Wildebeest analysis examples for:   lug-lug   Word?’    February 25, 2023 at 00:38    Script wb_pprint_html.py   by Ulf Hermjakob

438  GEN 18:13  Mukama n’abuuza Ibulayimu nti, “Lwaki Saala asese ng’agamba nti, ‘Ndiyinza okuzaala omwana nga nkaddiye?’
631  GEN 24:39  “Ne mbuuza mukama wange nti, ‘Omukazi bw’atalikkiriza kujja nange?’
1298  GEN 43:7  Ne bagamba nti, “Omusajja yatubuuza nnyo ebitufaako awamu n’ebifa ku lulyo lwaffe, ng’abuuza nti, ‘Kitammwe gyali mulamu? Mulina muganda wammwe omulala?’ Kye twamutegeeza nga kiddamu buzzi ebibuuzo bye yatubuuzanga. Tetwamanya ng’anaatugamba okuserengesa muganda waffe.”
1344  GEN 44:19  Mukama wange yabuuza abaweereza be nti, ‘Mulina kitammwe oba muganda wammwe?’
1420  GEN 46:33  Kale Falaawo bw’abayita n’ababuuza nti, ‘Mukola mulimu ki?’
1593  EXO 3:13  Awo Musa n’abuuza Katonda nti, “Bwe ndituuka mu baana ba Isirayiri ne mbategeeza nti, ‘Katonda wa bajjajjammwe antumye gye muli;’ nabo ne bambuuza nti, ‘Erinnya lye ye ani?’ Ndibaddamu ntya?”
1843  EXO 12:26  Abaana bammwe bwe balibabuuza nti, ‘Omukolo guno gutegeeza ki?’
1882  EXO 13:14  “Awo olulituuka batabani bammwe, bwe bababuuzanga nti, ‘Kino kye mukola kitegeeza ki?’ Mubaddangamu nti, ‘Kubanga Mukama yatuggya mu Misiri, ensi ey’obuddu, n’omukono gwe ogw’amaanyi.
1902  EXO 14:12  Bwe twali mu Misiri tetwakugamba nti, ‘Tuveeko, tuleke tukolere Abamisiri?’ Kubanga okukolera Abamisiri kyandibadde waddeko okusinga okufiira mu ddungu.”
2451  EXO 32:12  Lwaki okwogeza Abamisiri nti, ‘Yabatwala ng’agenderedde kubakola kabi, abattire mu nsozi, abazikirize, bave ku nsi?’ Nyiigulukuka, obusungu obubuubuuka bukuveeko, oleme kuleeta bulabe ku bantu bo.
3490  LEV 25:20  Muyinza okubuuza nti, ‘Bwe tutaasigenga era ne tutakungulanga, kale mu mwaka ogw’omusanvu tunaalyanga ki?’
4460  NUM 24:13  ‘Balaki ne bw’alimpa ennyumba ye ng’ejjudde zaabu ne ffeeza, sigenda kusukka kiragiro kya Mukama ne nkola ekyange ku bwange oba nga kirungi oba nga kibi, wabula nga ndyogera ebyo byokka Mukama by’alindagira okwogera?’
5747  DEU 31:17  Ku lunaku olwo obusungu bwange bulibabuubuukirako, nange ndibakisa amaaso gange, ne babeera bangu okuzikirizibwa, era ebizibu bingi n’emitawaana biribajjira. Ku lunaku olwo balyebuuza nti, ‘Emitawaana gino tegitutuseeko lwa kubanga Katonda waffe tali wakati mu ffe?’
6653  JDG 5:28  “Nnyina wa Sisera yalingiriza mu ddirisa; yayisa amaaso mu ddirisa, n’aleekaanira waggulu nti ‘Kiki ekirwisizza eggaali lye okujja? Okuguluba kw’eggaali lye nga sikuwulira?’
6655  JDG 5:30  ‘Tebazudde omunyago era tebali mu kugugabana, omuwala omu oba babiri buli musajja? Sisera tufunye omunyago ogw’engoye enduke ez’amabala? Eminagiro ebiri emiruke, egy’amabala tegiibe gyange?’
6669  JDG 6:13  Gidyoni n’abuuza nti, “Ayi Mukama wange, obanga Mukama ali wamu naffe, kale lwaki bino byonna bitutuuseeko? Eby’amagero eby’ekitalo bajjajjaffe bye baatubuulirako nti, ‘Mukama yatuggya mu Misiri, byo biruwa?’ Naye Kaakano Mukama Katonda atwabulidde era atuwaddeyo mu mikono gy’Abamidiyaani.”
6758  JDG 9:2  “Mubuuze kaakano ng’abatuuze b’e Sekemu bonna bawulira nti, ‘Kiki ekisingako obulungi? Batabani ba Yerubbaali bonna ensanvu okubafuganga oba omuntu omu y’aba abafuganga?’ Mujjukire nti ndi wa musaayi gwammwe.”
6765  JDG 9:9  Naye omuzeyituuni ne gubaddamu nti, ‘Ndekeyo okuvaamu amafuta ag’omuzeeyituuni agampeesa balubaale n’abantu ekitiibwa, ŋŋende okuyuuguumya emiti?’
6767  JDG 9:11  Naye nagwo ne guddamu nti, ‘Ndekeyo okuvaamu obuwoomi n’ekibala ekirungi, ŋŋende okuyuuguumya emiti?’
6769  JDG 9:13  Naye omuzabbibu ne gubaddamu nti, ‘Ndekeyo okuvaamu wayini asanyusa balubaale n’abantu, ŋŋende okuyuuguumya emiti?’
6794  JDG 9:38  Awo Zebbuli n’alyoka amugamba nti, “Biki bye wali oyogera bwe wagamba nti, ‘Abimereki ye ani ffe okumuweereza?’ Abo si be bantu be wanyooma? Kaakano genda obalwanyise.”
7271  1SA 2:29  Lwaki munyooma ssaddaaka yange n’ekiweebwayo kyange bye nalagira, okuweebwangayo mu yeekaalu yange? Lwaki ossaamu batabani bo ekitiibwa okunsinga, nga mweddiza ebitundu ebisinga obusava ku buli kiweebwayo abantu bange, Isirayiri, kye bawaayo?’
7459  1SA 11:12  Awo abantu ne bagamba Samwiri nti, “Ani eyali abuuza nti, ‘Sawulo alitufuga?’ Mubatuwe tubatte.”
7786  1SA 21:12  Naye abaweereza ba Akisi ne bamugamba nti, “Oyo si ye Dawudi kabaka w’ensi? Si gwe bayimbako nga bazina, nga boogera nti, “ ‘Sawulo asse enkumi ze ne Dawudi emitwalo gye?’
7851  1SA 24:10  Dawudi n’agamba Sawulo nti, “Lwaki owuliriza eŋŋambo z’abantu aboogera nti, ‘Dawudi amaliridde okukukola akabi?’
7975  1SA 29:5  Oyo si ye Dawudi gwe baayimbangako, nga bazina, nga boogera nti, “ ‘Sawulo asse enkumi ze, ne Dawudi asse emitwalo gye?’
8032  2SA 1:7  Awo bwe yakyusa amaaso ge n’andaba, n’ankowoola, ne muddamu nti, ‘Nkukolere ki?’
8033  2SA 1:8  “N’ambuuza nti, ‘Ggwe ani?’ “Ne muddamu nti, ‘Ndi Mwamaleki.’
8283  2SA 11:21  Ani eyatta Abimereki mutabani wa Yerubbesesi? Teyali mukazi e Sebezi eyamukanyugako ejjinja eddene, kwe baseera emmere ey’empeke, ng’asinziira ku bbugwe, n’afiirawo? Lwaki mwasembedde okumpi ennyo ne bbugwe?’ Awo onoomutegeeza nti, ‘Omuddu wo Uliya Omukiiti naye afudde.’ ”
8311  2SA 12:22  N’addamu nti, “Omwana we yabeerera omulamu, n’asiiba ne nkaaba, nga ndowooza nti, ‘Ani amanyi, Mukama ayinza okunsaasira, omwana n’aba mulamu?’
8526  2SA 19:13  Mmwe muli baganda bange, mubiri gwange era musaayi gwange, naye lwaki mmwe musembayo okukomyawo kabaka?’
8733  1KI 1:13  Genda eri Kabaka Dawudi, omugambe nti, ‘Mukama wange Kabaka, tewalayirira muzaana wo nti, Sulemaani mutabani wo y’alirya obwakabaka oluvannyuma lwange, era y’alituula ku ntebe yange ey’obwakabaka? Kale lwaki Adoniya alidde obwakabaka?’
8815  1KI 2:42  kabaka n’amutumya, n’amubuuza nti, “Saakulayiza Mukama ne nkulabula nti, ‘Tegeerera ddala nga olunaku lw’olivaawo okugenda awantu wonna, olifa?’ N’oŋŋamba nti, ‘Kye njogedde kirungi era nzija kukigondera.’
9062  1KI 9:8  Newaakubadde nga yeekaalu eno eyatiikirira kaakano, buli anaayitangawo aneewunyanga n’aŋŋoola ng’agamba nti, ‘Kiki ekireetedde Mukama okukola ekintu bwe kiti ku nsi eno ne ku yeekaalu eno?’
9473  1KI 21:19  Mugambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Tosse omusajja n’okutwala n’otwala obugagga bwe?’ Olyoke omugambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti: Mu kifo embwa wezikombedde omusaayi gwa Nabosi, embwa mwezirikombera ogugwo.’ ”
9503  1KI 22:20  Mukama n’ayogera nti, ‘Ani anaasendasenda Akabu ayambuke okulumba Lamosugireyaadi afiire eyo?’ Omu ku bo n’addamu bulala, n’omulala n’addamu bulala.
9505  1KI 22:22  “Mukama n’abuuza nti, ‘Mu ngeri ki?’ Omwoyo ne guddamu nti, ‘Nzija kugenda nfuuke omwoyo ogw’obulimba mu mimwa gya bannabbi be bonna.’ Mukama n’addamu nti, ‘Ojja kusobola okumusendasenda, genda okole bw’otyo.’
9540  2KI 1:3  Malayika wa Mukama n’ajja eri Eriya Omutisubi n’amugamba nti, “Golokoka, ogende osisinkane ababaka ba kabaka w’e Samaliya, obabuuze nti, ‘Teri Katonda mu Isirayiri, kyemuvudde mugenda mwebuuza eri Baaluzebubi bakatonda b’e Ekuloni?’
9553  2KI 1:16  Eriya n’agamba kabaka nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Nsonga ki eyakutwala eri Baaluzebubi bakatonda b’e Ekuloni okulagulwa, mu kifo ky’okulaga eri Katonda wa Isirayiri ne gw’oba weebuuzako?’ Ky’oliva olema okuva ku kitanda ekyo kye weebaseeko, era ojja kufa.”
9620  2KI 4:13  Erisa n’agamba Gekazi nti, “Mugambe nti, ‘Otulabiridde bulungi nnyo. Kaakano kiki kyewandyagadde kikukolerwe? Wandyagadde tukwogerere eri Kabaka oba ew’omuduumizi w’eggye ku nsonga yonna?’” N’amuddamu nti, “Mbeera mu bantu bange.”
9633  2KI 4:26  Dduka omusisinkane omubuuze nti, ‘Oli bulungi ne balo ali bulungi? Ate omwana?’” Omukazi n’amuddamu nti, “Kiri bulungi.”
9664  2KI 5:13  Naye abaddu ba Naamani ne bamusemberera, ne bamugamba nti, “Kitaffe, singa nnabbi yakulagidde okukola ekyobuzira, tewandikikoze? Lwaki kikukaluubiridde bw’akugambye nti, ‘Nnaaba obe mulongoofu?’
9740  2KI 8:9  Kazayeeri n’agenda okusisinkana Erisa, n’amutwalira n’ebirabo eby’engeri zonna okuva e Ddamasiko, ku ŋŋamira amakumi ana. N’agenda n’ayimirira mu maaso ge, n’amugamba nti, “Mutabani wo Benikadadi kabaka w’e Busuuli antumye okukubuuza nti, ‘Ndiwona endwadde eno?’
9777  2KI 9:17  Awo omukuumi eyali mu kigo mu Yezuleeri, bwe yalengera ekibinja kya Yeeku nga kijja, n’akoowoola mu ddoboozi ery’omwanguka ng’agamba nti, “Waliwo ekibinja kye nnengera ekijja.” Yolaamu n’alagira nti, “Mufune omu ku beebagala embalaasi, mumutume agende abasisinkane, ababuuze nti, ‘Mujja mirembe?’
9778  2KI 9:18  Awo eyeebagala embalaasi n’agenda okusisinkana Yeeku, n’amugamba nti, “Kabaka abuuza nti, ‘Mujja mirembe?’” Yeeku n’amuddamu nti, “Emirembe ogifaako ki? Kyuka odde ennyuma wange ongoberere.” Omukuumi eyali mu kigo n’ayogera nti, “Atuuse gye bali, naye tadda.”
9779  2KI 9:19  Awo kabaka n’atuma eyeebagala embalaasi owookubiri. Bwe yatuuka we baali, n’ayogera nti, “Bw’ati bw’ayogera kabaka nti, ‘Mujja mirembe?’” Yeeku n’amuddamu nti, “Emirembe ogifaako ki? Kyuka odde ennyuma wange ongoberere.”
11350  2CH 7:21  Newaakubadde nga yeekaalu eno eyatiikiridde nnyo, abaliyitawo bonna balyewuunya, nga boogera nti, ‘Lwaki Mukama akoze ekifaanana bwe kiti ku nsi eno ne ku yeekaalu eno?’
11409  2CH 10:9  N’ababuuza nti, “Mumpa magezi ki okuddamu abantu bano abaŋŋambye nti, ‘Tukendeereze ku kikoligo kitaawo kye yatuteekako?’
11566  2CH 18:19  Awo Mukama n’abuuza nti, ‘Ani anasendasenda Akabu kabaka wa Isirayiri okulumba Lamosugireyaadi n’oluvannyuma afiire eyo?’ “Omu ku bo n’ateesa kino, n’omulala kiri.
11567  2CH 18:20  Ku nkomerero, omwoyo ogumu ne gusembera, ne guyimirira mu maaso ga Mukama ne gwogera nti, ‘Nze nzija kumusendasenda.’ “Mukama n’agubuuza nti, ‘Ekyo onookikola otya?’
11895  2CH 32:15  Kale nno, Keezeekiya aleme kubalimbalimba newaakubadde okubasendasenda mu nsonga eyo. Temumukkiriza, kubanga tewali katonda ow’eggwanga lyonna oba bwakabaka, eyayinza okulokola abantu be mu mukono gwange newaakubadde eyayinza okubalokola mu mukono gwa bajjajjange. Kale Katonda wammwe alibawonya atya mu mukono gwange?’
13016  JOB 7:4  Bwe ngalamira neebake, njogera nti, ‘Ndiyimuka ddi, ekiro kinaakoma ddi?’ Nga nzijudde okukulungutana okutuusa obudde lwe bukya.
13337  JOB 20:7  alizikirira emirembe n’emirembe nga empitambi ye: abo abamulaba babuuze nti, ‘Ali ludda wa?’
13374  JOB 21:15  Ayinzabyonna ye ani tulyoke tumuweereze? Kiki kye tuganyulwa bwe tumusaba?’
13387  JOB 21:28  Mugamba nti, ‘Kaakano eruwa ennyumba y’omusajja ow’amaanyi, eweema abasajja abakozi b’ebibi mwe baabeeranga?’
13410  JOB 22:17  Be bagamba Katonda nti, ‘Tulekere emirembe! Ayinzabyonna ayinza kutukola ki?’
13623  JOB 31:31  Abantu b’omu nnyumba yange bwe baba tebabuuzanga nti, ‘Ani atakkuse nnyama?’
13727  JOB 35:3  Ate obuuza nti, ‘Nganyulwa ntya?’ Kirungi ki kye nfuna mu kwonoona kwange?
13763  JOB 36:23  Ani eyali amukubidde amakubo, oba okumugamba nti, ‘Ky’okoze si kituufu?’
13929  JOB 42:3  Wabuuza nti, ‘Ani ono aziyiza okuteesa kwange atalina magezi?’ Mazima ddala nayogera ebintu bye sitegeera, ebintu ebyassukirira okutegeera kwange.
17928  ISA 10:8  ‘Abaduumizi bange bonna tebenkana bakabaka?’ bw’atyo bw’ayogera.
17931  ISA 10:11  nga bwe nakola Samaliya ne bakatonda baabwe abalala si bwe nnaakola Yerusaalemi ne bakatonda baabwe ababajje?’
18105  ISA 20:6  Ku olwo abantu abatuula ku lubalama lw’ennyanja baligamba nti, ‘Mulabe ekigudde ku bantu be tubadde twesiga okutukuuma, gye twadda tuwonyezebwe nga tudduka kabaka w’e Bwasuli! Kaakano ffe tunaawonyezebwa tutya?’
18547  ISA 41:26  Ani eyakyogera nti kiribeerawo tulyoke tumanye, eyakyogera edda tulyoke tugambe nti, ‘Wali mutuufu?’ Tewali n’omu yakyogerako, tewali n’omu yakimanya era tewali n’omu yawulira kigambo na kimu okuva gye muli.
18640  ISA 45:9  “Zimusanze oyo ayomba n’omutonzi we! Zimusanze oyo oluggyo mu nzigyo z’ensi. Bbumba ki eribuuza oyo alibumba nti, ‘Obumba ki?’ Oba omulimu gwo okukubuuza nti, ‘Aliko emikono?’
18641  ISA 45:10  Zimusanze oyo agamba kitaawe nti, ‘Wazaala ki?’ Oba nnyina nti, ‘Kiki ky’ozadde?’
18642  ISA 45:11  “Bw’ati bw’ayogera Mukama Omutukuvu wa Isirayiri era Omutonzi we nti, ‘Lwaki mumbuuza ebigenda okujja, oba ebikwata ku baana bange, oba okumpa ebiragiro ku bikwata ku mirimu gy’emikono gyange?’
18727  ISA 49:21  N’olyoka oyogera mu mutima gwo nti, ‘Ani eyanzaalira abaana bano bonna? Nafiirwa abaana bange bonna ng’ate ndi mugumba. Nawaŋŋangusibwa ne nsigala nzekka. Bano baava ludda wa? Nasigala nzekka, naye ate bano, baava wa?’
18845  ISA 57:10  Amakubo go gonna gakuteganya ne gakukooya nnyo naye teweegamba nako nti, ‘Nteganira ki atalina kyeŋŋanyurwa?’ Singa tewanoonya bikuzaamu maanyi, wandizirise.
19146  JER 5:19  Era abantu bammwe bwe bagamba nti, ‘Lwaki Katonda waffe atukoze ebintu bino byonna?’ Onoobagamba nti, ‘Nga bwe mwanvaako ne muweereza bakatonda abalala mu nsi yammwe, mujja kuweereza bakatonda abagwira mu nsi eteri yammwe.’
19228  JER 8:6  Nawuliriza n’obwegendereza naye tebayogera mazima; tewali muntu yenna yeenenya bibi byakoze n’okwebuuza nti, ‘Kiki kino kye nkoze?’ Buli muntu akwata kkubo lye ng’embalaasi efubutuka ng’etwalibwa mu lutalo.
19347  JER 13:12  “Bagambe bw’oti nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa Isirayiri, buli kita kiba kya kujjuza nvinnyo.’ Nabo balikuddamu nti, ‘Tetumanyi nga buli kita kiba kya kujjuza nvinnyo?’
19386  JER 15:2  Era bwe bakubuuza nti, ‘Tunaagenda wa?’ “Bagambe nti, ‘Kino Mukama kyagamba nti, Ab’okuttibwa bagenda kuttibwa, n’ab’ekitala bafe ekitala, n’ab’enjala bafe enjala, n’ab’okuwambibwa bawambibwe.’
19415  JER 16:10  “Bw’oligamba abantu bino byonna ne bakubuuza nti, ‘Lwaki Mukama atutuusizaako akabi kano konna? Kibi ki kye tukoze? Musango ki gwe tuzizza eri Mukama Katonda waffe?’
19531  JER 22:8  “Abantu abava mu mawanga amangi baliyita ku kibuga kino nga beebuuzaganya bokka ne bokka nti, ‘Lwaki Mukama yakola ekintu ekifaanana bwe kiti ku kibuga kino ekikulu bwe kiti?’
19590  JER 23:37  Kino kye munaabuuza nnabbi nti, ‘Kiki Mukama kyakuzzeemu?’ Oba nti, ‘Mukama, agambye ki?’
19757  JER 30:21  Omukulembeze waabwe aliba omu ku bo; omukulembeze waabwe aliyimuka okuva mu bo. Ndimuleeta wendi era musembeze kumpi nange, kubanga ani oyo alyewaayo okunyiikira okubeera okumpi nange?’ bw’ayogera Mukama.
20163  JER 48:14  “Oyinza otya okugamba nti, ‘Tuli balwanyi, abasajja abazira mu ntalo?’
20168  JER 48:19  Muyimirire ku luguudo mulabe, mmwe ababeera mu Aloweri. Mubuuze omusajja adduka, n’omukazi atoloka, mubabuuze nti, ‘Kiki ekiguddewo?’
20200  JER 49:4  Lwaki mwenyumiriza olw’ebiwonvu byammwe, ne mwenyumiriza olw’ebiwonvu ebigimu? Ggwe omuwala atali mwesigwa, weesiga obugagga bwo n’ogamba nti, ‘Ani alinnumba?’
20758  EZK 12:9  “Omwana w’omuntu, ennyumba ya Isirayiri enjeemu teyakubuuza nti, ‘Okola ki ekyo?’
20771  EZK 12:22  “Omwana w’omuntu, makulu ki agali mu lugero olukwata ku nsi ya Isirayiri, olugamba nti, ‘Ennaku ziggwaayo naye teri kwolesebwa kutuukirira?’
20904  EZK 17:10  Ne bwe baligusimbuliza, gulirama? Tegulikalira ddala embuyaga ez’Ebuvanjuba bwe zirigufuuwa, ne gukalira mu kifo we gwakulira?’
20906  EZK 17:12  “Gamba ennyumba enjeemu eyo nti, ‘Temumanyi bintu ebyo kye bitegeeza?’ Bategeeze nti, ‘Kabaka w’e Babulooni yagenda e Yerusaalemi, n’awamba kabaka waayo n’abakungu be n’abatwala e Babulooni.
20937  EZK 18:19  “Mubuuza nti, ‘Lwaki omwana tabonaabona olw’ebibi bya kitaawe?’ Omwana bw’aba akoze eby’ensonga era ebituufu, ng’agoberedde ebiragiro byange, aliba mulamu.
20993  EZK 20:29  Kyenava mbabuuza nti, Ekifo ekyo ekigulumivu gye mugenda kya mugaso ki?’
21020  EZK 21:12  Bwe balikubuuza nti, ‘Okaabira ki?’ Oliddamu nti, ‘Olw’amawulire ge nfunye, kubanga ebyo bwe birijja, buli mutima gulisaanuuka, na buli mukono ne gulemala, n’emyoyo ne gizirika, n’amaviivi gonna ne ganafuwa ne gafuuka ng’amazzi.’ Bijja era birituukirira, bw’ayogera Mukama Katonda.”
21359  EZK 33:10  “Omwana w’omuntu, tegeeza ennyumba ya Isirayiri nti, Mwogera nti, ‘Okusobya kwaffe n’okwonoona kwaffe kutuzitoowerera, era tuyongobera mu kwo, tuyinza tutya okuwona?’
21360  EZK 33:11  Bategeeze nti, ‘Nga bwe ndi omulamu, bw’ayogera Mukama Katonda, sisanyukira kufa kw’abakozi ba bibi, wabula bo okukyuka ne bava mu kkubo lyabwe ebbi ne baba balamu. Mukyuke, mukyuke okuva mu makubo gammwe amabi. Lwaki mufa, mmwe ennyumba ya Isirayiri?’
21375  EZK 33:26  Mwesiga ekitala, ne mukola eby’ekivve, buli musajja n’ayenda ku muka muliraanwa we. Kale munaayinza mutya okugabana ensi?’
21484  EZK 37:18  “Awo abantu bo bwe bakubuuzanga nti, ‘Amakulu ga bino kye ki?’
22397  JOL 2:17  Bakabona abaweereza ba Mukama bayimirire wakati w’ekisasi kya yeekaalu n’ekyoto, bakaabirire Mukama nga bamusaba nti, “Saasira abantu bo, Ayi Mukama; abantu b’obusika bwo tobaleka kugwa mu mikono gya bannamawanga okubafuga era n’okubasekerera. Bannamawanga baleme kuduula nga boogera nti, ‘Katonda waabwe ali ludda wa?’
22582  OBA 1:3  Mwelimbye n’amalala agali mu mitima gyammwe, mmwe abasula mu mpuku ez’omu njazi, era ne muzimba amaka gammwe waggulu ku njazi. Mmwe aboogera nti, ‘Ani alituwanulayo n’atussa wansi?’
22621  JON 2:5  Ne ndyoka njogera nti, ‘Ngobeddwa mu maaso go; Ddala ndiddayo nate okulaba yeekaalu yo entukuvu?’
22788  NAM 3:7  Awo bonna abalikutunuulira balikwesamba ne bagamba nti, ‘Nineeve kifuuse matongo, ani anakikungubagira?’ Abalikikubagiza baliva wa?”
22936  HAG 2:12  Omuntu bw’asitulira ennyama eyatukuzibwa mu kirenge eky’ekyambalo kye, ekirenge ne kikoma ku mugaati oba ku supu, oba ku wayini, oba ku mafuta oba ku mmere endala yonna, bitukuzibwa?’” Bakabona ne baddamu nti, “Nedda.”
23038  ZEC 7:7  Bino si bye bigambo Mukama bye yalangirira mu bannabbi ab’edda, Yerusaalemi bwe kyali kikyalimu abantu era nga kikyakulaakulana, nga n’ebibuga byakyo bikyetoolodde, nga ne mu bukiikaddyo ne mu bitundu eby’ensenyi mukyalimu abantu?’
23134  ZEC 13:6  Era singa omuntu bamubuuza nti, ‘Ate bino ebiwundu ebiri ku mubiri gwo bya ki?’ Aliddamu nti, ‘Ebiwundu n’abifunira mu nnyumba ya mikwano gyange.’ ”
23160  MAL 1:2  “Nabaagala,” bw’ayogera Mukama. “Naye mmwe ne mumbuuza nti, ‘Watwagala otya?’“Esawu teyali muganda wa Yakobo?” bw’ayogera Mukama: “naye nze Yakobo gwe nayagala.
23164  MAL 1:6  “Omwana assaamu kitaawe ekitiibwa, n’omuddu atya mukama we. Kale obanga ddala ndi kitammwe, ekitiibwa kye munzisaamu kiri ludda wa? Era obanga ndi mukama wammwe, lwaki temuntya?” bw’ayogera Mukama ow’Eggye. Mukama ow’Eggye bw’abagamba mmwe nti, “Mmwe bakabona munyooma erinnya lyange. “Ne mubuuza nti, ‘Twayonoona tutya?’