Wildebeest analysis examples for:   lug-lug   a    February 11, 2023 at 19:01    Script wb_pprint_html.py   by Ulf Hermjakob

1  GEN 1:1  Ku lubereberye Katonda yatonda eggulu n’ensi.
2  GEN 1:2  Ensi yali njereere nga yeetabuddetabudde, ekizikiza nga kibisse kungulu ku buziba, n’Omwoyo wa Katonda ng’atambulira ku mazzi.
3  GEN 1:3  Awo Katonda n’agamba nti, “Wabeerewo obutangaavu,” ne waba obutangaavu.
4  GEN 1:4  Katonda n’alaba obutangaavu nga bulungi; n’ayawula obutangaavu n’ekizikiza.
5  GEN 1:5  Katonda obutangaavu n’abuyita emisana, n’ekizikiza n’akiyita ekiro. Ne wabaawo akawungeezi ate ne buba enkya. Olwo lwe lunaku olw’olubereberye.
6  GEN 1:6  Era Katonda n’agamba nti, “Wabeewo ebbanga lyawule olufu n’amazzi.”
7  GEN 1:7  Bw’atyo Katonda n’akola ebbanga okwawula wansi n’amazzi agali waggulu. Ne kiba bwe kityo.
8  GEN 1:8  Katonda ebbanga n’aliyita eggulu. Ne buba akawungeezi, ate ne buba enkya, olwo lwe lunaku olwokubiri.
9  GEN 1:9  Awo Katonda n’ayogera nti,Amazzi agali wansi w’eggulu gakuŋŋaanire mu kifo kimu, wabeewo olukalu.” Ne kiba bwe kityo.
10  GEN 1:10  Katonda olukalu n’aluyita ensi, amazzi agakuŋŋaanye go n’agayita ennyanja. Katonda n’alaba nga ky’akoze kirungi.
11  GEN 1:11  Awo Katonda n’agamba nti, “Ensi ereete ebimera: emiti egizaala ensigo mu ngeri yaagyo, emiti egy’ebibala ebibaamu ensigo mu ngeri yaagyo, gibeere ku nsi.” Ne kiba bwe kityo.
12  GEN 1:12  Ensi n’ereeta ebimera: ebimera eby’ensigo ebya buli ngeri, n’emiti egy’ebibala ebya buli ngeri n’ebijja ku nsi. Katonda n’alaba nga ky’akoze kirungi.
13  GEN 1:13  Ne buba akawungeezi ate ne buba enkya. Olwo lwe lunaku olwokusatu.