639 | GEN 24:47 | “Kwe ku mubuuza nti, ‘Oli muwala w’ani?’ N’anziramu nti, ‘Ndi muwala wa Besweri, mutabani wa Nakoli, Mirika gwe yamuzaalira.’ Ne nteeka empeta ku nnyindo ye n’ebikomo ku mikono gye. |
946 | GEN 32:18 | N’alagira eyakulembera nti, “Esawu, muganda wange bw’anaakusisinkana n’akubuuza nti, ‘Oli muntu w’ani? Ogenda wa? Na bino by’olina by’ani?’ |
8439 | 2SA 16:10 | Naye kabaka n’ayogera nti, “Luganda ki lwe nnina nammwe, mmwe batabani ba Zeruyiya? Bw’aba ng’ankolimira kubanga Mukama ye yamugambye nti, ‘Kolimira Dawudi,’ ani ayinza okubuuza nti, ‘Kiki ekikukoza bw’otyo?’ ” |
18641 | ISA 45:10 | Zimusanze oyo agamba kitaawe nti, ‘Wazaala ki?’ Oba nnyina nti, ‘Kiki ky’ozadde?’ |
19586 | JER 23:33 | “Abantu bano, oba nnabbi oba kabona bw’abuuza nti, ‘Bubaka ki Mukama bw’atutumye?’ Bagambe nti, ‘Bubaka ki? Nzija kubabuulira, bw’ayogera Mukama.’ |
19588 | JER 23:35 | Kino buli omu ky’anagamba mikwano gye oba ab’eŋŋanda ze. ‘Mukama, azeemu ki? Oba kiki Mukama ky’ayogedde?’ |
20909 | EZK 17:15 | Naye kabaka yamujeemera, n’aweereza ababaka e Misiri okufunayo embalaasi n’eggye eddene. Aliraba omukisa? Omuntu akola ebyo ayinza okuba omulamu? Alimenya endagaano n’awona?’ |
22345 | HOS 13:10 | Kabaka wammwe ali wa, abalokole? Abafuzi ab’omu bibuga byo byonna bali ludda wa, be wayogerako nti, ‘Tuwe kabaka n’abafuzi?’ |
25548 | LUK 12:20 | “Naye Katonda n’amugamba nti, ‘Musirusiru ggwe! Ekiro kino emmeeme yo eneekuggibwako. Kale ebyo bye weetegekedde binaaba by’ani?’ |
25823 | LUK 19:23 | kale, lwaki ensimbi zange tewazissa mu banka, bwe nandikomyewo nandizisanzeeyo nga zizadde n’amagoba?’ |