3 | GEN 1:3 | Awo Katonda n’agamba nti, “Wabeerewo obutangaavu,” ne waba obutangaavu. |
4 | GEN 1:4 | Katonda n’alaba obutangaavu nga bulungi; n’ayawula obutangaavu n’ekizikiza. |
5 | GEN 1:5 | Katonda obutangaavu n’abuyita emisana, n’ekizikiza n’akiyita ekiro. Ne wabaawo akawungeezi ate ne buba enkya. Olwo lwe lunaku olw’olubereberye. |
15 | GEN 1:15 | Bibeere ebyaka ku ggulu, bireetere ensi obutangaavu.” Ne kiba bwe kityo. |
18 | GEN 1:18 | enjuba efugenga emisana, omwezi gufugenga ekiro, era byawulenga obutangaavu n’ekizikiza. Katonda n’alaba ng’ekyo kirungi. |
33 | GEN 2:2 | Ku lunaku olw’omusanvu Katonda yali amaze ebyo byonna bye yali akola; n’awummulira ku lunaku olwo ng’ava ku mirimu gye gyonna gye yakola. |
34 | GEN 2:3 | Bw’atyo Katonda olunaku olw’omusanvu n’aluwa omukisa n’alutukuza; kubanga ku olwo Katonda kwe yawummulira emirimu gye yakola mu kutonda. |
37 | GEN 2:6 | Naye ensulo n’eva mu ttaka n’efukirira ensi yonna. |
38 | GEN 2:7 | Mukama Katonda n’akola omuntu okuva mu nfuufu ey’oku nsi n’amufuuwa mu nnyindo omukka ogw’obulamu. Omuntu n’aba omulamu. |
39 | GEN 2:8 | Mukama Katonda yali asimbye ennimiro Adeni ku luuyi olw’ebuvanjuba, omuntu gwe yabumba n’amuteeka omwo. |
41 | GEN 2:10 | Omugga ne gusibuka mu nnimiro Adeni ne gukulukuta okulufukirira, ne gwanjaalira omwo ne guvaamu emigga ena. |
42 | GEN 2:11 | Erinnya ly’ogusooka Pisoni, gwe gwo ogukulukuta okwetooloola ensi ya Kavira, awali zaabu; |
45 | GEN 2:14 | N’erinnya ly’ogwokusatu ye Tigiriisi ogukulukutira ku buvanjuba bwa Bwasuli. Ogwokuna ye Fulaati. |
53 | GEN 2:22 | Mukama Katonda n’atonda omukazi okuva mu lubiriizi lwe yaggya mu musajja n’amumuleetera. |
55 | GEN 2:24 | Noolwekyo omusajja ky’anaavanga aleka kitaawe ne nnyina ne yeegatta ne mukazi we, ne bafuuka omubiri gumu. |
64 | GEN 3:8 | Awo ne bawulira eddoboozi lya Mukama Katonda ng’atambula mu nnimiro, mu budde obuweeweevu. Omusajja n’omukazi ne beekweka mu miti Mukama Katonda aleme okubalaba. |
74 | GEN 3:18 | Ensi eneekumerezanga amaggwa n’amatovu, onoolyanga ebibala eby’omu nnimiro. |
75 | GEN 3:19 | Mu ntuuyo zo mw’onoggyanga ekyokulya, okutuusa lw’olidda mu ttaka mwe wava, kubanga oli nfuufu ne mu nfuufu mw’olidda.” |
82 | GEN 4:2 | Oluvannyuma n’azaala muganda we Aberi. Aberi n’aba mulunzi, ye Kayini n’abeera mulimi. |
83 | GEN 4:3 | Awo ennaku bwe zaayitawo Kayini n’alyoka aleeta ebibala by’ebimera ebyava mu ttaka okubiwaayo eri Mukama. |
84 | GEN 4:4 | Aberi naye n’aleeta ku baana b’endiga ze ababereberye n’amasavu gaazo. Mukama n’asiima Aberi n’ekiweebwayo kye. |
94 | GEN 4:14 | Laba, ongobye okuva ku nsi ne mu maaso go; era nnaabanga momboze ne buli anandaba ananzita.” |
95 | GEN 4:15 | Awo Mukama n’amugamba nti, “Nedda si bwe kiri. Buli alitta Kayini ndimuwalana emirundi musanvu.” Awo Mukama n’ateeka akabonero ku Kayini, buli amulaba aleme okumutta. |
96 | GEN 4:16 | Kayini n’alyoka ava mu maaso ga Mukama, n’abeera mu nsi ya Enodi ku luuyi olw’ebuvanjuba olwa Adeni. |
103 | GEN 4:23 | Lameka n’agamba bakazi be nti, “Ada ne Zira, muwulire eddoboozi lyange; mwe bakazi ba Lameka, muwulirize kye ŋŋamba; nzise omusajja olw’okunfumita, nga muvubuka, olw’okunkuba. |
104 | GEN 4:24 | Obanga Kayini yawalanirwa emirundi musanvu, mazima Lameka wa kuwalanirwa emirundi nsanvu mu musanvu.” |
113 | GEN 5:7 | Seezi bwe yamala okuzaala Enosi n’awangaala emyaka emirala lunaana mu musanvu n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala. |
118 | GEN 5:12 | Kenani bwe yaweza emyaka nsanvu n’azaala Makalaleri. |
131 | GEN 5:25 | Mesuseera bwe yali nga yaakamala emyaka kikumi mu kinaana mu musanvu n’azaala Lameka. |
132 | GEN 5:26 | Bwe yamala okuzaala Lameka n’awangaala emyaka emirala lusanvu mu kinaana mu ebiri, n’azaala abaana abalala aboobulenzi n’aboobuwala. |
135 | GEN 5:29 | n’amutuuma Nuuwa, ng’agamba nti, “Okuva mu ttaka Mukama lye yakolimira, ono yalituweezaweeza mu mulimu gwaffe, ne mu kutegana kw’emikono gyaffe.” |
137 | GEN 5:31 | Bwe gityo emyaka gyonna Lameka gye yawangaala ne giba lusanvu mu nsanvu mu musanvu. |
147 | GEN 6:9 | Bino bye bifa ku Nuuwa n’ab’omu nju ye: Nuuwa yali muntu mutuukirivu, nga taliiko kya kunenyezebwa mu bantu b’ekiseera kye, n’atambula ne Katonda. |
150 | GEN 6:12 | Katonda n’alaba ensi, era laba, ng’eyonoonese mu kweyisa kwayo kubanga buli muntu yenna yali kyetwala nga tewakyali mutuukirivu. |
152 | GEN 6:14 | Naye ggwe Nuuwa weekolere eryato mu muti gofeeri, okolemu ebisenge, olibikke n’envumbo munda ne kungulu. |
153 | GEN 6:15 | Bw’oti bw’oba olikola: obuwanvu bwalyo mita kikumi mu ana, n’obugazi mita amakumi abiri mu ssatu, n’obugulumivu mita kkumi na ssatu n’ekitundu. |
161 | GEN 7:1 | Awo Mukama n’agamba Nuuwa nti, “Yingira mu lyato, ggwe n’abantu bo bonna, kubanga nkulabye ng’oli mutuukirivu mu mulembe guno. |
162 | GEN 7:2 | Twala ku buli nsolo ennongoofu musanvu musanvu ensajja n’enkazi, |
163 | GEN 7:3 | era ne ku binyonyi eby’omu bbanga musanvu musanvu ekisajja n’ekikazi, okukuuma olulyo lwabyo ku nsi. |
164 | GEN 7:4 | Bwe waliyitawo ennaku musanvu nditonnyesa enkuba ku nsi emisana n’ekiro okumalira ddala ennaku amakumi ana, era ndizikiriza buli kintu ekiramu kye natonda ku nsi.” |
170 | GEN 7:10 | Awo olwatuuka oluvannyuma lw’ennaku ziri omusanvu, amataba ne gatandika ku nsi. |
171 | GEN 7:11 | Mu mwaka ogw’olukaaga ogw’obulamu bwa Nuuwa, mu mwezi ogwokubiri, ku lunaku olw’ekkumi n’omusanvu olw’omwezi, ku lunaku olwo ensulo zonna ez’omu nnyanja ennene, ne ziggulwa lumu n’ebituli byonna eby’eggulu. |
179 | GEN 7:19 | Amazzi ne gatumbiira nnyo nnyini ku nsi, n’ensozi zonna empanvu wansi w’eggulu lyonna amazzi ne gazibikka. |
180 | GEN 7:20 | Amazzi ne gatumbiira ne gabikka ensozi ne zibulira wansi mu mazzi mita nga musanvu. |
186 | GEN 8:2 | ensulo eza wansi w’ensi n’ebituli eby’eggulu ne biggalibwa, n’enkuba eva mu ggulu n’eziyizibwa, |
188 | GEN 8:4 | ne mu mwezi ogw’omusanvu, ku lunaku lwagwo olw’ekkumi n’omusanvu, eryato ne litereera ku nsozi eza Alalaati. |
190 | GEN 8:6 | Oluvannyuma lw’ennaku amakumi ana Nuuwa n’aggula eddirisa lye yakola ku lyato |
192 | GEN 8:8 | Oluvannyuma n’atuma ejjuba ne liva w’ali okulaba ng’amazzi gakalidde ku nsi; |
194 | GEN 8:10 | N’alinda ennaku endala musanvu n’atuma ate ejjuba okuva mu lyato; |
196 | GEN 8:12 | Ate n’alinda ennaku endala musanvu, n’asindika ejjuba, naye ku mulundi guno teryadda. |
198 | GEN 8:14 | Ku lunaku olw’amakumi abiri mu omusanvu olw’omwezi ogwokubiri ensi yali ekalidde. |
200 | GEN 8:16 | “Vva mu lyato, ggwe, ne mukazi wo, ne batabani bo ne bakazi baabwe. |
203 | GEN 8:19 | N’ensolo n’ebitonde byonna ebitambula ku ttaka, n’ebinyonyi byonna, byonna ne biva mu lyato bibiri bibiri mu bibinja. |
205 | GEN 8:21 | Mukama n’awulira akawoowo akalungi akamusanyusa, n’ayogera mu mutima gwe nti, “Sikyaddayo kukolimira nsi olw’omuntu, newaakubadde ng’endowooza y’omutima gwe mbi okuva mu buto bwe. Sikyaddayo na kuzikiriza bitonde byonna ebiramu, nga bwe nkoze. |
206 | GEN 8:22 | “Ensi ng’ekyaliwo, okusiga n’amakungula, obunnyogovu n’ebbugumu, ebiseera eby’omusana n’eby’obutiti, emisana n’ekiro, tebiggwengawo.” |
211 | GEN 9:5 | Era ndivunaana ayiwa omusaayi gwammwe ne nvunaana n’omuntu olw’omusaayi gw’ensolo ne muvunaana n’olw’omusaayi gwa muntu munne. |
215 | GEN 9:9 | nti, “Laba nkola endagaano yange nammwe ne bonna abaliva mu mmwe oluvannyuma lwammwe, |
216 | GEN 9:10 | era na buli kitonde ekiramu ekiri naawe: ebinyonyi, n’ensolo ez’awaka n’ez’omu nsiko zonna, ne byonna bye muvudde nabyo mu lyato, ne buli kitonde kyonna ku nsi. |
224 | GEN 9:18 | Batabani ba Nuuwa abaava mu lyato ye Seemu, ne Kaamu ne Yafeesi. Kaamu ye yali kitaawe wa Kanani. |
225 | GEN 9:19 | Bonna abasatu be baali batabani ba Nuuwa; era okuva mu bano ensi yonna yajjula abantu. |
234 | GEN 9:28 | Oluvannyuma lw’amataba Nuuwa yawangaala emyaka emirala ebikumi bisatu mu ataano. |
236 | GEN 10:1 | Bano be bazzukulu ba Nuuwa, Seemu ne Kaamu, ne Yafeesi be baazaala oluvannyuma lw’amataba. |
237 | GEN 10:2 | Batabani ba Yafeesi: Gomeri, ne Magogi, ne Madayi, ne Yivani, ne Tubali ne Meseki ne Tirasi. |
239 | GEN 10:4 | Batabani ba Yivani baali: Erisa, ne Talusiisi, ne Kittimu ne Dodanimu. |
240 | GEN 10:5 | (Mu bano mwe mwava abo abaabuna olubalama lw’ennyanja. Bano be batabani ba Yafeesi mu bitundu byabwe, buli bamu mu nnimi zaabwe ng’ennyumba zaabwe n’amawanga gaabwe bwe biri.) |
242 | GEN 10:7 | Batabani ba Kuusi be bano: Seeba, ne Kavira, ne Sabuta, ne Laama ne Sebuteka. Batabani ba Laama baali: Seeba ne Dedani. |
244 | GEN 10:9 | Yali muyizzi kkungwa, mu maaso ga Mukama, kyekyava kigambibwa nti, “Afaanana Nimuloodi omuyizzi kkungwa mu maaso ga Mukama.” |
246 | GEN 10:11 | Bwe yava mu nsi eyo n’agenda mu Bwasuli, n’azimba Nineeve, ne Lekobosiyira, ne Kala ne |
247 | GEN 10:12 | Leseni, wakati wa Nineeve ne Kala; Leseni kye kyali ekibuga ekikulu. |
249 | GEN 10:14 | ne Pasulusimu, ne Kasulukimu (omwava Abafirisuuti) ne Kafutorimu. |
252 | GEN 10:17 | n’Abakiivi, n’Abaluki, n’Abasiini, |
253 | GEN 10:18 | n’Abaluvada, n’Abazemali, n’Abakamasi n’ebika eby’omu Kanani ne babuna wonna. |
254 | GEN 10:19 | Ekitundu kya Kanani kyava ku Sidoni, okwolekera Gerali n’okutuukira ddala e Gaza okwolekera Sodomu, ne Ggomola, ne Aduma, ne Zeboyimu okutuukira ddala e Lasa. |
256 | GEN 10:21 | Seemu kitaawe w’abo bonna abaava mu Eberi, mukulu wa Yafeesi naye yazaalirwa abaana. |
261 | GEN 10:26 | Yokutaani ye yali kitaawe wa Alumodaadi, ne Serefu, ne Kazalumaveesi, ne Yera, |
264 | GEN 10:29 | ne Ofiri, ne Kavira ne Yobabu; bano bonna baali batabani ba Yokutaani. |
265 | GEN 10:30 | Ekitundu mwe baali kyava ku Mesa okwolekera Serali, okutuukira ddala ku kitundu eky’ensozi ku luuyi olw’ebuvanjuba. |
267 | GEN 10:32 | Abo ze nnyumba za batabani ba Nuuwa ng’okuzaalibwa kwabwe bwe kwali, n’amawanga gaabwe; era okuva mu bano amawanga gonna mwe gaayalira ne gabuna ensi yonna oluvannyuma lw’amataba. |
269 | GEN 11:2 | Abantu bwe baava oluuyi olw’ebuvanjuba ne batuuka mu lusenyi nsi ya Sinaali ne babeera omwo. |
276 | GEN 11:9 | Ekibuga ekyo erinnya lyakyo kye lyava liyitibwa Babiri, kubanga eyo Mukama gye yatabuliratabulira olulimi lw’ensi yonna. Eyo Mukama gye yabasaasaanyiza okubuna ensi yonna. |
277 | GEN 11:10 | Bino bye bifa ku b’olulyo lwa Seemu: Seemu bwe yali ng’aweza emyaka kikumi, n’azaala Alupakusaadi nga wakayita emyaka ebiri okuva ku mataba. |
288 | GEN 11:21 | N’awangaala emyaka emirala ebikumi bibiri mu musanvu. Omwo n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala. |
293 | GEN 11:26 | Teera bwe yaweza emyaka nsanvu, n’azaala Ibulaamu, ne Nakoli ne Kalani. |
298 | GEN 11:31 | Teera n’atwala Ibulaamu mutabani we Lutti muzzukulu we mutabani wa Kalani, ne Salaayi muka mutabani we Ibulaamu, ne bagenda bonna okuva mu Uli eky’Abakaludaaya okugenda mu nsi ya Kalani; bwe baatuuka mu Kalani, ne babeera omwo. |