Wildebeest analysis examples for:   lug-lug   ”    February 11, 2023 at 19:01    Script wb_pprint_html.py   by Ulf Hermjakob

3  GEN 1:3  Awo Katonda n’agamba nti, “Wabeerewo obutangaavu, ne waba obutangaavu.
6  GEN 1:6  Era Katonda n’agamba nti, “Wabeewo ebbanga lyawule olufu n’amazzi.
9  GEN 1:9  Awo Katonda n’ayogera nti, “Amazzi agali wansi w’eggulu gakuŋŋaanire mu kifo kimu, wabeewo olukalu. Ne kiba bwe kityo.
11  GEN 1:11  Awo Katonda n’agamba nti, “Ensi ereete ebimera: emiti egizaala ensigo mu ngeri yaagyo, emiti egy’ebibala ebibaamu ensigo mu ngeri yaagyo, gibeere ku nsi. Ne kiba bwe kityo.
15  GEN 1:15  Bibeere ebyaka ku ggulu, bireetere ensi obutangaavu. Ne kiba bwe kityo.
20  GEN 1:20  Katonda n’ayogera nti, “Amazzi galeete ebibinja by’ebiramu, n’ebinyonyi bibuukenga waggulu mu bbanga.
22  GEN 1:22  Bw’atyo Katonda n’abiwa omukisa n’agamba nti, “Muzaale mwale, mujjuze amazzi g’ennyanja, n’ebinyonyi byale ku nsi.
24  GEN 1:24  Katonda n’ayogera nti, “Ensi ereete ebiramu ebya buli ngeri: ente, n’ebyewalula, n’ensolo ez’omu nsiko eza buli ngeri. Bwe kityo bwe kyali.
26  GEN 1:26  Awo Katonda n’agamba nti, “Tukole omuntu mu kifaananyi kyaffe mu ngeri yaffe. Bafugenga ebyennyanja eby’omu nnyanja, n’ebinyonyi eby’omu bbanga, n’ensolo zonna, n’ensi yonna, era bafugenga na buli ekyewalulira ku nsi kyonna.
28  GEN 1:28  Katonda n’abawa omukisa, n’abagamba nti, “Mwale mujjuze ensi, mugifugenga. Mufugenga ebyennyanja ebiri mu nnyanja, n’ebinyonyi eby’omu bbanga na buli kiramu ekitambula ku nsi.
30  GEN 1:30  Mbawadde na buli nsolo ey’oku nsi, na buli kinyonyi eky’omu bbanga na buli ekyewalula, na buli ekissa omukka mbiwa buli kimera, okuba emmere yaabyo. Bwe kityo bwe kyali.
48  GEN 2:17  naye omuti ogw’okumanya ekirungi n’ekibi ogwo togulyangako, kubanga lw’oligulyako tolirema kufa.
49  GEN 2:18  Mukama Katonda n’ayogera nti, “Si kirungi omuntu okuba yekka, nnaamukolera omubeezi amusaanira.
54  GEN 2:23  Omusajja n’agamba nti, “Lino lye ggumba ery’omu magumba gange, ye nnyama ey’omu nnyama yange, anaayitibwanga mukazi; kubanga aggyibbwa mu musajja.
57  GEN 3:1  Kale nno omusota gwali mukalabakalaba okukira ensolo zonna ez’omu nsiko, Mukama Katonda ze yatonda. Ne gugamba omukazi nti, “Kazzi Katonda yagamba nti, ‘Temulyanga ku muti gwonna ogw’omu nnimiro!’
59  GEN 3:3  kyokka Katonda yatulagira nti, ‘Temulyanga ku kibala ky’omuti oguli wakati mu nnimiro, wadde okugukwatako, muleme okufa.’
61  GEN 3:5  Kubanga Katonda amanyi nga lwe muligulyako amaaso gammwe lwe galizibuka, era mulifaanana nga ye, okumanyanga ekirungi n’ekibi.
65  GEN 3:9  Naye Mukama Katonda n’ayita omusajja nti, “Oli ludda wa?
66  GEN 3:10  N’addamu nti, “Mpulidde eddoboozi lyo mu nnimiro, ne ntya, kubanga mbadde bwereere; ne nneekweka.
67  GEN 3:11  N’amubuuza nti, “Ani akubuulidde nti oli bwereere? Olidde ku muti gwe nakulagira obutagulyangako?
68  GEN 3:12  Omusajja n’addamu nti, “Omukazi gwe wampa okubeeranga nange y’ampadde ekibala ne ndya.
69  GEN 3:13  Mukama Katonda kwe kubuuza omukazi nti, “Kiki kino ky’okoze? Omukazi n’addamu nti, “Omusota gwe gunsenzesenze ne ndya.
72  GEN 3:16  N’agamba omukazi nti, “Nnaayongeranga nnyo ku bulumi bwo ng’oli lubuto, onoozaaliranga mu bulumi; musajja wo anaakukoleranga bye weetaaga kyokka anaakufuganga.
75  GEN 3:19  Mu ntuuyo zo mw’onoggyanga ekyokulya, okutuusa lw’olidda mu ttaka mwe wava, kubanga oli nfuufu ne mu nfuufu mw’olidda.
78  GEN 3:22  Awo Mukama Katonda n’agamba nti, “Laba omuntu afuuse ng’omu ku ffe okumanyanga ekirungi n’ekibi; kale kaakano talwa kugolola mukono gwe n’anoga ku muti ogw’obulamu n’alya, n’awangaala emirembe gyonna.
81  GEN 4:1  Adamu n’amanya Kaawa, mukazi we, n’aba olubuto n’azaala Kayini n’agamba nti, “Mukama annyambye nzadde omuntu.
87  GEN 4:7  Bw’onookolanga obulungi tokkirizibwenga? Naye bw’otokole bulungi ekibi, kiri kumpi naawe, nga kikulindiridde, naye oteekwa okukiwangula.
88  GEN 4:8  Kayini n’agamba Aberi muganda we nti, “Tulageko mu nnimiro. Bwe baali nga bali mu nnimiro Kayini n’agolokokera ku muganda we Aberi, n’amutta.
89  GEN 4:9  Awo Mukama n’abuuza Kayini nti, “Muganda wo Aberi ali ludda wa? N’amuddamu nti, “Ssimanyi; nze mukuumi wa muganda wange?
92  GEN 4:12  Bw’onoolimanga ettaka teriikuwenga bibala byalyo; onoobanga momboze ku nsi.
94  GEN 4:14  Laba, ongobye okuva ku nsi ne mu maaso go; era nnaabanga momboze ne buli anandaba ananzita.
95  GEN 4:15  Awo Mukama n’amugamba nti, “Nedda si bwe kiri. Buli alitta Kayini ndimuwalana emirundi musanvu. Awo Mukama n’ateeka akabonero ku Kayini, buli amulaba aleme okumutta.
104  GEN 4:24  Obanga Kayini yawalanirwa emirundi musanvu, mazima Lameka wa kuwalanirwa emirundi nsanvu mu musanvu.
105  GEN 4:25  Awo Adamu n’amanya mukazi we, n’azaala omwana wabulenzi n’amutuuma Seezi, kubanga yayogera nti, “Katonda ampadde omwana omulala mu kifo kya Aberi, Kayini gwe yatta.
108  GEN 5:2  Yabatonda omusajja n’omukazi, n’abawa omukisa n’abatuuma, “abantu.
135  GEN 5:29  n’amutuuma Nuuwa, ng’agamba nti, “Okuva mu ttaka Mukama lye yakolimira, ono yalituweezaweeza mu mulimu gwaffe, ne mu kutegana kw’emikono gyaffe.
141  GEN 6:3  Awo Mukama n’agamba nti, “Omwoyo wange taawakanenga na muntu emirembe gyonna, kubanga muntu buntu; n’ennaku ze ziriba emyaka kikumi mu abiri.
145  GEN 6:7  Awo Mukama n’agamba nti, “Ndiggya ku nsi omuntu gwe natonda, ndisaanyaawo omuntu, n’ensolo n’ebinyonyi, kubanga nejjusizza olw’okubitonda.
159  GEN 6:21  Era twala buli ngeri ya mmere eriibwa, ogitereke; eriba mmere yo n’ebiramu byo.
164  GEN 7:4  Bwe waliyitawo ennaku musanvu nditonnyesa enkuba ku nsi emisana n’ekiro okumalira ddala ennaku amakumi ana, era ndizikiriza buli kintu ekiramu kye natonda ku nsi.
201  GEN 8:17  Fulumya buli kiramu ekiri naawe: ebinyonyi, n’ensolo, na buli kiramu ekitambula ku ttaka, biryoke bizaale byale ku nsi, byeyongerenga obungi.
206  GEN 8:22  “Ensi ng’ekyaliwo, okusiga n’amakungula, obunnyogovu n’ebbugumu, ebiseera eby’omusana n’eby’obutiti, emisana n’ekiro, tebiggwengawo.
213  GEN 9:7  Naye ggwe onoozaalanga ne weeyongera obungi. Oneeyongeranga ku nsi.
217  GEN 9:11  Nkola endagaano yange eno nammwe: tewaabengawo mataba gazikiriza bulamu bwonna, tewakyaddayo kubaawo mataba gasaanyaawo nsi.
222  GEN 9:16  Musoke bw’anaabanga ku bire, nnaamutunuuliranga ne nzijukira endagaano eteriggwaawo eriwo wakati wa Katonda na buli kitonde ekiramu ekiri ku nsi.
223  GEN 9:17  Katonda n’agamba Nuuwa nti, “Kano ke kabonero ak’endagaano gye ntaddewo wakati wange ne buli kiramu ekiri ku nsi.
231  GEN 9:25  N’akolimira ezzadde lya Kaamu n’agamba nti, “Kanani akolimirwe, abeere muddu wa baddu eri baganda be.
232  GEN 9:26  Era n’agamba nti, “Mukama Katonda wange, awe Seemu omukisa, Kanani abeere muddu we.
244  GEN 10:9  Yali muyizzi kkungwa, mu maaso ga Mukama, kyekyava kigambibwa nti, “Afaanana Nimuloodi omuyizzi kkungwa mu maaso ga Mukama.
270  GEN 11:3  Ne bateesa nti, “Mujje tukole amatoffaali, tugookye bulungi. Ne baba n’amatoffaali mu kifo ky’amayinja, ne kolaasi mu kifo ky’ettosi.
271  GEN 11:4  Awo ne bagamba nti, “Mujje twezimbire ekibuga, tutuuse omunaala gwakyo ku ggulu; twekolere erinnya, tuleme okusaasaanyizibwa okubuna ensi yonna.
274  GEN 11:7  Mujje, tukke wansi tutabuletabule olulimi lwabwe, baleme kutegeeragana.
302  GEN 12:3  Ndiwa omukisa abo abakusabira omukisa, era buli alikukolimira nange namukolimiranga; era mu ggwe amawanga gonna ag’omu nsi mwe galiweerwa omukisa.
306  GEN 12:7  Awo Mukama n’alabikira Ibulaamu n’agamba nti, “Ensi eno ndigiwa abo abaliva mu ggwe. Awo Ibulaamu n’azimbira eyo Mukama ekyoto eyamulabikira.
312  GEN 12:13  Ogambanga nti, Oli mwannyinaze ndyoke mbeere bulungi ku lulwo, n’obulamu bwange buleme kubaako kabi, buwone ku lulwo.
318  GEN 12:19  Lwaki wagamba nti mwannyoko, ne mmutwala okuba mukazi wange? Kale kaakano mukazi wo wuuno mmutwale mugende.
328  GEN 13:9  Ensi yonna teri mu maaso go? Leka twawukane. Bwonoolonda oluuyi olwa kkono, nze n’alaga ku luuyi olwa ddyo, bw’onoolaga ku luuyi olwa ddyo nze n’alaga ku luuyi olwa kkono.
336  GEN 13:17  Situka, tambula obuwanvu n’obukiika obw’ensi kubanga ngikuwadde.
357  GEN 14:20  Era Katonda Ali Waggulu Ennyo agulumizibwe agabudde abalabe bo mu mikono gyo. Awo Ibulaamu n’amuwa ekitundu eky’ekkumi ekya buli kimu.
358  GEN 14:21  Ne kabaka wa Sodomu n’agamba Ibulaamu nti, “Mpa abantu, gwe otwale ebintu.
361  GEN 14:24  Sijja kubaako kye ntwala; okuggyako ebyo abavubuka bye balidde, n’omugabo gw’abasajja abaagenda nange; leka Aneri ne Esukoli ne Mamule bo batwale omugabo gwabwe.
362  GEN 15:1  Ebyo nga biwedde, ekigambo kya Mukama ne kijjira Ibulaamu mu kwolesebwa nti, “Totya Ibulaamu, Nze ngabo yo era empeera yo ennene ennyo.
363  GEN 15:2  Naye Ibulaamu n’addamu nti, “Kiki ky’olimpa Ayi Mukama Katonda, kubanga sirina mwana, n’omusika w’ennyumba yange ye Eryeza ow’omu Ddamasiko?
364  GEN 15:3  Ibulaamu ne yeeyongera n’agamba nti, “Laba tompadde mwana; omuddu eyazaalibwa mu nnyumba yange ye musika wange.
365  GEN 15:4  Laba ekigambo kya Mukama ne kimujjira nti, “Omusajja oyo tagenda kuba musika wo; mutabani wo, y’aliba omusika wo.
366  GEN 15:5  N’amufulumya ebweru n’amugamba nti, “Tunuulira eggulu, obale emunyeenye, obanga osobola okuzibala. Awo n’amugamba nti, “N’ezzadde lyo bwe liriba bwe lityo.
368  GEN 15:7  N’amugamba nti, “Nze Mukama eyakuggya mu Uli ensi ey’Abakaludaaya, nkuwe ensi eno ebeere yiyo.
369  GEN 15:8  Ibulaamu n’addamu nti, “Ayi Mukama nnaamanya ntya nti eriba yange?
370  GEN 15:9  Mukama n’amuddamu nti, “Ndeetera ennyana eyaakamala emyaka esatu, embuzi ey’emyaka esatu, endiga ensajja ey’emyaka esatu, kaamukuukulu n’ejjiba.
377  GEN 15:16  Era balikomawo wano mu mulembe ogwokuna; kubanga obutali butuukirivu bw’Omwamoli tebunnayitirira.
382  GEN 15:21  n’Omwamoli, n’Omukanani, n’Omugirugaasi n’Omuyebusi, mbagabula mu mukono gwo.
384  GEN 16:2  Salaayi n’agamba Ibulaamu nti, “Laba Mukama tampadde mwana; weebake n’omuweereza wange, oboolyawo nnyinza okufuna abaana mu ye. Awo Ibulaamu n’awulira eddoboozi lya Salaayi.
387  GEN 16:5  Salaayi n’agamba Ibulaamu nti, “Ekibi ekinkoleddwako kibeere ku ggwe. Nakuwa omuweereza wange mu kifuba kyo naye bw’alabye ng’ali lubuto n’annyooma. Mukama atulamule nze naawe!
388  GEN 16:6  Naye Ibulaamu n’agamba Salaayi nti, “Laba, omuweereza wo ali mu buyinza bwo; mukole nga bw’oyagala. Awo Salaayi natandika okubonyaabonya Agali; Agali n’adduka okuva w’ali.
390  GEN 16:8  N’agamba nti, “Agali, omuweereza wa Salaayi, ovudde wa era ogenda wa? N’amuddamu nti, “Nziruka mugole wange Salaayi.
391  GEN 16:9  Malayika wa Mukama n’amugamba nti, “Ddayo eri mugole wo omugondere.
392  GEN 16:10  Era Malayika n’amugamba nti, “Ezadde lyo ndiryaza waleme kubeerawo asobola kulibala.
394  GEN 16:12  Aliba ng’entulege, anaalwananga na buli muntu era na buli muntu anaalwananga naye, era anaabanga mu bulabe ne baganda be.
395  GEN 16:13  Awo n’akoowoola erinnya lya Mukama eyayogera naye, n’agamba nti, “Oli Katonda alaba, kubanga yagamba nti, “Ndabidde ddala Katonda ne nsigala nga ndi mulamu nga maze okumulaba.
400  GEN 17:2  Ndikola endagaano yange naawe era ndikwaliza ddala nnyo.
406  GEN 17:8  Era ndikuwa ggwe n’ezzadde lyo eririddawo ensi mw’obadde omusenze, ensi yonna eya Kanani, okuba eyiyo emirembe gyonna; era ndiba Katonda waabwe.
412  GEN 17:14  Omwana owoobulenzi yenna atali mukomole, atakomolebbwa kikuta kya mubiri gwe, taabalibwenga mu bantu be, aba amenye endagaano yange.
414  GEN 17:16  Ndimuwa omukisa, era ndikuwa omwana owoobulenzi mu ye. Ndimuwa omukisa, alibeera jjajja w’amawanga, bakabaka baamawanga baliva mu ye.
415  GEN 17:17  Awo Ibulayimu n’avuunama n’aseka, n’agamba munda ye nti, “Omwana alizaalirwa oyo eyaakamala emyaka ekikumi? Saala ow’emyaka ekyenda alizaala omwana?
416  GEN 17:18  Ibulayimu n’agamba Katonda nti, “Isimayiri abeerenga mulamu mu maaso go!
419  GEN 17:21  Kyokka ndinyweza endagaano yange ne Isaaka, Saala gw’alikuzaalira mu kiseera nga kino omwaka ogujja.
430  GEN 18:5  nga bwe ndeeta omugaati mulyeko muddemu amaanyi, mulyoke mugende, anti muzze eri muddu wammwe. Ne bamugamba nti, “Kola nga bw’ogambye.
431  GEN 18:6  Ibulayimu n’ayanguwa okugenda eri Saala, n’amugamba nti, “Teekateeka mangu kilo kkumi na mukaaga ez’obutta okande ofumbire mangu abagenyi emmere.
434  GEN 18:9  Ne bamubuuza nti, “Saala mukyala wo ali ludda wa? N’addamu nti, “Ali mu weema.
435  GEN 18:10  Awo omu ku bo n’amugamba nti, “Ddala ndikomawo gy’oli mu kiseera nga kino, era Saala mukazi wo alizaala omwana owoobulenzi. Ne Saala yali awuliriza ng’ali mu mulyango gwa weema emabega we.
437  GEN 18:12  Awo Saala n’asekera muli ng’agamba nti, “Nga nkaddiye, nga ne baze akaddiye, ndisanyusibwa?
439  GEN 18:14  Waliwo ekirema Mukama? Omwaka ogujja, mu kiseera kyennyini, ndikomawo gy’oli, ne Saala alizaala omwana owoobulenzi.
440  GEN 18:15  Naye Saala ne yeegaana ng’agamba nti, “Si sese, kubanga yali atidde. N’amuddamu nti, “Nedda osese.
444  GEN 18:19  Mmulonze alagire abaana be n’abantu be abaliddawo okukwatanga ekkubo lya Mukama nga bakola eby’obutuukirivu era nga ba mazima, Mukama alyoke atuukirize ekyo kye yasuubiza Ibulayimu.
446  GEN 18:21  nzija kukka ndabe obanga ddala bakozi ba bibi ng’okunkaabirira olw’ebibi byabwe okutuuse gye ndi bwe kuli, era obanga si bwe kiri nnaamanya.
450  GEN 18:25  Kireme okuba gy’oli okukola ekintu bwe kityo, okutta abatuukirivu awamu n’ababi, abatuukirivu ne benkana n’ababi! Kireme kuba bwe kityo! Omulamuzi ow’ensi yonna teyandisaanye akole kituufu?
451  GEN 18:26  Mukama n’agamba nti, “Bwe nnaasanga mu Sodomu abatuukirivu amakumi ataano mu kibuga omwo nzija kusonyiwa ekibuga kyonna ku lwabwe.
453  GEN 18:28  Singa abatuukirivu babulako bataano okuwera amakumi ataano, onoozikiriza ekibuga kubanga kubulako bataano? N’amuddamu nti, “Sijja kukizikiriza, bwe nnaasangamu abatuukirivu amakumi ana mu abataano abampulira.
454  GEN 18:29  Ate Ibulayimu n’amugamba nti, “Singa musangibwamu amakumi ana. N’amuddamu nti, “Ku lw’amakumi ana sijja kukizikiriza.
455  GEN 18:30  Ate n’agamba nti, “Kale nno Mukama aleme okunsunguwalira, nange nnaayogera. Singa musangibwamu amakumi asatu. N’addamu nti, “Sijja kukizikiriza singa musangibwamu amakumi asatu.