18085 | ISA 19:11 | Abakulu ab’e Zowani basiruwalidde ddala, n’abagezigezi ba Falaawo bye boogera tebiriimu nsa. Mugamba mutya Falaawo nti, “Ndi mwana w’abagezi, omwana wa bassekabaka ab’edda”? |
18279 | ISA 29:16 | Mufuula ebintu ne birabika ng’omubumbi alowoozebwa okwenkanankana n’ebbumba. Ekyakolebwa kiyinza okwogera ku eyakikola nti, “Teyankola”? Ensuwa eyinza okugamba omubumbi nti, “Talina ky’amanyi”? |
18517 | ISA 40:27 | Lwaki ogamba ggwe Yakobo era ne wemulugunya ggwe Isirayiri nti, “Mukama tamanyi mitawaana gye mpitamu, era tafaayo nga tuggyibwako eddembe lyaffe ery’obwebange”? |