Wildebeest analysis examples for:   lug-lug   ?    February 11, 2023 at 19:01    Script wb_pprint_html.py   by Ulf Hermjakob

65  GEN 3:9  Naye Mukama Katonda n’ayita omusajja nti, “Oli ludda wa?
67  GEN 3:11  N’amubuuza nti, “Ani akubuulidde nti oli bwereere? Olidde ku muti gwe nakulagira obutagulyangako?
69  GEN 3:13  Mukama Katonda kwe kubuuza omukazi nti, “Kiki kino ky’okoze?Omukazi n’addamu nti, “Omusota gwe gunsenzesenze ne ndya.”
86  GEN 4:6  Mukama n’abuuza Kayini nti, “Osunguwalidde ki? Era n’endabika y’amaaso go lwaki ewaanyisiddwa?
87  GEN 4:7  Bw’onookolanga obulungi tokkirizibwenga? Naye bw’otokole bulungi ekibi, kiri kumpi naawe, nga kikulindiridde, naye oteekwa okukiwangula.”
89  GEN 4:9  Awo Mukama n’abuuza Kayini nti, “Muganda wo Aberi ali ludda wa?N’amuddamu nti, “Ssimanyi; nze mukuumi wa muganda wange?
90  GEN 4:10  Mukama n’amugamba nti, “Okoze ki? Eddoboozi ly’omusaayi gwa muganda wo oguyiyiddwa ku ttaka linkaabirira.
317  GEN 12:18  Awo Falaawo n’ayita Ibulaamu n’amugamba nti, “Kiki kino ky’onkoze? Lwaki tewantegeeza nti mukazi wo?
318  GEN 12:19  Lwaki wagamba nti mwannyoko, ne mmutwala okuba mukazi wange? Kale kaakano mukazi wo wuuno mmutwale mugende.”
328  GEN 13:9  Ensi yonna teri mu maaso go? Leka twawukane. Bwonoolonda oluuyi olwa kkono, nze n’alaga ku luuyi olwa ddyo, bw’onoolaga ku luuyi olwa ddyo nze n’alaga ku luuyi olwa kkono.”
363  GEN 15:2  Naye Ibulaamu n’addamu nti, “Kiki ky’olimpa Ayi Mukama Katonda, kubanga sirina mwana, n’omusika w’ennyumba yange ye Eryeza ow’omu Ddamasiko?
369  GEN 15:8  Ibulaamu n’addamu nti, “Ayi Mukama nnaamanya ntya nti eriba yange?
390  GEN 16:8  N’agamba nti, “Agali, omuweereza wa Salaayi, ovudde wa era ogenda wa?N’amuddamu nti, “Nziruka mugole wange Salaayi.”
415  GEN 17:17  Awo Ibulayimu n’avuunama n’aseka, n’agamba munda ye nti, “Omwana alizaalirwa oyo eyaakamala emyaka ekikumi? Saala ow’emyaka ekyenda alizaala omwana?
434  GEN 18:9  Ne bamubuuza nti, “Saala mukyala wo ali ludda wa?N’addamu nti, “Ali mu weema.”
437  GEN 18:12  Awo Saala n’asekera muli ng’agamba nti, “Nga nkaddiye, nga ne baze akaddiye, ndisanyusibwa?
438  GEN 18:13  Mukama n’abuuza Ibulayimu nti, “Lwaki Saala asese ng’agamba nti, ‘Ndiyinza okuzaala omwana nga nkaddiye?
439  GEN 18:14  Waliwo ekirema Mukama? Omwaka ogujja, mu kiseera kyennyini, ndikomawo gy’oli, ne Saala alizaala omwana owoobulenzi.”
442  GEN 18:17  Mukama n’agamba mu mutima gwe nti, “Ibulayimu namukweka kye ŋŋenda okukola?
448  GEN 18:23  Awo Ibulayimu n’amusemberera n’agamba nti, “Ddala olizikiriza abatuukirivu awamu n’ababi?
449  GEN 18:24  Singa mu kibuga mulimu abatuukirivu amakumi ataano onookizikiriza n’otokisonyiwa olw’abatuukirivu amakumi ataano abakirimu?
450  GEN 18:25  Kireme okuba gy’oli okukola ekintu bwe kityo, okutta abatuukirivu awamu n’ababi, abatuukirivu ne benkana n’ababi! Kireme kuba bwe kityo! Omulamuzi ow’ensi yonna teyandisaanye akole kituufu?
453  GEN 18:28  Singa abatuukirivu babulako bataano okuwera amakumi ataano, onoozikiriza ekibuga kubanga kubulako bataano?N’amuddamu nti, “Sijja kukizikiriza, bwe nnaasangamu abatuukirivu amakumi ana mu abataano abampulira.”
463  GEN 19:5  ne bayita Lutti nga bagamba nti, “Abasajja abazze gy’oli ekiro kino bali ludda wa? Batufulumize twebake nabo.”
470  GEN 19:12  Awo abasajja bali ababiri ne babuuza Lutti nti, “Olina abantu bo abalala wano, batabani bo, oba bakoddomi bo, oba bawala bo, oba omuntu omulala yenna mu kibuga? Bafulumye mu kifo kino;
501  GEN 20:5  Si yeyaŋŋamba nti, ‘Mwannyinaze?Era ne Saala n’aŋŋamba nti, ‘Mwannyina.’ Kino nkikoze mu mutima omutuukirivu n’emikono gyange tegiriiko musango.”
505  GEN 20:9  Awo Abimereki n’ayita Ibulayimu n’amugamba nti, “Otukoze ki? Era nsobi ki gye nkukoze, n’ondeetera nze n’obwakabaka bwange ekibi ekinene ekyenkana awo? By’onkoze tebisaana kukolebwa muntu.”
506  GEN 20:10  Era Abimereki n’agamba Ibulayimu nti, “Wali olowooza ki okukola ekintu kino?
521  GEN 21:7  Era n’agamba nti, “Ani yandirowoozezza nti Saala alifuna omwana? Naye, laba mmuzaalidde omwana wabulenzi.”
531  GEN 21:17  Katonda n’awulira eddoboozi ly’omulenzi ng’akaaba, malayika wa Katonda n’ayita Agali ng’asinziira mu ggulu n’amugamba nti, “Kiki ekikuteganya? Totya, kubanga Katonda awulidde eddoboozi ly’omulenzi w’ali.
543  GEN 21:29  Abimereki n’abuuza Ibulayimu nti, “Endiga ezo omusanvu enduusi z’oyawuddeko amakulu gaazo ki?
555  GEN 22:7  Isaaka n’agamba Ibulayimu nti, “Taata.” Ibulayimu n’amuddamu nti, “Nzuuno mwana wange.” Isaaka n’amubuuza nti, “Laba, omuliro n’enku biibino, naye omwana gw’endiga ogw’ekiweebwayo ekyokebwa guluwa?
587  GEN 23:15  “Mpuliriza mukama wange, ennimiro esaana ebitundu by’effeeza ebikumi bina. Kale ekyo ki eri ab’omukwano? Twala ennimiro oziikemu abafu bo.”
597  GEN 24:5  Omuddu kwe ku mubuuza nti, “Omukazi bw’ataliyagala kujja nange mu nsi eno, ndizzaayo mutabani wo mu nsi mwe wava?
615  GEN 24:23  N’amubuuza nti, “Oli muwala w’ani? Mu nnyumba ya kitaawo mulimu ekisenge mwe tuyinza okusuzibwa?
623  GEN 24:31  Labbaani n’amugamba nti, “Jjangu gwe aweereddwa Mukama omukisa. Lwaki obeera eno? Ntegesse ennyumba era n’ekifo ky’eŋŋamira.”
631  GEN 24:39  “Ne mbuuza mukama wange nti, ‘Omukazi bw’atalikkiriza kujja nange?
639  GEN 24:47  “Kwe ku mubuuza nti, ‘Oli muwala w’ani?N’anziramu nti, ‘Ndi muwala wa Besweri, mutabani wa Nakoli, Mirika gwe yamuzaalira.’ Ne nteeka empeta ku nnyindo ye n’ebikomo ku mikono gye.
650  GEN 24:58  Ne bayita Lebbeeka, ne bamubuuza nti, “Onoogenda n’omusajja ono?N’addamu nti, “Nnaagenda.”
657  GEN 24:65  n’abuuza omuddu nti, “Ani oyo gwe nnengera mu nnimiro ajja okutusisinkana?Omuddu n’addamu nti, “Ye mukama wange.” Lebbeeka kwe kutoola omunagiro gwe ne yeebikkirira.
681  GEN 25:22  Abaana bombi ne bagulumbira mu lubuto lwe, Lebbeeka n’agamba nti, “Obanga kiri bwe kityo, lwaki mba omulamu?Awo n’agenda ne yeebuuza ku Mukama.
691  GEN 25:32  Esawu n’agamba nti, “Laba Ndikumpi n’okufa, obukulu bungasa ki?
702  GEN 26:9  Abimereki kwe kuyita Isaaka n’amugamba nti, “Ddala, mukazi wo, lwaki wagamba nti, ‘Mwannyinaze’?Isaaka n’amuddamu nti, “Kubanga nalowooza nti, ‘Nnyinza okufiirwa obulamu bwange ku lulwe.’ ”
703  GEN 26:10  Abimereki n’amugamba nti, “Kale kiki kino ky’otukoze? Omu ku basajja yandiyinzizza okusobya ku mukazi wo, wandituleeseeko omusango.”
720  GEN 26:27  Isaaka n’ababuuza nti, “Lwaki muzze gye ndi ng’ate mwankijjanya ne mungobaganya?
740  GEN 27:12  Singa kitange anampeeweetako, siifuuke mulimba gy’ali, ne nfuna ekikolimo mu kifo ky’okufuna omukisa?
746  GEN 27:18  Awo Yakobo n’agenda eri kitaawe, n’amugamba nti, “Kitange nzuuno.” Ye n’amuddamu nti, “Ggwe ani mwana wange?
748  GEN 27:20  Naye Isaaka n’abuuza mutabani we nti, “Ogufunye otya amangu bw’otyo?N’amuddamu nti, “Mukama Katonda wo ampadde omukisa.”
752  GEN 27:24  Isaaka n’amubuuza nti, “Ddala gwe mwana wange Esawu?N’amuddamu nti, “Ye nze.”
760  GEN 27:32  Kitaawe Isaaka n’amubuuza nti, “Gwe ani?Kwe kumuddamu nti, “Nze omwana wo omubereberye Esawu.”
761  GEN 27:33  Olwo Isaaka n’akankana nnyo n’abuuza nti, “Ani oyo ayizze omuyiggo n’agundeetera ne ngulya ne ngumalawo nga tonnajja ne mmusabira omukisa? Era ddala ajja kuweebwa omukisa.”
764  GEN 27:36  Esawu n’ayogera nti, “Teyatuumibwa linnya lye Yakobo? Laba, anyingiridde emirundi gino gyombi; yanziggyako eby’obukulu bwange, ate kaakano antutteko n’omukisa gwange.” Kwe kubuuza kitaawe nti, “Tondekeddeewo mukisa n’akatono?
765  GEN 27:37  Isaaka n’addamu Esawu nti, “Laba, mmufudde mukama wo, era mmuwadde baganda be bonna babe baweereza be, era mmusabidde abe n’emmere ey’empeke wamu n’envinnyo nga bingi ddala. Kale nnaakukolera ki mwana wange?
766  GEN 27:38  Esawu n’abuuza kitaawe nti, “Tolinaawo mukisa na gumu kitange? Nange mpa omukisa, ayi kitange.” Bw’atyo Esawu n’ayimusa eddoboozi lye n’akaaba.
773  GEN 27:45  Obusungu bwe buliba bumuweddeko, nga yeerabidde ky’omukoze, ne ndyoka ntuma ne bakunona. Kale lwaki mbafiirwa mwembi ku lunaku olumu?
800  GEN 29:4  Awo Yakobo n’abuuza abasumba nti, “Abooluganda muva wa?Ne bamuddamu nti, “Tuva Kalani.”
801  GEN 29:5  Kwe kubabuuza nti, “Labbaani mutabani wa Nakoli mumumanyi?Ne bamuddamu nti, “Tumumanyi.”
802  GEN 29:6  N’abuuza nti, “Ali bulungi?Ne baddamu nti, “Ali bulungi, era laba Laakeeri muwala we wuuli ajja n’endiga!”
811  GEN 29:15  Awo Labbaani n’agamba Yakobo nti, “Olw’okubanga oli waluganda ky’onoova ompeerereza obwereere? Ntegeeza empeera yo bw’eneebanga.”
821  GEN 29:25  Bwe bwakya, Yakobo n’alaba nga bamuwadde Leeya. Kwe kugamba Labbaani nti, “Onkoze ki kino? Saakuweereza lwa Laakeeri? Kale lwaki onimbye?
833  GEN 30:2  Obusungu bwa Yakobo ne bubuubuukira Laakeeri, n’amugamba nti, “Nze Katonda akummye okuzaala?
846  GEN 30:15  Kyokka ye n’amuddamu nti, “Okiyita kitono ggwe okunnyagako baze? Ate otwale n’amadudayimu g’omwana wange?Laakeeri n’amugamba nti, “Kale anaaba naawe ekiro kino olw’amadudayimu g’omwana wo.”
861  GEN 30:30  Kubanga walina ntono nga sinnajja, naye zeeyongedde nnyo; era Mukama n’akuwa omukisa buli gye n’addanga. Naye kaakano nze ndikolera ddi ennyumba yange?
862  GEN 30:31  Labbaani kwe ku mubuuza nti, “Nkuwe ki?Yakobo n’amuddamu nti, “Tojja kubaako ky’ompa, okuggyako okunkolera kino, ndyoke nneeyongere okulunda ekisibo kyo:
900  GEN 31:26  Labbaani n’agamba Yakobo nti, “Okoze ki, okuntwalako bawala bange mu kyama ne babanga abanyage?
902  GEN 31:28  Kale lwaki tewaŋŋanya na kugwa mu kifuba bazzukulu bange ne bawala bange okubasiibula? Ekyo kye wakola si kya buntubulamu.
904  GEN 31:30  Ne kaakano ogenda kubanga wayagala nnyo okuddayo mu nnyumba ya kitaawo; naye wabbira ki bakatonda bange?
910  GEN 31:36  Awo Yakobo n’alyoka ajjula obusungu ne yeejuumulira Labbaani, n’amugamba nti, “Nzizizza musango ki? Kibi ki kye nnina, olyoke ongoberere n’obukaali butyo?
911  GEN 31:37  Bw’oyazizza mu bintu byange, kikyo ki ky’osanzemu? Kiteeke wano wakati mu maaso g’abantu bange n’ababo, balyoke basalewo omusobya ku fembi.
917  GEN 31:43  Awo Labbaani n’addamu Yakobo nti, “Bano bawala bange, n’abaana baabwe bazzukulu bange, n’ebisibo, bisibo byange era ne byonna byolaba byange. Naye bawala bange n’abaana baabwe be bazadde, nnyinza kubakolera ki leero?
946  GEN 32:18  N’alagira eyakulembera nti, “Esawu, muganda wange bw’anaakusisinkana n’akubuuza nti, ‘Oli muntu w’ani? Ogenda wa? Na bino by’olina by’ani?
956  GEN 32:28  Omusajja n’amubuuza nti, “Erinnya lyo gw’ani?N’amuddamu nti, “Yakobo.”
958  GEN 32:30  Awo ne Yakobo n’amugamba nti, “Mbuulira erinnya lyo.” Naye ye n’amuddamu nti, “Lwaki ombuuza erinnya lyange?Awo n’amuwa omukisa.
966  GEN 33:5  Esawu bwe yayimusa amaaso ge n’alaba abakazi n’abaana, n’abuuza Yakobo nti, “Bano baani abali naawe?Yakobo n’amuddamu nti, “Be baana Katonda baawadde omuddu wo mu kisa kye.”
969  GEN 33:8  Esawu n’abuuza Yakobo nti, “Otegeezaaki olwa bino byonna bye nsanze?Yakobo n’addamu nti, “Lwa kufuna kusaasirwa kwa mukama wange.”
1004  GEN 34:23  Olwo ente zaabwe, ebintu byabwe n’ensolo zaabwe zonna tebiibe byaffe? Kye tuba tukola kwe kukkiriziganya nabo, balyoke babeere mu ffe.
1012  GEN 34:31  Bo ne bamuddamu nti, “Lwaki yayisa mwannyinaffe ng’omwenzi?
1092  GEN 37:8  Baganda be ne bamugamba nti, “Olowooza olitufuga? Olowooleza ddala nti tulibeera baddu bo?Olwo ne beeyongera nnyo okumukyayira ddala olw’ekirooto kye n’ebigambo bye.
1094  GEN 37:10  Naye bwe yakitegeeza kitaawe ng’ali wamu ne baganda be, kitaawe n’amunenya ng’agamba nti, “Kirooto ki kino ky’oloose? Ddala nze ne nnyoko awamu ne baganda bo tulijja ne tuvuunama mu maaso go?
1099  GEN 37:15  Awo omusajja n’amulaba ng’atangatangira ku ttale, n’amubuuza nti, “Onoonya ki?
1110  GEN 37:26  Yuda kwe kugamba baganda be nti, “Kitugasa ki okutta muganda waffe n’okuyiwa omusaayi gwe?
1114  GEN 37:30  n’addayo eri baganda be n’abagamba nti, “Omwana taliiyo. Kale naamunoonyeza wa?
1136  GEN 38:16  N’agenda gy’ali ku mabbali g’ekkubo, n’amugamba nti, “Jjangu, neetabe naawe,” kubanga teyamanya nti ye yali muka mutabani we. Tamali kwe ku mubuuza nti, “Onompa ki bwe neetaba naawe?
1137  GEN 38:17  Yuda n’amuddamu nti, “Nnaakuweereza embuzi ento.” N’amubuuza nti, “Onompa omusingo nga tonnagimpeereza?
1138  GEN 38:18  Yuda n’amuddamu nti, “Nkuwe musingo ki?N’amugamba nti, “Akabonero ko, akajegere ko awamu n’omuggo gwo oguli mu mukono gwo.” Awo n’abimuwa, ne yeetaba naye, n’amufunyisa olubuto.
1145  GEN 38:25  Tamali bwe yali atwalibwa n’atumira sezaala we Yuda n’amugamba nti, “Omusajja nannyini bintu bino ye kazaalabulwa. Nkusaba weetegereze ebintu bino: akabonero, akajegere n’omuggo, by’ani?
1149  GEN 38:29  Naye omulongo bwe yazzaayo omukono gwe munda, muganda we n’afuluma; omuzaalisa n’agamba nti, “Lwaki owaguzza?Erinnya ly’omwana kyeryava liba Pereezi.
1159  GEN 39:9  era tewali n’omu ansinga mu nnyumba ye, tewali na kimu ky’atankwasa okuggyako ggwe, kubanga ggwe oli mukazi we. Kale nnyinza ntya okuyingira mu kwonoona okwenkanidde awo n’okusobya eri Katonda?
1180  GEN 40:7  N’alyoka abuuza abakungu ba Falaawo abaali naye mu kkomera, mu nnyumba ya mukama waabwe nti, “Lwaki leero mulabika nga mweraliikiridde?
1234  GEN 41:38  Falaawo n’agamba abaweereza be nti, “Tuyinza okufuna omuntu ng’ono Yusufu omuli Omwoyo wa Katonda?
1254  GEN 42:1  Yakobo bwe yategeera nga mu Misiri eriyo emmere, n’agamba batabani be nti, “Lwaki mutunula butunuzi?
1260  GEN 42:7  Yusufu n’abalaba n’abategeera, wabula n’abayisa nga b’atamanyi n’ayogera nabo n’obukambwe. N’ababuuza nti, “Muva wa?Ne bamuddamu nti, “Tuva mu nsi ya Kanani, tuzze kugula mmere.”
1298  GEN 43:7  Ne bagamba nti, “Omusajja yatubuuza nnyo ebitufaako awamu n’ebifa ku lulyo lwaffe, ng’abuuza nti, ‘Kitammwe gyali mulamu? Mulina muganda wammwe omulala?Kye twamutegeeza nga kiddamu buzzi ebibuuzo bye yatubuuzanga. Tetwamanya ng’anaatugamba okuserengesa muganda waffe.”
1318  GEN 43:27  N’ababuuza bwe bali, n’ababuuza nti, “Kitammwe akyali mulamu bulungi?
1320  GEN 43:29  Yusufu bwe yayimusa amaaso, n’alaba Benyamini muganda we, mutabani wa nnyina. N’ababuuza nti, “Ono ye muto wammwe gwe mwantegeezako? Katonda akuwe omukisa mwana wange.”
1329  GEN 44:4  Bwe baali baakava mu kibuga Yusufu n’agamba omuweereza we nti, “Golokoka obagoberere bw’obatuukako obabuuze nti, ‘Lwaki musasudde ekibi olw’ebirungi? Lwaki mubbye ekikopo kyange ekya ffeeza?
1330  GEN 44:5  Mu kino mukama wange si mwanywera, era si kyalaguza? Mu ekyo mukoze bubi.’ ”
1332  GEN 44:7  Ne bamugamba nti, “Mukama waffe lwaki ayogedde ebigambo ebyo? Olowooza tuli bantu ba ngeri ki abayinza okukola ekintu ng’ekyo?
1333  GEN 44:8  Laba, ensimbi ze twasanga ku mimwa gy’ensawo zaffe twazikuddiza okuva mu nsi ya Kanani, kale twandisobodde tutya okubba ffeeza oba zaabu okuva mu nnyumba ya mukama wo?
1340  GEN 44:15  Yusufu n’abagamba nti, “Kiki kino kye mukoze? Temumanyi nti omuntu ali nga nze asobola okuvumbula kye mukoze?