5700 | DEU 29:18 | Omuntu ow’engeri ng’eyo ng’awulidde ebigambo eby’ekikolimo kino n’amala yeeyibaala, ne yeetukuza ku bubwe yekka, n’alowooza munda ye nti, “Nzija kubeera bulungi newaakubadde nga mmaliridde okukwata ekkubo eryange ery’obujeemu,” ekyo kinaaletanga akacwano ku ttaka erinnyogovu obulungi ne ku kkalu. |
7258 | 1SA 2:16 | Omusajja bwe yamuddangamu nti, “Leka bamale okwokyako amasavu, olyoke otwale yonna gy’oyagala,” omuweereza yaddangamu nti, “Nedda, oteekwa okugimpa kaakano, bwe kitaba bwe kityo, nzija kugitwala lw’amaanyi.” |
7943 | 1SA 27:10 | Awo Akisi yamubuuzanga nti, “Leero walumbye wa?” Dawudi yaddangamu nti, “Ebukiikaddyo obwa Yuda,” oba nti, “Ebukiikaddyo obw’Abayerameeri,” oba nti, “Ebukiikaddyo obw’Abakeeni.” |
9533 | 1KI 22:50 | Mu kiseera ekyo Akaziya mutabani wa Akabu yali agambye Yekosafaati nti, “Abasajja bange ka baseeyeeye n’ababo,” naye Yekosafaati n’atakyagala. |
9890 | 2KI 13:15 | Erisa n’amuddamu nti, “Ffuna omutego n’obusaale,” era n’akola bw’atyo. |
9892 | 2KI 13:17 | Erisa n’amugamba nti, “Ggulawo eddirisa ery’ebuvanjuba,” n’aliggulawo. N’amulagira okulasa. Erisa n’ayogera nti, “Akasaale ka Mukama ak’obuwanguzi, akasaale ak’obuwanguzi eri Obusuuli, era ojja kusaanyizaawo ddala Abasuuli mu Afeki.” |
17173 | PRO 24:24 | Kale oyo agamba azizza omusango nti, “Toliiko ky’ovunaanibwa,” abantu banaamukolimiranga, n’amawanga ganaamwetamwanga. |
18020 | ISA 14:22 | “Nange ndibagolokokerako,” bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye, “ne mmalawo mu Babulooni erinnya lye, n’abalifikkawo, n’omwana n’omuzzukulu,” bw’ayogera Mukama Katonda. |
18136 | ISA 22:14 | Mukama ow’Eggye akimbikulidde n’aŋŋamba nti, “Ekibi kino tekirisonyiyibwa wadde okuggyibwawo okutuusa lw’olifa,” bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye. |
18292 | ISA 30:5 | buli muntu aliswazibwa olw’eggwanga eritabagasa, abataleeta buyambi newaakubadde okuba ab’omugaso, okuggyako ensonyi n’ekivume,” bw’ayogera Mukama. |
18329 | ISA 31:9 | Ekigo kyabwe kirigwa olw’okutya, n’abaduumizi baabwe balitekemuka omutima olw’okulaba ebbendera ey’olutalo,” bw’ayogera Mukama nannyini muliro oguli mu Sayuuni, era nannyini kikoomi ekiri mu Yerusaalemi. |
18799 | ISA 54:6 | Kubanga Mukama Katonda yakuyita okomewo, ng’omukazi eyali alekeddwawo ng’alina ennaku ku mutima; omukazi eyafumbirwa ng’akyali muto, n’alekebwawo,” bw’ayogera Katonda wo. |
18891 | ISA 59:21 | “Era, eno y’endagaano yange gye nkola nabo,” bw’ayogera Mukama. “Omwoyo wange ali ku ggwe era n’ebigambo byange bye ntadde mu kamwa ko, tebiivenga mu kamwa ko, oba mu kamwa k’abaana bo, wadde mu kamwa k’abaana b’abaana bo, okuva kaakano okutuusa emirembe n’emirembe,” bw’ayogera Mukama. |
19012 | ISA 66:21 | Era ndifuula abamu ku bo okubeera bakabona n’abaleevi,” bw’ayogera Mukama Katonda. |
19046 | JER 2:12 | Wewuunye ggwe eggulu, era okankane n’entiisa ey’amaanyi,” bw’ayogera Mukama. |
19387 | JER 15:3 | “Ndiweereza engeri nnya ez’okubazikiriza,” bw’ayogera Mukama. “Ekitala kya kufumita, embwa zikulule, ebinyonyi eby’omu bbanga n’ensolo ez’omu nsiko zirye n’okuzikiriza. |
19404 | JER 15:20 | Ndikufuula ekisenge eri abantu bano, ekisenge ekinywezebbwa eky’ekikomo. Balikulwanyisa naye tebalikuwangula, kubanga ndi naawe, okukununula, n’okukulokola,” bw’ayogera Mukama. |
19585 | JER 23:32 | Ddala ddala ndi mulabe w’abo abawa obunnabbi bw’ebirooto ebikyamu. Babyogera ne babuza abantu bange n’obulimba bwabwe obutaliimu, ate nga saabatuma wadde okubateekawo. Tebalina kye bayamba bantu bano n’akatono,” bw’ayogera Mukama. |
19780 | JER 31:20 | Efulayimu si mwana wange omwagalwa, omwana gwe nsanyukira? Wadde nga ntera okumunenya naye nkyamujjukira. Noolwekyo omutima gwange gumuyaayaanira; nnina ekisa kingi gy’ali,” bw’ayogera Mukama. |
20266 | JER 50:31 | “Laba, ndi mulabe wo, ggwe ow’amalala,” bw’ayogera Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye, “Kubanga olunaku lwo lutuuse, ekiseera ky’on’obonerezebwamu. |
20784 | EZK 13:7 | Temulabye kwolesebwa kukyamu ne mwogera n’okubikkulirwa okw’obulimba, bwe mwogedde nti, “Mukama bw’ati bw’ayogera,” newaakubadde nga mba soogedde? |
20996 | EZK 20:32 | “ ‘Mwogera nti, “Twagala okuba ng’amawanga amalala, ng’abantu ab’ensi endala, abaweereza embaawo n’amayinja,” naye ebyo bye mulowooza tebiribaawo n’akatono. |
22187 | HOS 2:15 | Ndimubonereza olw’ennaku ze yayotereza obubaane eri Babaali, ne yeeyambaza empeta n’ebintu eby’omuwendo ennyo, n’agenda eri baganzi be, naye nze n’aneerabira,” bw’ayogera Mukama. |
22479 | AMO 3:15 | Era ndisaanyaawo ennyumba ebeerwamu mu biseera eby’obutiti, awamu n’ennyumba ebeerwamu mu biseera ey’ebbugumu; era ndimenyaamenya n’ennyumba ezayolebwa n’amasanga, ne nsanyaawo n’embiri,” bw’ayogera Mukama. |
23168 | MAL 1:10 | “Kale waakiri singa omu ku bakabona aggalawo enzigi muleme okukuma omuliro ku kyoto kyange ogw’obwereere! Sibasanyukira n’akatono,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye, “so sikkirize kiweebwayo kyonna ekiva mu mikono gyammwe. |
23201 | MAL 3:12 | “Era amawanga gonna galibayita ba mukisa: kubanga muliba nsi esanyusa, kino ky’ekisuubizo,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye. |
24231 | MAT 27:33 | Bwe baatuuka mu kifo ekiyitibwa Gologoosa, amakulu nti, “Akasozi k’Ekiwanga,” |