Wildebeest analysis examples for:   lug-lug   (Number,Number).    February 25, 2023 at 00:38    Script wb_pprint_html.py   by Ulf Hermjakob

3626  NUM 1:21  Abaabalibwa okuva mu kika kya Lewubeeni baali emitwalo ena mu kakaaga mu bitaano (46,500).
3628  NUM 1:23  Abaabalibwa okuva mu kika kya Simyoni baali emitwalo etaano mu kenda mu ebikumi bisatu (59,300).
3630  NUM 1:25  Abaabalibwa okuva mu kika kya Gaadi baali emitwalo ena mu enkumi ttaano mu lukaaga mu amakumi ataano (45,650).
3632  NUM 1:27  Abaabalibwa okuva mu kika kya Yuda baali emitwalo musanvu mu enkumi nnya mu lukaaga (74,600).
3634  NUM 1:29  Abaabalibwa okuva mu kika kya Isakaali baali emitwalo etaano mu enkumi nnya mu ebikumi bina (54,400).
3636  NUM 1:31  Abaabalibwa okuva mu kika kya Zebbulooni baali emitwalo etaano mu kasanvu mu ebikumi bina (57,400).
3638  NUM 1:33  Abaabalibwa okuva mu kika kya Efulayimu baali emitwalo ena mu ebikumi bitaano (40,500).
3640  NUM 1:35  Abaabalibwa okuva mu kika kya Manase baali emitwalo esatu mu enkumi bbiri mu ebikumi bibiri (32,200).
3642  NUM 1:37  Abaabalibwa okuva mu kika kya Benyamini baali emitwalo esatu mu enkumi ttaano mu ebikumi bina (35,400).
3644  NUM 1:39  Abaabalibwa okuva mu kika kya Ddaani baali emitwalo mukaaga mu enkumi bbiri mu lusanvu (62,700).
3646  NUM 1:41  Abaabalibwa okuva mu kika kya Aseri baali emitwalo ena mu lukumi mu ebikumi bitaano (41,500).
3648  NUM 1:43  Abaabalibwa okuva mu kika kya Nafutaali baali emitwalo etaano mu enkumi ssatu mu ebikumi bina (53,400).
3651  NUM 1:46  Obungi bwabwe bonna abaabalibwa okugatta awamu baali bawera emitwalo nkaaga mu enkumi ssatu mu ebikumi bitaano mu amakumi ataano (603,550).
3663  NUM 2:4  Mu kibinja kye nga mulimu abaabalibwa emitwalo musanvu mu enkumi nnya mu lukaaga (74,600).
3665  NUM 2:6  Abaabalibwa mu kibinja kye baali emitwalo etaano mu enkumi nnya mu ebikumi bina (54,400).
3667  NUM 2:8  Abaabalibwa mu kibinja kye baali emitwalo etaano mu kasanvu mu ebikumi bina (57,400).
3668  NUM 2:9  Abasajja bonna abaali mu lusiisira lwa Yuda abaabalibwa ng’ebibinja by’amaggye gaabwe bwe byali baali emitwalo kkumi na munaana mu kakaaga mu ebikumi bina (186,400). Be banaakulemberanga.
3670  NUM 2:11  Abaabalibwa mu kibinja kye baali emitwalo ena mu kakaaga mu ebikumi bitaano (46,500).
3672  NUM 2:13  Abaabalibwa mu kibinja kye baali emitwalo etaano mu kenda mu ebikumi bisatu (59,300).
3674  NUM 2:15  Abaabalibwa mu kibinja kye baali emitwalo ena mu enkumi ttaano mu lukaaga mu amakumi ataano (45,650).
3675  NUM 2:16  Abasajja bonna okugatta awamu abaali mu lusiisira lwa Lewubeeni abaabalibwa, ng’ebibinja by’amaggye gaabwe bwe byali, baali emitwalo kkumi n’ettaano mu lukumi mu ebikumi bina mu amakumi ataano (151,450). Be banaabanga abookubiri okusitula ng’olugendo lutuuse.
3678  NUM 2:19  Ab’omu kibinja kye abaabalibwa baali emitwalo ena mu ebikumi bitaano (40,500).
3680  NUM 2:21  Ab’omu kibinja kye abaabalibwa baali emitwalo esatu mu enkumi bbiri mu ebikumi bibiri (32,200).
3682  NUM 2:23  Ab’omu kibinja kye abaabalibwa baali emitwalo esatu mu enkumi ttaano mu ebikumi bina (35,400).
3683  NUM 2:24  Okugatta awamu abasajja bonna abaali mu lusiisira lwa Efulayimu abaabalibwa ng’ebibinja byabwe bwe byali baali emitwalo kkumi mu kanaana mu kikumi (108,100). Bano be banaabanga abookusatu okusitula ng’olugendo lutuuse.
3685  NUM 2:26  Ab’omu kibinja kye abaabalibwa baali emitwalo mukaaga mu enkumi bbiri mu lusanvu (62,700).
3687  NUM 2:28  Ab’omu kibinja kye abaabalibwa baali emitwalo ena mu lukumi mu ebikumi bitaano (41,500).
3689  NUM 2:30  Ab’omu kibinja kye abaabalibwa baali emitwalo etaano mu enkumi ssatu mu ebikumi bina (53,400).
3690  NUM 2:31  Okugatta awamu abasajja bonna abaali mu lusiisira lwa Ddaani baali emitwalo kkumi n’ettaano mu kasanvu mu lukaaga (157,600). Abo be banaasembangayo okusitula ng’olugendo lutuuse, ng’ebendera zaabwe bwe ziri.
3691  NUM 2:32  Abo be baana ba Isirayiri abaabalibwa ng’empya zaabwe bwe zaali. Okugatta abaali mu nsiisira bonna ng’ebibinja byabwe bwe byali, baawera emitwalo nkaaga mu enkumi ssatu mu ebikumi bitaano mu amakumi ataano (603,550).
3715  NUM 3:22  Abaana aboobulenzi okuva ku w’omwezi ogumu ogw’obukulu n’okusingawo abaabalibwa baali kasanvu mu ebikumi bitaano (7,500).
3721  NUM 3:28  Abaana aboobulenzi okuva ku w’omwezi ogumu ogw’obukulu n’okusingawo abaabalibwa baali kanaana mu lukaaga (8,600). Abakokasi be baweebwa obuvunaanyizibwa okulabiriranga awatukuvu.
3727  NUM 3:34  Abaana aboobulenzi okuva ku w’omwezi ogumu n’okusingawo abaabalibwa baali kakaaga mu ebikumi bibiri (6,200).
3732  NUM 3:39  Omuwendo gwonna ogw’Abaleevi abaabalibwa ng’empya zaabwe bwe zaali, nga mwe muli abaana aboobulenzi okuva ku w’omwezi ogumu n’okusingawo, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa ne Alooni, baali emitwalo ebiri mu enkumi bbiri (22,000).
3780  NUM 4:36  nga bababala ng’empya zaabwe bwe zaali; baawera enkumi bbiri mu lusanvu mu amakumi ataano (2,750).
3784  NUM 4:40  baabalibwa ng’empya zaabwe n’ennyumba z’abakadde baabwe bwe zaali, ne bawera enkumi bbiri mu lukaaga mu amakumi asatu (2,630).
3788  NUM 4:44  abaabalibwa ng’empya zaabwe bwe zaali baali bawera enkumi ssatu mu ebikumi bibiri (3,200).
3792  NUM 4:48  abaabalibwa baawera kanaana mu ebikumi bitaano mu kinaana (8,580).
4498  NUM 26:7  Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Lewubeeni. Abo abaabalibwa baawera emitwalo ena mu enkumi ssatu mu lusanvu mu amakumi asatu (43,730).
4505  NUM 26:14  Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Simyoni. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo ebiri mu enkumi bbiri mu ebikumi bibiri (22,200).
4509  NUM 26:18  Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Gaadi. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo ena mu ebikumi bitaano (40,500).
4513  NUM 26:22  Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Yuda. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo musanvu mu kakaaga mu ebikumi bitaano (76,500).
4516  NUM 26:25  Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Isakaali. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo mukaaga mu enkumi nnya mu ebikumi bisatu (64,300).
4518  NUM 26:27  Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Zebbulooni. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo mukaaga mu ebikumi bitaano (60,500).
4525  NUM 26:34  Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Manase; abaabalibwa baawera abasajja emitwalo etaano mu enkumi bbiri mu lusanvu (52,700).
4528  NUM 26:37  Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Efulayimu; n’abaabalibwa baawera abasajja emitwalo esatu mu enkumi bbiri mu ebikumi bitaano (32,500). Abo bonna baava mu Yusufu ng’ebika byabwe bwe byali n’ennyiriri zaabwe bwe zaali.
4532  NUM 26:41  Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Benyamini; n’abaabalibwa baawera abasajja emitwalo ena mu enkumi ttaano mu lukaaga (45,600).
4534  NUM 26:43  Zonna zaali nnyiriri za Basukamu. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo mukaaga mu enkumi nnya mu ebikumi bina (64,400).
4538  NUM 26:47  Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Aseri; n’abaabalibwa baawera abasajja emitwalo etaano mu enkumi ssatu mu ebikumi bina (53,400).
4541  NUM 26:50  Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Nafutaali. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo ena mu enkumi ttaano mu ebikumi bina (45,400).
4542  NUM 26:51  Okugatta awamu omuwendo gwonna ogw’abaana ba Isirayiri abasajja abaabalibwa baawera emitwalo nkaaga mu lukumi mu lusanvu mu amakumi asatu (601,730).
4553  NUM 26:62  Abasajja bonna okuva ku mwezi ogumu ogw’obukulu n’okusingawo, abaabalibwa, baali emitwalo ebiri mu enkumi ssatu (23,000). Tebaabalirwa wamu na baana ba Isirayiri nga babalibwa, kubanga Abaleevi bo tebaaweebwa mugabo gwa butaka ng’abaana ba Isirayiri bagabana.
4698  NUM 31:32  Omunyago ogwasigalawo abatabaazi gwe beetwalira gwali bwe guti: Endiga, emitwalo nkaaga mu musanvu mu enkumi ttaano (675,000).
4699  NUM 31:33  Ente, emitwalo musanvu mu enkumi bbiri (72,000).
4701  NUM 31:35  n’abakazi abatamanyangako basajja emitwalo esatu mu enkumi bbiri (32,000).
4712  NUM 31:46  n’abantu omutwalo gumu mu kakaaga (16,000).
9426  1KI 20:15  Awo Akabu n’ayita abavubuka ab’abaduumizi b’amasaza, ne bawera ebikumi bibiri mu asatu mu babiri (232). Era n’akuŋŋaanya ne Isirayiri yenna, bonna awamu ne baba kasanvu (7,000).
11544  2CH 17:16  n’eyamuddiriranga yali Amasiya mutabani wa Zikuli, eyeewaayo obwebange okuweerezanga Mukama, omuduumizi ow’abasajja emitwalo amakumi abiri (200,000).
11546  2CH 17:18  n’eyamuddiriranga ye yali Yekozabadi eyaduumiranga abasajja emitwalo kkumi na munaana abaali beeteeseteese okulwana (180,000).
11749  2CH 26:12  Omuwendo gwonna awamu ogw’abakulu b’ennyumba ez’abasajja abalwanyi gwali enkumi bbiri mu lukaaga (2,600).
12032  EZR 1:11  Byonna awamu ebintu ebya zaabu ne ffeeza byali enkumi ttaano mu ebikumi bina (5,400). Sesubazzali n’agenda nabyo byonna e Yerusaalemi okuva e Babulooni mu buwaŋŋanguse.
12067  EZR 2:35  n’abazzukulu ab’e Sena enkumi ssatu mu lukaaga mu amakumi asatu (3,630).
12071  EZR 2:39  bazzukulu ba Kalimu lukumi mu kumi na musanvu (1,017).
12099  EZR 2:67  n’eŋŋamira ebikumi bina mu amakumi asatu mu ttaano (435), n’endogoyi kakaaga mu lusanvu mu abiri (6,720).
12463  NEH 7:38  n’ab’e Sena baali enkumi ssatu mu lwenda mu asatu (3,930).
12467  NEH 7:42  ne bazzukulu ba Kalimu baali lukumi mu kumi na musanvu (1,017).
12493  NEH 7:68  Baalina embalaasi lusanvu mu asatu mu mukaaga (736), ennyumbu ebikumi bibiri mu ana mu ttaano (245), n’eŋŋamira ebikumi bina mu asatu mu ttaano (435), n’endogoyi kakaaga mu lusanvu mu abiri (6,720).
30886  REV 7:8  ab’omu kika kya Zebbulooni omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000), ab’omu kika kya Yusufu omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000), ab’omu kika kya Benyamini omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000). Abo be baateekebwako akabonero k’envumbo.