Wildebeest analysis examples for:   lug-lug   r    February 11, 2023 at 19:01    Script wb_pprint_html.py   by Ulf Hermjakob

1  GEN 1:1  Ku lubereberye Katonda yatonda eggulu n’ensi.
2  GEN 1:2  Ensi yali njereere nga yeetabuddetabudde, ekizikiza nga kibisse kungulu ku buziba, n’Omwoyo wa Katonda ng’atambulira ku mazzi.
3  GEN 1:3  Awo Katonda n’agamba nti, “Wabeerewo obutangaavu,” ne waba obutangaavu.
5  GEN 1:5  Katonda obutangaavu n’abuyita emisana, n’ekizikiza n’akiyita ekiro. Ne wabaawo akawungeezi ate ne buba enkya. Olwo lwe lunaku olw’olubereberye.
6  GEN 1:6  Era Katonda n’agamba nti, “Wabeewo ebbanga lyawule olufu n’amazzi.”
8  GEN 1:8  Katonda ebbanga n’aliyita eggulu. Ne buba akawungeezi, ate ne buba enkya, olwo lwe lunaku olwokubiri.
9  GEN 1:9  Awo Katonda n’ayogera nti, “Amazzi agali wansi w’eggulu gakuŋŋaanire mu kifo kimu, wabeewo olukalu.” Ne kiba bwe kityo.
10  GEN 1:10  Katonda olukalu n’aluyita ensi, amazzi agakuŋŋaanye go n’agayita ennyanja. Katonda n’alaba nga ky’akoze kirungi.
11  GEN 1:11  Awo Katonda n’agamba nti, “Ensi ereete ebimera: emiti egizaala ensigo mu ngeri yaagyo, emiti egy’ebibala ebibaamu ensigo mu ngeri yaagyo, gibeere ku nsi.” Ne kiba bwe kityo.
12  GEN 1:12  Ensi n’ereeta ebimera: ebimera eby’ensigo ebya buli ngeri, n’emiti egy’ebibala ebya buli ngeri n’ebijja ku nsi. Katonda n’alaba nga ky’akoze kirungi.
14  GEN 1:14  Awo Katonda n’agamba nti, “Wabeewo ebyaka mu bbanga ly’eggulu, okwawula emisana n’ekiro; bibeerenga obubonero okwawulanga ebiro, n’ennaku, n’emyaka.
15  GEN 1:15  Bibeere ebyaka ku ggulu, bireetere ensi obutangaavu.” Ne kiba bwe kityo.
16  GEN 1:16  Katonda n’akola ebyaka ebinene bibiri, ekyaka ekisinga obunene kifugenga emisana, n’ekitono kifugenga ekiro, n’akola n’emmunyeenye.
18  GEN 1:18  enjuba efugenga emisana, omwezi gufugenga ekiro, era byawulenga obutangaavu n’ekizikiza. Katonda n’alaba ng’ekyo kirungi.
20  GEN 1:20  Katonda n’ayogera nti, “Amazzi galeete ebibinja by’ebiramu, n’ebinyonyi bibuukenga waggulu mu bbanga.”
21  GEN 1:21  Bw’atyo Katonda n’akola ebitonde eby’omu nnyanja ebinene ennyo, na buli kiramu ekya buli ngeri eky’omu nnyanja, na buli kinyonyi ekibuuka. Katonda n’alaba nga ky’akoze kirungi.
24  GEN 1:24  Katonda n’ayogera nti, “Ensi ereete ebiramu ebya buli ngeri: ente, n’ebyewalula, n’ensolo ez’omu nsiko eza buli ngeri.” Bwe kityo bwe kyali.
25  GEN 1:25  Katonda n’atonda ensolo ez’oku nsi eza buli ngeri, n’ente eza buli ngeri, na buli ekyewalula ku ttaka ekya buli ngeri. Katonda n’alaba nga ky’akoze kirungi.
26  GEN 1:26  Awo Katonda n’agamba nti, “Tukole omuntu mu kifaananyi kyaffe mu ngeri yaffe. Bafugenga ebyennyanja eby’omu nnyanja, n’ebinyonyi eby’omu bbanga, n’ensolo zonna, n’ensi yonna, era bafugenga na buli ekyewalulira ku nsi kyonna.”
27  GEN 1:27  Bw’atyo Katonda n’atonda omuntu mu kifaananyi kye, mu kifaananyi kya Katonda mwe yamutondera; n’abatonda omusajja n’omukazi.
28  GEN 1:28  Katonda n’abawa omukisa, n’abagamba nti, “Mwale mujjuze ensi, mugifugenga. Mufugenga ebyennyanja ebiri mu nnyanja, n’ebinyonyi eby’omu bbanga na buli kiramu ekitambula ku nsi.”
29  GEN 1:29  Awo Katonda n’agamba nti, “Laba mbawadde buli kimera eky’ensigo ekiri ku nsi na buli muti ogw’ensigo mu kibala kyagwo. Munaabiryanga.
30  GEN 1:30  Mbawadde na buli nsolo ey’oku nsi, na buli kinyonyi eky’omu bbanga na buli ekyewalula, na buli ekissa omukka mbiwa buli kimera, okuba emmere yaabyo.” Bwe kityo bwe kyali.
31  GEN 1:31  Awo Katonda n’alaba byonna by’akoze nga birungi nnyo. Ne buba akawungeezi, ate ne buba enkya, olwo lwe lunaku olwomukaaga.
32  GEN 2:1  Bwe bityo eggulu n’ensi awamu ne byonna ebigirimu ne biggwa okukolwa.
33  GEN 2:2  Ku lunaku olw’omusanvu Katonda yali amaze ebyo byonna bye yali akola; n’awummulira ku lunaku olwo ng’ava ku mirimu gye gyonna gye yakola.
34  GEN 2:3  Bw’atyo Katonda olunaku olw’omusanvu n’aluwa omukisa n’alutukuza; kubanga ku olwo Katonda kwe yawummulira emirimu gye yakola mu kutonda.
35  GEN 2:4  Ebyo bye bifa ku ggulu n’ensi nga bwe byatondebwa, Mukama Katonda we yamalira okutonda eggulu n’ensi.
36  GEN 2:5  Tewaaliwo muddo gwonna ku nsi wadde ekimera kyonna, kubanga Mukama Katonda yali tannatonnyesa nkuba ku nsi era nga tewali muntu ow’okulima ettaka.
37  GEN 2:6  Naye ensulo n’eva mu ttaka n’efukirira ensi yonna.
39  GEN 2:8  Mukama Katonda yali asimbye ennimiro Adeni ku luuyi olw’ebuvanjuba, omuntu gwe yabumba n’amuteeka omwo.
40  GEN 2:9  Mukama Katonda n’ameza mu ttaka buli muti ogusanyusa amaaso era omulungi okulya. N’ateeka omuti ogw’obulamu, n’omuti ogw’okumanya ekirungi n’ekibi wakati mu nnimiro.
41  GEN 2:10  Omugga ne gusibuka mu nnimiro Adeni ne gukulukuta okulufukirira, ne gwanjaalira omwo ne guvaamu emigga ena.
42  GEN 2:11  Erinnya ly’ogusooka Pisoni, gwe gwo ogukulukuta okwetooloola ensi ya Kavira, awali zaabu;
43  GEN 2:12  ne zaabu y’ensi eyo nnungi; mulimu bideriamu n’amayinja onuku.
44  GEN 2:13  Omugga ogwokubiri ye Gikoni, gwe gukulukuta okwetooloola ensi ya Kuusi.
45  GEN 2:14  N’erinnya ly’ogwokusatu ye Tigiriisi ogukulukutira ku buvanjuba bwa Bwasuli. Ogwokuna ye Fulaati.
46  GEN 2:15  Mukama Katonda n’ateeka omuntu mu nnimiro Adeni agirimenga era agikuumenga.
47  GEN 2:16  Mukama Katonda n’alagira omuntu nti, “Emiti gyonna egy’omu nnimiro olyangako,
48  GEN 2:17  naye omuti ogw’okumanya ekirungi n’ekibi ogwo togulyangako, kubanga lw’oligulyako tolirema kufa.”
49  GEN 2:18  Mukama Katonda n’ayogera nti, “Si kirungi omuntu okuba yekka, nnaamukolera omubeezi amusaanira.”
50  GEN 2:19  Naye olwo Mukama Katonda yali amaze okukola ensolo zonna ez’omu nsiko n’ebinyonyi eby’omu bbanga. N’abireeta eri omuntu abituume amannya. Buli kiramu omuntu nga bwe yakiyita, lye lyabeera erinnya lyakyo.
51  GEN 2:20  Bw’atyo omuntu n’atuuma buli nsolo ey’awaka, n’ebinyonyi eby’omu bbanga n’ensolo ez’omu nsiko amannya. Adamu yali tannaba kufunirwa mubeezi.
52  GEN 2:21  Mukama Katonda n’aleetera omusajja otulo tungi nnyo ne yeebaka; bwe yali nga yeebase n’amuggyamu olubirizi lumu, n’azzaawo ennyama.
53  GEN 2:22  Mukama Katonda n’atonda omukazi okuva mu lubiriizi lwe yaggya mu musajja n’amumuleetera.
54  GEN 2:23  Omusajja n’agamba nti, “Lino lye ggumba ery’omu magumba gange, ye nnyama ey’omu nnyama yange, anaayitibwanga mukazi; kubanga aggyibbwa mu musajja.”
55  GEN 2:24  Noolwekyo omusajja ky’anaavanga aleka kitaawe ne nnyina ne yeegatta ne mukazi we, ne bafuuka omubiri gumu.
56  GEN 2:25  Omusajja n’omukazi baali tebambadde, naye nga tewali akwatirwa munne nsonyi.