1593 | EXO 3:13 | Awo Musa n’abuuza Katonda nti, “Bwe ndituuka mu baana ba Isirayiri ne mbategeeza nti, ‘Katonda wa bajjajjammwe antumye gye muli;’ nabo ne bambuuza nti, ‘Erinnya lye ye ani?’ Ndibaddamu ntya?” |
7272 | 1SA 2:30 | “Mukama Katonda wa Isirayiri kyava ayogera nti, ‘Nasuubiza nti ennyumba yo n’ennyumba ya jjajjaawo be banaaweerezanga mu maaso gange ennaku zonna;’ naye kaakano Mukama agamba nti, ‘Kikafuuwe! Abanzisaamu ekitiibwa bennassangamu ekitiibwa, naye abo abonnyooma banaaswazibwanga. |
9035 | 1KI 8:47 | era bwe banaakyusanga emitima gyabwe nga bali mu nsi gye baabatwala ne babasibira eyo, ne beenenya era ne bakwegayiririra mu nsi y’abo abaabatwala nga boogera nti, ‘Twayonoona, twakola ebikyamu era ne tukola ekyejo;’ |
9741 | 2KI 8:10 | Erisa n’amuddamu nti, “Genda omutegeeze nti, ‘Ojja kuwona;’ naye Mukama akimbikulidde nti talirema kufa.” |
13329 | JOB 19:28 | “Bwe mugamba nti, ‘Tujja kumuyigganya, kubanga ensibuko y’emitawaana eri mu ye;’ |
13616 | JOB 31:24 | “Obanga nateeka obweyamo bwange mu zaabu oba ne ŋŋamba zaabu ennongoose nti, ‘Ggwe bwesige bwange;’ |
19022 | JER 1:7 | Naye Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Toyogera nti, ‘Ndi mwana bwana;’ kubanga yonna gye nnaakutumanga gy’onoogendanga, era byonna bye nnaakulagiranga by’onooyogeranga. |
19129 | JER 5:2 | Ne bwe boogera nti, ‘Nga Mukama bwali omulamu;’ baba balayirira bwereere.” |
22190 | HOS 2:18 | “Ku lunaku olwo,” bw’ayogera Mukama, “olimpita nti, ‘mwami wange;’ toliddayo nate kumpita, ‘Mukama wange.’ ” |
23171 | MAL 1:13 | Era mwogera nti, ‘Nga tulabye;’ ne mugiwunyako ne mwetamwa, era ne mwesooza,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye. “Bwe muleeta ekinyage, n’ekiwenyera, n’ekirwadde, ebyo bye biweebwayo bye mulina okuleeta, mbikkirize?” bw’ayogera Mukama ow’Eggye. |