3 | GEN 1:3 | Awo Katonda n’agamba nti, “Wabeerewo obutangaavu,” ne waba obutangaavu. |
440 | GEN 18:15 | Naye Saala ne yeegaana ng’agamba nti, “Si sese,” kubanga yali atidde. N’amuddamu nti, “Nedda osese.” |
635 | GEN 24:43 | laba, nnyimiridde awali oluzzi, kale omuwala anajja okusena amazzi, ne mugamba nti, “Nkusaba ku tuzzi mu nsuwa yo nyweko,” |
636 | GEN 24:44 | n’anziramu nti, “Nnywa, era n’eŋŋamira zo nazo nzija kuzisenera,” oyo y’aba abeera omukazi Mukama gw’alondedde mutabani wa mukama wange.’ |
700 | GEN 26:7 | abasajja ab’omu nsi omwo bwe baamubuuza ku mukazi we n’abaddamu nti, “Mwannyinaze.” Kubanga yatya okwogera nti, “Mukazi wange,” ng’alowooza nti, “Abasajja ab’omu nsi omwo tebalwa kunzita lwa Lebbeeka,” kubanga yali mulungi nnyo. |
780 | GEN 28:6 | Esawu n’ategeera nga Isaaka awadde Yakobo omukisa, era ng’amusindise e Padanalaamu afuneyo omukazi, era nga bwe yamuwa omukisa yamukuutira nti, “Towasanga ku bakazi Abakanani,” |
831 | GEN 29:35 | Era Leeya n’aba olubuto n’azaala omwana wabulenzi, n’agamba nti, “Ku luno nzija kutendereza Mukama,” kyeyava amutuuma Yuda; n’alekayo okuzaala. |
849 | GEN 30:18 | Leeya n’agamba nti, “Katonda ansasudde empeera yange, kubanga nawa baze, omuweereza wange,” omwana kyeyava amutuuma Isakaali. |
1133 | GEN 38:13 | Tamali bwe kyamubuulirwa nti, “Sezaala wo agenda e Timuna okusala ebyoya by’endiga ze,” |
1136 | GEN 38:16 | N’agenda gy’ali ku mabbali g’ekkubo, n’amugamba nti, “Jjangu, neetabe naawe,” kubanga teyamanya nti ye yali muka mutabani we. Tamali kwe ku mubuuza nti, “Onompa ki bwe neetaba naawe?” |
1169 | GEN 39:19 | Awo mukama wa Yusufu bwe yawulira ebigambo omukazi bye yamutegeeza ng’agamba nti, “Bw’ati ne bw’ati omuddu wo bwe yampisizza,” obusungu bwa bba ne bubuubuuka. |
1594 | EXO 3:14 | Katonda n’agamba Musa nti, “Ndi nga bwe Ndi,” n’ayongera nti, “Bw’otyo bw’onootegeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘Ndi y’antumye gye muli.’ ” |
5280 | DEU 13:7 | Omuntu yenna, ne bw’abanga muganda wo oba mutabani wo, oba muwala wo, oba mukazi wo omuganzi ennyo, oba mukwano gwo gw’oyagala ennyo ow’okulusegere, n’akusendasendanga mu kyama ng’agamba nti, “Jjangu tugende tusinze bakatonda abalala,” bakatonda ggwe b’otomanyangako, ne bakadde bo be batamanyangako, |
5287 | DEU 13:14 | nga mulimu abantu abali mu mmwe abasituse ne basikiriza abantu b’omu kibuga kyabwe ekyo nga babagamba nti, “Ka tugende tusinze bakatonda abalala,” bakatonda be mutamanyangako, |
5330 | DEU 15:9 | Weekuumenga nnyo olemenga kubeeranga na ndowooza eno embi mu mutima gwo nti, “Omwaka ogw’omusanvu ogw’okusonyiwa amabanja gusembedde,” muganda wo n’omukwatirwa ettima n’otobaako ky’omuwa. Muganda wo ayinza okujulira eri Mukama n’osangibwanga ng’ogudde mu kibi. |
5337 | DEU 15:16 | Naye omuddu bw’anaakugambanga nti, “Sijja kuva wano,” kubanga akwagala nnyo ggwe n’abali mu maka go, era nga bw’abeera naawe aba bulungi; |
5382 | DEU 17:16 | Kabaka oyo tateekwa kwefuniranga mbalaasi nnyingi, wadde okutumanga abantu mu Misiri bamufunirengayo embalaasi endala okwongeranga ku z’alina obungi; kubanga Mukama yagamba nti, “Temuddangayo kukwata kkubo eryo,” |
5486 | DEU 22:14 | n’amuwaayiriza ng’amukonjera ng’agamba nti, “Nawasa omukazi ono, naye bwe nasula naye saamusanga nga mbeerera,” |
5557 | DEU 25:8 | Abakulembeze abakulu b’omu kibuga banaayitanga omusajja oyo ne boogera naye. Bw’anaakakanyalanga n’agamba nti, “Saagala kumuwasa,” |
7088 | JDG 20:32 | Abaana ba Benyamini bwe baagambanga nti, “Tubawangula nga luli bwe kyali ku mulundi ogwasooka,” Abayisirayiri bo ne beeteesa nti, “Tuddeyoko emabega, tubasikirize okubaggya mu kibuga badde mu nguudo.” |
7320 | 1SA 4:21 | N’atuuma omwana erinnya Ikabodi, amakulu gaalyo nti, “Ekitiibwa kivudde ku Isirayiri,” kubanga essanduuko ya Katonda yali ewambiddwa ate nga ssezaala we ne bba bafudde. |
7377 | 1SA 8:6 | Naye bwe baayogera nti, “Tuwe kabaka anaatukulemberanga,” ne kitasanyusa Samwiri. Samwiri n’asaba eri Mukama. |
7528 | 1SA 14:18 | Sawulo n’agamba Akiya nti, “Leeta essanduuko ya Katonda,” kubanga mu biro ebyo yali mu mikono gy’Abayisirayiri. |
7814 | 1SA 23:1 | Awo Dawudi bwe yategeezebwa nti, “Laba, Abafirisuuti balwana ne Keyira, era banyagulula amawuuliro,” |
7943 | 1SA 27:10 | Awo Akisi yamubuuzanga nti, “Leero walumbye wa?” Dawudi yaddangamu nti, “Ebukiikaddyo obwa Yuda,” oba nti, “Ebukiikaddyo obw’Abayerameeri,” oba nti, “Ebukiikaddyo obw’Abakeeni.” |
8272 | 2SA 11:10 | Dawudi bwe yategeezebwa nti, “Uliya teyazeeyo waka we,” n’abuuza Uliya nti, “Waakava olugendo, kiki ekikulobedde okuddayo eka ewuwo?” |
8394 | 2SA 15:2 | Yagolokokanga mu makya n’ayimirira ku mabbali g’ekkubo okwolekera wankaaki w’ekibuga. Omuntu yenna bwe yabanga n’ensonga gye yaleeteranga kabaka okulamula, Abusaalomu yamuyitanga n’amubuuza nti, “Oviira mu kibuga ki?” Bwe yaddangamu nti, “Omuddu wo aviira mu kimu ku bika bya Isirayiri,” |
9446 | 1KI 20:35 | Omu ku batabani ba bannabbi n’agamba munne nti, “Katonda alagidde onfumite n’ekyokulwanyisa kyo,” naye munne oyo n’agaana. |
9729 | 2KI 7:18 | Bwe kityo bwe kyali kubanga omusajja wa Katonda bwe yagamba kabaka nti, “Jjo essaawa nga zino ebigero bibiri ebya sayiri biritundibwa gulaamu kkumi n’emu, n’ekigero ky’obutta obulungi ne kitundibwa gulaamu kkumi n’emu, mu wankaaki ya Samaliya,” |
9738 | 2KI 8:7 | Erisa n’agenda e Ddamasiko n’asanga Benikadadi kabaka w’e Busuuli ng’alwadde. Kabaka bwe yategeezebwa nti, “Omusajja wa Katonda atuuse mu kitundu,” |
9893 | 2KI 13:18 | N’amugamba nti, “Kwata obusaale,” n’abukwata. N’agamba kabaka wa Isirayiri okulasa ettaka. N’alirasa emirundi esatu, n’akoma awo. |
10050 | 2KI 18:22 | Ate era bw’oŋŋamba nti, “Twesize Mukama Katonda waffe,” oyo si y’omu Keezeekiya gwe yaggyirawo ebifo ebigulumivu n’ebyoto, ng’agamba Yuda ne Yerusaalemi nti, “Munaasinzizanga mu maaso g’ekyoto kino mu Yerusaalemi”? |
10074 | 2KI 19:9 | Awo Sennakeribu n’afuna obubaka obukwata ku Tiraka kabaka w’e Esiyopya nti, “Laba amaliridde okulwana naawe,” era n’addamu n’atuma ababaka eri Keezeekiya ng’agamba nti, |
10119 | 2KI 20:17 | Laba, ekiseera kijja byonna ebiri mu lubiri lwo, ne byonna bajjajjaabo bye baatereka, lwe biritwalibwa e Babulooni. Tewaliba kintu ekirisigalawo,” bw’ayogera Mukama. |
10866 | 1CH 16:41 | Kemani ne Yedusuni n’abalala abaalondebwa ne bayitibwa amannya gaabwe okwebaza Mukama, “kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna,” baali wamu nabo. |
11574 | 2CH 18:27 | Awo Mikaaya n’alangirira nti, “Bw’olikomawo mirembe, Mukama nga tayogeredde mu nze,” ate n’ayongerako na kino nti, “Mmwe mwenna, mwekuume ebigambo byange.” |
11594 | 2CH 20:2 | Abasajja abamu ne bagenda ne bategeeza Yekosafaati nti, “Eggye ddene eriva e Busuuli okuva emitala w’Ennyanja ey’Omunnyo, likulumbye, era lituuse mu Kazazonutamali, ye Engedi,” |
11891 | 2CH 32:11 | Mulowooza nga Keezeekiya bw’ayogera nti, “Mukama Katonda waffe alitulokola mu mukono gwa kabaka w’e Bwasuli,” abatalimba, n’okwagala okubassa enjala n’ennyonta? |
12795 | EST 5:12 | “Ate si ekyo kyokka,” Kamani n’ayongerako na kino nti, “Nnabagereka Eseza teyaganyizza muntu mulala n’omu kuwerekera Kabaka ku mbaga gye yategese, wabula nze; era n’enkya ampise ŋŋende wamu ne Kabaka. |
15369 | PSA 87:5 | Bwe baliba boogera ku Sayuuni baligamba nti, “Ono n’oli baazaalirwa omwo,” n’oyo Ali Waggulu Ennyo alikinyweza. |
16553 | PRO 3:28 | Togambanga muliraanwa wo nti, “Genda, onodda enkya ne nkuwa,” ate nga kye yeetaaga okirina. |
17038 | PRO 20:14 | “Si kirungi, si kirungi,” bw’ayogera agula; naye bw’agenda n’alyoka yeenyumiririza mu ky’aguze. |
17098 | PRO 22:13 | Omugayaavu ayogera nti, “Ebweru eriyo empologoma,” oba nti, “Nnyinza okutemulirwa mu kkubo.” |
17121 | PRO 23:7 | Kubanga ye muntu abalirira ensimbi z’asaasaanyizza, n’akugamba nti, “Weeriire, weenywere,” naye ng’omutima gwe tegukusanyukira. |
17161 | PRO 24:12 | Bw’ogambanga nti, “Laba kino twali tetukimanyi,” oyo akebera emitima aba talaba? Oyo akuuma obulamu bwo takimanyi? Talisasula buli muntu ng’omulimu gwe bwe guli? |
17190 | PRO 25:7 | Kubanga okukugamba nti, “Jjangu wano mu maaso,” kisingako okukuswaza mu maaso g’ow’ekitiibwa. |
17290 | PRO 28:24 | Buli anyaga kitaawe, oba nnyina, n’agamba nti, “Si nsonga,” afaanana n’oyo azikiriza. |
17522 | ECC 7:23 | Ebyo byonna nabyekenneenya n’amagezi ne ŋŋamba nti, “Mmaliridde okuba omugezi,” wabula kino kyandi wala. |
17735 | ISA 1:11 | “Ssaddaaka enkumu ze munsalira zingasa ki? Nkooye endiga ennume enjokye eziweebwayo, so sisanyukira musaayi gwa nte, newaakubadde ogw’abaana b’endiga, newaakubadde ogw’embuzi ennume,” bw’ayogera Mukama. |
17742 | ISA 1:18 | “Mujje nno tukubaganye ebirowoozo,” bw’ayogera Mukama; “ebibi byammwe ne bwe biba ng’olugoye olumyufu binaafuuka byeru ng’omuzira, ne bwe binaaba bitwakaavu nga langi emyufu enkwafu, binaatukula ng’ebyoya by’endiga. |
17744 | ISA 1:20 | naye bwe munaagaananga ne mujeemanga ekitala kinaabalyanga,” kubanga akamwa ka Mukama ke kakyogedde. |
18020 | ISA 14:22 | “Nange ndibagolokokerako,” bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye, “ne mmalawo mu Babulooni erinnya lye, n’abalifikkawo, n’omwana n’omuzzukulu,” bw’ayogera Mukama Katonda. |
18021 | ISA 14:23 | “Era ndimufuula obutaka bw’ebiwuugulu, n’entobazzi era mwere n’olweyo oluzikiriza,” bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye. |
18056 | ISA 17:3 | Ekigo eky’amaanyi kirisaanyizibwawo mu Efulayimu, n’obwakabaka mu Ddamasiko bulimalibwawo; naye abalisigalawo mu Busuuli, baliba n’ekitiibwa ng’eky’abaana ba Isirayiri,” bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye. |
18059 | ISA 17:6 | Naye mulisigalamu ebinywa ebirondererwa ng’omuzeyituuni bwe gubeera nga gukubiddwa, ne guleka ebibala bibiri oba bisatu waggulu ku busongezo, bina oba bitaano ku busongezo bw’omuti omugimu,” bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri. |
18274 | ISA 29:11 | Okwolesebwa kuno kwonna tekulina makulu gy’oli okuggyako okuba ebigambo ebissibwako akabonero mu muzingo. Omuzingo bw’oguwa omuntu, asobola okusoma n’omugamba nti, “Nkwegayiridde kino kisome,” ajja kukuddamu nti, “Sisobola, kuliko akabonero.” |
18275 | ISA 29:12 | Oba omuzingo bw’oguwa omuntu atasobola kusoma, n’omugamba nti, “Nkwegayiridde kino kisome,” ajja kukuddamu nti, “Simanyi kusoma.” |
18288 | ISA 30:1 | “Zibasanze abaana abajeemu, Abakola enteekateeka ezitali zange ne bazituukiriza ne batta omukago awatali Mwoyo wange ne bongera ekibi ku kibi,” bw’ayogera Mukama. |
18297 | ISA 30:10 | Bagamba abalabi nti, “Temuddayo kufuna kwolesebwa,” N’eri bannabbi boogera nti, “Temuddayo kututegeeza kwolesebwa kutuufu. Mututegeeze ebitusanyusa, mulagule ebituwabya. |
18373 | ISA 33:24 | Tewali abeera mu Sayuuni alyogera nti, “Ndi mulwadde,” n’abo ababeeramu balisonyiyibwa ekibi kyabwe. |
18456 | ISA 37:34 | Ekkubo lye yajjiramu lye limu ly’anaakwata okuddayo. Tajja kuyingira mu kibuga kino,” bw’ayogera Mukama. |
18528 | ISA 41:7 | Awo omubazzi n’agumya omuweesi wa zaabu omwoyo, n’oyo ayooyoota n’akayondo n’agumya oyo akuba ku luyijja ng’ayogera ku kyuma ekigatta nti, “Nga kirungi,” era ne bakikomerera n’emisumaali kireme okusagaasagana. |
18535 | ISA 41:14 | Wadde ng’oli lusiriŋŋanyi totya, ggwe Isirayiri, kubanga nnaakuyamba,” bw’ayogera Mukama Omununuzi wo, Omutukuvu wa Isirayiri. |
18542 | ISA 41:21 | Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda gye muli mmwe nti, “Mmwe bakatonda baamawanga, mujje nammwe mwogere. Muleete ensonga zammwe tuziwulire,” bw’ayogera Kabaka wa Yakobo. |
18585 | ISA 43:10 | “Muli bajulirwa bange,” bw’ayogera Mukama, “omuweereza wange gwe nalonda: mulyoke mummanye, munzikirize, mutegeere nga Nze wuuyo: Tewali Katonda eyansooka era teriba mulala alinzirira. |
18587 | ISA 43:12 | Nze naleeta okwolesebwa ne nangirira ne ndokola; nze so si katonda mulala mugwira mu mmwe. Muli bajulirwa bange,” bw’ayogera Mukama. |
18644 | ISA 45:13 | Ndiyimusa Kuulo mu butuukirivu era nditereeza amakubo ge gonna. Alizimba ekibuga kyange n’asumulula abantu bange abaawaŋŋangusibwa; naye si lwa mpeera oba ekirabo,” bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye. |
18706 | ISA 48:22 | “Tewali mirembe eri aboonoonyi,” bw’ayogera Mukama. |
18724 | ISA 49:18 | Yimusa amaaso go otunule enjuuyi zonna olabe. Abantu bo beekuŋŋaanya bajja gy’oli. Nga bwe ndi Katonda omulamu, balikwesiimisa, obambale ng’ebikomo n’emidaali ebyebbeeyi ng’omugole bw’ayambala malidaadi,” bw’ayogera Mukama. |
18771 | ISA 52:5 | “Kaakano kiki ate kye ndaba wano? “Kubanga abantu bange baatwalirwa bwereere era abo ababafuga babasekerera,” bw’ayogera Mukama. “Erinnya lyange livvoolebwa olunaku lwonna. |
18794 | ISA 54:1 | “Yimba ggwe omugumba atazaalanga; tandika okuyimbira mu ddoboozi ery’omwanguka osanyukire ddala ggwe atalumwanga kuzaala. Kubanga ggwe eyalekebwa ojja kuba n’abaana bangi okusinga oyo akyalina bba,” bw’ayogera Mukama. |
18801 | ISA 54:8 | Obusungu obubuubuuka bwe bwankwata nakweka amaaso gange okumala ekiseera, naye ndikukwatirwa ekisa n’okwagala okutaliggwaawo,” bw’ayogera Mukama Katonda, Omununuzi wo. |
18803 | ISA 54:10 | Kubanga ensozi ziyinza okuvaawo n’obusozi okuggyibwawo naye okwagala kwange okutaggwaawo tekulisagaasagana so n’endagaano yange ey’emirembe teriggyibwawo,” bw’ayogera Mukama Katonda akusaasira. |
18810 | ISA 54:17 | Naye teri kyakulwanyisa kye baliweesa ekirikwolekera ne kikusobola, era oliwangula buli lulimi olulikuvunaana era oluwoza naawe. Guno gwe mugabo gw’abaddu ba Mukama, n’obutuukirivu bwabwe obuva gye ndi,” bw’ayogera Mukama. |
18818 | ISA 55:8 | “Kubanga ebirowoozo byange si birowoozo byammwe era n’amakubo gammwe si ge makubo gange,” bw’ayogera Mukama. |
18826 | ISA 56:3 | Era ne munnaggwanga eyeegatta ku Mukama tayogeranga nti, “Mukama, oboolyawo alinjawula ku bantu be,” so n’omulaawe okugamba nti, “Ndi muti mukalu.” |
18854 | ISA 57:19 | Mirembe, era mirembe, eri abo abali ewala n’eri abo abali okumpi, era ndibawonya,” bw’ayogera Mukama. |
18856 | ISA 57:21 | “Tewali mirembe, eri aboonoonyi,” bw’ayogera Katonda wange. |
18890 | ISA 59:20 | “Era Omununuzi alijja mu Sayuuni, eri abo abeenenya ebibi byabwe mu Yakobo,” bw’ayogera Mukama. |
18891 | ISA 59:21 | “Era, eno y’endagaano yange gye nkola nabo,” bw’ayogera Mukama. “Omwoyo wange ali ku ggwe era n’ebigambo byange bye ntadde mu kamwa ko, tebiivenga mu kamwa ko, oba mu kamwa k’abaana bo, wadde mu kamwa k’abaana b’abaana bo, okuva kaakano okutuusa emirembe n’emirembe,” bw’ayogera Mukama. |
18944 | ISA 63:8 | Yagamba nti, “Ddala bantu bange, abaana aboobulenzi abatannimbelimbe,” era bw’atyo n’afuuka omulokozi waabwe. |
18973 | ISA 65:7 | olw’ebibi byammwe byonna era n’olw’ebibi bya bakitammwe,” bw’ayogera Mukama Katonda. “Kubanga baayokera ebiweebwayo byabwe ku lusozi era ne bannyoomera ku busozi, ndibalira mu mikono gyabwe empeera yennyini enzijuvu ey’ebikolwa byabwe eby’edda.” |
18991 | ISA 65:25 | Omusege n’omwana gw’endiga biriire wamu, era empologoma erye omuddo ng’ennume, era ettaka libeere emmere y’omusota. Tewaliba kulumya wadde kuzikiriza ku lusozi lwange olutukuvu,” bw’ayogera Mukama Katonda. |
19008 | ISA 66:17 | “Abo abeetukuza balyoke balage mu nnimiro entukuvu okukola eby’emizizo, abatambulira mu nnyiriri nga bwe balya embizzi, omusonso n’emmere ey’omuzizo, bonna balizikirira wamu,” bw’ayogera Mukama Katonda. |
19014 | ISA 66:23 | Okuva ku mwezi okutuuka ku mwezi, n’okuva ku ssabbiiti okutuuka ku ssabbiiti, bonna abalina omubiri banajjanga okusinziza mu maaso gange,” bw’ayogera Mukama Katonda. |
19023 | JER 1:8 | Tobatyanga, kubanga nze ndi naawe okukuwonya,” bw’ayogera Mukama Katonda. |
19030 | JER 1:15 | Kubanga laba nnaatera okuyita abantu bonna ab’omu bwakabaka obuli mu bukiikakkono,” bw’ayogera Mukama Katonda. Bakabaka baabwe balyoke bajje bateeke entebe zaabwe ez’obwakabaka mu miryango egiyingira ekibuga Yerusaalemi, balizinda bbugwe waakyo yenna era bazinde n’ebibuga byonna ebya Yuda. |
19034 | JER 1:19 | Balirwana naawe naye tebalikuwangula; kubanga nze ndi wamu naawe okukununula,” bw’ayogera Mukama Katonda. |
19043 | JER 2:9 | “Kyenva nnyongera okubalumiriza,” bw’ayogera Mukama, “Era ndirumiriza n’abaana b’abaana bammwe. |
19053 | JER 2:19 | Ebibi byo byennyini bye biri kubonereza, n’okudda kwo emabega kwe kulikusalira omusango. Kale lowooza era otegeere nga bwe kiri ekibi era eky’omutawaana gy’oli bw’ova ku Mukama Katonda wo, n’oba nga tokyantya,” bw’ayogera Mukama, Katonda ow’eggye. |
19056 | JER 2:22 | Kubanga ne bw’onaaba n’oluvu n’okozesa ne sabbuuni omungi, naye era ebbala lyo n’obutali butuukirivu bwo bisigala bikyalabika,” bw’ayogera Mukama Katonda. |
19061 | JER 2:27 | nga bagamba emiti nti, “Ggwe kitange,” era n’ejjinja nti, “Ggwe wanzaala.” Bankubye amabega, naye bwe balaba ennaku bankaabirira nti, “Yimuka ojje otulokole.” |
19063 | JER 2:29 | “Lwaki munneemulugunyiza? Mwenna mwanneeddiimira,” bw’ayogera Mukama. |
19081 | JER 3:10 | Naye wadde nga byonna bimaze okubaawo, muganda we Yuda atali mwesigwa, teyakomawo gye ndi na mutima gwe gwonna, naye yali alimbalimba,” bw’ayogera Mukama. |
19085 | JER 3:14 | “Mukomeewo mmwe abaana abanvaako,” bw’ayogera Mukama; “kubanga nze bbammwe, era ndibalondamu omu ku omu okuva mu buli kibuga, babiri babiri okuva mu buli kika mbaleete ku lusozi Sayuuni. |
19087 | JER 3:16 | Ennaku bwe zirituuka nga mwaze era nga muli bangi nnyo mu nsi,” bw’ayogera Mukama, “abantu baliba tebakyayogera ku Ssanduuko y’Endagaano. Baliba tebakyagirowooza nako, okugijjukira; oba okulumwa emitima olw’obutaba nayo wadde okukola endala. |
19091 | JER 3:20 | Naye ng’omukazi atali mwesigwa eri bba bw’abeera, bwe mutyo bwe mutabadde beesigwa gye ndi, mmwe ennyumba ya Isirayiri,” bw’ayogera Mukama. |
19097 | JER 4:1 | “Bw’oba odda, ggwe Isirayiri,” bw’ayogera Mukama, “eri nze gy’olina okudda. Bw’oneggyako eby’omuzizo byonna n’otosagaasagana, |
19138 | JER 5:11 | Kubanga ennyumba ya Isirayiri n’ennyumba ya Yuda zifuukidde ddala njeemu gye ndi,” bw’ayogera Mukama. |
19142 | JER 5:15 | Laba, mbaleetera eggwanga eriva ewala, ggwe ennyumba ya Isirayiri,” bw’ayogera Mukama. Ensi eyaguma ey’edda, abantu ab’olulimi lwe mutamanyi aboogera bye mutategeera |