Wildebeest analysis examples for:   lug-lug   Word’Word?    February 25, 2023 at 00:38    Script wb_pprint_html.py   by Ulf Hermjakob

317  GEN 12:18  Awo Falaawo n’ayita Ibulaamu n’amugamba nti, “Kiki kino ky’onkoze? Lwaki tewantegeeza nti mukazi wo?
448  GEN 18:23  Awo Ibulayimu n’amusemberera n’agamba nti, “Ddala olizikiriza abatuukirivu awamu n’ababi?
587  GEN 23:15  “Mpuliriza mukama wange, ennimiro esaana ebitundu by’effeeza ebikumi bina. Kale ekyo ki eri ab’omukwano? Twala ennimiro oziikemu abafu bo.”
615  GEN 24:23  N’amubuuza nti, “Oli muwala w’ani? Mu nnyumba ya kitaawo mulimu ekisenge mwe tuyinza okusuzibwa?”
703  GEN 26:10  Abimereki n’amugamba nti, “Kale kiki kino ky’otukoze? Omu ku basajja yandiyinzizza okusobya ku mukazi wo, wandituleeseeko omusango.”
911  GEN 31:37  Bw’oyazizza mu bintu byange, kikyo ki ky’osanzemu? Kiteeke wano wakati mu maaso g’abantu bange n’ababo, balyoke basalewo omusobya ku fembi.
946  GEN 32:18  N’alagira eyakulembera nti, “Esawu, muganda wange bw’anaakusisinkana n’akubuuza nti, ‘Oli muntu w’ani? Ogenda wa? Na bino by’olina by’ani?’
1094  GEN 37:10  Naye bwe yakitegeeza kitaawe ng’ali wamu ne baganda be, kitaawe n’amunenya ng’agamba nti, “Kirooto ki kino ky’oloose? Ddala nze ne nnyoko awamu ne baganda bo tulijja ne tuvuunama mu maaso go?”
1329  GEN 44:4  Bwe baali baakava mu kibuga Yusufu n’agamba omuweereza we nti, “Golokoka obagoberere bw’obatuukako obabuuze nti, ‘Lwaki musasudde ekibi olw’ebirungi? Lwaki mubbye ekikopo kyange ekya ffeeza?
1332  GEN 44:7  Ne bamugamba nti, “Mukama waffe lwaki ayogedde ebigambo ebyo? Olowooza tuli bantu ba ngeri ki abayinza okukola ekintu ng’ekyo?
1440  GEN 47:19  Tufiira ki nga w’oli? Tugule ffe n’ebyalo byaffe otuwe emmere tuleme okufa, naffe tuliba baddu ba Falaawo, ensi yaffe ereme okuzikirira.”
1613  EXO 4:11  Mukama n’amuddamu nti, “Ani yakola akamwa k’omuntu? Ani yatonda bakasiru, ne bakiggala, n’abatunula, ne bamuzibe? Si nze, Mukama?
1648  EXO 5:15  Awo bannampala Abayisirayiri ne bajja ne bajulira ewa Falaawo, ne bamugamba nti, “Ffe abaddu bo, lwaki otuyisizza bw’oti?
1901  EXO 14:11  Ne bagamba Musa nti, “Mu Misiri entaana tezaaliyo, kyewava otuleeta tufiire wano mu ddungu? Lwaki watuggya mu Misiri n’ojja otuyisa bw’oti?
1956  EXO 16:8  Musa n’ayongera okubagamba nti, “Mujja kwongera okutegeera Mukama, olweggulo nga buwungeera bw’anaabawa ennyama ne mulya, ate enkya n’abawa emmere ebamala: kubanga Mukama awulidde nga mumwemulugunyiza. Naffe ffe b’ani? Temwemulugunyiza ffe, wabula Mukama.”
2014  EXO 18:14  Mukoddomi we bwe yalaba Musa bye yali akolera abantu, n’amugamba nti, “Kiki kino ky’okola? Lwaki olamula bw’omu, abantu bano bonna ne bayimirira okukwetooloola okuva ku nkya okutuusa akawungeezi?”
2450  EXO 32:11  Naye Musa ne yeegayirira Mukama Katonda we, n’agamba nti, “Lwaki obusungu bwo bubuubuukira abantu bo be waggya mu nsi y’e Misiri n’obuyinza, awamu n’omukono gwo ogw’amaanyi?
4112  NUM 14:3  Lwaki Mukama atutwala mu nsi eyo, tutuuke eyo tulyoke tuttibwe n’ekitala? Abakazi baffe n’abaana baffe bagenda kunyagibwa. Okuddayo mu Misiri si kye kinaasingako?”
4204  NUM 16:9  Mukiraba nga kitono nnyo tekibamala, Katonda wa Isirayiri okubaawulako n’abaggya ku kibiina ekinene eky’abaana ba Isirayiri n’abasembeza w’abeera okukolanga omulimu gwa Mukama mu Weema ya Mukama, n’okuyimiriranga mu maaso g’ekibiina n’okubaweereza?
4436  NUM 23:19  Katonda si muntu, nti ayinza okulimba, oba nti mwana wa bantu nti akyusakyusa ebigambo bye. Ayogera n’atakola? Asuubiza n’atatuukiriza?
4470  NUM 24:23  Ate n’alagula nti, “Woowe! Ani aba omulamu nga Katonda asazeewo eky’okukola?
4727  NUM 32:7  Lwaki abaana ba Isirayiri mwagala okubamalamu amaanyi mu mitima gyabwe mubalemese okuyingira mu nsi Mukama Katonda gy’abawadde?
5001  DEU 3:24  “Ayi Mukama Katonda, otandise okundaga nze omuddu wo, omukono gwo ogw’amaanyi n’obukulu bwo obw’ekitiibwa. Kubanga katonda ki ali mu ggulu oba ali ku nsi asobola okukola ebyekyewuunyo bino byonna by’okola, n’emirimu egy’amaanyi bwe gityo gy’okola?
5766  DEU 32:6  Bwe mutyo bwe musasula Mukama Katonda, mmwe abantu abasirusiru era abatalina magezi? Si ye kitaawo eyakutonda, n’akussaawo n’akunyweza?
5790  DEU 32:30  Omusajja omu yandisobodde atya okugoba abantu olukumi, oba ababiri okudumya omutwalo ne badduka, wabula nga Lwazi waabwe y’abatunzeeyo, Mukama Katonda ng’abawaddeyo?
6655  JDG 5:30  ‘Tebazudde omunyago era tebali mu kugugabana, omuwala omu oba babiri buli musajja? Sisera tufunye omunyago ogw’engoye enduke ez’amabala? Eminagiro ebiri emiruke, egy’amabala tegiibe gyange?’
6723  JDG 8:2  Naye n’abaddamu nti, “Kiki kye nkoze okugeraageranya nammwe kye mukoze? Amakungula ga Efulayimu tegasinga ezabbibu Abiyezeeri z’akungudde?
7228  1SA 1:14  Eri kyeyava amugamba nti, “Olikomya ddi okujjanga wano ng’otamidde? Ggyawo ettamiiro lyo.”
7307  1SA 4:8  Zitusanze! Ani ayinza okutuwonya balubaale bano ab’amaanyi? Bano be balubaale abaabonyaabonya Abamisiri n’endwadde n’ebibonoobono ebya buli ngeri mu ddungu.
7444  1SA 10:24  Samwiri n’agamba abantu bonna nti, “Mulaba omusajja Mukama gw’alonze? Tewali amwenkana mu bantu bonna.” Abantu ne baddamu n’eddoboozi eddene nti, “Wangaala Kabaka.”
7555  1SA 14:45  Naye abantu ne bagamba Sawulo nti, “Lwaki, Yonasaani akoze eby’amagero ebyo byonna mu Isirayiri afa? Ddala Yonasaani attibwe? Oyo aleetedde Isirayiri obununuzi obw’ekitalo? Nedda tekisoboka! Nga Mukama bw’ali omulamu, tewali luviiri na lumu lunaava ku mutwe gwe ne lugwa wansi, kubanga ebyo by’akoze leero Katonda y’amuyambye okubikola.” Abantu ne banunula Yonasaani bwe batyo, n’atattibwa.
7786  1SA 21:12  Naye abaweereza ba Akisi ne bamugamba nti, “Oyo si ye Dawudi kabaka w’ensi? Si gwe bayimbako nga bazina, nga boogera nti, “ ‘Sawulo asse enkumi ze ne Dawudi emitwalo gye?’ ”
7797  1SA 22:7  Awo Sawulo n’abagamba nti, “Mumpulirize mmwe Ababenyamini. Mutabani wa Yese alibawa ennimiro n’ennimiro ez’emizabbibu? Mulowooza alibafuula abaduumizi b’enkumi n’abaduumizi b’ekikumi?
7824  1SA 23:11  Abatuuze b’e Keyira balimpaayo gy’ali? Era Sawulo anaaserengeta n’ajja, ng’omuweereza wo bw’awulidde? Ayi Mukama, Katonda wa Isirayiri, nkwegayiridde, tegeeza omuweereza wo.” Mukama n’amugamba nti, “Aliserengeta.”
7856  1SA 24:15  Kabaka wa Isirayiri ajjiridde ani? Ani gw’oyigganya? Mbwa nfu oba nkukunyi?
8096  2SA 3:12  Awo Abuneeri n’atumira Dawudi ababaka okumugamba nti, “Ensi y’ani? Kola endagaano nange, laba nnaafuula Isirayiri yonna okuba eyiyo.”
8108  2SA 3:24  Awo Yowaabu n’agenda eri kabaka n’amugamba nti, “Wakoze ki ekyo, okuleka Abuneeri n’agenda?
8188  2SA 7:5  “Genda otegeeze omuddu wange Dawudi nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Ggwe olinzimbira ennyumba ey’okubeeramu?
8283  2SA 11:21  Ani eyatta Abimereki mutabani wa Yerubbesesi? Teyali mukazi e Sebezi eyamukanyugako ejjinja eddene, kwe baseera emmere ey’empeke, ng’asinziira ku bbugwe, n’afiirawo? Lwaki mwasembedde okumpi ennyo ne bbugwe?’ Awo onoomutegeeza nti, ‘Omuddu wo Uliya Omukiiti naye afudde.’ ”
8310  2SA 12:21  Abaddu be ne bamubuuza nti, “Kiki ekyo ky’okola? Omwana bwe yali omulamu, wasiiba n’okaaba, naye kati afudde, ogolokose, olya!”
8458  2SA 17:6  Kusaayi bwe yajja eri Abusaalomu, Abusaalomu n’amugamba nti, Akisoferi, amagezi g’atuwadde ge gano. Tukole nga Akisoferi bw’agambye? Oba nga si weewaawo, ggwe ogamba otya?
8549  2SA 19:36  Mpezezza emyaka kinaana, olowooza nkyayinza okwawula ekirungi n’ekibi? Olowooza nga omuddu wo akyayinza okutegeera ky’alya ne ky’anywa? Nkyayinza okuwuliriza amaloboozi g’abasajja abayimba n’abakyala abayimbi? Lwaki nzitoowerera mukama wange kabaka?
8733  1KI 1:13  Genda eri Kabaka Dawudi, omugambe nti, ‘Mukama wange Kabaka, tewalayirira muzaana wo nti, Sulemaani mutabani wo y’alirya obwakabaka oluvannyuma lwange, era y’alituula ku ntebe yange ey’obwakabaka? Kale lwaki Adoniya alidde obwakabaka?’
9700  2KI 6:22  N’amuddamu nti, “Tobatta. Oyinza okutta abo b’owambye n’ekitala kyo, n’omutego gw’akasaale? Bategekere emmere n’amazzi, balye n’okunywa banywe, n’oluvannyuma obasindike baddeyo eri mukama waabwe.”
10048  2KI 18:20  Olowooza nti ebigambo obugambo, kakoddyo akalaga amaanyi n’obuvumu mu kulwana? Ani gwe weesiga, n’okujeema n’onjeemera?
10087  2KI 19:22  Ani gw’ovumye era n’ovvoola? Ani gw’okandulidde eddoboozi lyo, era ani gw’oyimusirizza amaaso go n’amalala? Obikoze Omutukuvu wa Isirayiri!
11463  2CH 13:5  Temumanyi nga Mukama Katonda wa Isirayiri, yagabula obwakabaka bwa Isirayiri eri Dawudi ne zadde lye emirembe gyonna olw’endagaano ey’omunnyo?
11891  2CH 32:11  Mulowooza nga Keezeekiya bw’ayogera nti, “Mukama Katonda waffe alitulokola mu mukono gwa kabaka w’e Bwasuli,” abatalimba, n’okwagala okubassa enjala n’ennyonta?
12252  EZR 9:10  “Kaakano Katonda waffe tunaayogera ki oluvannyuma lw’ebyo? Twaleka amateeka go
12314  NEH 2:2  Kabaka n’ambuuza nti, “Kiki ekikunakuwazizza otyo ng’omulwadde? Kino si kigambo kirala wabula obuyinike obw’omu mutima.” Ne ntya nnyo,
12786  EST 5:3  Kabaka n’alyoka amubuuza nti, “Oyagala ki Nnabagereka Eseza? Era kiki ky’osaba? Onookiweebwa ne bwe kinaaba ekitundu ky’obwakabaka.”
12883  JOB 1:10  Tomukozeeko lukomera ye n’ennyumba ye, n’eby’obugagga by’alina? Buli ky’akola okiwadde omukisa; n’eby’obugagga bye byeyongedde nnyo obungi!
12931  JOB 3:23  Lwaki okuwa ekitangaala oyo, atayinza kulaba kkubo, Katonda gw’akomedde?
12956  JOB 5:1  “Koowoola kaakano, waliwo anaakuyitaba? Era ani ku batukuvu gw’onoolaajaanira?
12993  JOB 6:11  Amaanyi ngaggya wa, ndyoke mbe n’essuubi? Era enkomerero yange, eruwa ndyoke ngumiikirize?
13008  JOB 6:26  Mugezaako okugolola ebigambo byange, ne mufuula ebigambo by’omuntu ali obubi okuba ng’empewo?
13010  JOB 6:28  “Naye kaakano mubeere ba kisa muntunuulire. Ndabika ng’omulimba?
13012  JOB 6:30  Emimwa gyange girabika ng’egirimba? Emimwa gyange tegisobola kutegeera ttima?”
13013  JOB 7:1  “Ebiseera by’omuntu ku nsi, tebyagerebwa? Ennaku ze tezaagerebwa nga ez’omupakasi?
13029  JOB 7:17  Omuntu kye ki ggwe okumugulumiza, n’omulowoozaako?
13032  JOB 7:20  Nyonoonye; kiki kye nakukola, ggwe omukuumi w’abantu? Lwaki onfudde nga akabonero ak’obulabe gy’oli, ne neefuukira omugugu?
13035  JOB 8:2  “Onookoma ddi okwogera ebintu bino? Era ebigambo bino by’oyogera n’akamwa ko binaakoma ddi okuba ng’empewo ey’amaanyi?
13067  JOB 9:12  Bw’aba alina ky’aggya ku muntu, ani ayinza okumuziyiza? Ani ayinza okumubuuza nti kiki ky’okola?
13093  JOB 10:3  Kikusanyusa okunnyigiriza, okunyooma omulimu gw’emikono gyo, n’owagira emirimu gy’abakozi b’ebibi?
13094  JOB 10:4  Amaaso go ga mubiri? Olaba ng’omuntu bw’alaba?
13099  JOB 10:9  Jjukira nti wammumba ng’ebbumba, ate kaakano onoonfuula ng’enfuufu?
13101  JOB 10:11  Tewannyambaza omubiri n’olususu, n’oluka amagumba n’ebinywa n’ongatta?
13119  JOB 11:7  “Osobola okupima ebyama bya Katonda? Oyinza okunoonyereza ku Ayinzabyonna n’omumalayo?
13164  JOB 13:7  Katonda munaamwogerera nga mwogera ebitali bya butuukirivu? Munaamwogerera eby’obulimba?
13188  JOB 14:3  Otunuulira omuntu afaanana bw’atyo? Olimuleeta gy’oli asalirwe omusango?
13209  JOB 15:2  “Omuntu ow’amagezi yandizzeemu n’amagezi agataliimu, oba n’ajjuza olubuto lwe embuyaga ez’ebuvanjuba?
13303  JOB 19:2  “Mulikomya ddi okunnyigiriza ne mummenya n’ebigambo?
13323  JOB 19:22  Lwaki munjigga nga Katonda bw’anjigga? Omubiri gwe mufunye tegumala?
13366  JOB 21:7  Lwaki abakozi b’ebibi bawangaala, ne bakaddiwa ne beeyongera n’amaanyi?
13389  JOB 21:30  nti omusajja omukozi w’ebibi awona ku lunaku olw’emitawaana, era awona ku lunaku olw’ekiruyi?
13390  JOB 21:31  Ani avumirira ebikolwa bye maaso ku maaso, ani amusasula ebyo by’akoze?
13393  JOB 21:34  “Kaakano musobola mutya okuŋŋumya n’ebitaliimu? Tewali kisigaddeyo ku bye mwanzizeemu wabula obulimba!”
13595  JOB 31:3  Emitawaana tegijjira abo abatali batukuvu, n’okulaba ennaku ne kujjira abakola eby’obujeemu?
13606  JOB 31:14  kale ndikola ntya Katonda bw’alinnyimukiramu? Era bw’alimbuuza, ndimuddamu ki?
13801  JOB 38:4  “Wali ludda wa nga nteekawo emisingi gy’ensi? Mbuulira bw’oba otegeera.
13802  JOB 38:5  Ani eyasalawo ebipimo byayo? Ddala oteekwa okuba ng’omanyi! Oba ani eyagipima n’olukoba?
13813  JOB 38:16  “Wali otuuseeko ku nsulo ennyanja w’esibuka, oba n’olaga mu buziba bw’ennyanja?
13814  JOB 38:17  Wali obikuliddwa enzigi z’emagombe? Oba wali olabye enzigi z’ekisiikirize ky’okufa?
13815  JOB 38:18  Wali otegedde obugazi bw’ensi? Byogere, oba bino byonna obimanyi.
13820  JOB 38:23  Bye nterekera ebiseera eby’emitawaana, bikozesebwe mu nnaku ez’entalo n’okulwana?
13825  JOB 38:28  Enkuba erina kitaawe waayo? Ani azaala amatondo ag’omusulo?
13826  JOB 38:29  Omuzira guva mu lubuto lw’ani? Ani azaala obutiti obukwafu obw’omu ggulu,
13830  JOB 38:33  Omanyi amateeka n’obufuzi bw’eggulu? Oyinza okuteekawo obufuzi bw’alyo oba obwa Katonda ku nsi?
13849  JOB 39:11  Oyinza okugyesiga olw’amaanyi gaayo amangi? Oyinza okugirekera emirimu gyo egy’amaanyi?
13858  JOB 39:20  Ggwe ogisobozesa okubuuka ng’enzige n’ekanga n’okukaaba kwayo okw’entiisa?
13877  JOB 40:9  Olina omukono ng’ogwa Katonda, eddoboozi lyo lisobola okubwatuka ng’erirye?
13893  JOB 40:25  “Oyinza okusikayo lukwata n’eddobo, oba okusiba olulimi lwayo n’omuguwa?
13894  JOB 40:26  Oyinza okuyingiza omuguwa mu nnyindo zaayo, oba okuwummula oluba lwayo n’eddobo?
13898  JOB 40:30  Abasuubuzi banaagiramuza, oba banaagibala ng’ekyamaguzi?
13973  PSA 4:3  Mmwe abaana b’abantu, mulituusa wa okuswazanga ekitiibwa kyange? Mulituusa ddi okugoberera okwagala ebitaliimu, n’okunoonya eby’obulimba?
14053  PSA 10:1  Lwaki otwekwese, Ayi Mukama? Lwaki otwekwese mu biseera eby’emitawaana?
14071  PSA 11:1  Mu Mukama mwe neekweka; ate muyinza mutya okuŋŋamba nti, “Ddukira ku nsozi ng’ebinyonyi?
14622  PSA 44:25  Lwaki otwekwese? Lwaki tofaayo ku kulumwa kwaffe n’okujoogebwa?
14713  PSA 50:13  Ndya ennyama y’ente ennume, wadde okunywa omusaayi gw’embuzi?
14747  PSA 52:3  Lwaki weenyumiririza mu kibi ggwe omusajja ow’amaanyi? Endagaano ya Katonda ey’obwesigwa ebeerera emirembe n’emirembe.