3632 | NUM 1:27 | Abaabalibwa okuva mu kika kya Yuda baali emitwalo musanvu mu enkumi nnya mu lukaaga (74,600). |
3636 | NUM 1:31 | Abaabalibwa okuva mu kika kya Zebbulooni baali emitwalo etaano mu kasanvu mu ebikumi bina (57,400). |
3644 | NUM 1:39 | Abaabalibwa okuva mu kika kya Ddaani baali emitwalo mukaaga mu enkumi bbiri mu lusanvu (62,700). |
3663 | NUM 2:4 | Mu kibinja kye nga mulimu abaabalibwa emitwalo musanvu mu enkumi nnya mu lukaaga (74,600). |
3667 | NUM 2:8 | Abaabalibwa mu kibinja kye baali emitwalo etaano mu kasanvu mu ebikumi bina (57,400). |
3685 | NUM 2:26 | Ab’omu kibinja kye abaabalibwa baali emitwalo mukaaga mu enkumi bbiri mu lusanvu (62,700). |
3690 | NUM 2:31 | Okugatta awamu abasajja bonna abaali mu lusiisira lwa Ddaani baali emitwalo kkumi n’ettaano mu kasanvu mu lukaaga (157,600). Abo be banaasembangayo okusitula ng’olugendo lutuuse, ng’ebendera zaabwe bwe ziri. |
3715 | NUM 3:22 | Abaana aboobulenzi okuva ku w’omwezi ogumu ogw’obukulu n’okusingawo abaabalibwa baali kasanvu mu ebikumi bitaano (7,500). |
3780 | NUM 4:36 | nga bababala ng’empya zaabwe bwe zaali; baawera enkumi bbiri mu lusanvu mu amakumi ataano (2,750). |
4498 | NUM 26:7 | Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Lewubeeni. Abo abaabalibwa baawera emitwalo ena mu enkumi ssatu mu lusanvu mu amakumi asatu (43,730). |
4513 | NUM 26:22 | Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Yuda. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo musanvu mu kakaaga mu ebikumi bitaano (76,500). |
4525 | NUM 26:34 | Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Manase; abaabalibwa baawera abasajja emitwalo etaano mu enkumi bbiri mu lusanvu (52,700). |
4542 | NUM 26:51 | Okugatta awamu omuwendo gwonna ogw’abaana ba Isirayiri abasajja abaabalibwa baawera emitwalo nkaaga mu lukumi mu lusanvu mu amakumi asatu (601,730). |
4698 | NUM 31:32 | Omunyago ogwasigalawo abatabaazi gwe beetwalira gwali bwe guti: Endiga, emitwalo nkaaga mu musanvu mu enkumi ttaano (675,000). |
4699 | NUM 31:33 | Ente, emitwalo musanvu mu enkumi bbiri (72,000). |
4702 | NUM 31:36 | Ekitundu eky’omu makkati eky’omunyago eky’abo abaatabaala kyali bwe kiti: Endiga, obusiriivu busatu mu emitwalo esatu mu kasanvu mu bitaano (337,500); |
4703 | NUM 31:37 | ku ezo kwaliko ez’omusolo gwa Mukama Katonda lukaaga mu nsavu mu ttaano (675). |
4704 | NUM 31:38 | Ente, emitwalo esatu mu kakaaga (36,000), ng’ez’omusolo gwa Mukama Katonda nsanvu mu bbiri (72). |
4709 | NUM 31:43 | ekitundu ekyo kyali bwe kiti: Endiga, emitwalo asatu mu esatu mu bitaano (337,500); |
9426 | 1KI 20:15 | Awo Akabu n’ayita abavubuka ab’abaduumizi b’amasaza, ne bawera ebikumi bibiri mu asatu mu babiri (232). Era n’akuŋŋaanya ne Isirayiri yenna, bonna awamu ne baba kasanvu (7,000). |
11750 | 2CH 26:13 | Abo be baaduumiranga eggye ery’abasajja abatendeke mu kulwana, abaawera emitwalo amakumi asatu mu kasanvu mu ebikumi bitaano (307,500), abaakuumanga kabaka. |
12035 | EZR 2:3 | bazzukulu ba Palosi enkumi bbiri mu kikumi mu nsavu mu babiri (2,172), |
12036 | EZR 2:4 | bazzukulu ba Sefatiya bisatu mu nsavu mu babiri (372), |
12037 | EZR 2:5 | bazzukulu ba Ala lusanvu mu nsavu mu bataano (775), |
12041 | EZR 2:9 | bazzukulu ba Zakkayi lusanvu mu nkaaga (760), |
12057 | EZR 2:25 | abazzukulu ab’e Kiriaswalimu, n’e Kefira n’e Beerosi lusanvu mu ana mu basatu (743), |
12065 | EZR 2:33 | abazzukulu ab’e Loodi, n’e Kadidi, n’e Ono lusanvu mu abiri mu bataano (725), |
12068 | EZR 2:36 | Bano be bakabona: bazzukulu ba Yedaya ab’ennyumba ya Yesuwa lwenda mu nsavu mu basatu (973), |
12070 | EZR 2:38 | bazzukulu ba Pasukuli lukumi mu bibiri mu amakumi ana mu musanvu (1,247), |
12071 | EZR 2:39 | bazzukulu ba Kalimu lukumi mu kumi na musanvu (1,017). |
12072 | EZR 2:40 | Ne bano be Baleevi: bazzukulu ba Yesuwa ne Kadumyeri ab’olunnyiriri olwa Kadaviya nsavu mu bana (74). |
12097 | EZR 2:65 | okwo nga kw’otadde abaddu n’abaddu abakazi abaali kasanvu mu bisatu mu amakumi asatu mu musanvu (7,337), n’abayimbi abasajja n’abakazi abaali ebikumi bibiri (200). |
12098 | EZR 2:66 | Baalina embalaasi lusanvu mu asatu mu mukaaga (736), n’ennyumbu ebikumi bibiri mu amakumi ana mu ttaano (245), |
12099 | EZR 2:67 | n’eŋŋamira ebikumi bina mu amakumi asatu mu ttaano (435), n’endogoyi kakaaga mu lusanvu mu abiri (6,720). |
12159 | EZR 6:3 | Mu mwaka ogw’olubereberye ogw’obufuzi bwa kabaka Kuulo, kabaka yateeka etteeka erikwata ku yeekaalu ya Katonda mu Yerusaalemi, nga ligamba nti: Yeekaalu eddaabirizibwe ebeere ekifo eky’okuweerangayo ssaddaaka, n’emisingi gyayo giteekebwewo ginywezebwe. Eriba mita amakumi abiri mu musanvu obugulumivu (27), ne mita amakumi abiri mu musanvu obugazi (27), |
12213 | EZR 8:7 | n’okuva mu bazzukulu ba Eramu, Yesaya mutabani wa Asaliya, era wamu naye abasajja nsanvu (70); |
12220 | EZR 8:14 | n’okuva mu bazzukulu ba Biguvaayi, Usayi ne Zabudi, era wamu nabo abasajja nsanvu (70). |
12433 | NEH 7:8 | bazzukulu ba Palosi baali enkumi bbiri mu kikumi mu nsavu mu babiri (2,172), |
12434 | NEH 7:9 | bazzukulu ba Sefatiya baali bisatu mu nsavu mu babiri (372), |
12439 | NEH 7:14 | bazzukulu ba Zakkayi baali lusanvu mu nkaaga (760), |
12443 | NEH 7:18 | bazzukulu ba Adonikamu baali lukaaga mu nkaaga mu musanvu (667), |
12444 | NEH 7:19 | bazzukulu ba Biguvaayi baali enkumi bbiri mu nkaaga mu musanvu (2,067), |
12454 | NEH 7:29 | ab’e Kiriyasuyalimu, n’e Kefira n’e Beerosi baali lusanvu mu ana mu basatu (743), |
12462 | NEH 7:37 | ab’e Loodi, n’e Kadidi ne Ono baali lusanvu mu abiri mu omu (721), |
12464 | NEH 7:39 | Bano be bakabona: bazzukulu ba Yedaya ow’olunnyiriri lwa Yesuwa baali lwenda mu nsavu mu basatu (973), |
12466 | NEH 7:41 | bazzukulu ba Pasukuli baali lukumi mu bibiri mu ana mu musanvu (1,247), |
12467 | NEH 7:42 | ne bazzukulu ba Kalimu baali lukumi mu kumi na musanvu (1,017). |
12468 | NEH 7:43 | Ne bano be Baleevi: bazzukulu ba Yesuwa ow’olunnyiriri lwa Kadumyeri mu nda ya Kodeva baali nsavu mu bana (74). |
12492 | NEH 7:67 | obutassaako baweereza baabwe abasajja n’abaweereza baabwe abakazi abaali akasanvu mu bisatu mu asatu mu musanvu (7,337); ate nga baalina n’abayimbi abasajja n’abakazi bibiri mu ana mu bataano (245). |
12493 | NEH 7:68 | Baalina embalaasi lusanvu mu asatu mu mukaaga (736), ennyumbu ebikumi bibiri mu ana mu ttaano (245), n’eŋŋamira ebikumi bina mu asatu mu ttaano (435), n’endogoyi kakaaga mu lusanvu mu abiri (6,720). |
12611 | NEH 11:19 | Abakuumi b’emiryango baali: Akkubu, ne Talumoni ne baganda baabwe; abaakuumanga emiryango nga bawera abasajja kikumi mu nsanvu mu babiri (172). |
12707 | EST 1:1 | Kino kye kyabaawo ku mirembe gya Akaswero, eyafuga amasaza kikumi mu abiri mu musanvu (127) okuva e Buyindi okutuuka e Buwesiyopya. |
12830 | EST 8:9 | Ku lunaku olw’amakumi abiri mu esatu mu mwezi ogwokusatu, gwe mwezi Sivaani abawandiisi ba Kabaka ne bayitibwa ne bawandiika byonna Moluddekaayi bye yalagira Abayudaaya, ebbaluwa n’eweerezebwa eri abaamasaza, ne bagavana n’abakungu abaafuganga mu bitundu ekikumi mu abiri mu omusanvu (127) okuva e Buyindi okutuusa ku Buwesiyopya. Ebiragiro by’awandiikibwa eri buli ssaza ng’empandiika yaalyo bwe yali, n’eri buli ggwanga ng’olulimi lwabwe bwe lwali, n’eri Abayudaaya mu mpandiika yaabwe era ne mu lulimi lwabwe. |
12868 | EST 9:30 | Ebbaluwa ne ziweerezebwa, mu bitundu ekikumi mu abiri mu omusanvu (127) eby’obwakabaka bwa Akaswero, |