12209 | EZR 8:3 | muzzukulu wa Sekaniya, n’okuva mu bazzukulu ba Palosi, Zekkaliya, era wamu naye abasajja abeewandiisa kikumi mu ataano (150); |
12210 | EZR 8:4 | n’okuva mu bazzukulu ba Pakasumowaabu, Eriwenayi mutabani wa Zekkaliya, era wamu naye abasajja ebikumi bibiri (200); |
12211 | EZR 8:5 | n’okuva mu bazzukulu ba Sekaniya, mutabani wa Yakazyeri, era wamu naye abasajja ebikumi bisatu (300); |
12212 | EZR 8:6 | n’okuva mu bazzukulu ba Adini, Ebedi mutabani wa Yonasaani, era wamu naye abasajja amakumi ataano (50); |
12213 | EZR 8:7 | n’okuva mu bazzukulu ba Eramu, Yesaya mutabani wa Asaliya, era wamu naye abasajja nsanvu (70); |
12214 | EZR 8:8 | n’okuva mu bazzukulu ba Sefatiya, Zebadiya mutabani wa Mikayiri, era wamu naye abasajja kinaana (80); |
12215 | EZR 8:9 | n’okuva mu bazzukulu ba Yowaabu, Obadiya mutabani wa Yekyeri, era wamu naye abasajja ebikumi bibiri mu kkumi na munaana (218); |
12216 | EZR 8:10 | n’okuva mu bazzukulu ba Seromisi, mutabani wa Yosifiya, era wamu naye abasajja kikumi mu nkaaga (160); |
12217 | EZR 8:11 | n’okuva mu bazzukulu ba Bebayi, Zekkaliya mutabani wa Bebayi, era wamu naye abasajja amakumi abiri mu munaana (28); |
12218 | EZR 8:12 | n’okuva mu bazzukulu ba Azugadi, Yokanaani mutabani wa Kakkatani, era wamu naye abasajja kikumi mu kkumi (110); |
12219 | EZR 8:13 | n’okuva mu bazzukulu ba Adonikamu, abajja oluvannyuma, Erifereti, ne Yeyeri, ne Semaaya, era wamu nabo abasajja nkaaga (60); |
12604 | NEH 11:12 | ne baganda baabwe abaakolanga emirimu mu yeekaalu, be basajja lunaana mu abiri mu babiri (822); Adaya mutabani wa Yerokamu, muzzukulu wa Peraliya, muzzukulu wa Amuzi, muzzukulu wa Zekkaliya, muzzukulu wa Pasukuli, muzzukulu wa Malukiya, |
12605 | NEH 11:13 | ne baganda be, abaali abakulu b’ennyumba; abasajja ebikumi bibiri mu ana mu babiri (242); Amasusaayi mutabani wa Azaleri, muzzukulu wa Azayi, muzzukulu wa Mesiremoosi, muzzukulu wa Immeri, |