239 | GEN 10:4 | Batabani ba Yivani baali: Erisa, ne Talusiisi, ne Kittimu ne Dodanimu. |
242 | GEN 10:7 | Batabani ba Kuusi be bano: Seeba, ne Kavira, ne Sabuta, ne Laama ne Sebuteka. Batabani ba Laama baali: Seeba ne Dedani. |
262 | GEN 10:27 | ne Kadolaamu, ne Uzali, ne Dikula, |
351 | GEN 14:14 | Ibulaamu bwe yawulira nti muganda we atwalibbwa nga munyage, n’akulembera basajja be abatendeke, abazaalirwa mu nnyumba ye, ebikumi bisatu mu kkumi na munaana, ne bawondera abaatwala Lutti okutuuka e Ddaani. |
352 | GEN 14:15 | Mu kiro n’ayawulamu eggye lye, n’abalumba, ye n’abaddu be ne bagoberera abantu bali okutuuka e Kkoba, ku luuyi olw’obukiikakkono obwa Damasiko. |
363 | GEN 15:2 | Naye Ibulaamu n’addamu nti, “Kiki ky’olimpa Ayi Mukama Katonda, kubanga sirina mwana, n’omusika w’ennyumba yange ye Eryeza ow’omu Ddamasiko?” |
391 | GEN 16:9 | Malayika wa Mukama n’amugamba nti, “Ddayo eri mugole wo omugondere.” |
435 | GEN 18:10 | Awo omu ku bo n’amugamba nti, “Ddala ndikomawo gy’oli mu kiseera nga kino, era Saala mukazi wo alizaala omwana owoobulenzi.” Ne Saala yali awuliriza ng’ali mu mulyango gwa weema emabega we. |
448 | GEN 18:23 | Awo Ibulayimu n’amusemberera n’agamba nti, “Ddala olizikiriza abatuukirivu awamu n’ababi? |
502 | GEN 20:6 | Awo Katonda n’ayogera naye mu kirooto nti, “Ddala mmanyi nti okoze kino mu mutima omutuukirivu, era nze nakukuuma oleme okwonoona gye ndi; ne nkuziyiza okumukwatako. |
662 | GEN 25:3 | Yokusaani n’azaala Seeba ne Dedani. Dedani n’azaala Asulimu, ne Letusimu ne Leumimu. |
673 | GEN 25:14 | ne Misuma, ne Duma, ne Massa, |
702 | GEN 26:9 | Abimereki kwe kuyita Isaaka n’amugamba nti, “Ddala, mukazi wo, lwaki wagamba nti, ‘Mwannyinaze’?” Isaaka n’amuddamu nti, “Kubanga nalowooza nti, ‘Nnyinza okufiirwa obulamu bwange ku lulwe.’ ” |
752 | GEN 27:24 | Isaaka n’amubuuza nti, “Ddala gwe mwana wange Esawu?” N’amuddamu nti, “Ye nze.” |
837 | GEN 30:6 | Awo Laakeeri n’agamba nti, “Katonda ankoze bulungi, n’awulira eddoboozi lyange, n’ampa omwana owoobulenzi.” Kyeyava amutuuma Ddaani. |
852 | GEN 30:21 | Oluvannyuma n’azaala omwana owoobuwala, n’amutuuma Dina. |
877 | GEN 31:3 | Awo Mukama n’agamba Yakobo nti, “Ddayo mu nsi ya bajjajjaabo, mu bantu bo, era nnaabeeranga naawe.” |
938 | GEN 32:10 | Awo Yakobo n’agamba nti, “Ayi Katonda wa jjajjange Ibulayimu, era Katonda wa kitange Isaaka, Ayi Mukama eyaŋŋamba nti, ‘Ddayo mu nsi yammwe, mu bantu bo, nange nnaakugaggawazanga,’ |
982 | GEN 34:1 | Awo Dina muwala wa Leeya gwe yazaalira Yakobo, n’agenda okukyalira abakazi ab’omu nsi eyo. |
984 | GEN 34:3 | Omwoyo gwa Sekemu ne gutwalibwa Dina muwala wa Yakobo, n’amwagala n’ayogera naye ebigambo ebiweweevu. |
986 | GEN 34:5 | Yakobo bwe yawulira nga Sekemu asobezza ku muwala we Dina, n’aba mukkakkamu okutuusa batabani be abaali balabirira ebisibo ku ttale lwe badda. |
992 | GEN 34:11 | Sekemu naye n’ayogera ne Yakobo ne bannyina ba Dina, nti, “Nsaba ndabe ekisa mu maaso gammwe, era kyonna kye munansalira nzija kukibawa. |
994 | GEN 34:13 | Batabani ba Yakobo ne baddamu Sekemu ne kitaawe Kamoli nga babakwenyakwenya kuba Sekemu yali asobezza ku mwannyinaabwe Dina. |
1006 | GEN 34:25 | Bwe waayitawo ennaku ssatu, nga bakyali mu bulumi, batabani ba Yakobo: Simyoni ne Leevi bannyina Dina ne baddira ebitala byabwe ne balumba ekibuga, abaamu nga tebategedde, ne batta buli musajja. |
1007 | GEN 34:26 | Battiramu Kamoli ne mutabani we Sekemu ne baggya Dina mu nnyumba ya Sekemu ne beetambulira. |
1020 | GEN 35:8 | Debola omujjanjabi wa Lebbeeka n’afa n’aziikibwa wansi w’omuvule, wansi wa Beseri kyekyava kiyitibwa Alooninakusi. |
1037 | GEN 35:25 | Batabani ba Biira, omuweereza wa Laakeeri be ba: Ddaani ne Nafutaali. |
1062 | GEN 36:21 | ne Disoni, ne Ezeri ne Disani. Abo be baava mu Bakooli, be baana ba Seyiri abaali mu nsi ya Edomu. |
1066 | GEN 36:25 | Abaana ba Ana be ba Disoni ne Okolibama omuwala. |
1067 | GEN 36:26 | Bo batabani ba Disoni be ba Kemudaani, ne Esubani, ne Isulani ne Kerani. |
1069 | GEN 36:28 | Ate aba Disani be ba Uzi ne Alani. |
1071 | GEN 36:30 | ne Disoni, ne Ezeri ne Disani. Bano be bakulu b’enda za Bakooli ng’ebika byabwe bwe byali, mu nsi ya Seyiri. |
1073 | GEN 36:32 | Bera mutabani wa Byori yafuga Edomu ng’asinziira mu kibuga kye Dinukaba. |
1094 | GEN 37:10 | Naye bwe yakitegeeza kitaawe ng’ali wamu ne baganda be, kitaawe n’amunenya ng’agamba nti, “Kirooto ki kino ky’oloose? Ddala nze ne nnyoko awamu ne baganda bo tulijja ne tuvuunama mu maaso go?” |
1101 | GEN 37:17 | Omusajja n’amuddamu nti, “Beeyongerayo, kubanga nabawulira nga bagamba nti, ‘Ka tugende e Dosani.’ ” Awo Yusufu n’agoberera baganda be n’abasanga e Dosani. |
1117 | GEN 37:33 | N’akyetegereza n’agamba nti, “Kye kyambalo kya mutabani wange! Ensolo enkambwe yamulya. Ddala Yusufu yataagulwataagulwa.” |
1274 | GEN 42:21 | Awo ne bagambagana nti, “Ddala tuliko omusango gwa muganda waffe, kubanga twalaba nga mweraliikirivu, bwe yatwegayirira ne tutamuwuliriza; akabi kano kyekavudde katutuukako.” |
1402 | GEN 46:15 | Abo be batabani ba Leeya be yazaalira Yakobo nga bali mu Padanalaamu, omuwala ye yali Dina. Abaana bonna aboobulenzi n’aboobuwala baali amakumi asatu mu basatu. |
1410 | GEN 46:23 | Mutabani wa Ddaani ye Kusimu. |
1432 | GEN 47:11 | Awo Yusufu n’asenza kitaawe ne baganda be e Misiri, n’abawa ekitundu ekyali kisinga obulungi eky’e Goseni, mu Disitulikiti ey’e Lamusesi nga Falaawo bwe yalagira. |
1483 | GEN 49:9 | Yuda, mwana w’empologoma. Oyambuse mwana wange, ng’ovudde ku muyiggo. Yakutama, yabwama ng’empologoma. Ddala ng’empologoma enkazi, ani anaakweŋŋanga? |
1490 | GEN 49:16 | Ddaani anaalamulanga mu bwenkanya abantu be ng’ekika ekimu ku bika bya Isirayiri. |
1491 | GEN 49:17 | Ddaani anaaba musota mu kkubo, essalambwa ku kkubo, eriruma ebisinziiro by’embalaasi, omwebagazi waayo alyoke agwe emabega waayo. |
1537 | EXO 1:4 | ne Ddaani, ne Nafutaali, ne Gaadi, ne Aseri. |
1592 | EXO 3:12 | Katonda n’amuddamu nti, “Ddala, nnaabeeranga naawe. Era kino kye kikakasa nti nze nkutumye: Bw’olimala okuggya abantu abo mu Misiri, mulisinziza Katonda ku lusozi luno.” |
1695 | EXO 7:9 | “Falaawo bw’anaabagamba nti, ‘Mukoleeyo ekyamagero,’ nga ggwe ogamba Alooni nti, ‘Ddira omuggo gwo ogusuule wansi awali Falaawo,’ era gunaafuuka omusota.” |
1887 | EXO 13:19 | Awo Musa n’avaayo n’amagumba ga Yusufu, kubanga Yusufu yali alayizza abaana ba Isirayiri. Yabagamba nti, “Ddala, ddala Mukama agenda kubadduukirira. Kale, amagumba gange mugendanga nago nga muva wano.” |
1981 | EXO 16:33 | Musa n’agamba Alooni nti, “Ddira akabakuli osseemu maanu ejjuza oma, ze lita bbiri, obungi, ogisse awali Mukama, eterekerwe ab’emirembe egigenda okujja.” |
2028 | EXO 19:1 | Mu mwezi ogwokusatu abaana ba Isirayiri nga bavudde mu Misiri, ne batuuka mu Ddungu lya Sinaayi. |
2342 | EXO 29:5 | Ddira ebyambalo, oyambaze Alooni ekkooti, n’ekyambalo ekiri ng’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi, n’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi, n’ekyomukifuba, omusibeko omusipi gw’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi ogwalukibwa n’amagezi amangi; |
2344 | EXO 29:7 | Ddira amafuta ag’okwawula ogafuke ku mutwe gwe, omwawule. |
2406 | EXO 30:23 | “Ddira ebyakawoowo bino eby’omuwendo: Kiro mukaaga ez’omugavu omuyenge omuka, ne kiro ssatu eza kinamoni, ne kiro ssatu eza kalamu omuwoomerevu; |
2417 | EXO 30:34 | Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Ddira ebyakaloosa bino eby’omuwendo ennyo: sitakite, n’onuka, ne galabano, n’obubaane obuka, nga byenkanankana obuzito, |
2427 | EXO 31:6 | Ate mmulondeddeko Okoliyaabu mutabani wa Akisamaki, ow’omu kika kya Ddaani, okumuyamba. “Era abakugu abakola ebintu byonna ebya buli ngeri, mbawadde amagezi okukola bino byonna bye nkulagidde: |
2566 | EXO 35:34 | Era ye ne Okoliyaabu mutabani wa Akisamaki ow’omu kika kya Ddaani, Mukama abawadde obusobozi okuyigiriza abalala. |
2657 | EXO 38:23 | baakolera wamu ne Okoliyaabu, mutabani wa Akisamaki ow’omu kika kya Ddaani, eyali omukugu ennyo mu kwola ne mu kutetenkanya, n’okutunga amajjolobera mu linena ennungi endebevu ennange n’ewuzi eza bbululu ne kakobe ne myufu. |
2956 | LEV 9:2 | N’agamba Alooni nti, “Ddira ennyana eya sseddume eweebwayo olw’ekibi, n’endiga ennume olw’ekiweebwayo ekyokebwa, nga zombi teziriiko kamogo, oziweeyo ng’ekiweebwayo eri Mukama Katonda. |
3458 | LEV 24:11 | Mutabani w’omukazi Omuyisirayiri n’avvoola Erinnya lya Mukama, era n’akolima. Ne bamuleeta eri Musa. Nnyina ye yali Seromisi, muwala wa Dibuli ow’omu kika kya Ddaani. |
3606 | NUM 1:1 | Awo Mukama Katonda n’ayogera ne Musa mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, mu Ddungu lya Sinaayi ku lunaku olw’olubereberye olw’omu mwezi ogwokubiri ogw’omwaka ogwokubiri kasookedde abaana ba Isirayiri bava mu nsi y’e Misiri. N’amugamba nti: |
3617 | NUM 1:12 | mu kya Ddaani ye Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi; |
3619 | NUM 1:14 | mu kya Gaadi ye Eriyasaafu mutabani wa Deweri; |
3624 | NUM 1:19 | nga Mukama bwe yalagira Musa. Bw’atyo Musa n’ababalira mu Ddungu lya Sinaayi: |
3643 | NUM 1:38 | Ab’omu bazzukulu ba Ddaani: Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. |
3644 | NUM 1:39 | Abaabalibwa okuva mu kika kya Ddaani baali emitwalo mukaaga mu enkumi bbiri mu lusanvu (62,700). |
3673 | NUM 2:14 | Ab’ekika kya Gaadi be banaddangako. Omukulembeze w’abantu ba Gaadi ye Eriyasaafu mutabani wa Deweri. |
3684 | NUM 2:25 | Ku ludda olw’obukiikakkono y’eneebeeranga olusiisira lw’ebibinja bya Ddaani n’ebendera yaabwe. Omukulembeze w’abantu ba Ddaani ye Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi. |
3690 | NUM 2:31 | Okugatta awamu abasajja bonna abaali mu lusiisira lwa Ddaani baali emitwalo kkumi n’ettaano mu kasanvu mu lukaaga (157,600). Abo be banaasembangayo okusitula ng’olugendo lutuuse, ng’ebendera zaabwe bwe ziri. |
3893 | NUM 7:42 | Ku lunaku olw’omukaaga Eriyasaafu mutabani wa Deweri, omukulembeze w’abantu ba Gaadi, n’aleeta ekiweebwayo kye. |
3898 | NUM 7:47 | era olwa ssaddaaka ey’ebiweebwayo olw’emirembe: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n’abaana b’endiga abalume bataano abawezezza omwaka gumu gumu ogw’obukulu. Ekyo kye kyali ekiweebwayo eri Mukama ekya Eriyasaafu mutabani wa Deweri. |
3917 | NUM 7:66 | Ku lunaku olw’ekkumi Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi, omukulembeze w’abantu ba Ddaani, n’aleeta ekiweebwayo kye. |
3967 | NUM 9:1 | Awo Mukama n’ayogera ne Musa mu Ddungu lya Sinaayi mu mwezi ogw’olubereberye ogw’omwaka ogwokubiri kasookedde bava mu nsi y’e Misiri. N’amugamba nti, |
3971 | NUM 9:5 | era ne bakola bwe batyo mu Ddungu lya Sinaayi ku lunaku olw’ekkumi n’ennya olw’omwezi ogw’olubereberye nga buwungeera. Abaana ba Isirayiri baakola ebyo byonna nga Mukama bwe yalagira Musa. |
4001 | NUM 10:12 | Abaana ba Isirayiri ne basitula ne batambula okuva mu Ddungu lya Sinaayi, oluvannyuma ekire ne kiyimirira mu Ddungu lya Palani. |
4009 | NUM 10:20 | ne Eriyasaafu mutabani wa Deweri n’aduumira ekibinja ky’ekika kya Gaadi. |
4014 | NUM 10:25 | Ku nkomerero ya byonna, ebibinja by’omu lusiisira lwa Ddaani, nga bye bikuuma emabega, ne bisitula okutambula n’ebendera yaabyo nga bikoobedde ensiisira zonna; Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi nga ye muduumizi waabyo. |
4088 | NUM 13:12 | Eyava mu kika kya Ddaani yali Ammiyeri mutabani wa Gemali. |
4196 | NUM 16:1 | Lwali lumu, Koola mutabani wa Izukali, mutabani wa Kokasi, mutabani wa Leevi, ne bano abava mu Lewubeeni, Dasani ne Abiraamu batabani ba Eriyaabu, awamu ne Oni mutabani wa Peresi, bonna ne beewaggula |
4207 | NUM 16:12 | Awo Musa n’atumya Dasani ne Abiraamu batabani ba Eriyaabu bayitibwe bajje. Naye ne bagamba nti, “Tetujja kujja! |
4219 | NUM 16:24 | “Muve okumpi n’eweema eza Koola ne Dasani ne Abiraamu.” |
4220 | NUM 16:25 | Awo Musa n’asituka n’agenda eri Dasani ne Abiraamu, n’abakulembeze ba Isirayiri ne bagenda naye nga bamugoberera. |
4222 | NUM 16:27 | Bwe batyo ne basemberayo ne bava okumpi n’eweema za Koola, ne Dasani, ne Abiraamu. Dasani ne Abiraamu baali nga bafulumye mu weema zaabwe nga bayimiridde mu miryango gyazo, nga bali ne bakazi baabwe, ne batabani baabwe, n’obwana bwabwe obuto. |
4241 | NUM 17:11 | Awo Musa n’agamba Alooni nti, “Ddira ekyoterezo kyo okisseemu obubaane, n’omuliro ng’oguggya mu kyoto kya Mukama, oyanguwe ogende mu kibiina obatangiririre. Kubanga obusungu bubuubuuse okuva eri Mukama Katonda era kawumpuli atandise.” |
4371 | NUM 21:30 | “Naye tubawangudde Kesuboni azikiridde okutuukira ddala ku Diboni. Tubafufuggazza okutuuka ku Nofa, kwe kutuukira ddala ku Medeba.” |
4422 | NUM 23:5 | Mukama Katonda n’assa ebigambo mu kamwa ka Balamu n’amugamba nti, “Ddayo eri Balaki omutuuseeko obubaka buno.” |
4433 | NUM 23:16 | Mukama Katonda n’asisinkana Balamu, n’ateeka obubaka mu kamwa ke, ng’agamba nti, “Ddayo eri Balaki omuwe obubaka obwo.” |
4500 | NUM 26:9 | ne batabani ba Eriyaabu baali, Nemweri ne Dasani ne Abiraamu. Dasani ne Abiraamu be bo abaali abakulembeze mu kibiina abaajeemera Musa ne Alooni era baali mu kabondo k’abagoberezi ba Koola abaajeemera Mukama Katonda. |
4533 | NUM 26:42 | Ab’omu kika kya Ddaani ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali be bano: abaava mu Sukamu, lwe lunyiriri lw’Abasukamu. Abo be baava mu Ddaani. |
4555 | NUM 26:64 | Naye mu bano abaabalibwa temwalimu musajja n’omu ku abo abaali babaliddwa Musa ne Alooni kabona bwe baabala abaana ba Isirayiri mu Ddungu lya Sinaayi. |
4723 | NUM 32:3 | “Ebitundu bino: Atalisi, ne Diboni, ne Yazeri, ne Nimula, ne Kesuboni, ne Ereyale, ne Sebamu, ne Nebo ne Beoni, |
4754 | NUM 32:34 | Batabani ba Gaadi ne bazimba ebibuga bino: Diboni, ne Atalosi, ne Aloweri, |
4773 | NUM 33:11 | Ne bava ku Nnyanja Emyufu ne basiisira mu Ddungu Sini. |
4774 | NUM 33:12 | Bwe bava mu Ddungu Sini ne basiisira e Dofuka. |
4775 | NUM 33:13 | Ne bava e Dofuka ne basiisira e Yalusi. |
4777 | NUM 33:15 | Ne bava e Lefidimu ne basiisira mu Ddungu lya Sinaayi. |
4778 | NUM 33:16 | Ne bava mu Ddungu lya Sinaayi ne basiisira e Kiberosu Katava. |
4798 | NUM 33:36 | Ne bava mu Ezyoni Geba ne basiisira e Kadesi mu Ddungu lya Zini. |