| 3668 | NUM 2:9 | Abasajja bonna abaali mu lusiisira lwa Yuda abaabalibwa ng’ebibinja by’amaggye gaabwe bwe byali baali emitwalo kkumi na munaana mu kakaaga mu ebikumi bina (186,400). Be banaakulemberanga. |
| 3683 | NUM 2:24 | Okugatta awamu abasajja bonna abaali mu lusiisira lwa Efulayimu abaabalibwa ng’ebibinja byabwe bwe byali baali emitwalo kkumi mu kanaana mu kikumi (108,100). Bano be banaabanga abookusatu okusitula ng’olugendo lutuuse. |
| 3721 | NUM 3:28 | Abaana aboobulenzi okuva ku w’omwezi ogumu ogw’obukulu n’okusingawo abaabalibwa baali kanaana mu lukaaga (8,600). Abakokasi be baweebwa obuvunaanyizibwa okulabiriranga awatukuvu. |
| 3792 | NUM 4:48 | abaabalibwa baawera kanaana mu ebikumi bitaano mu kinaana (8,580). |
| 11543 | 2CH 17:15 | n’eyamuddiriranga yali Yekokanani omuduumizi ow’abasajja emitwalo amakumi abiri mu munaana (280,000); |
| 11546 | 2CH 17:18 | n’eyamuddiriranga ye yali Yekozabadi eyaduumiranga abasajja emitwalo kkumi na munaana abaali beeteeseteese okulwana (180,000). |
| 12038 | EZR 2:6 | bazzukulu ba Pakasumowaabu ab’olunnyiriri olwa Yesuwa ne Yowaabu enkumi bbiri mu lunaana mu kkumi na babiri (2,812), |
| 12048 | EZR 2:16 | bazzukulu ba Ateri ow’olunnyiriri lwa Keezeekiya kyenda mu munaana (98), |
| 12055 | EZR 2:23 | abazzukulu ab’e Anasosi kikumi abiri mu munaana (128), |
| 12073 | EZR 2:41 | Bano be bayimbi: bazzukulu ba Asafu kikumi mu amakumi abiri mu munaana (128). |
| 12214 | EZR 8:8 | n’okuva mu bazzukulu ba Sefatiya, Zebadiya mutabani wa Mikayiri, era wamu naye abasajja kinaana (80); |
| 12215 | EZR 8:9 | n’okuva mu bazzukulu ba Yowaabu, Obadiya mutabani wa Yekyeri, era wamu naye abasajja ebikumi bibiri mu kkumi na munaana (218); |
| 12217 | EZR 8:11 | n’okuva mu bazzukulu ba Bebayi, Zekkaliya mutabani wa Bebayi, era wamu naye abasajja amakumi abiri mu munaana (28); |
| 12436 | NEH 7:11 | bazzukulu ba Pakasumowaabu abaali ab’olunnyiriri lwa Yesuwa ne Yowaabu baali enkumi bbiri mu lunaana mu kumi na munaana (2,818), |
| 12438 | NEH 7:13 | bazzukulu ba Zattu baali lunaana mu ana mu bataano (845), |
| 12440 | NEH 7:15 | bazzukulu ba Binnuyi baali lukaaga mu ana mu munaana (648), |
| 12441 | NEH 7:16 | bazzukulu ba Bebayi baali lukaaga mu abiri mu munaana (628), |
| 12446 | NEH 7:21 | bazzukulu ba Ateri ow’olunnyiriri lwa Keezeekiya baali kyenda mu munaana (98), |
| 12447 | NEH 7:22 | bazzukulu ba Kasumu baali bisatu mu abiri mu munaana (328), |
| 12451 | NEH 7:26 | Abaava e Besirekemu n’e Netofa baali kikumi mu kinaana mu munaana (188), |
| 12452 | NEH 7:27 | ab’e Anasosi baali kikumi mu abiri mu munaana (128), |
| 12469 | NEH 7:44 | Abayimbi: bazzukulu ba Asafu baali kikumi mu amakumi ana mu munaana (148). |
| 12470 | NEH 7:45 | Abaakuumanga wankaaki baali: bazzukulu ba Sallumu, bazzukulu ba Ateri, bazzukulu ba Talumoni, bazzukulu ba Akkubu, bazzukulu ba Katita, ne bazzukulu ba Sobayi nga bali kikumi mu amakumi asatu mu munaana (138). |
| 12598 | NEH 11:6 | Bazzukulu ba Pereezi abaasenga mu Yerusaalemi baawerera ddala abasajja ebikumi bina mu nkaaga mu munaana (468), abaali abalwanyi abazira. |
| 12600 | NEH 11:8 | n’abagoberezi be Gabbayi ne Sallayi, bonna ne bawera abasajja lwenda mu abiri mu munaana (928). |
| 12604 | NEH 11:12 | ne baganda baabwe abaakolanga emirimu mu yeekaalu, be basajja lunaana mu abiri mu babiri (822); Adaya mutabani wa Yerokamu, muzzukulu wa Peraliya, muzzukulu wa Amuzi, muzzukulu wa Zekkaliya, muzzukulu wa Pasukuli, muzzukulu wa Malukiya, |
| 12606 | NEH 11:14 | ne baganda be, abaali abalwanyi abazira; abasajja kikumi mu abiri mu munaana (128). Omukulu waabwe ye yali Zabudyeri mutabani wa Kaggedolimu. |
| 12610 | NEH 11:18 | Abaleevi abaabeeranga mu kibuga ekitukuvu bonna awamu, baali ebikumi bibiri mu kinaana mu bana (284). |