42 | GEN 2:11 | Erinnya ly’ogusooka Pisoni, gwe gwo ogukulukuta okwetooloola ensi ya Kavira, awali zaabu; |
241 | GEN 10:6 | Batabani ba Kaamu be bano: Kuusi, ne Misiri, ne Puuti, ne Kanani. |
249 | GEN 10:14 | ne Pasulusimu, ne Kasulukimu (omwava Abafirisuuti) ne Kafutorimu. |
260 | GEN 10:25 | Omu ku batabani ba Eberi yali Peregi, kubanga we yazaalirwa ensi yali yeesazeemu, muganda we ye yali Yokutaani. |
283 | GEN 11:16 | Eberi bwe yaweza emyaka amakumi asatu mu ena n’azaala Peregi. |
284 | GEN 11:17 | Eberi bwe yamala okuzaala Peregi n’awangaala emyaka ebikumi bina mu amakumi asatu, omwo n’azaaliramu abaana abalala aboobulenzi n’aboobuwala. |
285 | GEN 11:18 | Peregi bwe yaweza emyaka amakumi asatu n’azaala Leewo, |
535 | GEN 21:21 | Yabeeranga mu ddungu lya Palani: nnyina n’amufunira omukazi okuva mu nsi y’e Misiri. |
570 | GEN 22:22 | ne Kesedi, ne Kazo, ne Pirudaasi, ne Yidulaafu ne Besweri.” |
679 | GEN 25:20 | Isaaka yalina emyaka amakumi ana, we yawasiza muwala wa Besweri Omusuuli ow’e Padanalaamu, eyayitibwanga Lebbeeka mwannyina wa Labbaani. |
776 | GEN 28:2 | Golokoka ogende e Padanalaamu mu nnyumba ya Besweri kitaawe wa nnyoko, ofune omukazi omu ku bawala ba Labbaani mwannyina nnyoko. |
779 | GEN 28:5 | Bw’atyo Isaaka n’asiibula Yakobo, Yakobo n’agenda e Padanalaamu ewa Labbaani, mutabani wa Besweri Omusuuli mwannyina Lebbeeka, nnyina wa Esawu ne Yakobo. |
780 | GEN 28:6 | Esawu n’ategeera nga Isaaka awadde Yakobo omukisa, era ng’amusindise e Padanalaamu afuneyo omukazi, era nga bwe yamuwa omukisa yamukuutira nti, “Towasanga ku bakazi Abakanani,” |
781 | GEN 28:7 | era nga Yakobo agondedde kitaawe ne nnyina n’agenda e Padanalaamu. |
892 | GEN 31:18 | n’agoba ente ze zonna, n’ebisolo bye ebirala byonna bye yafuna: obugagga bwe bwonna bwe yafunira mu Padanalaamu, agende mu nsi ya Kanani eri kitaawe Isaaka. |
959 | GEN 32:31 | Yakobo ekifo ekyo kyeyava akiyita Penieri, ng’agamba nti, “Kubanga ndabaganye ne Katonda, kyokka obulamu bwange ne busigalawo.” |
960 | GEN 32:32 | Enjuba n’evaayo ne mwakako nga bw’asala Penieri, ng’awenyera olw’obuvune mu kisambi kye. |
979 | GEN 33:18 | Era Yakobo n’atuuka mirembe mu kibuga Sekemu, mu nsi ya Kanani, ng’ava e Padanalaamu, n’asiisira okwolekera ekibuga. |
1021 | GEN 35:9 | Yakobo bwe yava mu Padanalaamu Katonda n’amulabikira, n’amuwa omukisa. |
1038 | GEN 35:26 | Batabani ba Zirupa omuweereza wa Leeya be ba: Gaadi ne Aseri. Bano be batabani ba Yakobo abaamuzaalirwa mu Padanalaamu. |
1080 | GEN 36:39 | Ate Balukanani mutabani wa Akubooli bwe yafa, Kadali n’afuga mu kifo kye, ng’ali mu kibuga kye Pawu; mukazi we yayitibwanga Meketaberu muwala wa Mezakabu ne Matirida. |
1082 | GEN 36:41 | ne Okolibama, ne Era, ne Pinoni, |
1120 | GEN 37:36 | Mu kiseera kyekimu Abamidiyaani bwe baatuuka e Misiri, Yusufu ne bamuguza Potifali, omu ku bakungu ba Falaawo; omukungu oyo ye yali omukulu wa bambowa. |
1149 | GEN 38:29 | Naye omulongo bwe yazzaayo omukono gwe munda, muganda we n’afuluma; omuzaalisa n’agamba nti, “Lwaki owaguzza?” Erinnya ly’omwana kyeryava liba Pereezi. |
1151 | GEN 39:1 | Awo Yusufu bwe yatwalibwa e Misiri, Potifali omukungu wa Falaawo, omukulu w’abambowa Omumisiri n’amugula okuva ku Bayisimayiri abaamutwala e Misiri. |
1241 | GEN 41:45 | Falaawo n’atuuma Yusufu erinnya Zafenasipaneya; n’amuwa Asenaasi muwala wa Potiferi kabona wa Oni okuba mukazi we. Bw’atyo Yusufu n’atambula okubuna Misiri yonna. |
1246 | GEN 41:50 | Omwaka ogw’enjala nga tegunnatuuka Yusufu yafuna abaana aboobulenzi babiri, Asenaasi, muwala wa Potiferi kabona wa Oni be yamuzaalira. |
1396 | GEN 46:9 | ne batabani ba Lewubeeni: Kanoki, ne Palu, ne Kezulooni ne Kalumi. |
1399 | GEN 46:12 | N’aba Yuda: Eri, ne Onani, ne Seera, ne Pereezi ne Zeera; naye bo Eri ne Onani baafiira mu nsi ya Kanani. Batabani ba Pereezi baali: Kezulooni ne Kamuli. |
1400 | GEN 46:13 | Bo aba Isakaali baali: Tola, ne Puva, ne Yobu ne Simuloni. |
1402 | GEN 46:15 | Abo be batabani ba Leeya be yazaalira Yakobo nga bali mu Padanalaamu, omuwala ye yali Dina. Abaana bonna aboobulenzi n’aboobuwala baali amakumi asatu mu basatu. |
1407 | GEN 46:20 | Aba Yusufu ng’ali e Misiri baali Manase ne Efulayimu, Asenaasi muwala wa Potiferi kabona wa Oni be yamuzaalira. |
1459 | GEN 48:7 | Kubanga bwe najja ng’ava e Paddani, ne ndaba ennaku Laakeeri n’anfiirako mu kkubo mu nsi ya Kanani, nga nkyagenda Efulasi; ne mmuziika eyo mu kkubo erigenda Efulasi, ye Besirekemu.” |
1544 | EXO 1:11 | Bwe batyo ne babateekako bannampala bababonyeebonye n’emirimu egy’obuwaze; ne bazimbira Falaawo ebibuga eby’amaterekero, Pisomu ne Lamusesi. |
1548 | EXO 1:15 | Awo kabaka w’e Misiri n’ayogera n’abazaalisa b’Abaebbulaniya, amannya gaabwe Sifira ne Puwa, n’abagamba nti, |
1670 | EXO 6:14 | Gano ge mannya aga bajjajjaabwe ab’omu bika byabwe: Batabani ba Lewubeeni, mutabani wa Isirayiri omubereberye, be bano: Kanoki ne Palu, Kezulooni ne Kalumi. |
1681 | EXO 6:25 | Eriyazaali, mutabani wa Alooni, yawasa omu ku bawala ba Putiyeeri, n’amuzaalira Finekaasi. Ago ge mannya g’abakulu b’ebika by’Abaleevi, n’ennyumba zaabwe mu bika ebyo. |
1892 | EXO 14:2 | “Tegeeza abaana ba Isirayiri bawetemu nga boolekera Pikakirosi, bakube eweema zaabwe okumpi ne Pikakirosi, wakati wa Migudooli n’ennyanja. Musiisire ku lubalama lw’ennyanja nga mwolekedde Baali Zefoni. |
1899 | EXO 14:9 | Abamisiri ne babawondera: embalaasi zonna, n’amagaali gonna aga Falaawo agasikibwa embalaasi, n’abeebagadde embalaasi, n’eggye lye, ne babasanga nga basiisidde ku lubalama lw’ennyanja okumpi ne Pikakirosi, nga boolekedde Baali Zefoni. |
3615 | NUM 1:10 | Okuva mu baana ba Yusufu: mu kya Efulayimu ye Erisaama mutabani wa Ammikudi; mu kya Manase ye Gamalyeri mutabani wa Pedazuuli. |
3618 | NUM 1:13 | mu kya Aseri ye Pagiyeeri mutabani wa Okulaani; |
3679 | NUM 2:20 | Ekika kya Manase kye kinaddangako. Omukulembeze w’abantu ba Manase ye Gamalyeri mutabani wa Pedazuuli. |
3686 | NUM 2:27 | Ab’ekika kya Aseri be banaasiisiranga okubaddirira. Omukulembeze w’abantu ba Aseri ye Pagiyeeri mutabani wa Okulaani. |
3905 | NUM 7:54 | Ku lunaku olw’omunaana Gamalyeri mutabani wa Pedazuuli, omukulembeze w’abantu ba Manase, n’aleeta ekiweebwayo kye. |
3910 | NUM 7:59 | era olwa ssaddaaka ey’ebiweebwayo olw’emirembe: ente bbiri, endiga ennume ttaano, n’abaana b’endiga abalume bataano abawezezza omwaka gumu gumu ogw’obukulu. Ekyo kye kyali ekiweebwayo eri Mukama ekya Gamalyeri mutabani wa Pedazuuli. |
3923 | NUM 7:72 | Ku lunaku olw’ekkumi n’olumu Pagiyeeri mutabani wa Okulaani, omukulembeze w’abantu ba Aseri, n’aleeta ekiweebwayo kye. |
3928 | NUM 7:77 | era olwa ssaddaaka ey’ebiweebwayo olw’emirembe: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n’abaana b’endiga abalume bataano abawezezza omwaka gumu gumu ogw’obukulu. Ekyo kye kyali ekiweebwayo eri Mukama ekya Pagiyeeri mutabani wa Ekulaani. |
4001 | NUM 10:12 | Abaana ba Isirayiri ne basitula ne batambula okuva mu Ddungu lya Sinaayi, oluvannyuma ekire ne kiyimirira mu Ddungu lya Palani. |
4012 | NUM 10:23 | Gamalyeri mutabani wa Pidazuuli ye yaduumira ekibinja ky’ekika kya Manase; |
4015 | NUM 10:26 | Pagiyeeri mutabani wa Okulaani ye yaduumira ekibinja ky’ekika kya Aseri; |
4076 | NUM 12:16 | Ebyo bwe byaggwa abantu ne basitula okuva e Kazerosi ne batambula okutuusa lwe baasiisira mu ddungu lya Palani. |
4079 | NUM 13:3 | Bw’atyo Musa n’abatuma okuva mu ddungu lya Palani, ng’ekiragiro kya Mukama Katonda bwe kyali. Bonna baali bakulembeze b’abaana ba Isirayiri. |
4085 | NUM 13:9 | Eyava mu kika kya Benyamini yali Paluti mutabani wa Lafu. |
4102 | NUM 13:26 | Ne bajja eri Musa ne Alooni e Kadesi mu ddungu lya Palani. Ne babakomezaawo obubaka n’eri ekibiina kyonna, era ne babanjulira ebibala bye baggya mu nsi eyo. |
4196 | NUM 16:1 | Lwali lumu, Koola mutabani wa Izukali, mutabani wa Kokasi, mutabani wa Leevi, ne bano abava mu Lewubeeni, Dasani ne Abiraamu batabani ba Eriyaabu, awamu ne Oni mutabani wa Peresi, bonna ne beewaggula |
4361 | NUM 21:20 | Bwe baava e Bamosi ne balaga mu kiwonvu ekiri mu matwale ga Mowaabu wansi w’olusozi Pisuga, kw’osinziira okulengera eddungu. |
4381 | NUM 22:5 | n’atuma ababaka eri Balamu mutabani wa Byoli, eyali mu Pesoli, ekiriraanye Omugga, mu nsi y’ewaabwe, okumuyita ng’amugamba nti, “Abantu bali wano, baavudde mu Misiri, basaanikidde ensi yonna we batudde; basiisidde wano okunninaana. |
4431 | NUM 23:14 | N’amutwala mu nnimiro ya Zofimu, ku ntikko ya Pisuga, n’azimbira eyo ebyoto musanvu n’awaayo sseddume w’ente emu n’endiga ennume emu ku buli kyoto. |
4445 | NUM 23:28 | Balaki n’atwala Balamu ku ntikko y’olusozi Peoli, olwolekedde eddungu. |
4475 | NUM 25:3 | Bw’atyo Isirayiri n’ayingirira eby’okusinzanga Baali ow’e Peoli. Obusungu bwa Mukama ne bubabuubuukirako. |
4477 | NUM 25:5 | Musa n’agamba abalamuzi ba Isirayiri nti, “Buli omu ku mmwe atte abo abali mu mmwe abeegasse mu kusinza Baali ow’e Peoli.” |
4490 | NUM 25:18 | kubanga baayagala okubazikiriza n’enkwe zaabwe bwe baabakyamya e Peoli, n’olwa Kozebi muwala w’omukulembeze w’e Midiyaani, omukazi oyo eyattibwa ku lunaku okwajjira kawumpuli olw’ebyo ebyali e Peoli.” |
4496 | NUM 26:5 | Ab’omu kika kya Lewubeeni, mutabani wa Isirayiri omubereberye, be bano: abaava mu Kanoki, lwe lunyiriri lw’Abakanoki; abaava mu Palu, lwe lunyiriri lw’Abapalu; |
4499 | NUM 26:8 | Mutabani wa Palu yali Eriyaabu, |
4511 | NUM 26:20 | Ab’omu kika kya Yuda ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali, be bano: abaava mu Seera, lwe lunyiriri lw’Abaseera; abaava mu Pereezi, lwe lunyiriri lw’Abapereezi; abaava mu Zeera, lwe lunyiriri lw’Abazeera. |
4512 | NUM 26:21 | Bazzukulu ba Pereezi be bano: abaava mu Kezulooni, lwe lunyiriri lw’Abakezulooni abaava mu Kamuli, lwe lunyiriri lw’Abakamuli. |
4514 | NUM 26:23 | Ab’omu kika kya Isakaali ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali, be bano: abaava mu Tola, lwe lunyiriri lw’Abatola; abaava mu Puva, lwe lunyiriri lw’Abapuva; |
4682 | NUM 31:16 | Mumanyi nga be baaleetera abaana ba Isirayiri okujeemera Mukama Katonda e Peoli bwe baakolera ku magezi Balamu ge yabawanga, kawumpuli amale alumbe ekibiina kya Mukama. |
4769 | NUM 33:7 | Bwe baava mu Yesamu ne baddako emabega ne batuuka e Pikakirosi ekiri ku buvanjuba bwa Baali Zefoni, ne basiisira okuliraana Migudooli. |
4770 | NUM 33:8 | Ne basitula okuva mu Pikakirosi ne bayita wakati mu Nnyanja Emyufu ne bagguka mu ddungu lya Yesamu; ne balitambuliramu ennaku ssatu ne basiisira e Mala. |
4781 | NUM 33:19 | Ne bava e Lisuma ne basiisira e Limoni Perezi. |
4782 | NUM 33:20 | Bwe bava e Limoni Perezi ne basiisira e Libuna. |
4804 | NUM 33:42 | Bwe baava e Zalumona ne basiisira e Punoni. |
4805 | NUM 33:43 | Ne bava e Punoni ne basiisira e Yebosi. |
4843 | NUM 34:25 | Erizafani mutabani wa Palunaki nga ye mukulembeze okuva mu kika kya Zebbulooni. |
4844 | NUM 34:26 | Palutiyeri mutabani wa Azani nga ye mukulembeze okuva mu kika kya Isakaali, |
4846 | NUM 34:28 | ne Pedakeri mutabani wa Ammikudi nga ye mukulembeze okuva mu kika kya Nafutaali.” |
4895 | DEU 1:1 | Bino bye bigambo Musa bye yategeeza Abayisirayiri bonna nga bali ku ludda olw’ebuvanjuba w’omugga Yoludaani mu ddungu, mu Alaba okwolekera Sufu, wakati wa Palani ne Toferi, ne Labani, ne Kazerosi ne Dizakabu. |
4994 | DEU 3:17 | Omugga Yoludaani nga ye nsalo ey’ebugwanjuba mu Alaba, okuviira ddala ku Kinneresi okutuuka ku Nnyanja ya Alaba, ye Nnyanja ey’Omunnyo, wansi w’olugulungujjo lw’olusozi Pisuga ku luuyi olw’ebuvanjuba. |
5004 | DEU 3:27 | Yambuka waggulu ku ntikko y’olusozi Pisuga, ositule amaaso go otunule ebugwanjuba, ne ku bukiikakkono, n’ebuvanjuba ne ku bukiikaddyo. Weerabireko ku nsi eyo n’amaaso go gennyini, kubanga togenda kusomoka mugga guno Yoludaani. |
5006 | DEU 3:29 | Bwe tutyo ne tubeera awo mu kiwonvu okumpi ne Besu Peoli. |
5009 | DEU 4:3 | Mwerabirako n’amaaso gammwe gennyini ebyo byonna Mukama bye yakola e Baali Peoli. Abo bonna mu mmwe abaagoberera, era ne basinza Baali e Peoli, Mukama Katonda wo yabazikiriza; |
5052 | DEU 4:46 | nga bali mu kiwonvu ekiriraanye Besu Peoli ku buvanjuba bw’omugga Yoludaani, mu nsi eya Sikoni kabaka w’Abamoli, eyafugiranga mu Kesuboni, Musa n’abaana ba Isirayiri gwe baali bamaze okuwangula nga bavudde mu nsi ey’e Misiri. |
5055 | DEU 4:49 | n’ezingiramu ne Alaba ekiri ku luuyi olw’ebuvanjuba obwa Yoludaani, okutuukira ddala ku Nnyanja ya Alaba, ye Nnyanja ey’Omunnyo, wansi w’olugulungujjo lw’olusozi Pisuga. |
5506 | DEU 23:5 | Kubanga bwe mwali muva mu nsi y’e Misiri, tebajja kubaaniriza n’okubaleetera ku mmere ne ku mazzi; ate ne bapangisa Balamu mutabani wa Byoli nga bamuggya e Pesoli eky’omu Mesopotamiya, okubakolimira. |
5814 | DEU 33:2 | Yagamba nti, “Mukama Katonda yajja gye tuli ng’ava ku Sinaayi n’atutuukako ng’ava ku Seyiri; yamasamasa ng’ava ku Lusozi Palani. Yajja n’obufukunya bw’abatukuvu okuva ku bukiika obwaddyo obw’ensozi ze. |
5842 | DEU 34:1 | Awo Musa n’ayambuka okuva mu nsenyi za Mowaabu, n’alinnyalinnya Olusozi Nebo, n’atuukira ddala ku ntikko eyitibwa Pisuga, eyolekedde Yeriko. Mukama Katonda n’asinziira awo n’amulengeza ensi yonna ensuubize: okuva ku Giriyaadi okutuuka ku Ddaani, |
6069 | JOS 10:3 | Bw’atyo Adonizedeki kabaka wa Yerusaalemi n’atumira bakabaka bano: Kokamu ow’e Kebbulooni, ne Piramu ow’e Yalamusi, ne Yafiya ow’e Lakisi ne Debiri ow’e Eguloni n’abagamba nti, |
6135 | JOS 12:3 | ne Alaba okutuuka ku nnyanja Kinnerosi, ku luuyi olw’ebuvanjuba, ne ku Nnyanja ya Araba y’Ennyanja ey’Omunnyo ku luuyi olw’ebuvanjuba mu kkubo ery’e Besu Yesimosi, ne ku luuyi olw’obukiikaddyo wansi w’olusozi Pisuga, |
6176 | JOS 13:20 | ne Besupyoli ne Pisuga awayambukirwa ku lusozi, ne Besu Yesimosi, |
6318 | JOS 18:23 | ne Avvimu ne Pala ne Ofula, |
6445 | JOS 22:17 | Ekibi kya Peoli tekyatumala, ate nga n’okwerongoosa tubadde tetunnaba kwerongoosa kwemalako kibi ekyo, wadde kawumpuli yagwa ku kibiina kya Mukama Katonda, |
6538 | JDG 1:27 | Ye Manase teyagoba bantu abaabeeranga mu Besuseani, ne mu Taanaki ne mu Poliyadde abaabeeranga mu Ibuleamu, ne mu Megiddo, n’ebyalo ebiriraanye ebibuga ebyo. Naye Abakanani ne bagaanira ddala okuva mu nsi eyo. |
6706 | JDG 7:10 | Naye obanga otya okubalumba genda ne Pula omuweerezaawo: |
6707 | JDG 7:11 | era bw’onoowulira bye boogera onoofuna obuvumu okubalumba. Gidyoni n’omuweereza we Pula ne basemberera olusiisira lw’Abamidiyaani.” |
6729 | JDG 8:8 | Bwe yava eyo, n’ayambuka n’alaga e Penieri, n’abasaba ekintu kye kimu. Naye abantu b’e Penieri ne bamuddamu ng’abasajja ab’omu Sukkosi bwe bamuddamu. |
6730 | JDG 8:9 | Kyeyava agamba abantu b’e Penieri nti, “Bwe ndikomawo emirembe, ndimenyaamenya omunaala guno.” |
6738 | JDG 8:17 | N’agenda n’e Penieri n’amenyaamenya omunaala gwa Penieri, n’atta n’abasajja b’omu kibuga. |
6814 | JDG 10:1 | Awo oluvannyuma lwa Abimereki, ne wabaawo Toola mutabani wa Puwa, era muzzukulu wa Dodo, omusajja wa Isakaali eyajja okulokola Isirayiri, eyabeeranga mu Samiri mu nsi ya Efulayimu ey’ensozi. |
6886 | JDG 12:15 | Abudoni mutabani wa Kireri Omupirasoni n’afa, n’aziikibwa mu Pirasoni mu nsi ya Efulayimu, mu nsi ey’Abamaleki ey’ensozi. |