1011 | GEN 34:30 | Awo Yakobo n’agamba Simyoni ne Leevi nti, “Mundeetedde akacwano, nfuuse wa kukyayibwa abantu bonna ab’omu nsi, Abakanani n’Abaperezi. Ffe tuli batono, kale bwe baneekuŋŋaanya ne bannumba nzija kumalibwawo, nze n’ennyumba yange yonna.” |
1652 | EXO 5:19 | Bannampala Abayisirayiri ne bategeera ng’akacwano kabatuukiridde, bwe baagambibwa nti, “Omuwendo gw’amatoffaali ogwabasalirwa okubumbanga buli lunaku tegujja kukendeezebwako.” |
3019 | LEV 11:21 | Naye mu biwuka ebyo ebirina ebiwaawaatiro era nga bitambuza amagulu ana munaalyangamu ebyo ebirina ennyingo ku magulu gaabyo ebigenda nga bibuuka amacco ku ttaka. |
4109 | NUM 13:33 | Twalabayo n’Abanefisi, abazzukulu ba Anaki abava mu Banefiri. Bwe twetunulako nga tuli ng’obwacaaka, era nabo nga bwe batulaba bwe batyo.” |
5700 | DEU 29:18 | Omuntu ow’engeri ng’eyo ng’awulidde ebigambo eby’ekikolimo kino n’amala yeeyibaala, ne yeetukuza ku bubwe yekka, n’alowooza munda ye nti, “Nzija kubeera bulungi newaakubadde nga mmaliridde okukwata ekkubo eryange ery’obujeemu,” ekyo kinaaletanga akacwano ku ttaka erinnyogovu obulungi ne ku kkalu. |
5895 | JOS 2:24 | Ne bamugamba nti, “Ddala ensi eyo Mukama agituwadde, abantu baamu bonna tubakubye encukwe.” |
7220 | 1SA 1:6 | Era kubanga Mukama Katonda yali tamuwadde mwana, muggya we n’amucoccanga. |
7238 | 1SA 1:24 | Bwe yava ku mabeere, n’amutwala mu yeekaalu ya Mukama Katonda e Siiro ng’akyali muto; ne batwala ente ssatu ennume, n’endebe ey’obutta, n’eccupa y’envinnyo. |
7421 | 1SA 10:1 | Awo Samwiri n’addira eccupa ey’amafuta n’agifuka ku mutwe gwa Sawulo, n’amunywegera ng’agamba nti, “Mukama akufuseeko amafuta okufuga abantu be, Isirayiri. |
7423 | 1SA 10:3 | “Bw’onoova awo, ne weeyongerayo okutuuka ku mwera gwa Taboli, onoosisinkana abasajja basatu abanaaba bagenda okusisinkana Katonda e Beseri, omu nga yeetisse obubuzi busatu, omulala nga yeetisse emigaati esatu, n’omulala ng’asitudde eccupa y’envinnyo. |
7611 | 1SA 16:14 | Awo Omwoyo wa Mukama Katonda yali avudde ku Sawulo, omwoyo omubi ogwava eri Mukama ne gumucoccanga. |
7612 | 1SA 16:15 | Awo abaweereza ba Sawulo ne bamuleetera ekiteeso nti, “Laba, omwoyo omubi okuva eri Katonda gukucocca. |
7617 | 1SA 16:20 | Yese n’addira endogoyi n’agitikka emigaati, n’eccupa y’envinnyo n’omwana gw’embuzi, n’abiweereza wamu ne mutabani we Dawudi eri Sawulo. |
7919 | 1SA 26:11 | Kikafuuwe nze okugolola omukono gwange okutta oyo Mukama gwe yafukako amafuta. Naye ddira effumu n’eccupa ey’amazzi ebiri emitwetwe we obisitule tugende.” |
7920 | 1SA 26:12 | Awo Dawudi n’aggyawo effumu n’eccupa ey’amazzi ebyali emitwetwe wa Sawulo ne bagenda. Tewali yabalaba newaakubadde okukitegeera, wadde okusisimuka, kubanga bonna Mukama yali abeebasiza otulo tungi nnyo. |
7924 | 1SA 26:16 | Ekyo kye wakoze si kirungi. Nga Mukama bw’ali omulamu, ggwe n’abasajja bo musaana kufa, olw’obulagajjavu bwammwe, kubanga temwakuumye mukama wammwe, Mukama gwe yafukako amafuta. Mutunule mwetegereze; effumu lya kabaka n’eccupa ey’amazzi ebyabadde emitwetwe wa kabaka biri ludda wa?” |
8031 | 2SA 1:6 | Omuvubuka n’amugamba nti, “Bwe nnali awo ku lusozi Girubowa, ne ndaba Sawulo nga yeesigamye ku ffumu lye era n’amagaali n’abeebagala embalaasi eby’omulabe nga bamucocca. |
8078 | 2SA 2:26 | Abuneeri n’akoowoola Yowaabu n’ayogera nti, “Ekitala kirirya ennaku zonna? Tolaba nti enkomerero ya byonna buliba bukyayi bwereere? Kale kiki ekikulobera okulagira abantu bo balekeraawo okucocca baganda baabwe?” |
8193 | 2SA 7:10 | Ndifunira abantu bange Isirayiri ekifo ekyabwe ku bwabwe, balemenga okutawanyizibwanga. Abantu ababi tebalibacocca nate, nga bwe baakolanga olubereberye, |
9761 | 2KI 9:1 | Nnabbi Erisa n’ayita omu ku bannabbi abato n’amugamba nti, “Weesibe ekimyu, otwale eccupa eno ey’amafuta, ogende nayo e Lamosugireyaadi. |
9763 | 2KI 9:3 | Oddire eccupa ey’amafuta, ogafuke ku mutwe gwe, oyogere nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti: Nkufukako amafuta okuba kabaka wa Isirayiri.’ Oluvannyuma oggulewo oluggi odduke, so tolwawo n’akatono.” |
9879 | 2KI 13:4 | Awo Yekoyakaazi ne yegayirira Mukama, Mukama n’amuwulira, era n’alaba okucocca, kabaka w’e Busuuli kwe yacoccanga Isirayiri. |
10877 | 1CH 17:9 | Era abantu bange Isirayiri ndibawa ekifo, kibeere ekifo kyabwe eky’olubeerera, nga tebatawanyizibwa, n’abantu ababi tebalibacocca, nga bwe baakolanga olubereberye, |
11789 | 2CH 28:20 | Tirugazupiruneseri kabaka w’e Bwasuli n’ajja gy’ali, n’amucocca mu kifo eky’okumuyamba. |
13651 | JOB 32:19 | Munda mu nze omutima guli nga wayini, asaanikiddwa mu ccupa, ng’amaliba amaggya agalindiridde okwabika. |
14591 | PSA 42:11 | Mbonyaabonyezebwa ng’abalabe bange bancocca, nga bwe bagamba buli kiseera nti, “Katonda wo ali ludda wa?” |
14804 | PSA 56:9 | Emirundi gye ntawaanyizibwa nga njaziirana ogimanyi; amaziga gange gateeke mu ccupa yo! Wagawandiika. |
16874 | PRO 14:32 | Akacwano bwe kajja, omukozi w’ebibi agwa, naye omutuukirivu ne mu kufa aba n’obuddukiro. |
17627 | SNG 2:3 | Ng’omucungwa mu miti egy’omu kibira, aŋŋanza bw’ali bw’atyo mu bavubuka. Neesiima okutuula mu kisiikirize kye, n’ekibala kye kimpomera. |
17629 | SNG 2:5 | Munzizeemu amaanyi n’ezabbibu enkalu, mumbuddeebudde n’emicungwa kubanga okwagala kunzirisizza. |
17705 | SNG 7:9 | Nayogera nti, “Ndirinnya olukindu, era ndikwata ebibala byalwo.” Amabeere go gabeere ng’ebirimba eby’oku muzabbibu, n’akawoowo ak’omu kamwa ko ng’ebibala eby’omucungwa |
17715 | SNG 8:5 | Ani oyo gwe tulengera ng’ava mu ddungu nga yeesigamye muganzi we? Nakuzuukusa ng’oli wansi w’omuti ogw’omucungwa. Eyo maama wo gye yafunira olubuto era eyo maama wo gye yakuzaalira mu bulumi obungi. |
19159 | JER 6:1 | Mwekuŋŋaanye mudduke mmwe abantu ba Benyamini! Mmudduke muve mu Yerusaalemi. Fuuwa ekkondeere mu Tekowa, era yimusa ebbendera mu Besukakkeremu: kubanga akacwano kasinzidde mu bukiikakkono, okuzikirira okw’entiisa. |
20507 | LAM 4:18 | Baatucocca ne batulemesa okutambulira mu nguudo zaffe; enkomerero yaffe n’eba kumpi, n’ennaku zaffe ne ziggwaayo. |
20516 | LAM 5:5 | Abatucocca batugobaganya; tukooye ate nga tetulina wa kuwummulira. |
21431 | EZK 36:3 | Kyemwava muwa obunnabbi ne mwogera nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Kubanga baabacocca ne babayigganya enjuuyi zonna amawanga amalala ne gabeetwalira, era ne mufuuka eky’okwogerwako era ne baboogerako eby’obulimba, |
24081 | MAT 25:4 | Naye abagezi baatwala amafuta mu macupa gaabwe ag’okweyambisa wamu n’ettaala zaabwe. |
24130 | MAT 26:7 | ng’ali ku mmeeza, omukazi n’ajja gy’ali ng’alina eccupa y’amafuta ag’akaloosa ag’omuwendo omungi, n’agafuka ku mutwe gwa Yesu. |
24826 | MRK 14:3 | Mu kiseera ekyo Yesu ng’ali Besaniya mu nnyumba y’omusajja eyali amanyiddwa nga Simooni Omugenge, ng’atudde, omukazi n’ayingira ng’alina eccupa, eyalimu amafuta ag’akaloosa ag’omuwendo omungi. N’ayasa eccupa n’asiiga amafuta ku mutwe gwa Yesu. |
25202 | LUK 5:26 | Abantu bonna ne bajjula encukwe. Ne bagulumiza Katonda nga bajjudde entiisa nga boogera nti, “Tulabye ebyewuunyisa leero.” |
25301 | LUK 7:37 | Awo omukazi ow’omu kibuga ekyo nga mwonoonyi, eyali ategedde nga Yesu ali mu nju eyo ey’Omufalisaayo, n’aleeta eccupa y’amafuta ag’akaloosa. |
26652 | JHN 12:3 | Awo Maliyamu n’addira eccupa erimu amafuta amalungi ag’akaloosa ag’omugavu, ag’omuwendo omungi, n’agafuka ku bigere bya Yesu n’abisiimuuza enviiri ze. Ennyumba yonna n’ejjula akaloosa k’amafuta ago. |
27690 | ACT 19:36 | Olw’okubanga ebyo tewali abiwakanya, temusaana kwecanga olw’ebyo ebyogerwa, era temusaana kwanguyiriza kukola kya bulabe. |
27796 | ACT 22:24 | Omukulu w’abaserikale n’ayingiza Pawulo munda mu nkambi yaabwe, n’alagira akubwemu embooko nga bwe bamubuuza ayogere omusango gwe yazzizza oguleetedde ekibiina kyonna okwecwacwana. |