22 | GEN 1:22 | Bw’atyo Katonda n’abiwa omukisa n’agamba nti, “Muzaale mwale, mujjuze amazzi g’ennyanja, n’ebinyonyi byale ku nsi.” |
28 | GEN 1:28 | Katonda n’abawa omukisa, n’abagamba nti, “Mwale mujjuze ensi, mugifugenga. Mufugenga ebyennyanja ebiri mu nnyanja, n’ebinyonyi eby’omu bbanga na buli kiramu ekitambula ku nsi.” |
29 | GEN 1:29 | Awo Katonda n’agamba nti, “Laba mbawadde buli kimera eky’ensigo ekiri ku nsi na buli muti ogw’ensigo mu kibala kyagwo. Munaabiryanga. |
30 | GEN 1:30 | Mbawadde na buli nsolo ey’oku nsi, na buli kinyonyi eky’omu bbanga na buli ekyewalula, na buli ekissa omukka mbiwa buli kimera, okuba emmere yaabyo.” Bwe kityo bwe kyali. |
35 | GEN 2:4 | Ebyo bye bifa ku ggulu n’ensi nga bwe byatondebwa, Mukama Katonda we yamalira okutonda eggulu n’ensi. |
36 | GEN 2:5 | Tewaaliwo muddo gwonna ku nsi wadde ekimera kyonna, kubanga Mukama Katonda yali tannatonnyesa nkuba ku nsi era nga tewali muntu ow’okulima ettaka. |
38 | GEN 2:7 | Mukama Katonda n’akola omuntu okuva mu nfuufu ey’oku nsi n’amufuuwa mu nnyindo omukka ogw’obulamu. Omuntu n’aba omulamu. |
39 | GEN 2:8 | Mukama Katonda yali asimbye ennimiro Adeni ku luuyi olw’ebuvanjuba, omuntu gwe yabumba n’amuteeka omwo. |
40 | GEN 2:9 | Mukama Katonda n’ameza mu ttaka buli muti ogusanyusa amaaso era omulungi okulya. N’ateeka omuti ogw’obulamu, n’omuti ogw’okumanya ekirungi n’ekibi wakati mu nnimiro. |
46 | GEN 2:15 | Mukama Katonda n’ateeka omuntu mu nnimiro Adeni agirimenga era agikuumenga. |
47 | GEN 2:16 | Mukama Katonda n’alagira omuntu nti, “Emiti gyonna egy’omu nnimiro olyangako, |
49 | GEN 2:18 | Mukama Katonda n’ayogera nti, “Si kirungi omuntu okuba yekka, nnaamukolera omubeezi amusaanira.” |
50 | GEN 2:19 | Naye olwo Mukama Katonda yali amaze okukola ensolo zonna ez’omu nsiko n’ebinyonyi eby’omu bbanga. N’abireeta eri omuntu abituume amannya. Buli kiramu omuntu nga bwe yakiyita, lye lyabeera erinnya lyakyo. |
52 | GEN 2:21 | Mukama Katonda n’aleetera omusajja otulo tungi nnyo ne yeebaka; bwe yali nga yeebase n’amuggyamu olubirizi lumu, n’azzaawo ennyama. |
53 | GEN 2:22 | Mukama Katonda n’atonda omukazi okuva mu lubiriizi lwe yaggya mu musajja n’amumuleetera. |
57 | GEN 3:1 | Kale nno omusota gwali mukalabakalaba okukira ensolo zonna ez’omu nsiko, Mukama Katonda ze yatonda. Ne gugamba omukazi nti, “Kazzi Katonda yagamba nti, ‘Temulyanga ku muti gwonna ogw’omu nnimiro!’ ” |
64 | GEN 3:8 | Awo ne bawulira eddoboozi lya Mukama Katonda ng’atambula mu nnimiro, mu budde obuweeweevu. Omusajja n’omukazi ne beekweka mu miti Mukama Katonda aleme okubalaba. |
65 | GEN 3:9 | Naye Mukama Katonda n’ayita omusajja nti, “Oli ludda wa?” |
66 | GEN 3:10 | N’addamu nti, “Mpulidde eddoboozi lyo mu nnimiro, ne ntya, kubanga mbadde bwereere; ne nneekweka.” |
69 | GEN 3:13 | Mukama Katonda kwe kubuuza omukazi nti, “Kiki kino ky’okoze?” Omukazi n’addamu nti, “Omusota gwe gunsenzesenze ne ndya.” |
70 | GEN 3:14 | Mukama Katonda n’agamba omusota nti, Kubanga okoze kino okolimiddwa okukira ensolo zonna ez’awaka n’ez’omu nsiko, oneekululiranga ku lubuto lwo era onoolyanga nfuufu ennaku zonna ez’obulamu bwo. |
75 | GEN 3:19 | Mu ntuuyo zo mw’onoggyanga ekyokulya, okutuusa lw’olidda mu ttaka mwe wava, kubanga oli nfuufu ne mu nfuufu mw’olidda.” |
77 | GEN 3:21 | Mukama Katonda n’akolera Adamu ne mukazi we ebyambalo eby’amaliba n’abambaza. |
78 | GEN 3:22 | Awo Mukama Katonda n’agamba nti, “Laba omuntu afuuse ng’omu ku ffe okumanyanga ekirungi n’ekibi; kale kaakano talwa kugolola mukono gwe n’anoga ku muti ogw’obulamu n’alya, n’awangaala emirembe gyonna.” |
79 | GEN 3:23 | Bw’atyo Mukama Katonda n’agoba omuntu mu nnimiro Adeni agende alimenga ettaka mwe yaggyibwa. |
81 | GEN 4:1 | Adamu n’amanya Kaawa, mukazi we, n’aba olubuto n’azaala Kayini n’agamba nti, “Mukama annyambye nzadde omuntu.” |
83 | GEN 4:3 | Awo ennaku bwe zaayitawo Kayini n’alyoka aleeta ebibala by’ebimera ebyava mu ttaka okubiwaayo eri Mukama. |
84 | GEN 4:4 | Aberi naye n’aleeta ku baana b’endiga ze ababereberye n’amasavu gaazo. Mukama n’asiima Aberi n’ekiweebwayo kye. |
86 | GEN 4:6 | Mukama n’abuuza Kayini nti, “Osunguwalidde ki? Era n’endabika y’amaaso go lwaki ewaanyisiddwa? |
89 | GEN 4:9 | Awo Mukama n’abuuza Kayini nti, “Muganda wo Aberi ali ludda wa?” N’amuddamu nti, “Ssimanyi; nze mukuumi wa muganda wange?” |
90 | GEN 4:10 | Mukama n’amugamba nti, “Okoze ki? Eddoboozi ly’omusaayi gwa muganda wo oguyiyiddwa ku ttaka linkaabirira. |
93 | GEN 4:13 | Kayini n’agamba Mukama nti, “Ekibonerezo kyange kinzitooweredde sikisobola. |
95 | GEN 4:15 | Awo Mukama n’amugamba nti, “Nedda si bwe kiri. Buli alitta Kayini ndimuwalana emirundi musanvu.” Awo Mukama n’ateeka akabonero ku Kayini, buli amulaba aleme okumutta. |
96 | GEN 4:16 | Kayini n’alyoka ava mu maaso ga Mukama, n’abeera mu nsi ya Enodi ku luuyi olw’ebuvanjuba olwa Adeni. |
98 | GEN 4:18 | Enoka n’azaalirwa Iradi ne Iradi n’azaala Mekujeeri, ne Mekujeeri n’azaala Mesuseera, ne Mesuseera n’azaala Lameka. |
101 | GEN 4:21 | Muganda we Yubali, ye yazaala abo abakuba ennanga n’okufuuwa omulere. |
106 | GEN 4:26 | Seezi n’azaala omwana owoobulenzi n’amutuuma Enosi. Mu kiseera ekyo abantu ne batandika okukoowoola erinnya lya Mukama. |
118 | GEN 5:12 | Kenani bwe yaweza emyaka nsanvu n’azaala Makalaleri. |
121 | GEN 5:15 | Makalaleri bwe yaweza emyaka nkaaga mu etaano n’azaala Yaredi. |
123 | GEN 5:17 | Ennaku zonna eza Makalaleri ne ziba emyaka lunaana mu kyenda mu etaano, n’afa. |
127 | GEN 5:21 | Enoka bwe yaweza emyaka nkaaga mu etaano n’azaala Mesuseera. |
128 | GEN 5:22 | Enoka n’atambulira wamu ne Katonda, okumala emyaka ebikumi bisatu nga Mesuseera amaze okuzaalibwa, n’azaala abaana abalala aboobulenzi n’aboobuwala. |
131 | GEN 5:25 | Mesuseera bwe yali nga yaakamala emyaka kikumi mu kinaana mu musanvu n’azaala Lameka. |
133 | GEN 5:27 | Bwe gityo emyaka gyonna Mesuseera gye yamala ne giba lwenda mu nkaaga mu mwenda; n’afa. |
135 | GEN 5:29 | n’amutuuma Nuuwa, ng’agamba nti, “Okuva mu ttaka Mukama lye yakolimira, ono yalituweezaweeza mu mulimu gwaffe, ne mu kutegana kw’emikono gyaffe.” |
141 | GEN 6:3 | Awo Mukama n’agamba nti, “Omwoyo wange taawakanenga na muntu emirembe gyonna, kubanga muntu buntu; n’ennaku ze ziriba emyaka kikumi mu abiri.” |
142 | GEN 6:4 | Mu nnaku ezo, abaana ba Katonda bwe beegatta n’abawala b’abantu abo, ne babazaalamu abaana; be Banefuli abaali abatutumufu ennyo era abalwanyi abeekitalo mu biseera ebyo era ne mu biro ebyaddirira. |
143 | GEN 6:5 | Mukama n’alaba ng’ekibi ky’omuntu kiyinze nnyo ku nsi; nga buli ndowooza y’omutima gw’omuntu mbi njereere ebbanga lyonna. |
144 | GEN 6:6 | Mukama n’anakuwala nnyo kubanga yatonda omuntu ku nsi, n’alumwa nnyo mu mutima gwe. |
145 | GEN 6:7 | Awo Mukama n’agamba nti, “Ndiggya ku nsi omuntu gwe natonda, ndisaanyaawo omuntu, n’ensolo n’ebinyonyi, kubanga nejjusizza olw’okubitonda.” |
146 | GEN 6:8 | Kyokka ye Nuuwa n’alaba ekisa mu maaso ga Mukama. |
151 | GEN 6:13 | Katonda kwe kugamba Nuuwa nti, “Mmaliridde okuzikiriza buli muntu, kubanga ensi ejjudde eddalu; laba, nzija kubazikiriza mbamalewo ku nsi. |
161 | GEN 7:1 | Awo Mukama n’agamba Nuuwa nti, “Yingira mu lyato, ggwe n’abantu bo bonna, kubanga nkulabye ng’oli mutuukirivu mu mulembe guno. |
165 | GEN 7:5 | Bw’atyo Nuuwa n’akola buli kintu nga Mukama bwe yakimulagira. |
171 | GEN 7:11 | Mu mwaka ogw’olukaaga ogw’obulamu bwa Nuuwa, mu mwezi ogwokubiri, ku lunaku olw’ekkumi n’omusanvu olw’omwezi, ku lunaku olwo ensulo zonna ez’omu nnyanja ennene, ne ziggulwa lumu n’ebituli byonna eby’eggulu. |
176 | GEN 7:16 | Byonna ne biyingira mu lyato, ekisajja n’ekikazi; byayingira nga Katonda bwe yalagira Nuuwa, Mukama n’aggalawo eryato. |
204 | GEN 8:20 | Awo Nuuwa n’azimbira Mukama ekyoto, n’addira ku zimu ku nsolo ennongoofu ne ku binyonyi ebirongoofu n’awaayo ekiweebwayo ekyokebwa ku kyoto. |
205 | GEN 8:21 | Mukama n’awulira akawoowo akalungi akamusanyusa, n’ayogera mu mutima gwe nti, “Sikyaddayo kukolimira nsi olw’omuntu, newaakubadde ng’endowooza y’omutima gwe mbi okuva mu buto bwe. Sikyaddayo na kuzikiriza bitonde byonna ebiramu, nga bwe nkoze. |
207 | GEN 9:1 | Awo Katonda n’awa Nuuwa ne batabani be omukisa n’agamba nti, “Muzaale mwale mweyongerenga nnyo mujjuze ensi. |
222 | GEN 9:16 | Musoke bw’anaabanga ku bire, nnaamutunuuliranga ne nzijukira endagaano eteriggwaawo eriwo wakati wa Katonda na buli kitonde ekiramu ekiri ku nsi.” |
232 | GEN 9:26 | Era n’agamba nti, “Mukama Katonda wange, awe Seemu omukisa, Kanani abeere muddu we.” |
237 | GEN 10:2 | Batabani ba Yafeesi: Gomeri, ne Magogi, ne Madayi, ne Yivani, ne Tubali ne Meseki ne Tirasi. |
240 | GEN 10:5 | (Mu bano mwe mwava abo abaabuna olubalama lw’ennyanja. Bano be batabani ba Yafeesi mu bitundu byabwe, buli bamu mu nnimi zaabwe ng’ennyumba zaabwe n’amawanga gaabwe bwe biri.) |
241 | GEN 10:6 | Batabani ba Kaamu be bano: Kuusi, ne Misiri, ne Puuti, ne Kanani. |
244 | GEN 10:9 | Yali muyizzi kkungwa, mu maaso ga Mukama, kyekyava kigambibwa nti, “Afaanana Nimuloodi omuyizzi kkungwa mu maaso ga Mukama.” |
248 | GEN 10:13 | Mizulayimu oba Misiri ye kitaawe wa Ludimu, ne Anamimu, ne Lekabimu, ne Nafutukimu, |
258 | GEN 10:23 | Batabani ba Alamu: Uzi, ne Kuuli, ne Ggeseri ne Masi. |
265 | GEN 10:30 | Ekitundu mwe baali kyava ku Mesa okwolekera Serali, okutuukira ddala ku kitundu eky’ensozi ku luuyi olw’ebuvanjuba. |
270 | GEN 11:3 | Ne bateesa nti, “Mujje tukole amatoffaali, tugookye bulungi.” Ne baba n’amatoffaali mu kifo ky’amayinja, ne kolaasi mu kifo ky’ettosi. |
271 | GEN 11:4 | Awo ne bagamba nti, “Mujje twezimbire ekibuga, tutuuse omunaala gwakyo ku ggulu; twekolere erinnya, tuleme okusaasaanyizibwa okubuna ensi yonna.” |
272 | GEN 11:5 | Naye Mukama nakka okulaba ekibuga n’omunaala, abaana b’abantu kye baali bazimba. |
273 | GEN 11:6 | Mukama n’ayogera nti, “Laba, bali omuntu omu, era boogera olulimi lumu! Era eno ntandikwa butandikwa ey’ebyo bye banaakola; era tewali kye banaateesa kukola ekinaabalemerera. |
274 | GEN 11:7 | Mujje, tukke wansi tutabuletabule olulimi lwabwe, baleme kutegeeragana.” |
275 | GEN 11:8 | Bw’atyo Mukama n’abasaasaanya ne babuna ensi yonna, n’ekibuga kyabwe ne batakimaliriza. |
276 | GEN 11:9 | Ekibuga ekyo erinnya lyakyo kye lyava liyitibwa Babiri, kubanga eyo Mukama gye yatabuliratabulira olulimi lw’ensi yonna. Eyo Mukama gye yabasaasaanyiza okubuna ensi yonna. |
296 | GEN 11:29 | Ibulaamu ne Nakoli ne bawasa; erinnya lya mukazi wa Ibulaamu lyali Salaayi, ate mukazi wa Nakoli nga ye Mirika, muwala wa Kalani, kitaawe wa Mirika ne Isika. |
300 | GEN 12:1 | Awo Mukama n’agamba Ibulaamu nti, “Vva mu nsi yannyo ne mu bantu bo ne mu nnyumba ya kitaawo ogende mu nsi gye ndikulaga. |
303 | GEN 12:4 | Bw’atyo Ibulaamu n’agenda nga Mukama bwe yamugamba, ne Lutti n’agenda wamu naye. Ibulaamu we yaviira mu Kalani yali aweza emyaka nsanvu mu etaano. |
305 | GEN 12:6 | Ibulaamu n’ayita mu nsi n’atuuka mu kifo ekiyitibwa Sekemu awali emivule gya Mole. Mu biro ebyo Abakanani be baali mu nsi omwo. |
306 | GEN 12:7 | Awo Mukama n’alabikira Ibulaamu n’agamba nti, “Ensi eno ndigiwa abo abaliva mu ggwe.” Awo Ibulaamu n’azimbira eyo Mukama ekyoto eyamulabikira. |
307 | GEN 12:8 | Bw’atyo n’alaga ku lusozi ku luuyi olw’ebuvanjuba obwa Beseri, n’asimba eweema ye nga Beseri ali ku luuyi olw’ebugwanjuba, ne Ayi ngali ku luuyi olw’ebuvanjuba, n’azimbira eyo Mukama ekyoto, n’akoowoola erinnya lya Mukama. |
309 | GEN 12:10 | Ne wagwa enjala mu nsi. Bw’atyo Ibulaamu n’aserengeta e Misiri asengukireko eyo, kubanga enjala nnyingi eyali mu nsi. |
310 | GEN 12:11 | Bwe yali anaatera okuyingira mu Misiri, n’agamba Salaayi mukazi we nti, “Mmanyi ng’oli mukazi mulungi era mubalagavu, |
313 | GEN 12:14 | Ibulaamu bwe yayingira mu Misiri, Abamisiri ne balaba Salaayi nga mukazi mulungi nnyo. |
316 | GEN 12:17 | Naye Mukama n’aleetera Falaawo n’ennyumba ye endwadde enkambwe olwa Salaayi mukazi wa Ibulaamu. |
320 | GEN 13:1 | Bw’atyo Ibulaamu n’ayambuka okuva mu Misiri ye ne mukazi we, ne byonna bye yalina, ne Lutti ne bayingira mu Negevu. |
321 | GEN 13:2 | Mu kiseera ekyo Ibulaamu yalina ente nnyingi, ne ffeeza ne zaabu nnyingi nnyo. |
323 | GEN 13:4 | mu kifo we yasooka okuzimbira Mukama ekyoto, Ibulaamu n’akoowoolera eyo erinnya lya Mukama. |
326 | GEN 13:7 | ate nga n’abasumba baabwe bayombagana. Mu kiseera ekyo Abakanani n’Abaperezi nabo baabanga mu nsi omwo. |
329 | GEN 13:10 | Lutti n’ayimusa amaaso ge, n’alaba ekiwonvu kya Yoludaani nga kirungi, nga kirimu amazzi buli wantu nga kifaanana ng’ennimiro ya Mukama; nga kiri ng’ensi ya Misiri ku luuyi olwa Zowaali. Kino kyaliwo nga Mukama tannazikkiriza Sodomu ne Ggomola. |