65 | GEN 3:9 | Naye Mukama Katonda n’ayita omusajja nti, “Oli ludda wa?” |
67 | GEN 3:11 | N’amubuuza nti, “Ani akubuulidde nti oli bwereere? Olidde ku muti gwe nakulagira obutagulyangako?” |
89 | GEN 4:9 | Awo Mukama n’abuuza Kayini nti, “Muganda wo Aberi ali ludda wa?” N’amuddamu nti, “Ssimanyi; nze mukuumi wa muganda wange?” |
363 | GEN 15:2 | Naye Ibulaamu n’addamu nti, “Kiki ky’olimpa Ayi Mukama Katonda, kubanga sirina mwana, n’omusika w’ennyumba yange ye Eryeza ow’omu Ddamasiko?” |
369 | GEN 15:8 | Ibulaamu n’addamu nti, “Ayi Mukama nnaamanya ntya nti eriba yange?” |
390 | GEN 16:8 | N’agamba nti, “Agali, omuweereza wa Salaayi, ovudde wa era ogenda wa?” N’amuddamu nti, “Nziruka mugole wange Salaayi.” |
415 | GEN 17:17 | Awo Ibulayimu n’avuunama n’aseka, n’agamba munda ye nti, “Omwana alizaalirwa oyo eyaakamala emyaka ekikumi? Saala ow’emyaka ekyenda alizaala omwana?” |
434 | GEN 18:9 | Ne bamubuuza nti, “Saala mukyala wo ali ludda wa?” N’addamu nti, “Ali mu weema.” |
437 | GEN 18:12 | Awo Saala n’asekera muli ng’agamba nti, “Nga nkaddiye, nga ne baze akaddiye, ndisanyusibwa?” |
450 | GEN 18:25 | Kireme okuba gy’oli okukola ekintu bwe kityo, okutta abatuukirivu awamu n’ababi, abatuukirivu ne benkana n’ababi! Kireme kuba bwe kityo! Omulamuzi ow’ensi yonna teyandisaanye akole kituufu?” |
453 | GEN 18:28 | Singa abatuukirivu babulako bataano okuwera amakumi ataano, onoozikiriza ekibuga kubanga kubulako bataano?” N’amuddamu nti, “Sijja kukizikiriza, bwe nnaasangamu abatuukirivu amakumi ana mu abataano abampulira.” |
506 | GEN 20:10 | Era Abimereki n’agamba Ibulayimu nti, “Wali olowooza ki okukola ekintu kino?” |
543 | GEN 21:29 | Abimereki n’abuuza Ibulayimu nti, “Endiga ezo omusanvu enduusi z’oyawuddeko amakulu gaazo ki?” |
555 | GEN 22:7 | Isaaka n’agamba Ibulayimu nti, “Taata.” Ibulayimu n’amuddamu nti, “Nzuuno mwana wange.” Isaaka n’amubuuza nti, “Laba, omuliro n’enku biibino, naye omwana gw’endiga ogw’ekiweebwayo ekyokebwa guluwa?” |
597 | GEN 24:5 | Omuddu kwe ku mubuuza nti, “Omukazi bw’ataliyagala kujja nange mu nsi eno, ndizzaayo mutabani wo mu nsi mwe wava?” |
615 | GEN 24:23 | N’amubuuza nti, “Oli muwala w’ani? Mu nnyumba ya kitaawo mulimu ekisenge mwe tuyinza okusuzibwa?” |
650 | GEN 24:58 | Ne bayita Lebbeeka, ne bamubuuza nti, “Onoogenda n’omusajja ono?” N’addamu nti, “Nnaagenda.” |
657 | GEN 24:65 | n’abuuza omuddu nti, “Ani oyo gwe nnengera mu nnimiro ajja okutusisinkana?” Omuddu n’addamu nti, “Ye mukama wange.” Lebbeeka kwe kutoola omunagiro gwe ne yeebikkirira. |
681 | GEN 25:22 | Abaana bombi ne bagulumbira mu lubuto lwe, Lebbeeka n’agamba nti, “Obanga kiri bwe kityo, lwaki mba omulamu?” Awo n’agenda ne yeebuuza ku Mukama. |
691 | GEN 25:32 | Esawu n’agamba nti, “Laba Ndikumpi n’okufa, obukulu bungasa ki?” |
720 | GEN 26:27 | Isaaka n’ababuuza nti, “Lwaki muzze gye ndi ng’ate mwankijjanya ne mungobaganya?” |
740 | GEN 27:12 | Singa kitange anampeeweetako, siifuuke mulimba gy’ali, ne nfuna ekikolimo mu kifo ky’okufuna omukisa?” |
746 | GEN 27:18 | Awo Yakobo n’agenda eri kitaawe, n’amugamba nti, “Kitange nzuuno.” Ye n’amuddamu nti, “Ggwe ani mwana wange?” |
752 | GEN 27:24 | Isaaka n’amubuuza nti, “Ddala gwe mwana wange Esawu?” N’amuddamu nti, “Ye nze.” |
760 | GEN 27:32 | Kitaawe Isaaka n’amubuuza nti, “Gwe ani?” Kwe kumuddamu nti, “Nze omwana wo omubereberye Esawu.” |
765 | GEN 27:37 | Isaaka n’addamu Esawu nti, “Laba, mmufudde mukama wo, era mmuwadde baganda be bonna babe baweereza be, era mmusabidde abe n’emmere ey’empeke wamu n’envinnyo nga bingi ddala. Kale nnaakukolera ki mwana wange?” |
773 | GEN 27:45 | Obusungu bwe buliba bumuweddeko, nga yeerabidde ky’omukoze, ne ndyoka ntuma ne bakunona. Kale lwaki mbafiirwa mwembi ku lunaku olumu?” |
800 | GEN 29:4 | Awo Yakobo n’abuuza abasumba nti, “Abooluganda muva wa?” Ne bamuddamu nti, “Tuva Kalani.” |
801 | GEN 29:5 | Kwe kubabuuza nti, “Labbaani mutabani wa Nakoli mumumanyi?” Ne bamuddamu nti, “Tumumanyi.” |
802 | GEN 29:6 | N’abuuza nti, “Ali bulungi?” Ne baddamu nti, “Ali bulungi, era laba Laakeeri muwala we wuuli ajja n’endiga!” |
821 | GEN 29:25 | Bwe bwakya, Yakobo n’alaba nga bamuwadde Leeya. Kwe kugamba Labbaani nti, “Onkoze ki kino? Saakuweereza lwa Laakeeri? Kale lwaki onimbye?” |
833 | GEN 30:2 | Obusungu bwa Yakobo ne bubuubuukira Laakeeri, n’amugamba nti, “Nze Katonda akummye okuzaala?” |
846 | GEN 30:15 | Kyokka ye n’amuddamu nti, “Okiyita kitono ggwe okunnyagako baze? Ate otwale n’amadudayimu g’omwana wange?” Laakeeri n’amugamba nti, “Kale anaaba naawe ekiro kino olw’amadudayimu g’omwana wo.” |
861 | GEN 30:30 | Kubanga walina ntono nga sinnajja, naye zeeyongedde nnyo; era Mukama n’akuwa omukisa buli gye n’addanga. Naye kaakano nze ndikolera ddi ennyumba yange?” |
862 | GEN 30:31 | Labbaani kwe ku mubuuza nti, “Nkuwe ki?” Yakobo n’amuddamu nti, “Tojja kubaako ky’ompa, okuggyako okunkolera kino, ndyoke nneeyongere okulunda ekisibo kyo: |
904 | GEN 31:30 | Ne kaakano ogenda kubanga wayagala nnyo okuddayo mu nnyumba ya kitaawo; naye wabbira ki bakatonda bange?” |
958 | GEN 32:30 | Awo ne Yakobo n’amugamba nti, “Mbuulira erinnya lyo.” Naye ye n’amuddamu nti, “Lwaki ombuuza erinnya lyange?” Awo n’amuwa omukisa. |
966 | GEN 33:5 | Esawu bwe yayimusa amaaso ge n’alaba abakazi n’abaana, n’abuuza Yakobo nti, “Bano baani abali naawe?” Yakobo n’amuddamu nti, “Be baana Katonda baawadde omuddu wo mu kisa kye.” |
969 | GEN 33:8 | Esawu n’abuuza Yakobo nti, “Otegeezaaki olwa bino byonna bye nsanze?” Yakobo n’addamu nti, “Lwa kufuna kusaasirwa kwa mukama wange.” |
1092 | GEN 37:8 | Baganda be ne bamugamba nti, “Olowooza olitufuga? Olowooleza ddala nti tulibeera baddu bo?” Olwo ne beeyongera nnyo okumukyayira ddala olw’ekirooto kye n’ebigambo bye. |
1094 | GEN 37:10 | Naye bwe yakitegeeza kitaawe ng’ali wamu ne baganda be, kitaawe n’amunenya ng’agamba nti, “Kirooto ki kino ky’oloose? Ddala nze ne nnyoko awamu ne baganda bo tulijja ne tuvuunama mu maaso go?” |
1099 | GEN 37:15 | Awo omusajja n’amulaba ng’atangatangira ku ttale, n’amubuuza nti, “Onoonya ki?” |
1114 | GEN 37:30 | n’addayo eri baganda be n’abagamba nti, “Omwana taliiyo. Kale naamunoonyeza wa?” |
1136 | GEN 38:16 | N’agenda gy’ali ku mabbali g’ekkubo, n’amugamba nti, “Jjangu, neetabe naawe,” kubanga teyamanya nti ye yali muka mutabani we. Tamali kwe ku mubuuza nti, “Onompa ki bwe neetaba naawe?” |
1137 | GEN 38:17 | Yuda n’amuddamu nti, “Nnaakuweereza embuzi ento.” N’amubuuza nti, “Onompa omusingo nga tonnagimpeereza?” |
1138 | GEN 38:18 | Yuda n’amuddamu nti, “Nkuwe musingo ki?” N’amugamba nti, “Akabonero ko, akajegere ko awamu n’omuggo gwo oguli mu mukono gwo.” Awo n’abimuwa, ne yeetaba naye, n’amufunyisa olubuto. |
1149 | GEN 38:29 | Naye omulongo bwe yazzaayo omukono gwe munda, muganda we n’afuluma; omuzaalisa n’agamba nti, “Lwaki owaguzza?” Erinnya ly’omwana kyeryava liba Pereezi. |
1159 | GEN 39:9 | era tewali n’omu ansinga mu nnyumba ye, tewali na kimu ky’atankwasa okuggyako ggwe, kubanga ggwe oli mukazi we. Kale nnyinza ntya okuyingira mu kwonoona okwenkanidde awo n’okusobya eri Katonda?” |
1180 | GEN 40:7 | N’alyoka abuuza abakungu ba Falaawo abaali naye mu kkomera, mu nnyumba ya mukama waabwe nti, “Lwaki leero mulabika nga mweraliikiridde?” |
1234 | GEN 41:38 | Falaawo n’agamba abaweereza be nti, “Tuyinza okufuna omuntu ng’ono Yusufu omuli Omwoyo wa Katonda?” |
1260 | GEN 42:7 | Yusufu n’abalaba n’abategeera, wabula n’abayisa nga b’atamanyi n’ayogera nabo n’obukambwe. N’ababuuza nti, “Muva wa?” Ne bamuddamu nti, “Tuva mu nsi ya Kanani, tuzze kugula mmere.” |
1318 | GEN 43:27 | N’ababuuza bwe bali, n’ababuuza nti, “Kitammwe akyali mulamu bulungi?” |
1340 | GEN 44:15 | Yusufu n’abagamba nti, “Kiki kino kye mukoze? Temumanyi nti omuntu ali nga nze asobola okuvumbula kye mukoze?” |
1362 | GEN 45:3 | Yusufu n’agamba baganda be nti, “Nze Yusufu, kitange akyali mulamu?” Naye baganda be ne batayinza kumuddamu, kubanga okweraliikirira kwabayinga mu maaso ge. |
1389 | GEN 46:2 | Katonda n’ayogera ne Isirayiri mu kwolesebwa ekiro, n’amuyita nti, “Yakobo, Yakobo?” N’amuddamu nti, “Nze nzuuno.” |
1424 | GEN 47:3 | Falaawo n’ababuuza nti, “Omulimu gwammwe mulimu ki?” Ne bamuddamu nti, “Abaweereza bo tuli balunzi nga bajjajjaffe. |
1429 | GEN 47:8 | Falaawo n’abuuza Yakobo nti, “Olina emyaka emeka?” |
1436 | GEN 47:15 | Awo ensimbi bwe zaggwa ku bantu b’e Misiri ne Kanani ne bajja eri Yusufu ne bamugamba nti, “Tuwe emmere. Ensimbi zituweddeko. Lwaki tufa?” |
1460 | GEN 48:8 | Isirayiri bwe yalaba batabani ba Yusufu n’abuuza nti, “Bano be baani?” |
1551 | EXO 1:18 | Kabaka w’e Misiri n’ayita abazaalisa, n’ababuuza nti, “Kiki ekibakozesezza bwe mutyo, okuleka abaana abalenzi ne balama?” |
1562 | EXO 2:7 | Awo mwannyina w’omwana n’asembera, n’agamba muwala wa Falaawo nti, “Ŋŋende nkuyitire omulezi w’abaana Omwebbulaniya ajje akumulerere?” |
1568 | EXO 2:13 | Bwe yaddayo enkeera, n’alaba abasajja babiri Abaebbulaniya nga balwana. N’abuuza oyo eyali asobezza nti, “Lwaki okuba Mwebbulaniya munno?” |
1569 | EXO 2:14 | Omusajja n’amuddamu nti, “Ani eyakulonda okuba omufuzi waffe era omulamuzi waffe? Oyagala kunzita nga bwe watta Omumisiri?” Musa n’atya, n’ayogera mu mutima gwe nti, “Ekintu kye nakola kirabika kyategeerebwa.” |
1573 | EXO 2:18 | Abawala bwe baddayo eka eri kitaabwe Leweri, n’ababuuza nti, “Nga mukomyewo mangu leero?” |
1591 | EXO 3:11 | Naye Musa n’agamba Katonda nti, “Nange nze ani agenda ewa Falaawo nziggyeyo abaana ba Isirayiri mu Misiri?” |
1593 | EXO 3:13 | Awo Musa n’abuuza Katonda nti, “Bwe ndituuka mu baana ba Isirayiri ne mbategeeza nti, ‘Katonda wa bajjajjammwe antumye gye muli;’ nabo ne bambuuza nti, ‘Erinnya lye ye ani?’ Ndibaddamu ntya?” |
1604 | EXO 4:2 | Awo Mukama n’amubuuza nti, “Ekyo kiki ekiri mu ngalo zo?” N’addamu nti, “Muggo.” |
1647 | EXO 5:14 | Bannampala Abayisirayiri, abaalondebwa abakozesa ba Falaawo, ne bakubibwanga nga bwe babuuzibwa nti, “Lwaki omuwendo gw’amatoffaali ogwa jjo n’ogwa leero ogwabasalirwa temugutuukirizza nga bwe mwakolanga edda?” |
1668 | EXO 6:12 | Naye Musa n’addamu Mukama nti, “Laba, abaana ba Isirayiri bagaanyi okumpuliriza, kale Falaawo anampuliriza atya nze atayogera bulungi?” |
1686 | EXO 6:30 | Naye Musa n’addamu Mukama nti, “Nze atamanyi kwogera bulungi, Falaawo anampuliriza atya?” |
1786 | EXO 10:8 | Musa ne Alooni ne bazzibwa awali Falaawo. N’abagamba nti, “Kale, mugende musinze Mukama Katonda wammwe. Naye abagenda be baani?” |
1895 | EXO 14:5 | Kabaka w’e Misiri bwe yategeera ng’Abayisirayiri baddukidde ddala, Falaawo n’abakungu be ne bejjusa, ne bagamba nti, “Kiki kino kye tukoze, okuleka Abayisirayiri ababadde batukolera ne bagenda?” |
1945 | EXO 15:24 | Abantu ne beemulugunyiza Musa, ne bamubuuza nti, “Tunywe ki?” |
1955 | EXO 16:7 | ate enkya lwe munaalaba ekitiibwa kya Mukama, kubanga awulidde nga mumwemulugunyiza. Kubanga naffe ffe b’ani mmwe okutwemulugunyiza?” |
1963 | EXO 16:15 | Abaana ba Isirayiri bwe baabulaba ne beebuzaganya nti, “Kiki kino?” Kubanga baali tebakimanyi. Musa n’abategeeza nti, “Eno ye mmere Mukama gy’abawadde okulya. |
1986 | EXO 17:2 | Abantu ne bayombesa Musa nga bagamba nti, “Tuwe amazzi tunywe.” Musa n’abaddamu nti, “Lwaki munnyombesa? Lwaki mugezesa Mukama?” |
1987 | EXO 17:3 | Naye abantu ennyonta y’amazzi n’ebaluma, ne beemulugunyiza Musa. Ne bagamba nti, “Lwaki watuggya mu Misiri, ennyonta okututtira wano, ffe n’abaana baffe n’ebisibo byaffe?” |
1991 | EXO 17:7 | Ekifo ekyo n’akituuma erinnya Masa ne Meriba, olw’okuyomba kw’abaana ba Isirayiri, n’olw’okugezesa Mukama nga bagamba nti, “Mukama waali mu ffe oba taliiwo?” |
2014 | EXO 18:14 | Mukoddomi we bwe yalaba Musa bye yali akolera abantu, n’amugamba nti, “Kiki kino ky’okola? Lwaki olamula bw’omu, abantu bano bonna ne bayimirira okukwetooloola okuva ku nkya okutuusa akawungeezi?” |
2460 | EXO 32:21 | Awo Musa n’agamba Alooni nti, “Abantu bano baakukoze ki, n’obaleetera okwonoona ennyo bwe batyo?” |
2490 | EXO 33:16 | Kale abantu balitegeerera ku ki nga Nkusanyusizza, nze n’abantu bo? Si lwa kubanga onooba ogenze naffe, ne tuba ba njawulo, nze n’abantu bo, nga twawukana ku bantu bonna ab’oku nsi?” |
3973 | NUM 9:7 | ne bagamba Musa nti, “Tetuli balongoofu kubanga twakutte ku mufu; lwaki tugaanibwa okuleetera Mukama ekiweebwayo kye, awamu n’abaana ba Isirayiri, mu ntuuko zaakyo ezaalagirwa?” |
4045 | NUM 11:20 | naye kumala mwezi mulambirira, okutuusa lw’erifulumira mu nnyindo zammwe n’ebanyiwa, kubanga mwesamudde Mukama Katonda abeera mu mmwe, ne mumukaabirira nga mugamba nti, “Mu Misiri twaviirayo ki?” ’ ” |
4047 | NUM 11:22 | Ebisolo ebiri mu biraalo ne mu bisibo bwe binattibwa binaabamala? Nantiki ebyennyanja byonna eby’omu nnyanja bwe binaavubibwa ne bibaweebwa, binaabamala?” |
4062 | NUM 12:2 | Ne bagamba nti, “Naye ddala Mukama bwe yayogeranga yayitanga mu Musa yekka? Mu ffe namwo teyayogereramu?” Mukama Katonda n’abiwulira. |
4068 | NUM 12:8 | Bwe mba njogera naye tutunulagana maaso na maaso, njogera butereevu so si mu ngero; alaba ekifaananyi kya Mukama Katonda. Kale, lwaki temwatidde okuwakanya omuddu wange Musa?” |
4112 | NUM 14:3 | Lwaki Mukama atutwala mu nsi eyo, tutuuke eyo tulyoke tuttibwe n’ekitala? Abakazi baffe n’abaana baffe bagenda kunyagibwa. Okuddayo mu Misiri si kye kinaasingako?” |
4198 | NUM 16:3 | Ne bajjira wamu nga beekobaanye okwolekera Musa ne Alooni ne babagamba nti, “Mwekulumbaza nnyo! Ekibiina kyonna, buli omu mu kyo mutukuvu, ne Mukama Katonda ali nabo. Kale, lwaki mwekulumbaliza ku kibiina ky’abantu ba Mukama?” |
4206 | NUM 16:11 | Noolwekyo mmwe n’abagoberezi bammwe, mwesimbye ku Mukama Katonda, era gwe mwolekedde. Kale Alooni naye ye ani, mmwe okumwemulugunyiza?” |
4217 | NUM 16:22 | Naye Musa ne Alooni ne bavuunama amaaso gaabwe wansi ne bagamba nti, “Ayi Katonda, Katonda ow’emyoyo egy’abantu bonna, omuntu omu bw’ayonoona, osunguwalira ekibiina kyonna?” |
4258 | NUM 17:28 | Buli muntu anaasembereranga Eweema ya Mukama ajjanga kufa. Ffenna tuli ba kuzikirira?” |
4322 | NUM 20:10 | Musa ne Alooni ne bakuŋŋanyiza ekibiina ky’abantu bonna awali olwazi, Musa n’agamba abantu nti, “Mumpulirize, mmwe abajeemu; kitugwanidde ffe okubaggyira amazzi mu lwazi luno?” |
4385 | NUM 22:9 | Katonda n’ajja eri Balamu n’amubuuza nti, “Bantu ki bano abali naawe?” |
4404 | NUM 22:28 | Awo Mukama Katonda n’ayasamya akamwa k’endogoyi, n’egamba Balamu nti, “Nkukoze ki okunkuba emirundi gino gyonsatule?” |
4406 | NUM 22:30 | Endogoyi n’egamba Balamu nti, “Siri ndogoyi yo gye weebagadde ebbanga lyonna n’okutuusa ku lunaku lwa leero? Ebadde mpisa yange okukukola bwe nti?” Balamu n’addamu nti, “Nedda.” |
4413 | NUM 22:37 | Balaki n’agamba Balamu nti, “Saakutumira nga nkuyita ojje ku bwange? Lwaki tewajja gye ndi? Olowooza siyinza kukuwa bitiibwa bingi?” |
4429 | NUM 23:12 | N’addamu nti, “Tekiŋŋwanidde kwogera ekyo Mukama Katonda ky’atadde mu kamwa kange?” |
4434 | NUM 23:17 | N’addayo gy’ali n’amusanga ng’ayimiridde awali ekiweebwayo, ng’ali n’abakungu ba Mowaabu. Balaki n’amubuuza nti, “Mukama Katonda agambye ki?” |
5130 | DEU 7:17 | Oyinza okwebuuza mu mutima gwo nti, “Amawanga ag’amaanyi gatyo okutusinga, tulisobola tutya okugagoba mu nsi zaago?” |
5161 | DEU 9:2 | Abantu baayo be batabani ba Anaki, ba maanyi era bawanvu. Obamanyi bulungi, era wawulirako dda nga boogerwako nti, “Ani ayinza okwolekera Abanaki?” |