeka n’obujulirwa! Bwe baba teboogera bwe batyo, mazima obudde tebugenda kubakeerera.
18002  ISA 14:4  oligera olugero luno ku kabaka w’e Babulooni n’oyogera nti: Omujoozi ng’agudde n’aggwaawo! Ekibuga ekya zaabu ekibadde kitutigomya nga tekikyaliwo!
18010  ISA 14:12  Ng’ogudde okuva mu ggulu, ggwe emunyeenye ey’enkya, omwana w’emambya! Ng’otemeddwa n’ogwa ku ttaka, ggwe eyamegganga amawanga!
18560  ISA 42:10  Muyimbire Mukama oluyimba oluggya, ettendo lye okuva ku nkomerero y’ensi! Mmwe abasaabala ku nnyanja ne byonna ebigirimu, mmwe ebizinga ne bonna ababibeeramu.
18683  ISA 47:14  Laba, bali ng’ebisusunku era omuliro gulibookya! Tebalyewonya maanyi ga muliro. Tewaliiwo manda ga kukubugumya wadde omuliro ogw’okwota!
18702  ISA 48:18  Singa kale wali owulirizza ebiragiro byange! Wandibadde n’emirembe egikulukuta ng’omugga! Era n’obutuukirivu bwo ng’amayengo g’ennyanja,
19380  JER 14:18  Bwe ŋŋenda mu byalo ndaba abafumitiddwa n’ekitala! Bwe ŋŋenda mu kibuga ndaba okutaagulwataagulwa okw’enjala. Naye nnabbi ne kabona beeyongera okukola emirimu gyabwe mu ggwanga kyokka nga bye boogera bya bulimba.’ ”
20118  JER 46:4  Mutegeke embalaasi muzeebagale! Muyimirire mu bifo byammwe n’esseppeewo zammwe! Muzigule amafumu, mwambale ebizibaawo eby’ebyuma!
20188  JER 48:39  “Ng’amenyeddwamenyeddwa! Nga bakaaba! Mowaabu ng’akyusa omugongo gwe olw’obuswavu! Mowaabu afuuse kyakusekererwa, ekyekango eri bonna abamwetoolodde.”
20258  JER 50:23  Ennyondo y’ensi yonna ng’ekubiddwa n’emenyeka! Babulooni kifuuse matongo mu mawanga!
20271  JER 50:36  Ekitala kyolekedde bannabbi baabwe ab’obulimba! Balifuuka balisiriwala, ekitala kyolekedde abalwanyi baabwe. Balijjula entiisa.
20402  LAM 2:1  Obusungu bwa Mukama nga bubuubuukidde ku Muwala wa Sayuuni ne bumussa wansi w’ekire! Ekitiibwa kya Isirayiri, Mukama akissizza wansi okuva mu ggulu okutuuka ku nsi; ne yeerabira entebe ey’ebigere bye ku lunaku lwe yasunguwalirako.
20490  LAM 4:1  Zaabu ng’ettalazze! Zaabu ennungi ng’efuuse! Amayinja ag’omuwendo gasaasaanye buli luguudo we lutandikira.
21023  EZK 21:15  kiwagaddwa okutta, kiziguddwa, era kimasamasa ng’okumyansa kw’eggulu! Tulisanyukira obuyinza bw’omwana wange Yuda? “ ‘Ekitala kinyooma buli muggo.
22076  DAN 9:19  Ayi Mukama otuwulire! Ayi Mukama, otusonyiwe! Ayi Mukama otuwulire era obeeko ne ky’okolawo! Olw’okusaasira kwo, Ayi Katonda wange oleme okulwa, kubanga ekibuga kyo n’abantu bo n’eggwanga lyo bayitibwa Erinnya lyo.”
22771  NAM 2:4  Engabo z’eggye erikutabadde zonna myufu n’engoye ze bambadde nazo bwe zityo. Amagaali g’ebyuuma gamasamasa ku lunaku lwe gategekebwa, era n’amafumu gagalulwa mu ngeri ey’entiisa!
22782  NAM 3:1  Zikusanze ggwe ekibuga eky’omusaayi! Kyonna ekijjudde eby’obulimba n’obunyazi, ekitaggwaamu banyagiddwa.
22879  ZEP 2:5  Zibasanze mmwe ababeera ku lubalama lw’ennyanja, eggwanga ery’Abakeresi! Ekigambo kya Mukama kikwolekedde, ggwe Kanani, ensi ey’Abafirisuuti. Ndikuzikiriza so tewaliba asigalawo.
23168  MAL 1:10  “Kale waakiri singa omu ku bakabona aggalawo enzigi muleme okukuma omuliro ku kyoto kyange ogw’obwereere! Sibasanyukira n’akatono,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye, “so sikkirize kiweebwayo kyonna ekiva mu mikono gyammwe.
23184  MAL 2:12  Buli muntu yenna akola kino, oba kabona oba muntu wa bulijjo, Mukama alimuggya mu kika kya Yakobo, newaakubadde ng’aleeta ebiweebwayo eri Mukama ow’Eggye!
23337  MAT 5:34  Naye mbagamba nti: Temulayiranga n’akatono! Temulayiranga ggulu, kubanga ye ntebe y’obwakabaka bwa Katonda.
24004  MAT 23:17  Mmwe abatalina magezi abazibe b’amaaso! Ku ebyo byombi kiruwa ekisingako obukulu, zaabu oba Yeekaalu efuula zaabu okuba entukuvu?
24011  MAT 23:24  Mmwe abakulembeze abazibe b’amaaso! Musengejja akabu muleme kukanywera mu mazzi, naye ne munyweramu eŋŋamira!
24013  MAT 23:26  Mmwe Abafalisaayo abazibe b’amaaso! Musooke mulongoose munda w’ekikopo olwo nno mulongoose ne kungulu.
24188  MAT 26:65  Kabona Asinga Obukulu, n’ayuza ebyambalo bye, n’agamba nti, “Kuno kuvvoola! Ate kati tukyetaagira ki abajulirwa abalala? Mwenna mumuwulidde ng’akyogera!
24315  MRK 1:31  Bwe yamusemberera, n’amukwata ku mukono n’amuyimusa, omusujja ne gumuwonako, n’abaweereza!
24687  MRK 10:30  ataliddizibwawo emirundi kikumi mu mulembe guno amaka, abooluganda, bannyina, nnyina, abaana, ettaka awamu n’okuyigganyizibwa! Ebyo byonna biriba bibye ku nsi kuno, ate ne mu nsi egenda okujja afunemu obulamu obutaliggwaawo.
25006  LUK 1:44  Kubanga bw’oyingidde n’onnamusa, omwana ali mu lubuto lwange oluwulidde ku ddoboozi lyo ne yeekyusakyusa olw’essanyu!
25156  LUK 4:24  Naye n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti, Tewali nnabbi ayanirizibwa mu kyalo ky’ewaabwe!
25171  LUK 4:39  Yesu n’ayimirira okumpi n’omulwadde we yali, n’alagira omusujja gumuwoneko, amangwago omulwadde n’awona, n’asituka n’abaweereza!
25338  LUK 8:24  Abayigirizwa ne bamuzuukusa, ne bagamba nti, “Mukama waffe, Mukama waffe, tusaanawo!” N’azuukuka n’aboggolera omuyaga n’amazzi agaali geefuukudde. Ne bikkakkana, ennyanja n’etteeka!
25450  LUK 10:18  Yesu n’abagamba nti, “Nalaba Setaani ng’agwa okuva mu ggulu ng’okumyansa kw’eraddu!
25520  LUK 11:46  Yesu n’amuddamu nti, “Nammwe zibasanze abannyonnyozi b’amateeka! Kubanga mutikka abantu emigugu emizito egy’amateeka g’eddiini, so nga mmwe temusobola na kukwata na lugalo lwammwe ku migugu egyo.
25526  LUK 11:52  “Zibasanze, mmwe abannyonnyozi b’amateeka! Kubanga mwafuna ekisumuluzo eky’amagezi naye mmwe bennyini ne mutayingira, ate ne muziyiza n’abalala okuyingira.”
25621  LUK 13:34  “Ggwe Yerusaalemi, ggwe Yerusaalemi, atta bannabbi, n’okuba amayinja abo ababa batumiddwa gy’oli, emirundi nga mingi nnyo gye njagadde okukuŋŋaanya abaana bo ng’enkoko bw’ekuŋŋaanya obwana bwayo mu biwaawaatiro byayo, naye n’ogaana!
25679  LUK 15:22  “Naye kitaawe n’alagira abaddu be nti, ‘Mwanguwe mangu! Muleete ekkanzu esinga obulungi mugimwambaze. Mumunaanike empeta ku ngalo ye, mumwambaze n’engatto!
25918  LUK 21:23  Nga ziribasanga abakazi abaliba embuto n’abayonsa! Kubanga eggwanga liribonaabona, n’abantu baalyo balisunguwalirwa.
25956  LUK 22:23  Awo abayigirizwa ne batandika okwebuuzaganya bokka na bokka nti ani ku bo ayinza okukola ekintu ng’ekyo!
25984  LUK 22:51  Naye Yesu n’abagamba nti, “Temwongera kubalwanyisa.” N’akwata ku kutu kw’omusajja, n’amuwonya!
27011  ACT 1:19  Amawulire ago ne gatuuka ku bantu ab’omu Yerusaalemi, era ennimiro eyo ne bagituuma Akerudama mu lulimi lwabwe, amakulu nti, Ennimiro y’Omusaayi!
27033  ACT 2:15  Abantu bano tebatamidde nga bwe mulowooza, kubanga essaawa ziri ssatu ez’enkya!
27133  ACT 5:5  Ananiya olwawulira ebigambo ebyo n’agwa eri n’afiirawo! Bonna abaawulira ebyo ne bakwatibwa entiisa ya maanyi.
27290  ACT 9:5  Sawulo n’abuuza nti, “Ggwe ani, Mukama wange?” Eddoboozi ne limuddamu nti, “Nze Yesu gw’oyigganya!
27701  ACT 20:7  Awo olumu ku nnaku za ssabbiiti, bwe twali tukuŋŋaanye okumenya omugaati, Pawulo n’abaako bye yali abayigiriza. Naye olwokubanga enkeera yali asitula, n’ayogerera ebbanga ddene nnyo, n’atuusa mu ttumbi ng’akyayogera!
27944  ACT 27:21  Bwe baamala ebbanga nga n’okulya tebaagala kulya, Pawulo n’alyoka ayimirira wakati mu bo, n’abagamba nti, “Abasajja kyabagwanira okumpuliriza obutava Kuleete, kubanga temwandifiiriddwa byammwe bwe muti awamu n’okulumizibwa!
27975  ACT 28:8  Mu kiseera ekyo kitaawe yali mulwadde omusujja ng’alimu ekiddukano ky’omusaayi. Pawulo n’agenda gy’ali n’amusabira, n’amussaako emikono n’amuwonya!
30026  PHM 1:21  Nkuwandiikidde ebbaluwa eno nga neesigira ddala nga kye nkusaba ojja kukikola n’okusingawo!
30438  JAS 5:17  Eriya yali muntu ddala nga ffe, naye bwe yeewaayo n’asaba enkuba ereme okutonnya, enkuba teyatonnya okumalira ddala emyaka esatu n’ekitundu!
31038  REV 16:15  “Laba, nzija ng’omubbi! Alina omukisa oyo alindirira n’akuuma ekyambalo kye nga kiyonjo, era taliyita bwereere, si kulwa ng’aswala.”