Wildebeest analysis examples for:   lug-lug   N    February 11, 2023 at 19:01    Script wb_pprint_html.py   by Ulf Hermjakob

5  GEN 1:5  Katonda obutangaavu n’abuyita emisana, n’ekizikiza n’akiyita ekiro. Ne wabaawo akawungeezi ate ne buba enkya. Olwo lwe lunaku olw’olubereberye.
7  GEN 1:7  Bw’atyo Katonda n’akola ebbanga okwawula wansi n’amazzi agali waggulu. Ne kiba bwe kityo.
8  GEN 1:8  Katonda ebbanga n’aliyita eggulu. Ne buba akawungeezi, ate ne buba enkya, olwo lwe lunaku olwokubiri.
9  GEN 1:9  Awo Katonda n’ayogera nti, “Amazzi agali wansi w’eggulu gakuŋŋaanire mu kifo kimu, wabeewo olukalu.” Ne kiba bwe kityo.
11  GEN 1:11  Awo Katonda n’agamba nti, “Ensi ereete ebimera: emiti egizaala ensigo mu ngeri yaagyo, emiti egy’ebibala ebibaamu ensigo mu ngeri yaagyo, gibeere ku nsi.” Ne kiba bwe kityo.
13  GEN 1:13  Ne buba akawungeezi ate ne buba enkya. Olwo lwe lunaku olwokusatu.
15  GEN 1:15  Bibeere ebyaka ku ggulu, bireetere ensi obutangaavu.” Ne kiba bwe kityo.
19  GEN 1:19  Ne buba akawungeezi, ate ne buba enkya. Olwo lwe lunaku olwokuna.
23  GEN 1:23  Ne buba akawungeezi, ate ne buba enkya; olwo lwe lunaku olwokutaano.
31  GEN 1:31  Awo Katonda n’alaba byonna by’akoze nga birungi nnyo. Ne buba akawungeezi, ate ne buba enkya, olwo lwe lunaku olwomukaaga.
37  GEN 2:6  Naye ensulo n’eva mu ttaka n’efukirira ensi yonna.
40  GEN 2:9  Mukama Katonda n’ameza mu ttaka buli muti ogusanyusa amaaso era omulungi okulya. N’ateeka omuti ogw’obulamu, n’omuti ogw’okumanya ekirungi n’ekibi wakati mu nnimiro.
45  GEN 2:14  N’erinnya ly’ogwokusatu ye Tigiriisi ogukulukutira ku buvanjuba bwa Bwasuli. Ogwokuna ye Fulaati.
50  GEN 2:19  Naye olwo Mukama Katonda yali amaze okukola ensolo zonna ez’omu nsiko n’ebinyonyi eby’omu bbanga. N’abireeta eri omuntu abituume amannya. Buli kiramu omuntu nga bwe yakiyita, lye lyabeera erinnya lyakyo.
55  GEN 2:24  Noolwekyo omusajja ky’anaavanga aleka kitaawe ne nnyina ne yeegatta ne mukazi we, ne bafuuka omubiri gumu.
57  GEN 3:1  Kale nno omusota gwali mukalabakalaba okukira ensolo zonna ez’omu nsiko, Mukama Katonda ze yatonda. Ne gugamba omukazi nti, “Kazzi Katonda yagamba nti, ‘Temulyanga ku muti gwonna ogw’omu nnimiro!’ 
60  GEN 3:4  Naye omusota ne gugamba omukazi nti, “Temugenda kufa.
65  GEN 3:9  Naye Mukama Katonda n’ayita omusajja nti, “Oli ludda wa?”
66  GEN 3:10  N’addamu nti, “Mpulidde eddoboozi lyo mu nnimiro, ne ntya, kubanga mbadde bwereere; ne nneekweka.”
67  GEN 3:11  N’amubuuza nti, “Ani akubuulidde nti oli bwereere? Olidde ku muti gwe nakulagira obutagulyangako?”
71  GEN 3:15  Nteeka obulabe wakati wo n’omukazi, ne wakati w’ezzadde lyo n’ezzadde ly’omukazi; ezzadde lye linaakubetentanga omutwe, naawe onoolibojjanga ekisinziiro.
72  GEN 3:16  N’agamba omukazi nti, Nnaayongeranga nnyo ku bulumi bwo ng’oli lubuto, onoozaaliranga mu bulumi; musajja wo anaakukoleranga bye weetaaga kyokka anaakufuganga.”
73  GEN 3:17  N’agamba Adamu nti, “Kubanga owulidde eddoboozi lya mukazi wo, n’olya ku muti gwe nakulagira obutagulyangako, “ensi ekolimiddwa ku lulwo; mu ntuuyo zo mw’onoofuniranga ekyokulya ennaku zonna ez’obulamu bwo.
85  GEN 4:5  Naye teyasiima Kayini wadde ekiweebwayo kye. Awo Kayini n’asunguwala nnyo, n’endabika y’amaaso ge n’ewaanyisibwa.
87  GEN 4:7  Bw’onookolanga obulungi tokkirizibwenga? Naye bw’otokole bulungi ekibi, kiri kumpi naawe, nga kikulindiridde, naye oteekwa okukiwangula.”
89  GEN 4:9  Awo Mukama n’abuuza Kayini nti, “Muganda wo Aberi ali ludda wa?” N’amuddamu nti, “Ssimanyi; nze mukuumi wa muganda wange?”
91  GEN 4:11  Ne kaakano okolimiddwa, era ettaka lyasamye okumira omusaayi gwa muganda wo gwe wasse.
95  GEN 4:15  Awo Mukama n’amugamba nti, Nedda si bwe kiri. Buli alitta Kayini ndimuwalana emirundi musanvu.” Awo Mukama n’ateeka akabonero ku Kayini, buli amulaba aleme okumutta.
102  GEN 4:22  Zira n’azaala Tubalukayini omuweesi w’eby’ekikomo n’eby’ekyuma. Ne mwannyina wa Tubalukayini nga ye Naama.
135  GEN 5:29  n’amutuuma Nuuwa, ng’agamba nti, “Okuva mu ttaka Mukama lye yakolimira, ono yalituweezaweeza mu mulimu gwaffe, ne mu kutegana kw’emikono gyaffe.”
136  GEN 5:30  Lameka n’awangaala emyaka emirala bitaano mu kyenda mu etaano ng’amaze okuzaala Nuuwa, mu gyo n’azaaliramu abaana abalala aboobulenzi n’aboobuwala.
138  GEN 5:32  Nuuwa bwe yaweza emyaka ebikumi bitaano n’azaala Seemu, ne Kaamu ne Yafeesi.
145  GEN 6:7  Awo Mukama n’agamba nti, Ndiggya ku nsi omuntu gwe natonda, ndisaanyaawo omuntu, n’ensolo n’ebinyonyi, kubanga nejjusizza olw’okubitonda.”
146  GEN 6:8  Kyokka ye Nuuwa n’alaba ekisa mu maaso ga Mukama.
147  GEN 6:9  Bino bye bifa ku Nuuwa n’ab’omu nju ye: Nuuwa yali muntu mutuukirivu, nga taliiko kya kunenyezebwa mu bantu b’ekiseera kye, n’atambula ne Katonda.
148  GEN 6:10  Nuuwa yalina batabani be basatu: Seemu ne Kaamu ne Yafeesi.
151  GEN 6:13  Katonda kwe kugamba Nuuwa nti, “Mmaliridde okuzikiriza buli muntu, kubanga ensi ejjudde eddalu; laba, nzija kubazikiriza mbamalewo ku nsi.
152  GEN 6:14  Naye ggwe Nuuwa weekolere eryato mu muti gofeeri, okolemu ebisenge, olibikke n’envumbo munda ne kungulu.
155  GEN 6:17  Ndireeta amataba ku nsi, okuzikiriza buli kiramu, ekissa omukka, ekiri wansi w’eggulu; buli ekiri ku nsi kya kufa.
156  GEN 6:18  Naye ndikola endagaano naawe. Oliyingira mu lyato, ggwe, ne mukazi wo, ne batabani bo, ne baka batabani bo wamu naawe.
160  GEN 6:22  Nuuwa n’akola byonna nga Katonda bwe yamulagira.
161  GEN 7:1  Awo Mukama n’agamba Nuuwa nti, “Yingira mu lyato, ggwe n’abantu bo bonna, kubanga nkulabye ng’oli mutuukirivu mu mulembe guno.
165  GEN 7:5  Bw’atyo Nuuwa n’akola buli kintu nga Mukama bwe yakimulagira.
166  GEN 7:6  Nuuwa yali aweza emyaka lukaaga amataba bwe gajja ku nsi.
167  GEN 7:7  Nuuwa n’ayingira mu lyato n’abaana be ne mukazi we n’abakazi b’abaana be bawone amataba.
169  GEN 7:9  ne biyingira bibiri bibiri ekisajja n’ekikazi eri Nuuwa mu lyato, nga Katonda bwe yamulagira.
171  GEN 7:11  Mu mwaka ogw’olukaaga ogw’obulamu bwa Nuuwa, mu mwezi ogwokubiri, ku lunaku olw’ekkumi n’omusanvu olw’omwezi, ku lunaku olwo ensulo zonna ez’omu nnyanja ennene, ne ziggulwa lumu n’ebituli byonna eby’eggulu.
173  GEN 7:13  Ku lunaku olwo lwennyini Nuuwa ne mukazi ne batabani be, Seemu, ne Kaamu ne Yafeesi, ne bakazi baabwe bonsatule, ne bayingira mu lyato.
175  GEN 7:15  Ne biyingira mu lyato lya Nuuwa bibiri bibiri byonna ebyalimu omukka ogw’obulamu.
176  GEN 7:16  Byonna ne biyingira mu lyato, ekisajja n’ekikazi; byayingira nga Katonda bwe yalagira Nuuwa, Mukama n’aggalawo eryato.
183  GEN 7:23  Buli kiramu kyonna ekyali ku nsi ne kimalibwawo: abantu, n’ensolo, na buli kitonde ekitambula ku nsi, n’ebinyonyi eby’omu bbanga ne bimalibwawo ku nsi. Nuuwa yekka n’abo be yali nabo mu lyato be baasigalawo.
185  GEN 8:1  Katonda n’ajjukira Nuuwa n’ensolo zonna ez’awaka n’ez’omu nsiko ezaali naye mu lyato, n’asindika empewo ku nsi, amazzi ne gakendeera;
190  GEN 8:6  Oluvannyuma lw’ennaku amakumi ana Nuuwa n’aggula eddirisa lye yakola ku lyato
193  GEN 8:9  naye ejjuba ne litalaba we lissa kigere kyalyo, ne likomawo gy’ali mu lyato, kubanga amazzi gaali gakyali ku nsi yonna. N’agolola omukono gwe n’alikwata n’aliyingiza mu lyato.
194  GEN 8:10  N’alinda ennaku endala musanvu n’atuma ate ejjuba okuva mu lyato;
195  GEN 8:11  ne likomawo akawungeezi, era laba, nga lirina mu kamwa kaalyo akakoola akabisi ke liggye ku muti omuzeyituuni. Awo Nuuwa n’ategeera nti amazzi gakendedde ku nsi.
197  GEN 8:13  Ku lunaku olw’olubereberye, olw’omwezi ogw’olubereberye nga Nuuwa aweza emyaka lukaaga mu gumu, amazzi gaali gakalidde ku nsi. Awo Nuuwa n’aggyako ekibikka ku lyato n’alaba ng’ensi ekalidde.
199  GEN 8:15  Awo Katonda n’agamba Nuuwa nti,
202  GEN 8:18  Awo Nuuwa n’afuluma ne batabani be, ne mukazi we wamu ne bakazi ba batabani be.
203  GEN 8:19  N’ensolo n’ebitonde byonna ebitambula ku ttaka, n’ebinyonyi byonna, byonna ne biva mu lyato bibiri bibiri mu bibinja.
204  GEN 8:20  Awo Nuuwa n’azimbira Mukama ekyoto, n’addira ku zimu ku nsolo ennongoofu ne ku binyonyi ebirongoofu n’awaayo ekiweebwayo ekyokebwa ku kyoto.
207  GEN 9:1  Awo Katonda n’awa Nuuwa ne batabani be omukisa n’agamba nti, “Muzaale mwale mweyongerenga nnyo mujjuze ensi.
209  GEN 9:3  Buli kintu ekiramu, ekitambula onookiryanga. Nga bwe nakuwa ebimera, kaakano nkuwa buli kintu.
210  GEN 9:4  Naye toolyenga nnyama ng’ekyalimu omusaayi gwayo.
213  GEN 9:7  Naye ggwe onoozaalanga ne weeyongera obungi. Oneeyongeranga ku nsi.”
214  GEN 9:8  Awo Katonda n’agamba Nuuwa ne batabani bwe baali
217  GEN 9:11  Nkola endagaano yange eno nammwe: tewaabengawo mataba gazikiriza bulamu bwonna, tewakyaddayo kubaawo mataba gasaanyaawo nsi.”
219  GEN 9:13  Nteeka musoke wange mu kire, nga ke kabonero ak’endagaano wakati wange n’ensi.
223  GEN 9:17  Katonda n’agamba Nuuwa nti, “Kano ke kabonero ak’endagaano gye ntaddewo wakati wange ne buli kiramu ekiri ku nsi.”
224  GEN 9:18  Batabani ba Nuuwa abaava mu lyato ye Seemu, ne Kaamu ne Yafeesi. Kaamu ye yali kitaawe wa Kanani.
225  GEN 9:19  Bonna abasatu be baali batabani ba Nuuwa; era okuva mu bano ensi yonna yajjula abantu.
226  GEN 9:20  Nuuwa n’atandika okulima n’asimba emizabbibu;
230  GEN 9:24  Omwenge bwe gwamwamukako, Nuuwa n’azuukuka n’ategeera mutabani we omuto ky’amukoze.
231  GEN 9:25  N’akolimira ezzadde lya Kaamu n’agamba nti, “Kanani akolimirwe, abeere muddu wa baddu eri baganda be.”
234  GEN 9:28  Oluvannyuma lw’amataba Nuuwa yawangaala emyaka emirala ebikumi bisatu mu ataano.
235  GEN 9:29  Emyaka gyonna Nuuwa, gye yamala ku nsi ne giba lwenda mu amakumi ataano, n’afa.
236  GEN 10:1  Bano be bazzukulu ba Nuuwa, Seemu ne Kaamu, ne Yafeesi be baazaala oluvannyuma lw’amataba.
243  GEN 10:8  Kuusi ye yazaala Nimuloodi; ye yasooka okuba omuntu ow’amaanyi ennyo ku nsi.
244  GEN 10:9  Yali muyizzi kkungwa, mu maaso ga Mukama, kyekyava kigambibwa nti, “Afaanana Nimuloodi omuyizzi kkungwa mu maaso ga Mukama.”
246  GEN 10:11  Bwe yava mu nsi eyo n’agenda mu Bwasuli, n’azimba Nineeve, ne Lekobosiyira, ne Kala ne
247  GEN 10:12  Leseni, wakati wa Nineeve ne Kala; Leseni kye kyali ekibuga ekikulu.
248  GEN 10:13  Mizulayimu oba Misiri ye kitaawe wa Ludimu, ne Anamimu, ne Lekabimu, ne Nafutukimu,
267  GEN 10:32  Abo ze nnyumba za batabani ba Nuuwa ng’okuzaalibwa kwabwe bwe kwali, n’amawanga gaabwe; era okuva mu bano amawanga gonna mwe gaayalira ne gabuna ensi yonna oluvannyuma lw’amataba.
270  GEN 11:3  Ne bateesa nti, “Mujje tukole amatoffaali, tugookye bulungi.” Ne baba n’amatoffaali mu kifo ky’amayinja, ne kolaasi mu kifo ky’ettosi.
272  GEN 11:5  Naye Mukama nakka okulaba ekibuga n’omunaala, abaana b’abantu kye baali bazimba.
278  GEN 11:11  Seemu n’amala emyaka ebikumi bitaano nga Alupakusaadi amaze okusaalibwa. N’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala.
288  GEN 11:21  N’awangaala emyaka emirala ebikumi bibiri mu musanvu. Omwo n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala.
289  GEN 11:22  Serugi bwe yaweza emyaka amakumi asatu n’azaala Nakoli,
290  GEN 11:23  bwe yamala okuzaala Nakoli n’awangaala emyaka emirala ebikumi bibiri. Omwo n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala.
291  GEN 11:24  Nakoli bwe yaweza emyaka amakumi abiri mu mwenda n’azaala Teera.
293  GEN 11:26  Teera bwe yaweza emyaka nsanvu, n’azaala Ibulaamu, ne Nakoli ne Kalani.
294  GEN 11:27  Bino bye bifa ku b’olulyo lwa Teera: Teera ye kitaawe wa Ibulaamu, ne Nakoli ne Kalani; Kalani ye yali kitaawe wa Lutti.
296  GEN 11:29  Ibulaamu ne Nakoli ne bawasa; erinnya lya mukazi wa Ibulaamu lyali Salaayi, ate mukazi wa Nakoli nga ye Mirika, muwala wa Kalani, kitaawe wa Mirika ne Isika.
301  GEN 12:2  Nange ndikufuula eggwanga eddene, era ndikuwa omukisa, n’erinnya lyo ne ndifuula kkulu, olyoke obeere mukisa.
302  GEN 12:3  Ndiwa omukisa abo abakusabira omukisa, era buli alikukolimira nange namukolimiranga; era mu ggwe amawanga gonna ag’omu nsi mwe galiweerwa omukisa.”