|
2298 | Bino bye byambalo bye banaakola: eky’omu kifuba, ekkanzu ey’obwakabona okutali mikono ennyimpi eyitibwa ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi; ng’ekoma mu ntumbwe; omunagiro; ekkooti erimu obusaze obw’obusimba n’obw’obukiika; ekitambaala; n’olukoba. Bakolere Alooni ne batabani be ebyambalo ebitukuvu balyoke bampeereze nga be bakabona. | |
13503 | Ennyumba gy’azimba eribeera ng’ey’ekiwojjolo; ng’akasiisira akazimbiddwa omukuumi. | |
14826 | Balina obusagwa ng’obw’omusota; bali ng’enswera etawulira ezibikira amatu gaayo; | |
29790 | Era nze kye nateekebwawo mbeere omutume era omuyigiriza w’Abamawanga, mbategeeze eby’okukkiriza n’eby’amazima; njogera bituufu sirimba. |