Wildebeest analysis examples for:   lug-lug   Word!”    February 11, 2023 at 19:01    Script wb_pprint_html.py   by Ulf Hermjakob

387  GEN 16:5  Salaayi n’agamba Ibulaamu nti, “Ekibi ekinkoleddwako kibeere ku ggwe. Nakuwa omuweereza wange mu kifuba kyo naye bw’alabye ng’ali lubuto n’annyooma. Mukama atulamule nze naawe!”
416  GEN 17:18  Ibulayimu n’agamba Katonda nti, “Isimayiri abeerenga mulamu mu maaso go!”
478  GEN 19:20  Laba, ekibuga kiri ekitono ekiri okumpi, kirungi okuddukira omwo. Leka nzirukire eyo. Era n’obulamu bwange bujja kuwona!”
559  GEN 22:11  Naye malayika wa Mukama n’amukoowoola ng’asinziira mu ggulu, n’agamba nti, “Ibulayimu! Ibulayimu!” Ibulayimu n’addamu nti, “Nze nzuuno.” N’amugamba nti,
832  GEN 30:1  Laakeeri bwe yalaba nga tazaalidde Yakobo baana, n’akwatirwa muganda we obuggya; n’agamba Yakobo nti, “Mpa abaana oba si ekyo nzija kufa!”
842  GEN 30:11  Leeya n’agamba nti, “Guno mukisa gwennyini!” Kwe kumutuuma Gaadi.
1281  GEN 42:28  n’agamba baganda be nti, “Ensimbi zange baazinzirizza, ziizino mu kamwa k’ensawo yange!” Ekyo ne kibeeralikiriza, buli omu n’atandika okutya, nga bwe bagamba nti, “Kiki kino Katonda ky’atukoze!”
1289  GEN 42:36  Yakobo kitaabwe n’abagamba nti, “Munzigyeko abaana bange: Yusufu taliiwo, ne Simyoni taliiwo ne kaakano mwagala muntwaleko Benyamini!”
1584  EXO 3:4  Mukama bwe yalaba nga Musa agenze okwetegereza, Katonda n’amuyita ng’asinziira mu kisaka wakati nti, “Musa, Musa!” Musa n’ayitaba nti, “Nze nzuuno.”
1627  EXO 4:25  Naye Zipola n’addira ejjinja eryogi, n’akomola omwana we, ekikuta n’akisuula ku bigere bya Musa, n’amugamba nti, “Oli baze wa musaayi!”
1628  EXO 4:26  Awo Mukama n’amuleka. Mu kaseera ako Zipola we yayogerera ku kukomola nti, “Baze wange ng’osaabye omusaayi!”
1849  EXO 12:32  Mutwale amagana gammwe n’ebisibo byammwe nga bwe mwansaba, mugende; nange munsabirangayo omukisa!”
1850  EXO 12:33  Awo Abamisiri ne basindiikiriza abaana ba Isirayiri banguwe okubaviira mu nsi yaabwe; kubanga baagamba nti, “Ffenna tufa tuggwaawo!”
2443  EXO 32:4  Alooni n’azisaanuusa; zaabu eyavaamu n’agibumbamu ennyana, ng’agirongoosa n’ekyuma. Ne balyoka boogera nti, “Bano be bakatonda bo ggwe Isirayiri abaakuggya mu nsi y’e Misiri!”
4031  NUM 11:6  Naye kaakano n’okwoya emmere kutuweddemu, buli we tukuba eriiso tulaba mmaanu eno!”
4043  NUM 11:18  “Abantu bagambe nti, ‘Mwetukuze nga mwetegekera olunaku lw’enkya, lwe mujja okulya ennyama. Kubanga Mukama Katonda yabawulira nga mumukaabirira bwe muti nti, “Singa tufunye ku nnyama ne tulyako! Bwe twali mu Misiri twali bulungi!” Noolwekyo Mukama ajja kubawa ennyama mugirye.
4054  NUM 11:29  Naye Musa n’amugamba nti, “Okwatiddwa obuggya ku lwange? Kyandibadde kirungi singa abantu ba Mukama bonna bannabbi, ne Mukama Katonda n’abawa omwoyo gwe!”
4202  NUM 16:7  enkya mubiteekemu omuliro n’obubaane awali Mukama, oyo Mukama Katonda gw’anaalondamu, nga ye mutukuvu. Mmwe batabani ba Leevi mwekulumbazizza nnyo!”
4229  NUM 16:34  Abayisirayiri bonna abaaliwo bwe baabawulira nga bakaaba ne badduka nga bwe bagamba nti, “Si kulwa nga naffe ensi etumira!”
4317  NUM 20:5  Lwaki watuggya mu nsi y’e Misiri okutuleeta mu kifo kino ekibi bwe kiti? Tekiriimu mmere ya mpeke wadde ttiini, so si kifo kya mizabbibu, so si kya mikomamawanga. Tewali na mazzi ge tuyinza kunywako!”
4428  NUM 23:11  Balaki n’agamba Balamu nti, “Onkoze ki kino? Nakuyita kujja kukolimira balabe bange, naye obw’edda bwonna obadde obasabira mukisa!”
4456  NUM 24:9  Ng’empologoma ensajja, beekulula ne bagalamira wansi, ng’empologoma enkazi; ani ayaŋŋanga okubagolokosa? “Akusabiranga omukisa aweebwenga omukisa n’oyo akukolimira akolimirwenga!”
5680  DEU 28:67  Mu makya onoogambanga nti, “Singa nno bubadde kiro!” Ate ekiro ng’ogamba nti, “Singa nno bubadde makya!” olw’okutya okunajjulanga mu mutima gwo, n’ebyo amaaso go bye ganaalabanga.
5819  DEU 33:7  Kino kye yayogera ku Yuda: “Wulira, Ayi Mukama Katonda okukaaba kwa Yuda; omuleete eri abantu be. Yeerwaneko n’emikono gye. Omuyambenga ng’alwanyisa abalabe be!”
6457  JOS 22:29  Kikafuuwe ffe okujeemera Mukama era n’okumuvaako leero ne tutamugoberera nga tuzimba ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa, oba ebiweebwayo eby’empeke, oba ssaddaaka, ekitali kyoto kya Mukama Katonda waffe ekiri mu maaso ga Ssanduuko y’Endagaano ye!”
6792  JDG 9:36  Awo Gaali bwe yabalaba, n’agamba Zebbuli nti, “Laba abantu nga bava ku nsozi waggulu!” Zebbuli n’amuddamu nti, “Ebisiikirize eby’ensozi by’olaba ng’abantu.”
7170  RUT 2:19  Nnyazaala we yasanyuka nnyo, era n’amubuuza nti, “Wakoze mu nnimiro y’ani leero? Aweebwe omukisa oyo akukwatiddwa ekisa!” Awo Luusi n’abuulira nnyazaala we nannyini nnimiro mwe yakoze, n’erinnya ly’omwami nga ye Bowaazi.
7202  RUT 4:10  Era ne Luusi Omumowaabu, nnamwandu wa Maloni, naye mututte okuba mukazi wange, okusobola okukuuma erinnya ly’omugenzi Erimereki n’ebintu bye, erinnya lye lireme okufiira awo ate n’okugibwa ne ligibwa mu bitabo bye byafaayo eby’ekibuga. Mmwe bajulirwa!”
7282  1SA 3:4  Awo Mukama n’akoowoola Samwiri nti, “Samwiri, Samwiri!” N’addamu nti, “Nze nzuuno.”
7288  1SA 3:10  Mukama n’ajja nate, n’amukoowoola ng’olubereberye nti, “Samwiri! Samwiri!” Samwiri n’addamu nti, “Yogera, Ayi Mukama kubanga omuweereza wo awulira.”
7490  1SA 13:3  Yonasaani n’alumba olusiisira lw’Abafirisuuti eyali e Geba, Abafirisuuti ne bakiwulira. Awo Sawulo n’alagira, bafuuwe ekkondeere mu nsi yonna, ng’agamba nti, “Abaebbulaniya bawulire!”
7506  1SA 13:19  Mu nsi yonna eya Isirayiri temwali muweesi n’omu, kubanga Abafirisuuti baali baasalawo nti, “Si kulwa ng’Abaebbulaniya beeweeseza ebitala oba amafumu!”
7554  1SA 14:44  Sawulo n’amuddamu nti, “Katonda ankole bw’atyo n’okukirawo bw’otoofe, Yonasaani!”
7850  1SA 24:9  Oluvannyuma, Dawudi naye n’afuluma empuku, n’akoowoola Sawulo ng’ayogera nti, “Mukama wange kabaka!” Awo Sawulo n’akyuka n’atunula emabega, Dawudi n’avuunama n’akka wansi ne yeeyala ku ttaka.
7877  1SA 25:13  Dawudi n’agamba abasajja be nti, “Mwesibe buli muntu ekitala kye!” Buli omu ku bo ne yeesiba ekitala kye, ne Dawudi ne yeesiba ekikye, abasajja nga bikumi bina ne bayambuka ne Dawudi, ebikumi bibiri ne basigala nga bakuuma eby’okukozesa.
7957  1SA 28:12  Omukazi bwe yalaba Samwiri, n’ayogerera waggulu, n’agamba Sawulo nti, “Lwaki onimbye? Ggwe Sawulo!”
8052  2SA 1:27  “Ab’amaanyi nga bagudde, n’ebyokulwanyisa nga bizikiridde!”
8123  2SA 3:39  Era leero, newaakubadde nga nze kabaka eyafukibwako amafuta, ndimunafu olw’abaana ba Zeruyiya abampitiriddeko obukakanyavu. Mukama asasule bw’atyo omukozi w’ebibi olw’ebikolwa bye!”
8310  2SA 12:21  Abaddu be ne bamubuuza nti, “Kiki ekyo ky’okola? Omwana bwe yali omulamu, wasiiba n’okaaba, naye kati afudde, ogolokose, olya!”
8437  2SA 16:8  Mukama akusasudde olw’omusaayi gwonna gwe wayiwa mu nnyumba ya Sawulo, gwe waddira mu bigere. Mukama obwakabaka abugabidde mutabani wo Abusaalomu. Laba ekikutuusizza kw’ekyo, kubanga engalo zo zijjudde omusaayi!”
8445  2SA 16:16  Awo Kusaayi Omwaluki, mukwano gwa Dawudi, n’ajja eri Abusaalomu n’ayogera nti, “Kabaka awangaale! Kabaka awangaale!”
8514  2SA 19:1  Kabaka n’afuna ensisi, n’ayambuka mu kisenge ekyali waggulu wa wankaaki, n’akaaba. N’agenda nga bw’ayogera nti, “Mutabani wange Abusaalomu, mutabani wange, mutabani wange Abusaalomu. Singa nze nfudde mu kifo kyo, Abusaalomu, mutabani wange!”
8518  2SA 19:5  Kabaka n’abikka amaaso ge n’akaaba n’eddoboozi ddene nti, “Mutabani wange Abusaalomu! Woowe Abusaalomu mutabani wange!”
8558  2SA 20:1  Waaliwo omusajja omujeemu erinnya lye Seba, mutabani wa Bikuli, Omubenyamini. Yafuuwa ekkondeere n’ayogerera n’eddoboozi ery’omwanguka nti, “Tetulina mugabo mu Dawudi, so tetulina busika mu mutabani wa Yese! Buli muntu adde mu weema ye, ggwe Isirayiri!”
8751  1KI 1:31  Awo Basuseba n’avuunama ku ttaka mu maaso ga kabaka ng’agamba nti, “Mukama wange Kabaka Dawudi awangaale emirembe gyonna!”
8757  1KI 1:37  Mukama nga bwe yabeeranga ne mukama wange kabaka, abeere ne Sulemaani okufuula entebe ye ey’obwakabaka ey’ekitiibwa n’okusinga entebe ey’obwakabaka eya mukama wange Kabaka Dawudi!”
8795  1KI 2:22  Kabaka Sulemaani n’addamu nnyina nti, “Lwaki osabira Adoniya, Abisaagi Omusunammu? Musabire n’obwakabaka, ate obanga ye mukulu wange; ky’ekyo, sabira ye, ne Abiyasaali kabona ne Yowaabu mutabani wa Zeruyiya!”
8797  1KI 2:24  Kale nga Mukama bw’ali omulamu, oyo annywezezza ku ntebe ey’obwakabaka eya kitange Dawudi, era ampadde olulyo nga bwe yasuubiza, Adoniya anattibwa leero!”
8845  1KI 3:26  Nnyina w’omwana omulamu n’ajjula ennaku olw’omwana we, n’agamba kabaka nti, “Nkwegayiridde mukama wange, omwana omulamu mumuwe! Tomutta!” Naye omukazi oli n’agamba nti, “Tajja kuba wange oba wuwo. Mumusalemu!”
9217  1KI 13:30  N’ateeka omulambo gwe mu ntaana ye ye, ne bamukungubagira nga bakaaba nti, “Woowe, muganda wange!”
9341  1KI 17:21  Eriya ne yeegololera ku mulenzi emirundi esatu, n’akaabira Mukama ng’agamba nti, “Ayi Mukama Katonda wange, obulamu bw’omulenzi ono bukomewo nate!”
9343  1KI 17:23  Awo Eriya n’asitula omwana n’amuserengesa okuva mu kisenge n’amuleeta mu nnyumba, n’amuwa nnyina, n’amugamba nti, “Laba mutabani wo mulamu!”
9358  1KI 18:14  Kaakano, oŋŋamba ŋŋende ewa mukama wange mugambe nti, ‘Eriya ali wano.’ Ajja kunzita!”
9370  1KI 18:26  Ne batwala ente ebaweereddwa ne bagiteekateeka. Oluvannyuma ne bakoowoola erinnya lya Baali okuva ku makya okutuusa mu ttuntu. Ne baleekaanira waggulu nti, “Ayi Baali, otuwulire!” Naye ne wataba kuddibwamu, newaakubadde eddoboozi lyonna. Ne bazina nga beetooloola ekyoto kye baali bakoze.
9383  1KI 18:39  Awo abantu bonna bwe baakiraba, ne bavuunama ne bakaaba nnyo nga bagamba nti, “Mukama, ye Katonda! Mukama, ye Katonda!”
9474  1KI 21:20  Akabu n’agamba Eriya nti, “Onsanze, ggwe omulabe wange!” N’amuddamu nti, “Nkusanze, kubanga weewaddeyo okukola ebibi mu maaso ga Mukama.
9547  2KI 1:10  Eriya n’addamu omukulu w’ekibinja nti, “Obanga ndi musajja wa Katonda, omuliro guve mu ggulu gukwokye ggwe n’ekibinja kyo!” Awo omuliro ne guva mu ggulu ne gumwokya ye n’ekibinja kye.
9567  2KI 2:12  Awo Erisa bwe yalaba ekyo, n’ayogerera waggulu nti, “Kitange, Kitange, amagaali n’abeebagala embalaasi aba Isirayiri!” Erisa n’ataddamu kumulaba nate. N’addira engoye ze yali ayambadde, n’aziyuzaayuza.
9626  2KI 4:19  N’amutegeeza nti, “Omutwe gunnuma, omutwe gunnuma!” Kitaawe n’agamba omu ku baddu be nti, “Mutwalire maama we.”
9683  2KI 6:5  Naye omu ku bo bwe yali ng’atema omuti, omutwe gw’embazzi ye ne gusowokamu ne gugwa mu mazzi, n’ayogerera waggulu nti, “Ayi mukama wange, nagyeyazise bweyazisi!”
9704  2KI 6:26  Awo kabaka wa Isirayiri yali ayita okumpi ne bbugwe, omukazi omu n’ayogerera mu ddoboozi ery’omwanguka ng’agamba nti, “Nnyamba mukama wange kabaka!”
9709  2KI 6:31  N’ayogera nti, “Katonda ankole bw’atyo n’okusingawo, omutwe gwa Erisa mutabani wa Safati bwe gunaabeera ku bibegabega bye leero!”
9783  2KI 9:23  Amangwago Yolaamu n’akyusa n’adduka, ng’akoowoola Akaziya ng’agamba nti, “Akaziya waliwo olukwe!”
9787  2KI 9:27  Awo Akaziya kabaka wa Yuda bwe yalaba ebyabaawo, n’addukira mu kkubo ery’omu nnyumba ey’ennimiro. Yeeku n’amugoba, nga bw’ayogerera waggulu nti, “Naye mumutte!” Ne bamulasa, ne bamuleetako ekiwundu ng’addukira e Guli ekiriraanye Ibuleamu, ng’ali mu ggaali lye, naye n’asobola okutuuka e Megiddo, era eyo gye yafiira.
9793  2KI 9:33  N’ayogera nti, “Mumusuule wansi!” Ne bamusuula wansi, n’omusaayi gwe ogumu ne gumansukira ekisenge ne ku mbalaasi, n’okumulinyirira ne zimulinnyirira.
9845  2KI 11:12  Awo Yekoyaada n’afulumya mutabani wa kabaka, n’amutikkira engule, n’amuwa n’endagaano gye baali bakoze, ne bamufuula kabaka. N’afukibwako amafuta, abantu ne bakuba mu ngalo nga bwe bayogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Wangaala kabaka!”
9847  2KI 11:14  Bwe yatunula, laba, nga kabaka ayimiridde awali empagi, ng’empisa bwe yabanga, n’abaami n’abafuuwa amakondeere nga bayimiridde okuliraana kabaka, n’abantu bonna ab’omu nsi nga basanyuka era nga bwe bafuuwa amakondeere. Awo Asaliya n’ayuza ebyambalo bye, n’aleekaanira waggulu nti, “Bujeemu, bujeemu!”
9889  2KI 13:14  Awo mu biro ebyo Erisa n’alwala nnyo, endwadde eyamutta, Yowaasi n’aserengeta gy’ali okumulaba, n’akaabira amaziga, mu maaso ge ng’agamba nti, “Kitange, Kitange, amagaali n’abeebagala embalaasi aba Isirayiri!”
10856  1CH 16:31  Eggulu lisanyuke, n’ensi ejaguze; boogere mu mawanga nti, “Mukama afuga!”
11672  2CH 23:11  Awo Yekoyaada ne batabani be ne bafulumya mutabani wa kabaka ne bamutikkira engule ey’obwakabaka, ne bakola endagaano, era ne bamulangirira okuba kabaka. Ne bamufukako amafuta, ne boogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Wangaala kabaka!”
11674  2CH 23:13  N’atunula, laba, kabaka ng’ayimiridde okuliraana empagi ye ku mulyango, n’abakungu n’abafuuwa amakondeere nga bayimiridde okumwetooloola, era nga n’abantu bonna ab’ensi nga basanyuka nga bafuuwa n’amakondeere, n’abayimbi nga bakutte ebivuga byabwe nga bakulembedde okujaguza. Awo Asaliya n’ayuza ebyambalo bye, n’aleekaanira waggulu nti, “Bujeemu! Bujeemu!”
12394  NEH 5:7  Ne mbirowoozaako, ne nnenya abakungu n’abafuzi. Ne mbagamba nti, “Muggya omusolo ku baganda bammwe ne mukola amagoba!” Kyennava mpita olukuŋŋaana olunene okugonjoola ensonga ezo,
12395  NEH 5:8  ne mbagamba nti, “Twakola kye tusobola okununula baganda baffe Abayudaaya abaatundibwa mu bannamawanga, naye mmwe mutunda baganda bammwe, ffe ne tubagula okuva ku be mubaguzizza!” Ne basiriikirira, kubanga tebaalina kyakuddamu.
12400  NEH 5:13  Ne nkunkumula ne nsawo ez’ekyambalo kyange ne njogera nti, “Mukama Katonda akole bw’atyo ennyumba y’omuntu oyo, n’eby’obugagga bwe abimuggyeko, ataakole nga bw’asuubizza. Omuntu oyo akunkumulibwe bw’atyo aleme okusigaza ekintu!” Olukuŋŋaana lwonna ne baddamu nti, “Amiina, era Mukama yeebazibwe.” Abantu ne bakola nga bwe baasuubiza.
12503  NEH 8:6  Ezera ne yeebaza Mukama Katonda omukulu; abantu bonna ne bayimusa emikono gyabwe ne baddamu nti, “Amiina! Amiina!” Ne bavuunama amaaso gaabwe ku ttaka ne basinza Mukama.
12884  JOB 1:11  Kale geza okwate ku by’alina obimuggyeko olabe nga taakwegaane nga n’ensi yonna eraba!”
12904  JOB 2:9  Kyokka mukyala we n’amugamba nti, “Okyagugubidde ku butuukirivu bwo? Weegaane Katonda ofe!”
13393  JOB 21:34  “Kaakano musobola mutya okuŋŋumya n’ebitaliimu? Tewali kisigaddeyo ku bye mwanzizeemu wabula obulimba!”
13471  JOB 25:6  Ate omuntu obuntu oyo envunyu obuvunyu, omwana w’omuntu, oyo olusiriŋŋanyi, ayinza atya okwelowooza nti mulongoofu!”
14229  PSA 22:9  “Yeesiga Mukama; kale amuwonye. Obanga Mukama amwagala, kale nno amulokole!”
14334  PSA 29:9  Eddoboozi lya Mukama linyoolanyoola emivule, n’emiti mu bibira ne gitasigalako makoola. Mu Yeekaalu ye, abantu bonna boogerera waggulu nti, “Ekitiibwa kibe eri Mukama!”
14455  PSA 35:25  Tobaleka kulowooza nti, “Leero luno! Kino kye twali twagala!” Oba nti, “Tumusaanyizzaawo!”
15030  PSA 70:5  Naye bonna abakunoonya basanyukenga bajagulizenga mu ggwe. Abo abaagala obulokozi bwo boogerenga bulijjo nti, “Katonda agulumizibwenga!”
15111  PSA 74:8  Baateesa nga bagamba nti, “Tujja kubazikiririza ddala!” Baayokya dda amasinzizo ga Katonda gonna agali mu nsi eno.
15306  PSA 83:5  Bagamba nti, “Mujje eggwanga lyabwe tulizikirize, n’erinnya lya Isirayiri lireme okujjukirwanga emirembe gyonna!”
15953  PSA 118:16  Omukono gwa Mukama ogwa ddyo gugulumizibbwa; omukono gwa Mukama ogwa ddyo gutukoledde ebikulu!”
16158  PSA 122:1  Nasanyuka bwe baŋŋamba nti, “Tugende mu nnyumba ya Mukama!”
16712  PRO 9:4  “Buli atalina kutegeera akyameko wano!” Eri abo abatalina magezi gabagamba nti,
17046  PRO 20:22  Toyogera nti, “Nzija kukusasula olw’ekibi kino!” Lindirira Mukama alikuyamba.
17224  PRO 26:13  Omugayaavu agamba nti, “Mu kkubo eriyo empologoma, empologoma enkambwe eyita mu luguudo!”
17336  PRO 30:15  Ekinoso kirina bawala baakyo babiri abaleekaana nti, “Mpa! mpa!” Waliwo ebintu bisatu ebitakkuta, weewaawo bina ebitagamba nti, “Matidde,”
17337  PRO 30:16  Amagombe, olubuto olugumba, ettaka eritakutta mazzi, n’omuliro ogutayogera nti, “Ebyo binaamala!”
17387  ECC 1:2  “Obutaliimu! Obutaliimu!” bw’ayogera Omubuulizi. Byonna butaliimu.
17783  ISA 3:6  Ekiseera kirituuka omusajja agambe muganda we nti, “Ggwe alina ku ngoye ba omukulembeze waffe, n’ebizibu bino ggwe oba obyetikka!”
17784  ISA 3:7  Naye ku olwo lwennyini aliddamu nti, “Si nze n’aba ow’okubawonya, mu nnyumba yange temuli mmere, wadde ebyambalo. Temumpa kukulembera bantu!”
17847  ISA 6:8  Ne mpulira eddoboozi lya Mukama ng’abuuza nti, “Naatuma ani, era ani anaagenda ku lwaffe?” Ne ndyoka njogera nti, “Nze wendi! Tuma nze!”
18008  ISA 14:10  Abo bonna balyogera ne bakugamba nti, “Naawe oweddemu amaanyi nga ffe! Naawe ofuuse nga ffe!”
18015  ISA 14:17  Eyafuula ensi okuba eddungu n’asuula ebibuga byayo, atakkirizanga bawambe kudda waabwe!”
18499  ISA 40:9  Ggwe abuulira Sayuuni ebigambo ebirungi, werinnyire ku lusozi oluwanvu; ggwe abuulira Yerusaalemi ebigambo ebirungi, yimusa eddoboozi lyo n’amaanyi, liyimuse oyogere, totya. Gamba ebibuga bya Yuda nti, “Laba Katonda wammwe ajja!”
18527  ISA 41:6  Buli muntu yayamba muliraanwa we ng’agamba nti; “Guma omwoyo!”