2806 | LEV 4:10 | (nga bwe biggyibwa ku nte ey’ekiweebwayo olw’emirembe), bw’atyo kabona anaabyokeranga ku kyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa. |
5276 | DEU 13:3 | era ebyamagero ebyo, oba ebyewuunyisa ebyo by’anaabanga alangiridde ne bituukirira, n’alyoka akugamba nti, “Ka tugoberere bakatonda abalala era tubaweerezenga” (bakatonda ggwe b’otomanyangako), |
6747 | JDG 8:26 | Obuzito bw’empeta eza zaabu ne buba sekeri lukumi mu lusanvu (nga kilo kkumi na mwenda n’ekitundu), obutabalirako bya kwewoomya, ebirengejja, n’ebyambalo ebya ffulungu, ebyayambalwanga bakabaka ba Midiyaani, n’emikuufu egyateekebwanga mu bulago bw’eŋŋamira zaabwe. |