57 | GEN 3:1 | Kale nno omusota gwali mukalabakalaba okukira ensolo zonna ez’omu nsiko, Mukama Katonda ze yatonda. Ne gugamba omukazi nti, “Kazzi Katonda yagamba nti, ‘Temulyanga ku muti gwonna ogw’omu nnimiro!’ ” |
59 | GEN 3:3 | kyokka Katonda yatulagira nti, ‘Temulyanga ku kibala ky’omuti oguli wakati mu nnimiro, wadde okugukwatako, muleme okufa.’ ” |
311 | GEN 12:12 | era Abamisiri bwe balikulabako baligamba nti, ‘Ono ye mukazi we,’ kale balinzita, naye ggwe ne bakuleka. |
360 | GEN 14:23 | sijja kutwala wadde akawuzi oba akakoba akasiba engatto, oba ekintu kyonna ekikyo, oleme okugamba nti, ‘Ngaggawazza Ibulaamu.’ |
438 | GEN 18:13 | Mukama n’abuuza Ibulayimu nti, “Lwaki Saala asese ng’agamba nti, ‘Ndiyinza okuzaala omwana nga nkaddiye?’ |
501 | GEN 20:5 | Si yeyaŋŋamba nti, ‘Mwannyinaze?’ Era ne Saala n’aŋŋamba nti, ‘Mwannyina.’ Kino nkikoze mu mutima omutuukirivu n’emikono gyange tegiriiko musango.” |
509 | GEN 20:13 | Katonda bwe yandeeta okuva mu nnyumba ya kitange, ne mugamba nti, ‘Eky’ekisa ky’oyinza okunkolera kye kino, buli kifo kye tutuukamu njogeraako nti ndi mwannyoko.’ ” |
599 | GEN 24:7 | Mukama, Katonda w’eggulu, eyanzigya mu nnyumba ya kitange, mu nsi mwe nazaalibwa eyayogera nange era n’andayirira nti, ‘Ezadde lyo ndiriwa ensi eno,’ alituma malayika we n’akukulembera owasirize mutabani wange omukazi era omuggyeyo. |
606 | GEN 24:14 | Kale omuwala gwe nnaagamba nti, ‘Nkwegayiridde mpa ku mazzi ag’omu nsuwa yo nnyweko,’ n’amala agamba nti, ‘Kale nnywa, era n’eŋŋamira zo nnaazinywesa,’ oyo y’aba abeera gw’olonze okuba mukazi w’omuddu wo Isaaka. Ku kino kwe nnaategeerera nti olaze mukama wange ekisa kyo ekitaggwaawo.” |
629 | GEN 24:37 | Mukama wange yandayiza n’aŋŋamba nti, ‘Towasizanga mutabani wange mukazi ava mu Bakanani ba nnyini nsi mwe mbeera. |
631 | GEN 24:39 | “Ne mbuuza mukama wange nti, ‘Omukazi bw’atalikkiriza kujja nange?’ |
632 | GEN 24:40 | “Ye n’anziramu nti, ‘Mukama oyo gwe ntambulira mu maaso ge alikutumira malayika we mu lugendo lwo era alikuwa omukisa, n’owasiza mutabani wange omukazi okuva mu bantu bange, era mu nnyumba ya kitange. |
634 | GEN 24:42 | “Leero bwe ntuuse ku luzzi, ne ŋŋamba nti, ‘Ayi Mukama, Katonda wa mukama wange Ibulayimu, obanga onoowa omukisa olugendo luno lwe ndiko, |
637 | GEN 24:45 | “Laba, bwe nabadde nga nkyayogera mu mutima gwange, Lebbeeka n’avaayo n’ensuwa ye ng’eri ku kibegabega kye, n’aserengeta ku luzzi n’asena amazzi. Ne mugamba nti, ‘Nkusaba ompe nyweko.’ |
638 | GEN 24:46 | “Nassa mangu ensuwa ye okuva ku kibegabega kye, n’agamba nti, ‘Nnywa, era nnaanywesa n’eŋŋamira zo.’ |
639 | GEN 24:47 | “Kwe ku mubuuza nti, ‘Oli muwala w’ani?’ N’anziramu nti, ‘Ndi muwala wa Besweri, mutabani wa Nakoli, Mirika gwe yamuzaalira.’ Ne nteeka empeta ku nnyindo ye n’ebikomo ku mikono gye. |
702 | GEN 26:9 | Abimereki kwe kuyita Isaaka n’amugamba nti, “Ddala, mukazi wo, lwaki wagamba nti, ‘Mwannyinaze’?” Isaaka n’amuddamu nti, “Kubanga nalowooza nti, ‘Nnyinza okufiirwa obulamu bwange ku lulwe.’ ” |
721 | GEN 26:28 | Ne bamuddamu nti, “Tulabidde ddala nga Mukama ali naawe, kyetuva tugamba nti, ‘Wabeewo ekirayiro wakati wo naffe. Era tukole endagaano naawe, |
735 | GEN 27:7 | ‘Ndeetera omuyiggo onteekereteekere ekyokulya ekiwooma obulungi, nkirye, ndyoke nkusabire omukisa eri Mukama nga sinnafa.’ |
882 | GEN 31:8 | Kale bwe yagambanga nti, ‘Eza bugondogondo ze zinaabanga ezizo ekisibo kyonna ne kizaala eza bugondogondo, era bwe yayogeranga nti eza biwuuga ze zinaabanga ezizo ekisibo kyonna ne kizaala eza biwuuga.’ |
885 | GEN 31:11 | Ne mu kirooto ekyo malayika wa Katonda n’ampita nti, ‘Yakobo.’ Ne nziramu nti, ‘Nze nzuuno.’ |
886 | GEN 31:12 | N’aŋŋamba nti, ‘Yimusa amaaso go olabe, embuzi zonna ezirinnyira ekisibo bwe ziri eza biwuuga, eza bugondogondo n’eza kiweewoweewo; kubanga ndabye ebyo byonna Labbaani by’akukoze. |
903 | GEN 31:29 | Mbadde nsobola okukukola akabi, wabula Katonda wa kitaawo yayogedde nange ekiro kino, n’aŋŋamba nti, ‘Weegendereze oleme okwogera ne Yakobo ekigambo kyonna, ekirungi oba ekibi.’ |
933 | GEN 32:5 | N’abagamba nti, “Mugambe mukama wange Esawu nti, ‘Omuddu wo Yakobo abadde ne Labbaani okutuusa kaakano, |
938 | GEN 32:10 | Awo Yakobo n’agamba nti, “Ayi Katonda wa jjajjange Ibulayimu, era Katonda wa kitange Isaaka, Ayi Mukama eyaŋŋamba nti, ‘Ddayo mu nsi yammwe, mu bantu bo, nange nnaakugaggawazanga,’ |
941 | GEN 32:13 | Naye waŋŋamba nti, ‘Nnaakugaggawazanga, era abalikuvaamu baliba ng’omusenyu gw’ennyanja, ogutabalika obungi bwabwe.’ ” |
946 | GEN 32:18 | N’alagira eyakulembera nti, “Esawu, muganda wange bw’anaakusisinkana n’akubuuza nti, ‘Oli muntu w’ani? Ogenda wa? Na bino by’olina by’ani?’ |
947 | GEN 32:19 | N’olyoka omuddamu nti, ‘Bya muddu wo Yakobo, birabo by’aweerezza mukama wange Esawu, era tali wala naffe.’ ” |
949 | GEN 32:21 | era mugambe nti, ‘Omuddu wo Yakobo tali wala naffe.’ ” Kubanga Yakobo yalowooza nti, “Nnaamuwooyawooya n’ekirabo ekinkulembedde, n’oluvannyuma nnaalaba amaaso ge, osanga tankole kabi.” |
1101 | GEN 37:17 | Omusajja n’amuddamu nti, “Beeyongerayo, kubanga nabawulira nga bagamba nti, ‘Ka tugende e Dosani.’ ” Awo Yusufu n’agoberera baganda be n’abasanga e Dosani. |
1104 | GEN 37:20 | Kale mujje tumutte, tumusuule mu kimu ku binnya; tuligamba nti, ‘Ensolo enkambwe ye yamulya; tulabe ebirooto bye bwe birituukirira.’ ” |
1286 | GEN 42:33 | “Awo omusajja oyo omufuzi w’ensi n’atugamba nti, ‘Ku kino kwennaategeerera nga muli beesigwa: muleke wano omu ku baganda bammwe, mutwale eŋŋaano olw’enjala eri mu maka gammwe. |
1294 | GEN 43:3 | Naye Yuda n’amuddamu nti, “Omusajja yatukuutirira ddala ng’agamba nti, ‘Temulinyanga ekigere mu maaso gange nga temuzze na muganda wammwe.’ |
1296 | GEN 43:5 | Naye bw’otomukkirize kugenda naffe, tetujja kuserengeta, kubanga omusajja yatugamba nti, ‘Temugenda kulaba maaso gange nga muganda wammwe tali nammwe.’ ” |
1298 | GEN 43:7 | Ne bagamba nti, “Omusajja yatubuuza nnyo ebitufaako awamu n’ebifa ku lulyo lwaffe, ng’abuuza nti, ‘Kitammwe gyali mulamu? Mulina muganda wammwe omulala?’ Kye twamutegeeza nga kiddamu buzzi ebibuuzo bye yatubuuzanga. Tetwamanya ng’anaatugamba okuserengesa muganda waffe.” |
1329 | GEN 44:4 | Bwe baali baakava mu kibuga Yusufu n’agamba omuweereza we nti, “Golokoka obagoberere bw’obatuukako obabuuze nti, ‘Lwaki musasudde ekibi olw’ebirungi? Lwaki mubbye ekikopo kyange ekya ffeeza? |
1344 | GEN 44:19 | Mukama wange yabuuza abaweereza be nti, ‘Mulina kitammwe oba muganda wammwe?’ |
1345 | GEN 44:20 | Ne tuddamu mukama wange nti, ‘Tulina kitaffe, musajja mukulu, ne muganda waffe atusinga obuto, omwana gwe yazaala mu bukadde bwe, ne muganda wa muto waffe, yafa; muto waffe yekka y’aliwo, eyasigalawo yekka ku baana ba nnyina; era kitaawe amwagala nnyo.’ |
1346 | GEN 44:21 | “N’olyoka ogamba abaddu bo nti, ‘Mumundeetere, mmulabeko.’ |
1347 | GEN 44:22 | Twategeeza mukama wange nti, ‘Omulenzi tayinza kuva ku kitaawe, kubanga bw’amuvaako, kitaawe alifa bufi!’ |
1348 | GEN 44:23 | N’oddamu abaddu bo nti, ‘Muto wammwe bw’ataliserengeta nammwe, temugenda kulaba maaso gange.’ |
1350 | GEN 44:25 | Kale kitaffe bwe yagamba nti, ‘Muddeeyo mutugulire ku mmere,’ |
1351 | GEN 44:26 | ne tumuddamu nti, ‘Tetusobola kuserengeta. Muto waffe bw’atagenda naffe tetujja kugenda kubanga tetusobola kulaba maaso ga musajja oli nga muto waffe tali naffe.’ |
1352 | GEN 44:27 | “Awo omuddu wo, kitaffe n’atugamba nti, ‘Mumanyi, mukazi wange yanzaalira abaana abalenzi babiri; |
1357 | GEN 44:32 | Kubanga omuweereza wo yeeyimirira omulenzi eri kitange; nga ŋŋamba nti, ‘Bwe sirimuzza gy’oli ndiba n’obuvunaanyizibwa n’okunenyezebwa ennaku zonna ez’obulamu bwange.’ |
1368 | GEN 45:9 | Kale mwanguwe, mwambuke eri kitange mumugambe nti, ‘Bw’ati mutabani wo Yusufu bw’agamba nti, Katonda anfudde mufuzi wa Misiri yenna; serengeta gye ndi, tolwa; |
1376 | GEN 45:17 | Falaawo n’agamba Yusufu nti, “Gamba baganda bo nti, ‘Mukole bwe muti: mutikke ensolo zammwe muddeyo mu nsi ya Kanani, |
1418 | GEN 46:31 | Yusufu n’agamba baganda be n’ab’ennyumba ya kitaawe nti, “Nzija kugenda eri Falaawo mugambe nti, ‘Baganda bange n’ennyumba ya kitange abaali mu nsi ya Kanani bazze gye ndi. |
1420 | GEN 46:33 | Kale Falaawo bw’abayita n’ababuuza nti, ‘Mukola mulimu ki?’ |
1421 | GEN 46:34 | Mumuddemu nti, ‘Abaweereza bo kasookedde tuzaalibwa tuli balunzi, ffe ne bajjajjaffe.’ Mulyoke mubeere mu nsi ya Goseni, kubanga abalunzi baamuzizo eri Abamisiri.” |
1456 | GEN 48:4 | N’aŋŋamba nti, ‘Laba, ndikwaza n’osukkirira ne nkufuula abantu abangi, era ensi eno ndigiwa ezzadde lyo okuba obutaka bwabwe ennaku zonna.’ |
1472 | GEN 48:20 | Awo n’abasabira omukisa ku lunaku olwo ng’agamba nti, “Abaana ba Isirayiri basabiragane omukisa nga bagamba nti, ‘Katonda akuyise nga Efulayimu ne Manase.’ ” Bw’atyo n’ateeka Efulayimu mu maaso ga Manase. |
1512 | GEN 50:5 | ‘Kitange yandayiza ng’agamba nti, “Nnaatera okufa; mu ntaana yange gye nesimira mu nsi ya Kanani, omwo mw’onziikanga.” Kale kaakano mbasaba mundeke ŋŋende nziike kitange; oluvannyuma nkomewo.’ ” |
1524 | GEN 50:17 | tugambanga Yusufu nti, ‘Nkusaba osonyiwe baganda bo bye bakusobya n’ekibi kyabwe, kubanga baasobya nnyo gy’oli.’ Kale nno kaakano tukusaba osonyiwe okusobya kw’abaweereza ba Katonda wa kitaawo.” Yusufu bwe baakimugamba n’akaaba. |
1593 | EXO 3:13 | Awo Musa n’abuuza Katonda nti, “Bwe ndituuka mu baana ba Isirayiri ne mbategeeza nti, ‘Katonda wa bajjajjammwe antumye gye muli;’ nabo ne bambuuza nti, ‘Erinnya lye ye ani?’ Ndibaddamu ntya?” |
1594 | EXO 3:14 | Katonda n’agamba Musa nti, “Ndi nga bwe Ndi,” n’ayongera nti, “Bw’otyo bw’onootegeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘Ndi y’antumye gye muli.’ ” |
1595 | EXO 3:15 | Katonda n’ayongera n’agamba Musa nti, “Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘Mukama, Katonda wa bajjajjammwe: Katonda wa Ibulayimu, era Katonda wa Isaaka, era nga ye Katonda wa Yakobo, y’antumye gye muli.’ “Eryo lye linnya lyange ery’olubeerera, era lye linnya lye nnajjuukirirwangako mu buli mulembe ogunaddiriranga gunnaagwo. |
1596 | EXO 3:16 | “Genda okuŋŋaanye abakadde ba Isirayiri, obategeeze nti, ‘Mukama, Katonda wa bajjajjammwe, Katonda wa Ibulayimu, era owa Isaaka, era owa Yakobo, yandabikira, n’aŋŋamba nti, Ntunuulidde abantu bange, ne ndaba ebibakolebwa mu Misiri. |
1598 | EXO 3:18 | “Abakadde ba Isirayiri bagenda kuwuliriza by’ogamba. Kale, ggwe n’abakadde ba Isirayiri muligenda eri kabaka wa Misiri ne mumugamba nti, ‘Mukama, Katonda w’Abaebbulaniya yeeraga gye tuli. Tukkirize tugende mu ddungu, olugendo lwa nnaku ssatu, tuweeyo ssaddaaka eri Mukama Katonda waffe.’ |
1624 | EXO 4:22 | Falaawo omugambanga bw’oti nti, Mukama agambye nti, ‘Isirayiri mutabani wange, ye mwana wange omubereberye; |
1634 | EXO 5:1 | Oluvannyuma lw’ebyo, Musa ne Alooni ne bajja eri Falaawo, ne bamugamba nti, “Tutumiddwa Mukama Katonda wa Isirayiri ng’akugamba nti, ‘Leka abantu bange bagende, bankolere embaga mu ddungu.’ ” |
1641 | EXO 5:8 | Naye mubalagire babumbenga obungi bw’amatoffaali bwe bumu nga ge babadde babumba; temukendeezanga ku muwendo ogwabasalirwa. Bagayaavu; era kyebava bankaabirira nti, ‘Tuleke tugende tuweeyo ssaddaaka eri Katonda waffe.’ |
1643 | EXO 5:10 | Awo abakozesa ne bannampala ne bagenda ne bategeeza abantu nti, “Falaawo agambye bw’ati nti, ‘Sijja kwongera kubawanga ssubi. |
1649 | EXO 5:16 | Abaddu bo tetuweebwa ssubi, kyokka tulagirwa nti, ‘Mubumbe amatoffaali!’ Abaddu bo tukubibwa, so ng’omusango guli mu bantu bo.” |
1650 | EXO 5:17 | Falaawo n’abaddamu nti, “Muli bagayaavu bugayaavu kyokka. Kyemuva mundeeberera nti, ‘Tuleke tugende tuweeyo ssaddaaka eri Mukama.’ |
1662 | EXO 6:6 | “Noolwekyo tegeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘Nze Mukama. Ndibatikkulako emigugu gy’Abamisiri, era ndibawonya obuddu, ne mbanunula n’omukono gwange ogw’amaanyi nga nsalira Abamisiri omusango. |
1695 | EXO 7:9 | “Falaawo bw’anaabagamba nti, ‘Mukoleeyo ekyamagero,’ nga ggwe ogamba Alooni nti, ‘Ddira omuggo gwo ogusuule wansi awali Falaawo,’ era gunaafuuka omusota.” |
1702 | EXO 7:16 | Olyoke omugambe nti, ‘Mukama Katonda wa Abaebbulaniya yantuma gy’oli ng’agamba nti, Leka abantu bange bajje mu ddungu bansinze; naye, laba, n’okutuusa leero okyagaanyi okuŋŋondera.’ |
1703 | EXO 7:17 | Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Ku kino kw’olitegeerera nga nze Mukama: laba ndikuba ku mazzi agali mu mugga, n’omuggo oguli mu mukono gwange, era galifuuka musaayi, |
1705 | EXO 7:19 | Mukama n’agamba Musa nti, “Tegeeza Alooni nti, ‘Twala omuggo gwo ogwolekeze amazzi gonna mu Misiri: ku migga gyabwe, n’emikutu gyabwe, n’obuyanja bwabwe, n’ebidiba byabwe, byonna bifuuke musaayi. Era wagenda kubeerawo omusaayi mu nsi yonna ey’e Misiri: mu ntiba ez’emiti ne mu matogero ag’amayinja.’ ” |
1712 | EXO 7:26 | Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Ggenda ewa Falaawo omugambe nti, ‘Mukama agambye bw’ati nti, “Leka abantu bange bagende, balyoke bansinze. |
1716 | EXO 8:1 | Mukama n’agamba Musa nti, “Tegeeza Alooni nti, ‘Golola omukono gwo oyolekeze omuggo gwo eri emigga, n’eri emikutu gy’amazzi, n’eri ebidiba, osobozese ebikere okubuna ensi yonna ey’e Misiri.’ ” |
1727 | EXO 8:12 | Awo Mukama n’ayogera ne Musa nti, “Gamba Alooni bw’oti nti, ‘Golola omuggo gwo, okube ku nfuufu eri ku ttaka, eryoke efuuke ensekere mu nsi yonna ey’e Misiri.’ ” |
1731 | EXO 8:16 | Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Keera mu makya nnyo, ogende osisinkane Falaawo ng’aserengeta ku mazzi omugambe nti, ‘Mukama agambye bw’ati nti, Leka abantu bange bagende, bansinze. |
1733 | EXO 8:18 | “ ‘Naye ku lunaku olwo, ekitundu Goseni abantu bange gye babeera ndikiyisa mu ngeri ya njawulo; kubanga yo teribaayo bikuukuulu bya nsowera n’akatono, olyoke otegeere nga nze, Mukama, ndi wano wakati mu nsi. |
1744 | EXO 9:1 | Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Genda ewa Falaawo omugambe nti, Mukama Katonda wa Abaebbulaniya agambye nti, ‘Leka abantu bange bagende, bansinze. |
1756 | EXO 9:13 | Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Ozuukuka mu makya nnyo, n’ogenda oyolekera Falaawo, n’omugamba nti, Mukama Katonda wa Abaebbulaniya agamba bw’ati nti, ‘Leka abantu bange bagende, bampeereze. |
1781 | EXO 10:3 | Awo Musa ne Alooni ne bagenda ewa Falaawo, ne bamugamba nti, “Mukama Katonda wa Abaebbulaniya n’agamba bw’ati nti, ‘Olituusa ddi ng’okyagaanye okwetoowaza mu maaso gange? Leka abantu bange bagende, bansinze. |
1811 | EXO 11:4 | Awo Musa n’agamba Falaawo nti, “Mukama agambye bw’ati nti, ‘Nga wakati mu ttumbi, nzija kuyita mu Misiri yonna. |
1815 | EXO 11:8 | Era bano abakungu bo bonna balijja gye ndi nga babundabunda, ne banvuunamira nga banneegayirira nti, ‘Genda, ggwe n’abantu bo bonna abakugoberera.’ Oluvannyuma lw’ebyo nange ndigenda.” N’ava awali Falaawo n’obusungu bungi nnyo. |
1843 | EXO 12:26 | Abaana bammwe bwe balibabuuza nti, ‘Omukolo guno gutegeeza ki?’ |
1844 | EXO 12:27 | Mulibaddamu nti, ‘Kino kye kiweebwayo eri Mukama eky’Okuyitako, kubanga yayita ku nnyumba z’Abayisirayiri mu Misiri, n’awonya amaka gaffe, bwe yatta Abamisiri.’ ” Awo abantu ne bavuunama ne basinza. |
1876 | EXO 13:8 | Ku lunaku olwo mulitegeeza abaana bammwe nti, ‘Tukola tuti nga tujjukira ebyo Mukama bye yatukolera nga tuva mu Misiri.’ |
1882 | EXO 13:14 | “Awo olulituuka batabani bammwe, bwe bababuuzanga nti, ‘Kino kye mukola kitegeeza ki?’ Mubaddangamu nti, ‘Kubanga Mukama yatuggya mu Misiri, ensi ey’obuddu, n’omukono gwe ogw’amaanyi. |
1893 | EXO 14:3 | Falaawo abaana ba Isirayiri ajja kuboogerako nti, ‘Babulubuutira mu nsi yaffe, n’eddungu libazingizza.’ |
1902 | EXO 14:12 | Bwe twali mu Misiri tetwakugamba nti, ‘Tuveeko, tuleke tukolere Abamisiri?’ Kubanga okukolera Abamisiri kyandibadde waddeko okusinga okufiira mu ddungu.” |
1930 | EXO 15:9 | “Omulabe n’ayogera nti, ‘Ka mbagobe, mbakwate. Nnaagabana omunyago; mbeemalireko eggoga. Nnaasowolayo ekitala kyange, ndyoke mbazikirize.’ |
1957 | EXO 16:9 | Awo Musa n’agamba Alooni nti, “Tegeeza ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri nti, ‘Musembere awali Mukama, kubanga awulidde okwemulungunya kwammwe!’ ” |
1960 | EXO 16:12 | “Mpulidde okwemulugunya kw’abaana ba Isirayiri. Bagambe nti, ‘Obudde nga buwungeera munaalya ennyama, n’enkya munakkusibwa emmere. Bwe mutyo munaategeera nga nze Mukama Katonda wammwe.’ ” |
1964 | EXO 16:16 | Mukama alagidde bw’ati nti, ‘Buli muntu akuŋŋaanye gy’anaamalawo. Buli muntu ali mu weema zammwe mumukuŋŋaanyize kilo bbiri.’ ” |
1971 | EXO 16:23 | N’abagamba nti, “Mukama yalagidde bw’ati nti, ‘Enkya lunaaba lunaku lwa kuwummula, ye Ssabbiiti ya Mukama Entukuvu. Leero mwokye emmere yammwe gye mwetaaga okwokya, era mufumbe gye mwagala okufumba; eneeba esigaddewo mugyeterekere okutuusa enkya.’ ” |
1980 | EXO 16:32 | Musa n’agamba nti, “Mukama alagidde bw’ati nti, ‘Muddire akabakuli aka kilo bbiri mukajjuze maanu mugiterekere ab’emirembe egigenda okujja; balyoke balabe ku mmere gye nabaliisanga mu ddungu, bwe nabaggya mu nsi y’e Misiri.’ ” |
2031 | EXO 19:4 | ‘Mwalaba bye nakola Abamisiri, mmwe ne mbasitulira ku biwaawaatiro by’empungu n’embeereetera gye ndi. |
2039 | EXO 19:12 | Abayisirayiri bakugire n’olukomera okwetooloola olusozi, obagambe nti, ‘Mwekuume muleme okwambuka ku lusozi oba okulukwatako we lutandikira. Anaalukwatako ajja kuttibwa. |
2050 | EXO 19:23 | Musa n’addamu Mukama nti, “Abantu tebasobola kwambuka ku Lusozi Sinaayi, kubanga ggwe wennyini watulagira nti, ‘Muteekeewo akakomera okwetooloola olusozi, lusigale lwokka nga lutukuvu.’ ” |
2074 | EXO 20:22 | Mukama n’agamba Musa nti, “Bw’oti bw’oba otegeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘Mmwe bennyini mwerabiddeko nga njogera nammwe nga nsinziira mu ggulu. |
2076 | EXO 20:24 | “ ‘Munkolere ekyoto eky’ettaka, muweereyo okwo ssaddaaka zammwe ezookebwa, n’essaddaaka olw’emirembe, ey’endiga zo n’ente zo. Mu buli kifo mwe nnaaleeteranga erinnya lyange okuweebwa ekitiibwa, nnajjanga ne mbaweera omwo omukisa. |
2083 | EXO 21:5 | Naye omuddu bw’agambanga nti, ‘Nze mukama wange mmwagala, ne mukazi wange n’abaana bange bonna mbagala, era seetaaga ddembe,’ |
2123 | EXO 22:8 | Mu buli misango gyonna egy’okubeera n’ebintu mu ngeri emenya amateeka, ng’okubeera n’ente, oba endogoyi, oba endiga, oba ekyambalo, oba ekintu ekirala kyonna ekinaabanga kibuze, omuntu n’amala akyogerako nti, ‘Kino kyange,’ omuntu akirina n’oyo akiyita ekikye banaatwalanga ensonga zaabwe eri abalamuzi. Oyo abalamuzi gwe banaasaliranga nti gumusinze, anaddizangawo munne emirundi ebiri. |
2414 | EXO 30:31 | Era abaana ba Isirayiri obagambe nti, ‘Gano ge ganaabanga amafuta gange amatukuvu ag’okufukibwangako, mu mirembe gyammwe gyonna. |