29 | GEN 1:29 | Awo Katonda n’agamba nti, “Laba mbawadde buli kimera eky’ensigo ekiri ku nsi na buli muti ogw’ensigo mu kibala kyagwo. Munaabiryanga. |
54 | GEN 2:23 | Omusajja n’agamba nti, “Lino lye ggumba ery’omu magumba gange, ye nnyama ey’omu nnyama yange, anaayitibwanga mukazi; kubanga aggyibbwa mu musajja.” |
78 | GEN 3:22 | Awo Mukama Katonda n’agamba nti, “Laba omuntu afuuse ng’omu ku ffe okumanyanga ekirungi n’ekibi; kale kaakano talwa kugolola mukono gwe n’anoga ku muti ogw’obulamu n’alya, n’awangaala emirembe gyonna.” |
94 | GEN 4:14 | Laba, ongobye okuva ku nsi ne mu maaso go; era nnaabanga momboze ne buli anandaba ananzita.” |
98 | GEN 4:18 | Enoka n’azaalirwa Iradi ne Iradi n’azaala Mekujeeri, ne Mekujeeri n’azaala Mesuseera, ne Mesuseera n’azaala Lameka. |
99 | GEN 4:19 | Lameka n’awasa abakazi babiri: omu yali Ada n’omulala nga ye Zira. |
103 | GEN 4:23 | Lameka n’agamba bakazi be nti, “Ada ne Zira, muwulire eddoboozi lyange; mwe bakazi ba Lameka, muwulirize kye ŋŋamba; nzise omusajja olw’okunfumita, nga muvubuka, olw’okunkuba. |
104 | GEN 4:24 | Obanga Kayini yawalanirwa emirundi musanvu, mazima Lameka wa kuwalanirwa emirundi nsanvu mu musanvu.” |
107 | GEN 5:1 | Luno lwe lulyo lwa Adamu. Katonda bwe yatonda omuntu, yamukola mu kifaananyi kya Katonda. |
131 | GEN 5:25 | Mesuseera bwe yali nga yaakamala emyaka kikumi mu kinaana mu musanvu n’azaala Lameka. |
132 | GEN 5:26 | Bwe yamala okuzaala Lameka n’awangaala emyaka emirala lusanvu mu kinaana mu ebiri, n’azaala abaana abalala aboobulenzi n’aboobuwala. |
134 | GEN 5:28 | Lameka bwe yali nga wa myaka kikumi mu kinaana mu ebiri n’azaala omwana owoobulenzi |
136 | GEN 5:30 | Lameka n’awangaala emyaka emirala bitaano mu kyenda mu etaano ng’amaze okuzaala Nuuwa, mu gyo n’azaaliramu abaana abalala aboobulenzi n’aboobuwala. |
137 | GEN 5:31 | Bwe gityo emyaka gyonna Lameka gye yawangaala ne giba lusanvu mu nsanvu mu musanvu. |
215 | GEN 9:9 | nti, “Laba nkola endagaano yange nammwe ne bonna abaliva mu mmwe oluvannyuma lwammwe, |
238 | GEN 10:3 | Batabani ba Gomeri be bano: Asukenaazi, ne Lifasi, ne Togaluma. |
242 | GEN 10:7 | Batabani ba Kuusi be bano: Seeba, ne Kavira, ne Sabuta, ne Laama ne Sebuteka. Batabani ba Laama baali: Seeba ne Dedani. |
246 | GEN 10:11 | Bwe yava mu nsi eyo n’agenda mu Bwasuli, n’azimba Nineeve, ne Lekobosiyira, ne Kala ne |
247 | GEN 10:12 | Leseni, wakati wa Nineeve ne Kala; Leseni kye kyali ekibuga ekikulu. |
248 | GEN 10:13 | Mizulayimu oba Misiri ye kitaawe wa Ludimu, ne Anamimu, ne Lekabimu, ne Nafutukimu, |
254 | GEN 10:19 | Ekitundu kya Kanani kyava ku Sidoni, okwolekera Gerali n’okutuukira ddala e Gaza okwolekera Sodomu, ne Ggomola, ne Aduma, ne Zeboyimu okutuukira ddala e Lasa. |
257 | GEN 10:22 | Abaana ba Seemu be bano: Eramu, ne Asuli, ne Alupakusaadi, ne Ludi ne Alamu. |
273 | GEN 11:6 | Mukama n’ayogera nti, “Laba, bali omuntu omu, era boogera olulimi lumu! Era eno ntandikwa butandikwa ey’ebyo bye banaakola; era tewali kye banaateesa kukola ekinaabalemerera. |
285 | GEN 11:18 | Peregi bwe yaweza emyaka amakumi asatu n’azaala Leewo, |
286 | GEN 11:19 | bwe yamala okuzaala Leewo n’awangaala emyaka emirala ebikumi bibiri mu mwenda, n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala. |
287 | GEN 11:20 | Leewo bwe yaweza emyaka amakumi asatu mu ebiri n’azaala Serugi. |
294 | GEN 11:27 | Bino bye bifa ku b’olulyo lwa Teera: Teera ye kitaawe wa Ibulaamu, ne Nakoli ne Kalani; Kalani ye yali kitaawe wa Lutti. |
298 | GEN 11:31 | Teera n’atwala Ibulaamu mutabani we Lutti muzzukulu we mutabani wa Kalani, ne Salaayi muka mutabani we Ibulaamu, ne bagenda bonna okuva mu Uli eky’Abakaludaaya okugenda mu nsi ya Kalani; bwe baatuuka mu Kalani, ne babeera omwo. |
303 | GEN 12:4 | Bw’atyo Ibulaamu n’agenda nga Mukama bwe yamugamba, ne Lutti n’agenda wamu naye. Ibulaamu we yaviira mu Kalani yali aweza emyaka nsanvu mu etaano. |
304 | GEN 12:5 | Ibulaamu n’atwala Salaayi mukazi we, ne Lutti mutabani wa muganda we ne byonna bye baalina bye baali bafunye, n’abantu baabwe be baafunira mu Kalani, ne basitula okugenda mu Kanani. Ne batuuka mu nsi ya Kanani. |
317 | GEN 12:18 | Awo Falaawo n’ayita Ibulaamu n’amugamba nti, “Kiki kino ky’onkoze? Lwaki tewantegeeza nti mukazi wo? |
318 | GEN 12:19 | Lwaki wagamba nti mwannyoko, ne mmutwala okuba mukazi wange? Kale kaakano mukazi wo wuuno mmutwale mugende.” |
320 | GEN 13:1 | Bw’atyo Ibulaamu n’ayambuka okuva mu Misiri ye ne mukazi we, ne byonna bye yalina, ne Lutti ne bayingira mu Negevu. |
324 | GEN 13:5 | Ne Lutti eyagenda ne Ibulaamu naye yalina ebisibo by’endiga n’amagana g’ente n’ab’enju ye nga bangi, |
327 | GEN 13:8 | Awo Ibulaamu n’agamba Lutti nti, “Tewasaana kubaawo kuyombagana wakati wange naawe, wadde wakati w’abalunzi bo n’abange, kubanga tuli baaluganda. |
328 | GEN 13:9 | Ensi yonna teri mu maaso go? Leka twawukane. Bwonoolonda oluuyi olwa kkono, nze n’alaga ku luuyi olwa ddyo, bw’onoolaga ku luuyi olwa ddyo nze n’alaga ku luuyi olwa kkono.” |
329 | GEN 13:10 | Lutti n’ayimusa amaaso ge, n’alaba ekiwonvu kya Yoludaani nga kirungi, nga kirimu amazzi buli wantu nga kifaanana ng’ennimiro ya Mukama; nga kiri ng’ensi ya Misiri ku luuyi olwa Zowaali. Kino kyaliwo nga Mukama tannazikkiriza Sodomu ne Ggomola. |
330 | GEN 13:11 | Bw’atyo Lutti ne yeeronderawo olusenyi lwa Yoludaani n’agenda ku luuyi olw’ebuvanjuba; bwe batyo ne baawukana. |
331 | GEN 13:12 | Ibulaamu n’abeera mu nsi ya Kanani, ye Lutti n’abeera mu bibuga eby’omu lusenyi n’atwala eweema ye n’agisimba okumpi ne Sodomu. |
333 | GEN 13:14 | Mukama n’agamba Ibulaamu ng’amaze okwawukana ne Lutti nti, “Yimusa amaaso go ng’osinziira mu kifo mw’oli, otunule ku bukiikakkono, ne ku bukiikaddyo, n’ebuvanjuba n’ebugwanjuba; |
349 | GEN 14:12 | Era ne batwala ne Lutti, mutabani wa muganda wa Ibulaamu eyali mu Sodomu, n’ebintu bye ne bagenda nabyo kubanga naye yali abeera mu Sodomu. |
351 | GEN 14:14 | Ibulaamu bwe yawulira nti muganda we atwalibbwa nga munyage, n’akulembera basajja be abatendeke, abazaalirwa mu nnyumba ye, ebikumi bisatu mu kkumi na munaana, ne bawondera abaatwala Lutti okutuuka e Ddaani. |
353 | GEN 14:16 | Awo n’akomyawo ebintu byonna, era n’akomyawo ne muganda we Lutti n’ebintu bye n’abakazi n’abantu bonna. |
364 | GEN 15:3 | Ibulaamu ne yeeyongera n’agamba nti, “Laba tompadde mwana; omuddu eyazaalibwa mu nnyumba yange ye musika wange.” |
365 | GEN 15:4 | Laba ekigambo kya Mukama ne kimujjira nti, “Omusajja oyo tagenda kuba musika wo; mutabani wo, y’aliba omusika wo.” |
384 | GEN 16:2 | Salaayi n’agamba Ibulaamu nti, “Laba Mukama tampadde mwana; weebake n’omuweereza wange, oboolyawo nnyinza okufuna abaana mu ye.” Awo Ibulaamu n’awulira eddoboozi lya Salaayi. |
388 | GEN 16:6 | Naye Ibulaamu n’agamba Salaayi nti, “Laba, omuweereza wo ali mu buyinza bwo; mukole nga bw’oyagala.” Awo Salaayi natandika okubonyaabonya Agali; Agali n’adduka okuva w’ali. |
393 | GEN 16:11 | Ate malayika wa Mukama n’amugamba nti, “Laba, olina omwana mu nda yo, aliba wabulenzi, olimutuuma Isimayiri, kubanga Mukama ategedde okubonaabona kwo. |
402 | GEN 17:4 | “Laba, ndikola naawe endagaano, era onoobeeranga kitaawe w’amawanga mangi. |
418 | GEN 17:20 | Ku Isimayiri nkuwulidde: Laba, ndimuwa omukisa, alyeyongera, ndimwaliza ddala nnyo, aliba jjajja w’abalangira kkumi na babiri, era ndimufuula eggwanga ery’amaanyi. |
429 | GEN 18:4 | Leka tuleete otuzzi munaabe ku bigere, muwummuleko wano wansi w’omuti, |
438 | GEN 18:13 | Mukama n’abuuza Ibulayimu nti, “Lwaki Saala asese ng’agamba nti, ‘Ndiyinza okuzaala omwana nga nkaddiye?’ |
452 | GEN 18:27 | Ibulayimu n’addamu nti, “Laba nnyinziza okwogera ne Mukama, nze ani, nze enfuufu n’evvu! |
456 | GEN 18:31 | N’agamba nti, “Laba ŋŋumye ne njogera ne Mukama. Singa musangibwamu amakumi abiri.” N’agamba nti, “Ku lw’amakumi abiri sijja kukizikiriza.” |
459 | GEN 19:1 | Bamalayika ababiri ne batuuka mu Sodomu akawungeezi; Lutti yali atudde mu mulyango gwa Sodomu. Lutti bwe yabalaba n’agolokoka okubasisinkana, n’avuunama, |
463 | GEN 19:5 | ne bayita Lutti nga bagamba nti, “Abasajja abazze gy’oli ekiro kino bali ludda wa? Batufulumize twebake nabo.” |
464 | GEN 19:6 | Lutti n’afuluma gye bali, n’aggalawo oluggi, |
466 | GEN 19:8 | Laba, nnina bawala bange embeerera babiri, ka mbabafulumize, mubakole kye mwagala; naye temubaako kye mukola basajja bano, bagenyi bange era nze mbalabirira.” |
467 | GEN 19:9 | Naye ne bamugamba nti, “Tuviire! Omusajja omugwira ono, ate kati y’atulagira eky’okukola! Nedda, tujja kukukolako n’okusinga abagenyi bo.” Awo ne banyigiriza nnyo Lutti, era kaabula kata bamenye n’oluggi. |
468 | GEN 19:10 | Naye abasajja ababiri abaali mu nnyumba ne bagolola emikono gyabwe ne bakwata Lutti ne bamuyingiza mu nnyumba ne baggalawo oluggi. |
470 | GEN 19:12 | Awo abasajja bali ababiri ne babuuza Lutti nti, “Olina abantu bo abalala wano, batabani bo, oba bakoddomi bo, oba bawala bo, oba omuntu omulala yenna mu kibuga? Bafulumye mu kifo kino; |
472 | GEN 19:14 | Awo Lutti n’afuluma n’ategeeza bakoddomi be abaali ab’okuwasa bawala be ng’agamba nti, “Musituke, muve mu kifo kino, kubanga Mukama ali kumpi kukizikiriza.” Naye yafaanana ng’abalaata eri bakoddomi be. Lutti n’ab’ennyumba ye ne badduka. |
473 | GEN 19:15 | Naye obudde bwe bwali bunaatera okukya, bamalayika ne balagira Lutti nga bagamba nti, “Golokoka, otwale mukazi wo ne bawala bo ababiri abali wano muleme okuzikirira ng’ekibuga kibonerezebwa.” |
476 | GEN 19:18 | Awo Lutti n’abagamba nti, “Nedda bakama bange; |
477 | GEN 19:19 | Laba, omuddu wammwe alabye ekisa mu maaso gammwe, era mundaze ekisa kingi nga muwonya obulamu bwange; naye siyinza kuddukira ku nsozi akabi tekalwa kunzingiza ne nfa. |
478 | GEN 19:20 | Laba, ekibuga kiri ekitono ekiri okumpi, kirungi okuddukira omwo. Leka nzirukire eyo. Era n’obulamu bwange bujja kuwona!” |
479 | GEN 19:21 | N’amuddamu nti, “Laba, era nnyongedde okukukwatirwa ekisa, sijja kumalawo kibuga ky’oyogeddeko. |
481 | GEN 19:23 | Lutti we yatuukira mu Zowaali enjuba yali evuddeyo, Sodomu ne Ggomola ne bizikirizibwa. |
484 | GEN 19:26 | Naye mukazi wa Lutti bwe yatunula emabega, n’afuuka empagi ey’omunnyo. |
487 | GEN 19:29 | Bwe kityo bwe kyali Katonda bwe yazikiriza ebibuga eby’omu kiwonvu. Katonda n’ajjukira Ibulayimu n’afulumya Lutti ebweru n’amuggya wakati mu kuzikirizibwa, bwe yazikiriza ebibuga Lutti mwe yabeeranga. |
488 | GEN 19:30 | Awo Lutti n’ava mu Zowaali, n’abeera mu nsozi wamu ne bawala be, kubanga yatya okubeera mu Zowaali. Ye ne bawala be ne babeera mu mpuku. |
491 | GEN 19:33 | Ne batamiiza kitaabwe ekiro ekyo, omukulu n’agenda ne yeebaka ne kitaawe, Lutti n’atamanya bwe yeebaka yadde bwe yagolokoka. |
492 | GEN 19:34 | Ku lunaku olwaddirira, omuwala omukulu n’agamba omuto nti, “Laba, ekiro neebase ne kitange; Leka tumunywese omwenge ekiro kino, oyingire gy’ali weebake naye, tulyoke tusobole okukuuma ezzadde mu kitaffe.” |
493 | GEN 19:35 | Awo ne batamiiza kitaabwe ekiro ekyo, omuwala omuto n’asituka ne yeebaka naye, Lutti n’atamanya bwe yeebase ne bw’agolokose. |
494 | GEN 19:36 | Bwe batyo bawala ba Lutti bombi buli omu n’aba olubuto nga lwa kitaabwe. |
499 | GEN 20:3 | Naye Katonda n’ajja eri Abimereki mu kirooto ekiro n’amugamba nti, “Laba oli mufu, olw’omukazi gw’otutte kubanga muka musajja.” |
511 | GEN 20:15 | Era Abimereki n’amugamba nti, “Laba ensi yange eri mu maaso go, beera w’oyagala.” |
512 | GEN 20:16 | N’agamba ne Saala nti, “Laba mpadde mwannyoko ebitundu bya ffeeza lukumi, okukumalako ensonyi mu maaso gaabo bonna abali naawe.” |
555 | GEN 22:7 | Isaaka n’agamba Ibulayimu nti, “Taata.” Ibulayimu n’amuddamu nti, “Nzuuno mwana wange.” Isaaka n’amubuuza nti, “Laba, omuliro n’enku biibino, naye omwana gw’endiga ogw’ekiweebwayo ekyokebwa guluwa?” |
568 | GEN 22:20 | Awo mu biro ebyo ne babuulira Ibulayimu nti, “Laba Mirika azaalidde Nakoli muganda wo abaana: Uzi ye mubereberye, |
571 | GEN 22:23 | Era Besweri yazaala Lebbeeka. Abaana abo omunaana Mirika be yazaalira Nakoli muganda wa Ibulayimu. |
572 | GEN 22:24 | Ate ne mukazi we omulala Lewuma n’azaalira Nakoli, abaana aboobulenzi era be bano: Teba, ne Gakamu, ne Takasi, ne Maaka. |
578 | GEN 23:6 | “Tuwulirize mukama waffe. Laba, oli muntu mukulu wakati mu ffe. Ziika mukazi wo mu emu ku ntaana zaffe gy’oneeroboza. Tewali n’omu mu ffe anaakuuma ntaana ye, oba okukuziyiza okuziika omuntu wo.” |
605 | GEN 24:13 | Laba nnyimiridde okumpi n’oluzzi, ne bawala b’abantu ab’omu kibuga bajja okusena amazzi. |
607 | GEN 24:15 | Laba, bwe yali nga tannamaliriza kusaba, Lebbeeka muwala wa Besweri mutabani wa Mirika muka Nakoli, muganda wa Ibulayimu, n’ajja ng’atadde ensuwa ye ey’amazzi ku kibegabega kye. |
621 | GEN 24:29 | Lebbeeka yalina mwannyina, Labbaani, eyayanguwa okulaga ku luzzi eri omusajja, |
622 | GEN 24:30 | Labbaani bwe yalaba empeta n’ebikomo ku mikono gya mwannyina, era bwe yawulira ebigambo bya mwannyina ng’omusajja bw’amugambye, n’agenda eri omusajja. Laba omusajja yali ng’ayimiridde awali eŋŋamira ku luzzi. |
623 | GEN 24:31 | Labbaani n’amugamba nti, “Jjangu gwe aweereddwa Mukama omukisa. Lwaki obeera eno? Ntegesse ennyumba era n’ekifo ky’eŋŋamira.” |
625 | GEN 24:33 | Oluvannyuma ne bamuleetera emmere alye. Kyokka ye n’agamba nti, “Sijja kulya nga sinnayogera kindeese.” Labbaani n’amugamba nti, “Yogera.” |
634 | GEN 24:42 | “Leero bwe ntuuse ku luzzi, ne ŋŋamba nti, ‘Ayi Mukama, Katonda wa mukama wange Ibulayimu, obanga onoowa omukisa olugendo luno lwe ndiko, |
637 | GEN 24:45 | “Laba, bwe nabadde nga nkyayogera mu mutima gwange, Lebbeeka n’avaayo n’ensuwa ye ng’eri ku kibegabega kye, n’aserengeta ku luzzi n’asena amazzi. Ne mugamba nti, ‘Nkusaba ompe nyweko.’ |
642 | GEN 24:50 | Awo Labbaani ne Besweri ne baddamu nti, “Kino kivudde wa Mukama, tetuyinza kukuddamu kino oba kiri. |