Wildebeest analysis examples for:   lug-lug   O    February 11, 2023 at 19:01    Script wb_pprint_html.py   by Ulf Hermjakob

2  GEN 1:2  Ensi yali njereere nga yeetabuddetabudde, ekizikiza nga kibisse kungulu ku buziba, n’Omwoyo wa Katonda ng’atambulira ku mazzi.
5  GEN 1:5  Katonda obutangaavu n’abuyita emisana, n’ekizikiza n’akiyita ekiro. Ne wabaawo akawungeezi ate ne buba enkya. Olwo lwe lunaku olw’olubereberye.
13  GEN 1:13  Ne buba akawungeezi ate ne buba enkya. Olwo lwe lunaku olwokusatu.
19  GEN 1:19  Ne buba akawungeezi, ate ne buba enkya. Olwo lwe lunaku olwokuna.
38  GEN 2:7  Mukama Katonda n’akola omuntu okuva mu nfuufu ey’oku nsi n’amufuuwa mu nnyindo omukka ogw’obulamu. Omuntu n’aba omulamu.
41  GEN 2:10  Omugga ne gusibuka mu nnimiro Adeni ne gukulukuta okulufukirira, ne gwanjaalira omwo ne guvaamu emigga ena.
44  GEN 2:13  Omugga ogwokubiri ye Gikoni, gwe gukulukuta okwetooloola ensi ya Kuusi.
45  GEN 2:14  N’erinnya ly’ogwokusatu ye Tigiriisi ogukulukutira ku buvanjuba bwa Bwasuli. Ogwokuna ye Fulaati.
54  GEN 2:23  Omusajja n’agamba nti, “Lino lye ggumba ery’omu magumba gange, ye nnyama ey’omu nnyama yange, anaayitibwanga mukazi; kubanga aggyibbwa mu musajja.”
56  GEN 2:25  Omusajja n’omukazi baali tebambadde, naye nga tewali akwatirwa munne nsonyi.
58  GEN 3:2  Omukazi n’addamu omusota nti, “Tulya ku buli muti ogw’omu nnimiro,
64  GEN 3:8  Awo ne bawulira eddoboozi lya Mukama Katonda ng’atambula mu nnimiro, mu budde obuweeweevu. Omusajja n’omukazi ne beekweka mu miti Mukama Katonda aleme okubalaba.
65  GEN 3:9  Naye Mukama Katonda n’ayita omusajja nti,Oli ludda wa?”
67  GEN 3:11  N’amubuuza nti, “Ani akubuulidde nti oli bwereere? Olidde ku muti gwe nakulagira obutagulyangako?”
68  GEN 3:12  Omusajja n’addamu nti,Omukazi gwe wampa okubeeranga nange y’ampadde ekibala ne ndya.”
69  GEN 3:13  Mukama Katonda kwe kubuuza omukazi nti, “Kiki kino ky’okoze?” Omukazi n’addamu nti,Omusota gwe gunsenzesenze ne ndya.”
76  GEN 3:20  Omusajja n’atuuma omukazi erinnya Kaawa, oyo ye nnyina w’abalamu bonna.
82  GEN 4:2  Oluvannyuma n’azaala muganda we Aberi. Aberi n’aba mulunzi, ye Kayini n’abeera mulimi.
86  GEN 4:6  Mukama n’abuuza Kayini nti,Osunguwalidde ki? Era n’endabika y’amaaso go lwaki ewaanyisiddwa?
90  GEN 4:10  Mukama n’amugamba nti,Okoze ki? Eddoboozi ly’omusaayi gwa muganda wo oguyiyiddwa ku ttaka linkaabirira.
100  GEN 4:20  Ada n’azaala Yabali. Ono ye yali kitaawe w’abo ababeera mu weema nga balunda.
104  GEN 4:24  Obanga Kayini yawalanirwa emirundi musanvu, mazima Lameka wa kuwalanirwa emirundi nsanvu mu musanvu.”
135  GEN 5:29  n’amutuuma Nuuwa, ng’agamba nti,Okuva mu ttaka Mukama lye yakolimira, ono yalituweezaweeza mu mulimu gwaffe, ne mu kutegana kw’emikono gyaffe.”
141  GEN 6:3  Awo Mukama n’agamba nti,Omwoyo wange taawakanenga na muntu emirembe gyonna, kubanga muntu buntu; n’ennaku ze ziriba emyaka kikumi mu abiri.”
154  GEN 6:16  Bw’oliba olizimba, waggulu oteekangayo akasolya nga kabika kimu kyakubiri ekya mita. Omulyango gwalyo oguteekanga mu mbiriizi zaalyo. Okolanga eryato lya kalinassatu, ery’emyaliiro: ogwa wansi n’ogwokubiri, n’ogwokusatu.
156  GEN 6:18  Naye ndikola endagaano naawe. Oliyingira mu lyato, ggwe, ne mukazi wo, ne batabani bo, ne baka batabani bo wamu naawe.
157  GEN 6:19  Oliyingira mu lyato na buli kiramu ekirina omubiri; oliyingiza bibiri bibiri ekisajja n’ekikazi bibeere biramu naawe.
190  GEN 8:6  Oluvannyuma lw’ennaku amakumi ana Nuuwa n’aggula eddirisa lye yakola ku lyato
192  GEN 8:8  Oluvannyuma n’atuma ejjuba ne liva w’ali okulaba ng’amazzi gakalidde ku nsi;
213  GEN 9:7  Naye ggwe onoozaalanga ne weeyongera obungi. Oneeyongeranga ku nsi.”
230  GEN 9:24  Omwenge bwe gwamwamukako, Nuuwa n’azuukuka n’ategeera mutabani we omuto ky’amukoze.
234  GEN 9:28  Oluvannyuma lw’amataba Nuuwa yawangaala emyaka emirala ebikumi bisatu mu ataano.
245  GEN 10:10  Obwakabaka bwe bwatandikira Baberi, ne Eneki ne Akudi ne Kalune, nga byonna bya mu nsi Sinali.
260  GEN 10:25  Omu ku batabani ba Eberi yali Peregi, kubanga we yazaalirwa ensi yali yeesazeemu, muganda we ye yali Yokutaani.
263  GEN 10:28  ne Obali, ne Abimayeeri, ne Seeba,
264  GEN 10:29  ne Ofiri, ne Kavira ne Yobabu; bano bonna baali batabani ba Yokutaani.
288  GEN 11:21  N’awangaala emyaka emirala ebikumi bibiri mu musanvu. Omwo n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala.
290  GEN 11:23  bwe yamala okuzaala Nakoli n’awangaala emyaka emirala ebikumi bibiri. Omwo n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala.
311  GEN 12:12  era Abamisiri bwe balikulabako baligamba nti,Ono ye mukazi we,’ kale balinzita, naye ggwe ne bakuleka.
312  GEN 12:13  Ogambanga nti, Oli mwannyinaze ndyoke mbeere bulungi ku lulwo, n’obulamu bwange buleme kubaako kabi, buwone ku lulwo.”
325  GEN 13:6  ekitundu mwe baali nga tekibamala bombi. Obugagga bwabwe bwali bungi nnyo,
340  GEN 14:3  Bano bonna abooluvannyuma ne beegatta wamu mu kiwonvu kya Sidimu (y’Ennyanja ey’Omunnyo).
350  GEN 14:13  Awo Omwamoli omu eyali abadduseeko n’ajja n’ategeeza Ibulaamu Omwebbulaniya, eyali abeera okumpi n’emivule gya Mamule, muganda wa Esukoli ne Aneri abaalina endagaano ne Ibulaamu.
356  GEN 14:19  N’asabira Ibulaamu omukisa ng’agamba nti, “Katonda Ali Waggulu Ennyo Omutonzi w’eggulu n’ensi awe Ibulaamu omukisa.
359  GEN 14:22  Naye Ibulaamu n’addamu kabaka wa Sodomu nti, “Ndayira Mukama Katonda Ali Waggulu Ennyo, Omutonzi w’eggulu n’ensi,
365  GEN 15:4  Laba ekigambo kya Mukama ne kimujjira nti,Omusajja oyo tagenda kuba musika wo; mutabani wo, y’aliba omusika wo.”
377  GEN 15:16  Era balikomawo wano mu mulembe ogwokuna; kubanga obutali butuukirivu bw’Omwamoli tebunnayitirira.”
380  GEN 15:19  Omukeeni, n’Omukenizi, n’Omukadumoni,
381  GEN 15:20  n’Omukiiti, n’Omuperizi, n’Abaleefa,
382  GEN 15:21  n’Omwamoli, n’Omukanani, n’Omugirugaasi n’Omuyebusi, mbagabula mu mukono gwo.”
385  GEN 16:3  Bw’atyo Ibulaamu bwe yali yaakamala emyaka kkumi mu nsi ya Kanani, Salaayi mukazi we n’addira Agali Omumisiri, omuweereza we n’amuwa Ibulaamu abeere mukazi we.
395  GEN 16:13  Awo n’akoowoola erinnya lya Mukama eyayogera naye, n’agamba nti,Oli Katonda alaba”, kubanga yagamba nti, “Ndabidde ddala Katonda ne nsigala nga ndi mulamu nga maze okumulaba.”
396  GEN 16:14  Oluzzi kye lwava luyitibwa Beerirakayiro, luli wakati wa Kadesi ne Beredi.
412  GEN 17:14  Omwana owoobulenzi yenna atali mukomole, atakomolebbwa kikuta kya mubiri gwe, taabalibwenga mu bantu be, aba amenye endagaano yange.”
415  GEN 17:17  Awo Ibulayimu n’avuunama n’aseka, n’agamba munda ye nti,Omwana alizaalirwa oyo eyaakamala emyaka ekikumi? Saala ow’emyaka ekyenda alizaala omwana?”
439  GEN 18:14  Waliwo ekirema Mukama? Omwaka ogujja, mu kiseera kyennyini, ndikomawo gy’oli, ne Saala alizaala omwana owoobulenzi.”
445  GEN 18:20  Awo Mukama n’agamba nti,Olw’okunkaabirira okusukkiridde olw’ebibi bya Sodomu ne Ggomola ebingi ennyo,
450  GEN 18:25  Kireme okuba gy’oli okukola ekintu bwe kityo, okutta abatuukirivu awamu n’ababi, abatuukirivu ne benkana n’ababi! Kireme kuba bwe kityo! Omulamuzi ow’ensi yonna teyandisaanye akole kituufu?”
467  GEN 19:9  Naye ne bamugamba nti, “Tuviire! Omusajja omugwira ono, ate kati y’atulagira eky’okukola! Nedda, tujja kukukolako n’okusinga abagenyi bo.” Awo ne banyigiriza nnyo Lutti, era kaabula kata bamenye n’oluggi.
470  GEN 19:12  Awo abasajja bali ababiri ne babuuza Lutti nti,Olina abantu bo abalala wano, batabani bo, oba bakoddomi bo, oba bawala bo, oba omuntu omulala yenna mu kibuga? Bafulumye mu kifo kino;
489  GEN 19:31  Olunaku lumu omuwala omukulu n’agamba muto we nti, “Kitaffe akaddiye era tewali na musajja ku nsi ajja kutwagala ng’empisa y’ensi bw’eri.
495  GEN 19:37  Omuwala omukulu n’azaala omwana wabulenzi n’amutuuma Mowaabu, ye jjajja w’Abamowaabu abaliwo kaakano.
496  GEN 19:38  Omuto naye n’azaala omwana mulenzi n’amutuuma Benami, ye yavaamu Abamoni abaliwo ne kaakano.
500  GEN 20:4  Naye Abimereki yali tanneebaka naye, n’alyoka agamba nti,Onotta abantu abataliiko musango.
505  GEN 20:9  Awo Abimereki n’ayita Ibulayimu n’amugamba nti,Otukoze ki? Era nsobi ki gye nkukoze, n’ondeetera nze n’obwakabaka bwange ekibi ekinene ekyenkana awo? By’onkoze tebisaana kukolebwa muntu.”
523  GEN 21:9  Naye Saala yalaba nga mutabani wa Agali Omumisiri, gwe yazaalira Ibulayimu ng’azannya ne mutabani we Isaaka.
575  GEN 23:3  Oluvannyuma Ibulayimu n’ava awali omulambo gwe n’agenda eri Abakiiti n’abagamba nti,
580  GEN 23:8  N’abagamba nti,Obanga munzikirizza mu mwoyo mulungi okuziika omuntu wange, mumpulirize. Kale munneegayiririre Efulooni mutabani wa Zokali,
582  GEN 23:10  Mu kiseera ekyo Efulooni yali atudde awo wakati mu Bakiiti. Efulooni, Omukiiti n’addamu Ibulayimu nga Abakiiti bonna abaaliwo mu mulyango gw’ekibuga nga bawulira nti,
585  GEN 23:13  N’agamba Efulooni, bonna nga bawulira nti,Obanga okkirizza, nkusaba nsasule omuwendo gw’ennimiro gwonna ndyoke nziikewo mukazi wange.”
589  GEN 23:17  Olwo ennimiro ya Efulooni mu Makupeera, eyali ku luuyi olw’ebuvanjuba olwa Mamule, ennimiro awamu n’empuku eyalimu, n’emiti gyonna egyali mu nnimiro ekitundu kyonna ne bifuuka bya
591  GEN 23:19  Oluvannyuma Ibulayimu n’aziika Saala mukazi we mu mpuku mu nnimiro ya Makupeera ku luuyi olw’ebuvanjuba bwa Mamule, ye Kebbulooni, mu nsi ya Kanani.
597  GEN 24:5  Omuddu kwe ku mubuuza nti,Omukazi bw’ataliyagala kujja nange mu nsi eno, ndizzaayo mutabani wo mu nsi mwe wava?”
603  GEN 24:11  Obudde bwe bwawungeera n’atuuka ebweru w’ekibuga n’afukamiza awo eŋŋamira okumpi n’oluzzi obudde nga buwungedde abakazi we bagendera okukima amazzi.
608  GEN 24:16  Omuwala oyo yali mulungi okulabako nga muwala mbeerera, n’akka mu luzzi n’ajjuza ensuwa ye n’avaayo.
615  GEN 24:23  N’amubuuza nti,Oli muwala w’ani? Mu nnyumba ya kitaawo mulimu ekisenge mwe tuyinza okusuzibwa?”
625  GEN 24:33  Oluvannyuma ne bamuleetera emmere alye. Kyokka ye n’agamba nti, “Sijja kulya nga sinnayogera kindeese.” Labbaani n’amugamba nti, “Yogera.”
631  GEN 24:39  “Ne mbuuza mukama wange nti,Omukazi bw’atalikkiriza kujja nange?’
639  GEN 24:47  “Kwe ku mubuuza nti,Oli muwala w’ani?’ N’anziramu nti, ‘Ndi muwala wa Besweri, mutabani wa Nakoli, Mirika gwe yamuzaalira.’ Ne nteeka empeta ku nnyindo ye n’ebikomo ku mikono gye.
644  GEN 24:52  Omuddu wa Ibulayimu bwe yawulira ebigambo byabwe n’avuunama wansi mu maaso ga Mukama.
650  GEN 24:58  Ne bayita Lebbeeka, ne bamubuuza nti,Onoogenda n’omusajja ono?” N’addamu nti, “Nnaagenda.”
654  GEN 24:62  Olwo Isaaka yali ng’avudde e Beerirakayiroyi ng’ali mu Negevu.
657  GEN 24:65  n’abuuza omuddu nti, “Ani oyo gwe nnengera mu nnimiro ajja okutusisinkana?” Omuddu n’addamu nti, “Ye mukama wange.” Lebbeeka kwe kutoola omunagiro gwe ne yeebikkirira.
668  GEN 25:9  Batabani be Isaaka ne Isimayiri ne bamuziika mu mpuku ey’e Makupeera, mu nnimiro ya Efulooni, mutabani wa Zokali Omukiiti, ebuvanjuba bwa Mamule;
669  GEN 25:10  ennimiro Ibulayimu gye yagula ku Bakiiti. Omwo Ibulayimu mwe yaziikibwa awali Saala mukazi we.
671  GEN 25:12  Bino bye bifa ku b’olulyo lwa Isimayiri mutabani wa Ibulayimu eyazaalibwa Agali Omumisiri, omuweereza wa Saala omuwala.
679  GEN 25:20  Isaaka yalina emyaka amakumi ana, we yawasiza muwala wa Besweri Omusuuli ow’e Padanalaamu, eyayitibwanga Lebbeeka mwannyina wa Labbaani.
681  GEN 25:22  Abaana bombi ne bagulumbira mu lubuto lwe, Lebbeeka n’agamba nti,Obanga kiri bwe kityo, lwaki mba omulamu?” Awo n’agenda ne yeebuuza ku Mukama.