1 | GEN 1:1 | Ku lubereberye Katonda yatonda eggulu n’ensi. |
4 | GEN 1:4 | Katonda n’alaba obutangaavu nga bulungi; n’ayawula obutangaavu n’ekizikiza. |
5 | GEN 1:5 | Katonda obutangaavu n’abuyita emisana, n’ekizikiza n’akiyita ekiro. Ne wabaawo akawungeezi ate ne buba enkya. Olwo lwe lunaku olw’olubereberye. |
14 | GEN 1:14 | Awo Katonda n’agamba nti, “Wabeewo ebyaka mu bbanga ly’eggulu, okwawula emisana n’ekiro; bibeerenga obubonero okwawulanga ebiro, n’ennaku, n’emyaka. |
16 | GEN 1:16 | Katonda n’akola ebyaka ebinene bibiri, ekyaka ekisinga obunene kifugenga emisana, n’ekitono kifugenga ekiro, n’akola n’emmunyeenye. |
18 | GEN 1:18 | enjuba efugenga emisana, omwezi gufugenga ekiro, era byawulenga obutangaavu n’ekizikiza. Katonda n’alaba ng’ekyo kirungi. |
27 | GEN 1:27 | Bw’atyo Katonda n’atonda omuntu mu kifaananyi kye, mu kifaananyi kya Katonda mwe yamutondera; n’abatonda omusajja n’omukazi. |
35 | GEN 2:4 | Ebyo bye bifa ku ggulu n’ensi nga bwe byatondebwa, Mukama Katonda we yamalira okutonda eggulu n’ensi. |
38 | GEN 2:7 | Mukama Katonda n’akola omuntu okuva mu nfuufu ey’oku nsi n’amufuuwa mu nnyindo omukka ogw’obulamu. Omuntu n’aba omulamu. |
53 | GEN 2:22 | Mukama Katonda n’atonda omukazi okuva mu lubiriizi lwe yaggya mu musajja n’amumuleetera. |
62 | GEN 3:6 | Awo omukazi bwe yalaba ng’omuti mulungi nga gusanyusa okutunulako era gwegombebwa okuleeta amagezi, n’anoga ekibala kyagwo n’alya; n’awaako ne bba naye n’alya. |
77 | GEN 3:21 | Mukama Katonda n’akolera Adamu ne mukazi we ebyambalo eby’amaliba n’abambaza. |
80 | GEN 3:24 | Bwe yamala okugobamu omuntu, n’ateekamu Bakerubi n’ekitala ekimyansa eky’obwogi ku buli ludda okukuuma ekkubo erigenda ku muti ogw’obulamu. |
85 | GEN 4:5 | Naye teyasiima Kayini wadde ekiweebwayo kye. Awo Kayini n’asunguwala nnyo, n’endabika y’amaaso ge n’ewaanyisibwa. |
88 | GEN 4:8 | Kayini n’agamba Aberi muganda we nti, “Tulageko mu nnimiro.” Bwe baali nga bali mu nnimiro Kayini n’agolokokera ku muganda we Aberi, n’amutta. |
103 | GEN 4:23 | Lameka n’agamba bakazi be nti, “Ada ne Zira, muwulire eddoboozi lyange; mwe bakazi ba Lameka, muwulirize kye ŋŋamba; nzise omusajja olw’okunfumita, nga muvubuka, olw’okunkuba. |
110 | GEN 5:4 | Seezi bwe yamala okuzaalibwa, Adamu n’amala emyaka lunaana, n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala. |
111 | GEN 5:5 | Emyaka gyonna Adamu gye yamala gyali lwenda mu asatu, n’afa. |
113 | GEN 5:7 | Seezi bwe yamala okuzaala Enosi n’awangaala emyaka emirala lunaana mu musanvu n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala. |
116 | GEN 5:10 | Enosi bwe yamala okuzaala Kenani n’awangaala emyaka emirala lunaana mu kkumi n’etaano, omwo n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala. |
119 | GEN 5:13 | Kenani n’awangaala emyaka emirala lunaana mu ana, n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala. |
122 | GEN 5:16 | Bwe yamala okuzaala Yaredi n’awangaala emyaka emirala lunaana mu asatu n’azaaliramu abaana abalala aboobulenzi n’aboobuwala. |
123 | GEN 5:17 | Ennaku zonna eza Makalaleri ne ziba emyaka lunaana mu kyenda mu etaano, n’afa. |
125 | GEN 5:19 | Yaredi bwe yamala okuzaala Enoka n’awangaala emyaka emirala lunaana, omwo n’azaaliramu abaana abalala aboobulenzi n’aboobuwala. |
126 | GEN 5:20 | Bwe gityo emyaka gyonna Yaredi gye yamala ne giba lwenda mu nkaaga mu ebiri, n’afa. |
128 | GEN 5:22 | Enoka n’atambulira wamu ne Katonda, okumala emyaka ebikumi bisatu nga Mesuseera amaze okuzaalibwa, n’azaala abaana abalala aboobulenzi n’aboobuwala. |
132 | GEN 5:26 | Bwe yamala okuzaala Lameka n’awangaala emyaka emirala lusanvu mu kinaana mu ebiri, n’azaala abaana abalala aboobulenzi n’aboobuwala. |
133 | GEN 5:27 | Bwe gityo emyaka gyonna Mesuseera gye yamala ne giba lwenda mu nkaaga mu mwenda; n’afa. |
136 | GEN 5:30 | Lameka n’awangaala emyaka emirala bitaano mu kyenda mu etaano ng’amaze okuzaala Nuuwa, mu gyo n’azaaliramu abaana abalala aboobulenzi n’aboobuwala. |
153 | GEN 6:15 | Bw’oti bw’oba olikola: obuwanvu bwalyo mita kikumi mu ana, n’obugazi mita amakumi abiri mu ssatu, n’obugulumivu mita kkumi na ssatu n’ekitundu. |
154 | GEN 6:16 | Bw’oliba olizimba, waggulu oteekangayo akasolya nga kabika kimu kyakubiri ekya mita. Omulyango gwalyo oguteekanga mu mbiriizi zaalyo. Okolanga eryato lya kalinassatu, ery’emyaliiro: ogwa wansi n’ogwokubiri, n’ogwokusatu. |
171 | GEN 7:11 | Mu mwaka ogw’olukaaga ogw’obulamu bwa Nuuwa, mu mwezi ogwokubiri, ku lunaku olw’ekkumi n’omusanvu olw’omwezi, ku lunaku olwo ensulo zonna ez’omu nnyanja ennene, ne ziggulwa lumu n’ebituli byonna eby’eggulu. |
172 | GEN 7:12 | Enkuba n’etonnya ku nsi okumala ennaku amakumi ana, emisana n’ekiro. |
175 | GEN 7:15 | Ne biyingira mu lyato lya Nuuwa bibiri bibiri byonna ebyalimu omukka ogw’obulamu. |
219 | GEN 9:13 | Nteeka musoke wange mu kire, nga ke kabonero ak’endagaano wakati wange n’ensi. |
230 | GEN 9:24 | Omwenge bwe gwamwamukako, Nuuwa n’azuukuka n’ategeera mutabani we omuto ky’amukoze. |
235 | GEN 9:29 | Emyaka gyonna Nuuwa, gye yamala ku nsi ne giba lwenda mu amakumi ataano, n’afa. |
236 | GEN 10:1 | Bano be bazzukulu ba Nuuwa, Seemu ne Kaamu, ne Yafeesi be baazaala oluvannyuma lw’amataba. |
240 | GEN 10:5 | (Mu bano mwe mwava abo abaabuna olubalama lw’ennyanja. Bano be batabani ba Yafeesi mu bitundu byabwe, buli bamu mu nnimi zaabwe ng’ennyumba zaabwe n’amawanga gaabwe bwe biri.) |
265 | GEN 10:30 | Ekitundu mwe baali kyava ku Mesa okwolekera Serali, okutuukira ddala ku kitundu eky’ensozi ku luuyi olw’ebuvanjuba. |
267 | GEN 10:32 | Abo ze nnyumba za batabani ba Nuuwa ng’okuzaalibwa kwabwe bwe kwali, n’amawanga gaabwe; era okuva mu bano amawanga gonna mwe gaayalira ne gabuna ensi yonna oluvannyuma lw’amataba. |
270 | GEN 11:3 | Ne bateesa nti, “Mujje tukole amatoffaali, tugookye bulungi.” Ne baba n’amatoffaali mu kifo ky’amayinja, ne kolaasi mu kifo ky’ettosi. |
278 | GEN 11:11 | Seemu n’amala emyaka ebikumi bitaano nga Alupakusaadi amaze okusaalibwa. N’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala. |
280 | GEN 11:13 | Alupakusaadi bwe yamala okuzaala Seera n’awangaala emyaka emirala ebikumi bina mu esatu, omwo n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala. |
282 | GEN 11:15 | ate Seera n’aweza emyaka emirala ebikumi bina mu asatu ng’amaze okuzaala Eberi, era omwo n’azaaliramu abaana abalala aboobulenzi n’aboobuwala. |
284 | GEN 11:17 | Eberi bwe yamala okuzaala Peregi n’awangaala emyaka ebikumi bina mu amakumi asatu, omwo n’azaaliramu abaana abalala aboobulenzi n’aboobuwala. |
286 | GEN 11:19 | bwe yamala okuzaala Leewo n’awangaala emyaka emirala ebikumi bibiri mu mwenda, n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala. |
288 | GEN 11:21 | N’awangaala emyaka emirala ebikumi bibiri mu musanvu. Omwo n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala. |
290 | GEN 11:23 | bwe yamala okuzaala Nakoli n’awangaala emyaka emirala ebikumi bibiri. Omwo n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala. |
292 | GEN 11:25 | Bwe yamala okuzaala Teera n’awangaala emyaka emirala kikumi mu kkumi na mwenda, era omwo n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala. |
315 | GEN 12:16 | Ku lwa Salaayi, Falaawo n’ayisa bulungi Ibulaamu. Ibulaamu n’aweebwa endiga, n’ente, n’endogoyi, n’abaweereza abasajja, n’abaweereza abakazi, n’endogoyi enkazi, n’eŋŋamira. |
343 | GEN 14:6 | n’Abakooli mu nsi ey’ensozi eya Seyiri n’okutuukira ddala Erupalaani okumpi n’eddungu. |
355 | GEN 14:18 | Ne Merukizeddeeki kabaka wa Ssaalemi eyali kabona wa Katonda Ali Waggulu Ennyo n’aleeta omugaati n’envinnyo. |
372 | GEN 15:11 | Ensega bwe zajja okubirya, Ibulaamu n’azigoba. |
387 | GEN 16:5 | Salaayi n’agamba Ibulaamu nti, “Ekibi ekinkoleddwako kibeere ku ggwe. Nakuwa omuweereza wange mu kifuba kyo naye bw’alabye ng’ali lubuto n’annyooma. Mukama atulamule nze naawe!” |
388 | GEN 16:6 | Naye Ibulaamu n’agamba Salaayi nti, “Laba, omuweereza wo ali mu buyinza bwo; mukole nga bw’oyagala.” Awo Salaayi natandika okubonyaabonya Agali; Agali n’adduka okuva w’ali. |
405 | GEN 17:7 | Era ndituukiriza endagaano yange naawe, n’ezzadde lyo mbeere Katonda wo era Katonda w’ezzadde lyo eririddawo. Endagaano eno teriggwaawo emirembe n’emirembe. |
418 | GEN 17:20 | Ku Isimayiri nkuwulidde: Laba, ndimuwa omukisa, alyeyongera, ndimwaliza ddala nnyo, aliba jjajja w’abalangira kkumi na babiri, era ndimufuula eggwanga ery’amaanyi. |
436 | GEN 18:11 | Mu kiseera kino Ibulayimu ne Saala baali bakaddiye nnyo nga Saala takyali na mu nsonga z’abakazi. |
441 | GEN 18:16 | Awo abasajja bwe bavaayo ne bagenda, ne boolekera oluuyi lwa Sodomu; Ibulayimu n’abawerekerako. |
467 | GEN 19:9 | Naye ne bamugamba nti, “Tuviire! Omusajja omugwira ono, ate kati y’atulagira eky’okukola! Nedda, tujja kukukolako n’okusinga abagenyi bo.” Awo ne banyigiriza nnyo Lutti, era kaabula kata bamenye n’oluggi. |
474 | GEN 19:16 | Naye bwe yali akyekunya, abasajja ne bamukwata omukono, n’emikono gya mukazi we, n’emikono gy’abawala be bombi, Mukama ng’abakwatirwa ekisa, ne babafulumya ne babateeka ebweru w’ekibuga. |
479 | GEN 19:21 | N’amuddamu nti, “Laba, era nnyongedde okukukwatirwa ekisa, sijja kumalawo kibuga ky’oyogeddeko. |
484 | GEN 19:26 | Naye mukazi wa Lutti bwe yatunula emabega, n’afuuka empagi ey’omunnyo. |
489 | GEN 19:31 | Olunaku lumu omuwala omukulu n’agamba muto we nti, “Kitaffe akaddiye era tewali na musajja ku nsi ajja kutwagala ng’empisa y’ensi bw’eri. |
493 | GEN 19:35 | Awo ne batamiiza kitaabwe ekiro ekyo, omuwala omuto n’asituka ne yeebaka naye, Lutti n’atamanya bwe yeebase ne bw’agolokose. |
525 | GEN 21:11 | Naye ekyo Ibulayimu n’atakisiima. |
528 | GEN 21:14 | Ibulayimu n’agolokoka ku makya ennyo, n’addira omugaati n’ensawo ey’amazzi n’abiwa Agali n’omwana gwe yazaala ng’abiteeka ku kibegabega kye, n’amusiibula. Agali n’agenda ng’atambulatambula mu ddungu lya Beeruseba. |
530 | GEN 21:16 | Agali ne yeeyongerayo ebbanga ng’awalasibwa akasaale, nga mita kikumi, n’atuula okumwolekera, kubanga yayogera nti, “Nneme okulaba omwana ng’afa.” Naye bwe yali ng’atudde, omwana n’ayimusa eddoboozi n’akaaba. |
531 | GEN 21:17 | Katonda n’awulira eddoboozi ly’omulenzi ng’akaaba, malayika wa Katonda n’ayita Agali ng’asinziira mu ggulu n’amugamba nti, “Kiki ekikuteganya? Totya, kubanga Katonda awulidde eddoboozi ly’omulenzi w’ali. |
546 | GEN 21:32 | Bwe baamala okukola endagaano e Beeruseba, Abimereki ne Fikoli omukulu w’eggye lye ne basitula ne baddayo mu nsi y’Abafirisuuti. |
565 | GEN 22:17 | ddala ndikuwa omukisa, era ndyaza ezzadde lyo, ne liba ng’emmunyeenye ez’eggulu era ng’omusenyu oguli ku lubalama lw’ennyanja. Era ezzadde lyo balitwala eby’abalabe baabwe, |
574 | GEN 23:2 | N’afiira e Kiriyasuwalaba, ye Kebbulooni, mu nsi ya Kanani. Saala bwe yafa Ibulayimu n’ayingira okumukungubagira n’amukaabira. |
578 | GEN 23:6 | “Tuwulirize mukama waffe. Laba, oli muntu mukulu wakati mu ffe. Ziika mukazi wo mu emu ku ntaana zaffe gy’oneeroboza. Tewali n’omu mu ffe anaakuuma ntaana ye, oba okukuziyiza okuziika omuntu wo.” |
608 | GEN 24:16 | Omuwala oyo yali mulungi okulabako nga muwala mbeerera, n’akka mu luzzi n’ajjuza ensuwa ye n’avaayo. |
627 | GEN 24:35 | Mukama yawa mukama wange emikisa mingi, era afuuse mukulu, amuwadde ebisibo by’endiga n’amagana g’ente, ne ffeeza ne zaabu, abaweereza abasajja n’abaweereza abakazi era n’eŋŋamira awamu n’endogoyi. |
628 | GEN 24:36 | Era Saala muka mukama wange bwe yali ng’akaddiye yamuzaalira omwana owoobulenzi, era mukama wange awadde oyo byonna by’alina. |
659 | GEN 24:67 | Awo Isaaka n’atwala Lebbeeka n’amuyingiza mu weema eyali eya Saala nnyina, n’afuuka mukazi we n’amwagala. Isaaka n’alyoka afuna essanyu kasookedde afiirwa nnyina. |
684 | GEN 25:25 | Eyasooka bwe yavaayo nga mumyufu, omubiri gwe gwonna nga gufaanana ng’ekyambalo eky’ebyoya. Kyebaava bamutuuma Esawu. |
693 | GEN 25:34 | Yakobo n’alyoka awa Esawu emmere n’enva, n’alya n’anywa, n’agolokoka n’agenda. Bw’atyo Esawu n’anyooma obukulu bwe. |
694 | GEN 26:1 | Ne wabaawo enjala mu nsi, eteri eri eyabaawo mu biseera bya Ibulayimu. Isaaka n’agenda mu Gerali, ewa Abimereki kabaka w’Abafirisuuti. |
747 | GEN 27:19 | Yakobo n’agamba kitaawe nti, “Nze Esawu omwana wo omubereberye, nkoze nga bw’oŋŋambye. Kale kaakano tuula olye ku muyiggo gwange olyoke onsabire omukisa.” |
753 | GEN 27:25 | N’alyoka amugamba nti, “Kale gundeetere, ndye ku muyiggo gwa mutabani wange, nkusabire omukisa.” N’alyoka agumuleetera, n’alya era n’amuleetera n’envinnyo n’anywa. |
756 | GEN 27:28 | Katonda akuwe omusulo ogw’omu ggulu, n’obugimu bw’ensi, era akuwe emmere ey’empeke nnyingi n’envinnyo. |
766 | GEN 27:38 | Esawu n’abuuza kitaawe nti, “Tolinaawo mukisa na gumu kitange? Nange mpa omukisa, ayi kitange.” Bw’atyo Esawu n’ayimusa eddoboozi lye n’akaaba. |
788 | GEN 28:14 | Era ezzadde lyo liriba ng’enfuufu y’oku nsi, era olibuna obugwanjuba n’obuvanjuba era n’obukiikakkono n’obukiikaddyo. Mu ggwe ne mu zadde lyo amawanga gonna ag’oku nsi mwe galiweerwa omukisa. |
797 | GEN 29:1 | Awo Yakobo ne yeeyongerayo mu lugendo lwe, n’atuuka mu nsi y’abantu b’ebuvanjuba. |
807 | GEN 29:11 | Yakobo n’alyoka agwa Laakeeri mu kifuba, n’ayimusa eddoboozi n’akaaba. |
813 | GEN 29:17 | Leeya yali manafu, kyokka ye Laakeeri nga mulungi era nga w’amaanyi. |
850 | GEN 30:19 | Leeya n’aba olubuto ate, n’azaalira Yakobo Omwana owoobulenzi ow’omukaaga. |
861 | GEN 30:30 | Kubanga walina ntono nga sinnajja, naye zeeyongedde nnyo; era Mukama n’akuwa omukisa buli gye n’addanga. Naye kaakano nze ndikolera ddi ennyumba yange?” |
864 | GEN 30:33 | Kale oluvannyuma lwa byonna obutuukirivu bwange bulimpolereza bw’olijja okukebera bw’onsasudde. Bw’olisanga embuzi yonna etali ya bugondogondo n’eya bitanga, oba endiga yonna enkazi enzirugavu eyo eribalibwa nti nnagikubbako.” |
874 | GEN 30:43 | Mu ngeri eyo Yakobo n’agenda ng’agaggawalira ddala nnyo, n’afuna ebisibo bingi ddala, wamu n’abaweereza abakazi n’abasajja; era n’afuna n’eŋŋamira n’embalaasi. |
883 | GEN 31:9 | Bw’atyo Katonda aggye ku kitammwe ensolo ze n’azimpa. |
886 | GEN 31:12 | N’aŋŋamba nti, ‘Yimusa amaaso go olabe, embuzi zonna ezirinnyira ekisibo bwe ziri eza biwuuga, eza bugondogondo n’eza kiweewoweewo; kubanga ndabye ebyo byonna Labbaani by’akukoze. |
895 | GEN 31:21 | Yadduka ne byonna bye yalina, n’agolokoka n’asomoka omugga Fulaati, n’ayolekera Giriyaadi ensi ey’ensozi. |
897 | GEN 31:23 | Labbaani n’atwala basajja be, n’awondera Yakobo okumala ennaku musanvu, mu Giriyaadi ensi ey’ensozi. |
901 | GEN 31:27 | Kiki ekyakuddusa mu kyama nga tombuuliddeko, ndyoke, nkusibule mu kinyumu: n’ennyimba, n’ebitaasa, n’ennanga. |
908 | GEN 31:34 | Laakeeri yali atutte bakatonda ba Labbaani, n’abateeka ku matandiiko g’eŋŋamira, n’abatuulako. Labbaani n’ayaza weema yonna naye n’atabalabamu. |
919 | GEN 31:45 | Awo Yakobo n’addira ejjinja n’alisimba ng’empagi. |