108 | GEN 5:2 | Yabatonda omusajja n’omukazi, n’abawa omukisa n’abatuuma, “abantu.” |
498 | GEN 20:2 | Ibulayimu n’ayogera ku Saala mukazi we nti, “Mwannyinaze.” Abimereki kabaka we Gerali n’atumya n’atwala Saala. |
538 | GEN 21:24 | Ne Ibulayimu n’amuddamu nti, “Nkulayiridde.” |
555 | GEN 22:7 | Isaaka n’agamba Ibulayimu nti, “Taata.” Ibulayimu n’amuddamu nti, “Nzuuno mwana wange.” Isaaka n’amubuuza nti, “Laba, omuliro n’enku biibino, naye omwana gw’endiga ogw’ekiweebwayo ekyokebwa guluwa?” |
625 | GEN 24:33 | Oluvannyuma ne bamuleetera emmere alye. Kyokka ye n’agamba nti, “Sijja kulya nga sinnayogera kindeese.” Labbaani n’amugamba nti, “Yogera.” |
650 | GEN 24:58 | Ne bayita Lebbeeka, ne bamubuuza nti, “Onoogenda n’omusajja ono?” N’addamu nti, “Nnaagenda.” |
700 | GEN 26:7 | abasajja ab’omu nsi omwo bwe baamubuuza ku mukazi we n’abaddamu nti, “Mwannyinaze.” Kubanga yatya okwogera nti, “Mukazi wange,” ng’alowooza nti, “Abasajja ab’omu nsi omwo tebalwa kunzita lwa Lebbeeka,” kubanga yali mulungi nnyo. |
801 | GEN 29:5 | Kwe kubabuuza nti, “Labbaani mutabani wa Nakoli mumumanyi?” Ne bamuddamu nti, “Tumumanyi.” |
956 | GEN 32:28 | Omusajja n’amubuuza nti, “Erinnya lyo gw’ani?” N’amuddamu nti, “Yakobo.” |
1239 | GEN 41:43 | N’amuwa n’okutambuliranga mu ggaali lye eriddirira mu kitiibwa ng’erya Falaawo mwe yatambuliranga. Bonna ne bavuunama mu maaso ga Yusufu nga bwe bagamba nti, “Muvuuname.” Bw’atyo Falaawo n’amuteekawo okufuga ensi yonna ey’e Misiri. |
1452 | GEN 47:31 | N’amugamba nti, “Ndayirira.” N’amulayirira. Awo Isirayiri n’akoteka omutwe gwe ng’atudde emitwetwe w’ekitanda kye. |
1604 | EXO 4:2 | Awo Mukama n’amubuuza nti, “Ekyo kiki ekiri mu ngalo zo?” N’addamu nti, “Muggo.” |
1721 | EXO 8:6 | Falaawo n’agamba nti, “Enkya.” Musa n’agamba nti, “Kijja kubeera nga bw’ogambye, olyoke otegeere nga bwe watali n’omu afaanana nga Mukama Katonda waffe. |
4332 | NUM 20:20 | Naye Edomu n’addamu nti, “Temuyitawo.” Edomu ne yeesowolayo n’eggye ddene nnyo era nga lya maanyi. |
4406 | NUM 22:30 | Endogoyi n’egamba Balamu nti, “Siri ndogoyi yo gye weebagadde ebbanga lyonna n’okutuusa ku lunaku lwa leero? Ebadde mpisa yange okukukola bwe nti?” Balamu n’addamu nti, “Nedda.” |
5602 | DEU 27:15 | “Akolimirwe omuntu yenna akola ekifaananyi ekitali Katonda oba abumba ekintu ng’ekyo kyonna Mukama ky’akyayira ddala nga kikolebwa omukozi nnakinku, omuntu oyo n’abaako ne wakiyimiriza mu kyama.” Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.” |
5603 | DEU 27:16 | “Akolimirwe omuntu yenna atassaamu kitiibwa kitaawe oba nnyina.” Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.” |
5604 | DEU 27:17 | “Akolimirwe omuntu yenna akyusa ekituuti ekiraga ensalo ya muliraanwa we.” Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.” |
5605 | DEU 27:18 | “Akolimirwe omuntu yenna aggya omuzibe w’amaaso mu kkubo ettuufu n’amubuza.” Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.” |
5606 | DEU 27:19 | “Akolimirwe omuntu yenna atalaga bwenkanya eri bannamawanga, oba bamulekwa oba bannamwandu.” Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.” |
5607 | DEU 27:20 | “Akolimirwe omuntu yenna eyeebaka ne muka kitaawe, kubanga ekitanda kya kitaawe akimalamu ekitiibwa.” Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.” |
5608 | DEU 27:21 | “Akolimirwe omuntu yenna akola ebyobukaba n’ensolo.” Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.” |
5609 | DEU 27:22 | “Akolimirwe omuntu yenna eyeebaka ne mwannyina omuwala wa kitaawe, oba muwala wa nnyina.” Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.” |
5610 | DEU 27:23 | “Akolimirwe omuntu yenna eyeebaka ne nnyina wa mukazi we.” Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.” |
5611 | DEU 27:24 | “Akolimirwe omuntu yenna atemula munne.” Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.” |
5612 | DEU 27:25 | “Akolimirwe omuntu yenna akkiriza okugulirirwa atte munne ataliiko musango.” Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.” |
5613 | DEU 27:26 | “Akolimirwe omuntu yenna atagondera bigambo ebiri mu mateeka gano.” Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.” |
6060 | JOS 9:21 | Abakulembeze b’Abayisirayiri ne bagamba nti, “Temubatta.” Bwe batyo ne bafuuka baakwasanga nku era n’okukimanga amazzi g’Abayisirayiri ng’abakulembeze bwe babalagira. |
6869 | JDG 11:38 | N’amugamba nti, “Genda.” N’agenda n’amala emyezi ebiri mu nsozi ng’ali ne bawala banne nga yeekaabirako olw’okuba yali mbeerera. |
6877 | JDG 12:6 | Bwe yeegananga, nga bamugamba ayogere nti, “Shibbolesi.” Bwe yayogeranga nti, “Sibbolesi,” kubanga teyayinzanga kukyogera bulungi, ng’akwatibwa era ng’attibwa awo awasomokerwa ku Yoludaani. Mu biro ebyo, mu Efulayimu ne mufaamu abantu emitwalo ena mu enkumi bbiri. |
7200 | RUT 4:8 | Awo omusajja n’agamba nti, “Kyegulire.” Amangwago Bowaazi n’aggyamu engatto ye. |
7467 | 1SA 12:5 | Awo Samwiri n’abaddamu nti, “Mukama ye mujulirwa gye muli, era n’oyo gwe yafukako amafuta mujulirwa leero, nga sirina nsobi yonna mu maaso gammwe.” Ne baddamu nti, “Mujulirwa.” |
7578 | 1SA 15:16 | Awo Samwiri n’agamba Sawulo nti, “Sirika! Ka nkutegeeze Mukama kye yaŋŋambye ekiro.” Sawulo n’amuddamu nti, “Ntegeeza.” |
7722 | 1SA 19:14 | Awo Sawulo bwe yatumayo ababaka okuwamba Dawudi, Mikali n’abagamba nti, “Mulwadde.” |
7824 | 1SA 23:11 | Abatuuze b’e Keyira balimpaayo gy’ali? Era Sawulo anaaserengeta n’ajja, ng’omuweereza wo bw’awulidde? Ayi Mukama, Katonda wa Isirayiri, nkwegayiridde, tegeeza omuweereza wo.” Mukama n’amugamba nti, “Aliserengeta.” |
8040 | 2SA 1:15 | Awo Dawudi n’ayita omu ku basajja be, n’amugamba nti, “Mutte.” N’amufumita n’amutta. |
8053 | 2SA 2:1 | Oluvannyuma lw’ebyo Dawudi ne yeebuuza ku Mukama nti, “Nyambuke mu kimu ku bibuga bya Yuda?” Mukama n’amuddamu nti, “Yambuka.” N’abuuza nate nti, “Ŋŋende mu kiruwa?” Mukama n’amuddamu nti, “E Kebbulooni.” |
8308 | 2SA 12:19 | Naye Dawudi n’alaba abaddu be nga boogera obwama, n’ategeera nti omwana afudde. N’ababuuza nti, “Omwana afudde?” Ne baddamu nti, “Afudde.” |
8371 | 2SA 14:12 | Awo omukazi n’agamba kabaka nti, “Nkwegayiridde, ka mbeeko ekigambo kye ŋŋamba mukama wange kabaka.” N’amuddamu nti, “Yogera.” |
8504 | 2SA 18:23 | N’ayogera nti, “Ka mmale gagenda.” Awo Yowaabu n’amugamba nti, “Dduka.” Akimaazi n’addukira mu kkubo ery’olusenyi lwa Yoludaani n’ayisa Omukusi. |
8574 | 2SA 20:17 | Yowaabu n’agenda okumpi ne we yali, omukazi n’amubuuza nti, “Ggwe Yowaabu?” N’addamu nti, “Nze nzuuyo.” N’amugamba nti, “Wuliriza omuweereza wo by’anaayogera.” N’addamu nti, “Mpuliriza.” |
8589 | 2SA 21:6 | tuwe musanvu ku batabani be tubatte tubaanike mu maaso ga Mukama e Gibea ekya Sawulo, omulonde wa Mukama.” Kabaka n’ayogera nti, “Ndibabawa.” |
8787 | 1KI 2:14 | N’ayogera nate nti, “Nnina kye njagala okukubuulira.” Basuseba n’amuddamu nti, “Kimbuulire.” |
8789 | 1KI 2:16 | Kaakano nkusaba ekigambo kimu, era tokinnyima.” Basuseba n’amugamba nti, “Kyogere.” |
9425 | 1KI 20:14 | Akabu n’abuuza nti, “Anakikola atya?” Nnabbi n’addamu nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Abavubuka bo ab’abaduumizi b’amasaza, bajja kukubeera.’ ” Akabu ne yeeyongera okubuuza nti, “Ani anasooka okulumba?” Nnabbi n’addamu nti, “Ggwe.” |
9613 | 2KI 4:6 | Ebintu byonna ebyali awo bwe byajjula, n’agamba omu ku batabani be nti, “Ndeetera ekintu ekirala.” Naye n’amuddamu nti, “Biweddeyo.” Awo amafuta ne gakoma. |
9622 | 2KI 4:15 | Erisa n’amugamba nti, “Muyite.” Bwe yamuyita, n’ajja n’ayimirira mu mulyango. |
9680 | 2KI 6:2 | Leka tulage ku lubalama lwa Yoludaani, buli omu ku ffe atemeyo omuti gumu, twezimbire ekifo ekigazi mwe tuyinza okubeera.” N’abagamba nti, “Mugende.” |
9685 | 2KI 6:7 | Erisa n’amugamba nti, “Giggyeemu.” Omusajja n’agiggyamu. |
9811 | 2KI 10:14 | N’alagira nti, “Mubakwate.” Ne babakwata, abasajja amakumi ana mu babiri bonna ne babattira kumpi n’obunnya obw’ennyumba gye baasalirangamu endiga ebyoya. N’atalekaawo n’omu. |
9812 | 2KI 10:15 | Eyo bwe yavaayo, n’asanga Yekonadabu mutabani wa Lekabu ng’ajja okumusisinkana. Yeeku n’amulamusa, n’amubuuza nti, “Ossa kimu nange, nga nze bwe nzisa ekimu naawe?” Yekonadabu n’addamu nti, “Weewaawo.” Yeeku n’amugamba nti, “Obanga weewaawo, mpa omukono gwo.” N’amuwa omukono gwe, Yeeku n’amulinnyisa gy’ali mu ggaali. |
10064 | 2KI 18:36 | Naye abantu ne basirika ne bataddamu kigambo na kimu, kubanga kabaka yali alagidde nti, “Temumuddamu.” |
18309 | ISA 30:22 | Olwo olyonoonayonoona ebintu ebyakolebwa n’emikono ebiriko ffeeza, n’ebifaananyi byo ebyabikkibwako zaabu, era olibisuula nga bw’osuula ekiwero ekikozesebwa mu nsonga za bakyala era olibigamba nti, “Muveewo.” |
18421 | ISA 36:21 | Kyokka bo baasirika busirisi tebaddamu, kubanga kabaka yali alagidde nti, “Temumuddamu.” |
19302 | JER 11:7 | Okuva lwe naggya bajjajjammwe mu Misiri okutuusa leero, mbakuutidde emirundi mingi nga mbagamba nti, “Muŋŋondere.” |
22302 | HOS 10:8 | Ebifo ebigulumivu eby’obutali butuukirivu birisaanyizibwawo, kye kibi kya Isirayiri. Amaggwa n’amatovu galimera ku byoto byabwe, ne gabibikka. Olwo ne bagamba ensozi nti, “Mutubuutikire,” n’obusozi nti, “Mutugweko.” |
22936 | HAG 2:12 | Omuntu bw’asitulira ennyama eyatukuzibwa mu kirenge eky’ekyambalo kye, ekirenge ne kikoma ku mugaati oba ku supu, oba ku wayini, oba ku mafuta oba ku mmere endala yonna, bitukuzibwa?’ ” Bakabona ne baddamu nti, “Nedda.” |
23457 | MAT 9:9 | Awo Yesu bwe yava mu kifo ekyo n’alaba omuntu, erinnya lye Matayo, ng’atudde mu kifo we basolooleza omusolo, n’amugamba nti, “Ngoberera.” Bw’atyo naye n’asitukiramu n’agoberera Yesu. |
23659 | MAT 13:51 | Yesu n’ababuuza nti, “Ebintu bino byonna mubitegedde?” Ne bamuddamu nti, “Weewaawo.” |
23883 | MAT 20:22 | Naye Yesu n’amuddamu nti, “Tomanyi ky’osaba. Muyinza okunywa ku kikompe nze kye ŋŋenda okunywako?” Ne baddamu nti, “Tuyinza.” |
24148 | MAT 26:25 | Yuda anaamulyamu olukwe n’amubuuza nti, “Ddala ddala, ye nze Labbi?” Yesu n’amuddamu nti, “Oyogedde.” |
24209 | MAT 27:11 | Awo Yesu bwe yayimirira mu maaso ga gavana, Omuruumi, gavana n’amubuuza nti, “Ggwe Kabaka w’Abayudaaya?” Yesu n’amuddamu nti, “Okyogedde.” |
24343 | MRK 2:14 | Awo bwe yali ng’atambula n’alaba Leevi mutabani wa Alufaayo ng’atudde we yasoloolezanga omusolo, n’amugamba nti, “Ngoberera.” Awo Leevi n’asituka n’amugoberera. |
24488 | MRK 6:12 | Awo abayigirizwa ne bagenda nga babuulira buli muntu nti, “Mwenenye.” |
24491 | MRK 6:15 | Naye abalala ne balowooza nti, “Eriya.” N’abalala ne bagamba nti, “Nnabbi ng’omu ku bannabbi ab’edda.” |
24566 | MRK 7:34 | Awo Yesu n’atunula waggulu n’assa ekikkowe, n’alyoka alagira omusajja nti, “Efasa!” ekitegeeza nti, “Gguka.” |
24574 | MRK 8:5 | Yesu n’ababuuza nti, “Mulinawo emigaati emeka?” Ne baddamu nti, “Musanvu.” |
24589 | MRK 8:20 | N’ababuuza nti, “Ate abantu bwe baali enkumi ennya n’emigaati omusanvu, mwakuŋŋaanya ebisero by’obutundutundu bwe baalemwa bimeka?” Ne baddamu nti, “Musanvu.” |
24696 | MRK 10:39 | Ne bamuddamu nti, “Tusobola.” Yesu n’abagamba nti, “Okunywa ku kikompe kyange mugenda kukinywako era mulibatizibwa ne mu kubatizibwa kwange. |
24706 | MRK 10:49 | Yesu n’ayimirira n’ayogera nti, “Mumuyite.” Ne bayita omuzibe w’amaaso nti, “Guma omwoyo, situka akuyita!” |
24742 | MRK 11:33 | Ne baddamu Yesu nti, “Tetumanyi.” Awo Yesu n’abaddamu nti, “Nange sijja kubabuulira obuyinza obunkoza ebintu ebyo gye mbuggya.” |
24888 | MRK 14:65 | Abamu ne batandika okumuwandulira amalusu, ne bamusiba kantuntunu ku maaso, ne bamukuba empi mu maaso, nga bwe bamuduulira nga bagamba nti, “Lagula.” N’abaserikale nabo ne bamukuba ebikonde nga bamufulumya. |
24897 | MRK 15:2 | Piraato n’abuuza Yesu nti, “Ggwe Kabaka w’Abayudaaya?” Yesu n’amuddamu nti, “Oyogedde.” |
24909 | MRK 15:14 | Piraato n’ababuuza nti, “Lwaki? Azziza musango ki?” Naye bo ne beeyongera bweyongezi okuleekaana nti, “Mukomerere.” |
25203 | LUK 5:27 | Oluvannyuma lw’ebyo Yesu n’avaayo n’alaba omusolooza w’omusolo, erinnya lye Leevi ng’atudde omusolo we gukuŋŋaanyizibwa, n’amugamba nti, “Ngoberera.” |
25277 | LUK 7:13 | Awo Mukama waffe bwe yalaba nnamwandu n’amusaasira, n’amugamba nti, “Tokaaba.” |
25429 | LUK 9:59 | N’agamba omusajja omulala nti, “Ngoberera.” Omusajja n’addamu nti, “Mukama wange, nzikiriza mmale okugenda okuziika kitange.” |
25968 | LUK 22:35 | Awo Yesu n’ababuuza nti, “Bwe nabatuma okubuulira Enjiri, ne mutatwala nsimbi wadde ensawo, oba omugogo omulala ogw’engatto, mwalina okwetaaga ekintu kyonna?” Ne baddamu nti, “Nedda.” |
26034 | LUK 23:30 | “ ‘Baligamba ensozi nti, “Mutugweko,” n’obusozi nti, “Mutuziike.” ’ |
26134 | JHN 1:21 | Ne bamubuuza nti, “Kale ggwe ani? Ggwe Eriya?” Yokaana Omubatiza n’addamu nti, “Nedda, si nze ye.” Ne bongera okumubuuza nti, “Ggwe Nnabbi ayogerwako?” N’addamu nti, “Nedda.” |
26156 | JHN 1:43 | Ku lunaku olwaddirira, Yesu n’agenda e Ggaliraaya, bwe yasanga Firipo n’amugamba nti, “Ngoberera.” |
26409 | JHN 7:12 | Ne wabaawo oluvuuvuumo lungi mu bantu. Abamu ne bagamba nti, “Mulungi.” Naye abalala nga bagamba nti, “Nedda, alimba abantu.” |
26521 | JHN 9:12 | Ne bamubuuza nti, “Ali ludda wa?” N’addamu nti, “Simanyi.” |
26662 | JHN 12:13 | ne bakwata amatabi g’enkindu ne bagenda okumusisinkana nga baleekaana nti, “Ozaana.” “Aweereddwa omukisa ajja mu linnya lya Mukama.” “Ye Kabaka wa Isirayiri.” |
26871 | JHN 18:17 | Omuwala omuggazi n’abuuza Peetero nti, “Naawe oli omu ku bayigirizwa b’omuntu oyo?” Peetero n’addamu nti, “Nedda.” |
26879 | JHN 18:25 | Mu kiseera ekyo Simooni Peetero yali ayimiridde ng’ayota omuliro. Ne bamubuuza nti, “Naawe oli omu ku bayigirizwa ba Yesu?” N’abaddamu nti, “Nedda.” |
26924 | JHN 19:30 | Bwe yakombako n’agamba nti, “Kiwedde.” N’akutamya omutwe gwe n’awaayo obulamu bwe. |
26952 | JHN 20:16 | Yesu n’amugamba nti, “Maliyamu!” Maliyamu n’akyukira Yesu n’amugamba mu Lwebbulaniya nti, “Labooni,” ekitegeeza nti, “Omuyigiriza.” |
26972 | JHN 21:5 | Yesu n’ababuuza nti, “Abaana, mukwasizzaayo?” Ne baddamu nti, “Nedda.” |
26986 | JHN 21:19 | Ekyo Yesu yakyogera ng’alaga enfa Peetero gy’alifaamu okuweesa Katonda ekitiibwa. Awo n’amugamba nti, “Ngoberera.” |
28166 | ROM 7:7 | Kale tunaayogera ki? Amateeka kye kibi? Kikafuuwe. Singa tewaali mateeka, sanditegedde kibi. N’okwegomba kw’omubiri sandikutegeeredde ddala singa amateeka tegaagamba nti, “Teweegombanga.” |
30371 | JAS 2:11 | Kubanga Katonda eyagamba nti, “Toyendanga,” era y’omu eyagamba nti, “Tottanga.” Noolwekyo singa toyenda, naye n’otta oba mumenyi wa mateeka gonna. |
30717 | 2JN 1:5 | Naye nnyabo kaakano nkusaba nga siri ng’akuwa ekiragiro ekiggya, naye nkujjukiza ekiragiro ekyo Katonda kye yatuwa okuva ku lubereberye nti, “Twagalanenga.” |
30861 | REV 5:14 | Ebiramu ebina ne biddamu nti, “Amiina.” N’abakadde ne bavuunama ne bamusinza. |
31040 | REV 16:17 | Awo malayika ow’omusanvu n’ayiwa ebyali mu kibya kye mu bbanga. Eddoboozi ery’omwanguka ne liva mu Yeekaalu mu ntebe y’obwakabaka nga lyogera nti, “Kiwedde.” |
31166 | REV 22:17 | Omwoyo n’Omugole boogera nti, “Jjangu.” Na buli awulira ayogere nti, “Jjangu.” Buli alumwa ennyonta ajje, buli ayagala ajje anywe ku mazzi ag’obulamu ag’obuwa. |