Wildebeest analysis examples for:   lug-lug   1    February 11, 2023 at 19:01    Script wb_pprint_html.py   by Ulf Hermjakob

3646  NUM 1:41  Abaabalibwa okuva mu kika kya Aseri baali emitwalo ena mu lukumi mu ebikumi bitaano (41,500).
3668  NUM 2:9  Abasajja bonna abaali mu lusiisira lwa Yuda abaabalibwa ng’ebibinja by’amaggye gaabwe bwe byali baali emitwalo kkumi na munaana mu kakaaga mu ebikumi bina (186,400). Be banaakulemberanga.
3675  NUM 2:16  Abasajja bonna okugatta awamu abaali mu lusiisira lwa Lewubeeni abaabalibwa, ng’ebibinja by’amaggye gaabwe bwe byali, baali emitwalo kkumi n’ettaano mu lukumi mu ebikumi bina mu amakumi ataano (151,450). Be banaabanga abookubiri okusitula ng’olugendo lutuuse.
3683  NUM 2:24  Okugatta awamu abasajja bonna abaali mu lusiisira lwa Efulayimu abaabalibwa ng’ebibinja byabwe bwe byali baali emitwalo kkumi mu kanaana mu kikumi (108,100). Bano be banaabanga abookusatu okusitula ng’olugendo lutuuse.
3687  NUM 2:28  Ab’omu kibinja kye abaabalibwa baali emitwalo ena mu lukumi mu ebikumi bitaano (41,500).
3690  NUM 2:31  Okugatta awamu abasajja bonna abaali mu lusiisira lwa Ddaani baali emitwalo kkumi n’ettaano mu kasanvu mu lukaaga (157,600). Abo be banaasembangayo okusitula ng’olugendo lutuuse, ng’ebendera zaabwe bwe ziri.
4542  NUM 26:51  Okugatta awamu omuwendo gwonna ogw’abaana ba Isirayiri abasajja abaabalibwa baawera emitwalo nkaaga mu lukumi mu lusanvu mu amakumi asatu (601,730).
4700  NUM 31:34  Endogoyi, emitwalo mukaaga mu lukumi (61,000),
4705  NUM 31:39  Endogoyi, emitwalo esatu mu bitaano (30,500), ng’ez’omusolo gwa Mukama Katonda zaali nkaaga mu emu (61).
4706  NUM 31:40  Abantu omutwalo gumu mu kakaaga (16,000); ng’ab’omusolo gwa Mukama Katonda baali amakumi asatu mu babiri (32).
4712  NUM 31:46  n’abantu omutwalo gumu mu kakaaga (16,000).
11542  2CH 17:14  Okubalibwa ng’enju za bakitaabwe bwe zaali kwali bwe kuti: Okuva mu Yuda, abaduumizi ab’ebibinja eby’olukumi (1,000) baali: Aduna omuduumizi ow’abasajja abalwanyi emitwalo amakumi asatu (300,000),
11546  2CH 17:18  n’eyamuddiriranga ye yali Yekozabadi eyaduumiranga abasajja emitwalo kkumi na munaana abaali beeteeseteese okulwana (180,000).
12030  EZR 1:9  Guno gwe gwali omuwendo gwabyo: Esowaani eza zaabu amakumi asatu 30, Esowaani eza ffeeza lukumi 1,000, Ebiso ebya ffeeza amakumi abiri mu mwenda 29,
12031  EZR 1:10  Ebibya ebya zaabu amakumi asatu 30, n’ebibya ebya ffeeza ebigenderako ebikumi bina mu kumi 410, n’ebintu ebirala lukumi 1,000.
12035  EZR 2:3  bazzukulu ba Palosi enkumi bbiri mu kikumi mu nsavu mu babiri (2,172),
12038  EZR 2:6  bazzukulu ba Pakasumowaabu ab’olunnyiriri olwa Yesuwa ne Yowaabu enkumi bbiri mu lunaana mu kkumi na babiri (2,812),
12039  EZR 2:7  bazzukulu ba Eramu lukumi mu bibiri mu ataano mu bana (1,254),
12044  EZR 2:12  bazzukulu ba Azugaadi lukumi mu bibiri mu abiri mu babiri (1,222),
12050  EZR 2:18  bazzukulu ba Yola kikumi mu kumi na babiri (112),
12053  EZR 2:21  Abazzukulu ab’e Besirekemu kikumi mu abiri mu basatu (123),
12055  EZR 2:23  abazzukulu ab’e Anasosi kikumi abiri mu munaana (128),
12058  EZR 2:26  abazzukulu ab’e Laama n’e Geba lukaaga mu abiri mu omu (621),
12059  EZR 2:27  abazzukulu ab’e Mikumasi kikumi mu abiri mu babiri (122),
12062  EZR 2:30  abazzukulu ab’e Magubisi kikumi ataano mu mukaaga (156),
12063  EZR 2:31  abazzukulu ab’e Eramu omulala lukumi mu bibiri mu ataano mu bana (1,254),
12069  EZR 2:37  bazzukulu ba Immeri lukumi mu amakumi ataano mu babiri (1,052),
12070  EZR 2:38  bazzukulu ba Pasukuli lukumi mu bibiri mu amakumi ana mu musanvu (1,247),
12071  EZR 2:39  bazzukulu ba Kalimu lukumi mu kumi na musanvu (1,017).
12073  EZR 2:41  Bano be bayimbi: bazzukulu ba Asafu kikumi mu amakumi abiri mu munaana (128).
12074  EZR 2:42  Bano be baakuumanga enzigi za yeekaalu: bazzukulu ba Sallumu, bazzukulu ba Ateri, bazzukulu ba Talumoni, bazzukulu ba Akkubu, bazzukulu ba Katita, ne bazzukulu ba Sobayi kikumi mu amakumi asatu mu mwenda (139).
12101  EZR 2:69  Ne bawaayo mu ggwanika ng’obusobozi bwabwe bwe bwali; ne bawaayo kilo bitaano eza zaabu (500), ne tani ssatu (3), n’ebyambalo bya bakabona kikumi (100) mu ggwanika.
12209  EZR 8:3  muzzukulu wa Sekaniya, n’okuva mu bazzukulu ba Palosi, Zekkaliya, era wamu naye abasajja abeewandiisa kikumi mu ataano (150);
12215  EZR 8:9  n’okuva mu bazzukulu ba Yowaabu, Obadiya mutabani wa Yekyeri, era wamu naye abasajja ebikumi bibiri mu kkumi na munaana (218);
12216  EZR 8:10  n’okuva mu bazzukulu ba Seromisi, mutabani wa Yosifiya, era wamu naye abasajja kikumi mu nkaaga (160);
12218  EZR 8:12  n’okuva mu bazzukulu ba Azugadi, Yokanaani mutabani wa Kakkatani, era wamu naye abasajja kikumi mu kkumi (110);
12433  NEH 7:8  bazzukulu ba Palosi baali enkumi bbiri mu kikumi mu nsavu mu babiri (2,172),
12436  NEH 7:11  bazzukulu ba Pakasumowaabu abaali ab’olunnyiriri lwa Yesuwa ne Yowaabu baali enkumi bbiri mu lunaana mu kumi na munaana (2,818),
12437  NEH 7:12  bazzukulu ba Eramu baali lukumi mu bibiri mu ataano mu bana (1,254),
12449  NEH 7:24  bazzukulu ba Kalifu baali kikumi mu kumi na babiri (112),
12451  NEH 7:26  Abaava e Besirekemu n’e Netofa baali kikumi mu kinaana mu munaana (188),
12452  NEH 7:27  ab’e Anasosi baali kikumi mu abiri mu munaana (128),
12455  NEH 7:30  ab’e Laama n’e Geba lukaaga mu abiri mu omu (621),
12456  NEH 7:31  ab’e Mikumasi kikumi mu abiri mu babiri (122),
12457  NEH 7:32  ab’e Beseri n’e Ayi baali kikumi mu abiri mu basatu (123),
12459  NEH 7:34  ab’e Eramu ekyokubiri baali lukumi mu bibiri mu ataano mu bana (1,254),
12462  NEH 7:37  ab’e Loodi, n’e Kadidi ne Ono baali lusanvu mu abiri mu omu (721),
12465  NEH 7:40  bazzukulu ba Immeri baali lukumi mu amakumi ataano mu babiri (1,052),
12466  NEH 7:41  bazzukulu ba Pasukuli baali lukumi mu bibiri mu ana mu musanvu (1,247),
12467  NEH 7:42  ne bazzukulu ba Kalimu baali lukumi mu kumi na musanvu (1,017).
12469  NEH 7:44  Abayimbi: bazzukulu ba Asafu baali kikumi mu amakumi ana mu munaana (148).
12470  NEH 7:45  Abaakuumanga wankaaki baali: bazzukulu ba Sallumu, bazzukulu ba Ateri, bazzukulu ba Talumoni, bazzukulu ba Akkubu, bazzukulu ba Katita, ne bazzukulu ba Sobayi nga bali kikumi mu amakumi asatu mu munaana (138).
12606  NEH 11:14  ne baganda be, abaali abalwanyi abazira; abasajja kikumi mu abiri mu munaana (128). Omukulu waabwe ye yali Zabudyeri mutabani wa Kaggedolimu.
12611  NEH 11:19  Abakuumi b’emiryango baali: Akkubu, ne Talumoni ne baganda baabwe; abaakuumanga emiryango nga bawera abasajja kikumi mu nsanvu mu babiri (172).
12707  EST 1:1  Kino kye kyabaawo ku mirembe gya Akaswero, eyafuga amasaza kikumi mu abiri mu musanvu (127) okuva e Buyindi okutuuka e Buwesiyopya.
12830  EST 8:9  Ku lunaku olw’amakumi abiri mu esatu mu mwezi ogwokusatu, gwe mwezi Sivaani abawandiisi ba Kabaka ne bayitibwa ne bawandiika byonna Moluddekaayi bye yalagira Abayudaaya, ebbaluwa n’eweerezebwa eri abaamasaza, ne bagavana n’abakungu abaafuganga mu bitundu ekikumi mu abiri mu omusanvu (127) okuva e Buyindi okutuusa ku Buwesiyopya. Ebiragiro by’awandiikibwa eri buli ssaza ng’empandiika yaalyo bwe yali, n’eri buli ggwanga ng’olulimi lwabwe bwe lwali, n’eri Abayudaaya mu mpandiika yaabwe era ne mu lulimi lwabwe.
12868  EST 9:30  Ebbaluwa ne ziweerezebwa, mu bitundu ekikumi mu abiri mu omusanvu (127) eby’obwakabaka bwa Akaswero,
30882  REV 7:4  Awo ne mpulira omuwendo gw’abo abaateekebwako akabonero k’envumbo nga baali emitwalo kkumi n’ena mu enkumi nnya (144,000) okuva mu bika ekkumi n’ebibiri ebya Isirayiri.
30883  REV 7:5  Ab’omu kika kya Yuda omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000), ab’omu kika kya Lewubeeni omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000), ab’omu kika kya Gaadi omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),
30884  REV 7:6  ab’omu kika kya Aseri omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000), ab’omu kika kya Nafutaali omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000), ab’omu kika kya Manaase omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),
30885  REV 7:7  ab’omu kika kya Simyoni omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000), ab’omu kika kya Leevi omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000), ab’omu kika kya Isakaali omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),
30886  REV 7:8  ab’omu kika kya Zebbulooni omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000), ab’omu kika kya Yusufu omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000), ab’omu kika kya Benyamini omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000). Abo be baateekebwako akabonero k’envumbo.
30943  REV 11:3  Era ndiwa abajulirwa bange ababiri nga bambadde ebibukutu ne bawa obunnabbi okumala ennaku lukumi mu bibiri mu nkaaga (1,260).”
30996  REV 14:1  Awo ne ndaba Omwana gw’Endiga ng’ayimiridde ku lusozi Sayuuni, ng’ali n’abantu emitwalo kkumi n’ena mu enkumi nnya (144,000), ng’erinnya lye n’erya Kitaawe gawandiikiddwa mu byenyi by’abantu abo.