395 | GEN 16:13 | Awo n’akoowoola erinnya lya Mukama eyayogera naye, n’agamba nti, “Oli Katonda alaba”, kubanga yagamba nti, “Ndabidde ddala Katonda ne nsigala nga ndi mulamu nga maze okumulaba.” |
6721 | JDG 7:25 | Ne bawamba Olebu ne Zeebu bombi abalangira ba Midiyaani; Olebu ne bamuttira ku lwazi olumanyiddwa nga “Olwazi lwa Olebu” ne Zeebu ne bamuttira ku ssogolero erimanyiddwa nga “essogolero lya Zeebu”, ne bongera okuwondera Abamidiyaani. Omutwe gwa Olebu n’ogwa Zeebu, Gidyoni ne bagimusanza emitala wa Yoludaani. |
30376 | JAS 2:16 | naye omu ku mmwe n’amugamba nti, “Genda mirembe, obugume, era olye bulungi”, naye nga tamuwaddeeyo byetaago bya mubiri, olwo kimugasa ki? |