Wildebeest analysis examples for:   lug-lug   ‘    February 25, 2023 at 00:38    Script wb_pprint_html.py   by Ulf Hermjakob

8194  2SA 7:11  okuva lwe nalonda abalamuzi okufuga abantu bange Isirayiri. Era ndikuwa ebiseera eby’emirembe abalabe bo baleme okukuyigganya. ““Mukama akugamba nti Mukama Katonda yennyini, alinyweza ennyumba yo.
19673  JER 27:8  “Naye singa eggwanga lyonna oba obwakabaka bwonna tebuliweereza Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni oba okuteeka ensingo wansi w’ekikoligo ky’abwo, nzija kubonereza ensi eyo n’ekitala, n’ekyeya, ne kawumpuli, bw’ayogera Mukama, okutuusa lwe ndigizikiriza n’omukono gwange.
19855  JER 33:11  amaloboozi ag’essanyu n’okujaguza, n’amaloboozi g’omugole ne bba, n’amaloboozi gaabo abaleeta ekiweebwayo eky’okwebaza eri ennyumba ya Mukama, nga bagamba nti, ““Mumwebaze Mukama Katonda ow’Eggye, kubanga Mukama mulungi; okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.” Kubanga ndizzaawo omukisa gw’eggwanga lino nga bwe gwali mu kusooka,’ bw’ayogera Mukama Katonda.