57 | GEN 3:1 | Kale nno omusota gwali mukalabakalaba okukira ensolo zonna ez’omu nsiko, Mukama Katonda ze yatonda. Ne gugamba omukazi nti, “Kazzi Katonda yagamba nti, ‘Temulyanga ku muti gwonna ogw’omu nnimiro!’ ” |
1347 | GEN 44:22 | Twategeeza mukama wange nti, ‘Omulenzi tayinza kuva ku kitaawe, kubanga bw’amuvaako, kitaawe alifa bufi!’ |
1649 | EXO 5:16 | Abaddu bo tetuweebwa ssubi, kyokka tulagirwa nti, ‘Mubumbe amatoffaali!’ Abaddu bo tukubibwa, so ng’omusango guli mu bantu bo.” |
1957 | EXO 16:9 | Awo Musa n’agamba Alooni nti, “Tegeeza ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri nti, ‘Musembere awali Mukama, kubanga awulidde okwemulungunya kwammwe!’ ” |
2447 | EXO 32:8 | bavudde mangu mu kkubo lye nabalagira; beekoledde ennyana ensaanuuse ne bagisinza, ne bagireetera ebiweebwayo, ne boogera nti, ‘Bano be bakatonda bo, ggwe Isirayiri, abaakuggya mu nsi y’e Misiri!’ ” |
3098 | LEV 13:45 | “Omuntu anaalwalanga ebigenge anaayambalanga engoye njulifu, n’enviiri z’oku mutwe gwe anaazirekanga ne zikula ne ziduumuuka, anaabikkanga ku mumwa gwe ogw’engulu n’atambula nga bw’aleekaana nti, ‘Siri mulongoofu! Siri mulongoofu!’ |
4038 | NUM 11:13 | Ennyama abantu bano bonna gye banaalya nnaagiggya wa? Kubanga baneetayirira nga bankaabirira nti, ‘Tuwe ennyama tulye!’ |
4046 | NUM 11:21 | Musa n’agamba nti, “Abantu bano mwe ndi bawera omuwendo gwa mitwalo nkaaga abatambuza ebigere, naawe ogamba nti, ‘Nzija kubawa ennyama gye banaalya okumala omwezi mulamba!’ |
8745 | 1KI 1:25 | Olwa leero aserengese, era asse ente, n’ebyassava n’endiga nnyingi, era ayise abaana ba kabaka bonna n’abakulu b’eggye ne Abiyasaali kabona. Mu kiseera kino balya era banywera wamu naye, nga boogera nti, ‘Kabaka Adoniya awangaale!’ |
8767 | 1KI 1:47 | N’abakungu ba kabaka bazze okusanyukirako mukama waffe Kabaka Dawudi, nga boogera nti, ‘Katonda wo afuule erinnya lya Sulemaani ekkulu n’okusinga eriryo era n’entebe ye ey’obwakabaka enkulu n’okusinga eyiyo!’ Era Kabaka akutamye ng’asinza ku kitanda kye, |
12806 | EST 6:9 | Ebyambalo n’embalaasi bikwasibwe omu ku bakungu kabaka basinga okuwa ekitiibwa, n’oluvannyuma omusajja oyo kabaka gw’ayagala okuwa ekitiibwa ayambazibwe ebyambalo ebyo era yeebagale n’embalaasi, era omulangira Kabaka gw’anaalonda amukulembere mu nguudo z’ekibuga ng’alangirira waggulu nti, ‘Bw’atyo bw’anaakolebwa omusajja Kabaka gw’asiima okuwa ekitiibwa!’ ” |
18759 | ISA 51:16 | Ntadde ebigambo byange mu kamwa ko, era nkubisse mu kisiikirize ky’omukono gwange. Nze nakola eggulu ne nteekawo emisingi gy’ensi; era nze wuuyo agamba Sayuuni nti, ‘Muli bantu bange!’ ” |
18971 | ISA 65:5 | Bagamba nti, ‘Beera wala, tojja kumpi nange, kubanga ndi mutuukirivu nnyo ggwe okunsaanira!’ Abantu bwe batyo mukka mu nnyindo zange, omuliro ogwaka olunaku lwonna. |
18996 | ISA 66:5 | Muwulirize ekigambo kya Mukama Katonda mmwe abakankanira ekigambo kye. “Baganda bammwe abatabaagala era ababayigganya olw’erinnya lyange babasekerera nti, ‘Leka Mukama alage obukulu bwe abalokole tulabe bwe musanyuka!’ Naye bo be banaakwasibwa ensonyi. |
19101 | JER 4:5 | “Kirangirire mu Yuda era okitegeeze mu Yerusaalemi ogambe nti, ‘Mufuuwe ekkondeere mu nsi yonna! Mulangirire nga mugamba nti, Mukuŋŋaane, tuddukire mu bibuga ebiriko ebigo!’ |
19192 | JER 7:4 | Teweesiga bigambo bino ebibuzaabuza ne mwogera nti, ‘Eno ye yeekaalu ya Mukama, yeekaalu ya Mukama, yeekaalu ya Mukama!’ |
19541 | JER 22:18 | Noolwekyo kino Mukama ky’ayogera ku Yekoyakimu omwana wa Yosiya kabaka wa Yuda nti, “Tebalimukungubagira; ‘Kikafuuwe, mukama wange!’ Kikafuuwe, obugagga bwe! |
19544 | JER 22:21 | Nayogera gy’oli ng’okyali mu biseera byo eby’obugagga naye n’ogamba nti, ‘Sijja kuwuliriza!’ Bw’oti bw’obadde okuva mu buto bwo, togonderanga ku ddoboozi lyange. |
19578 | JER 23:25 | “Mpulidde bannabbi aboogera eby’obulimba mu linnya lyange. Bagamba nti, ‘Naloose! Naloose!’ |
20083 | JER 44:4 | Emirundi mingi natuma abaddu bange bannabbi, abaabagamba nti, ‘Temukola bintu bino eby’omuzizo bye nkyawa!’ |
20166 | JER 48:17 | Mumubeesebeese mwenna abamwetoolodde, mwenna abamanyi ettutumu lye; mugambe nti, ‘Ng’Omuggo ogw’amaanyi ogw’obwakabaka gumenyese, ng’oluga olw’ekitiibwa lumenyese!’ |
20225 | JER 49:29 | Weema zaabwe n’ebisibo byabwe bya kutwalibwa; enju zaabwe ziryetikkibwa n’ebintu byabwe byonna n’eŋŋamira zaabwe. Abasajja balibakanga nga bawowoggana nti, ‘Akabi kavudde ku buli ludda!’ |
22823 | HAB 2:6 | “Bano bonna si be balimugererako engero bamusekerere nga bagamba nti, “ ‘Zimusanze oyo eyeyongeza ebitali bibye! Oyo eyeetuumako obugagga obuva mu nguzi!’ |
22998 | ZEC 4:7 | “Ggwe olusozi olunene weyita ki? Mu maaso ga Zerubbaberi olibeera lusenyi, era alireeta ejjinja erya waggulu mu mizira n’okwogerera mu ddoboozi ery’omwanguka ng’agamba nti, ‘Liweebwe omukisa, liweebwe omukisa!’ ” |
23041 | ZEC 7:10 | Temutulugunyanga bannamwandu, n’abatalina bakitaabwe, n’abatambuze wadde abaavu, era tewateekwa kubaawo muntu n’omu ku mmwe alowooza mu mutima gwe okukola obulabe ku muganda we!’ |
23102 | ZEC 11:5 | Abo abazigula bazitta ne batabaako musango. N’abo abazitunda ne bagamba nti, ‘Mukama atenderezebwe ngaggawadde!’ Abasumba baazo bennyini tebazikwatirwa kisa. |
23114 | ZEC 11:17 | “ ‘Zimusanze omusumba wange ataliiko ky’agasa agayaalirira ekisibo! Ekitala kifumite omukono gwe ogwa ddyo, kiggyemu n’eriiso lye erya ddyo! Omukono gwe gukalire ddala, n’eriiso lye erya ddyo lizibire ddala!’ ” |
23264 | MAT 3:3 | Oyo nnabbi Isaaya gwe yayogerako ng’agamba nti, “Mpulira eddoboozi ly’oyo ayogerera waggulu mu ddungu ng’agamba nti, ‘Mulongoose oluguudo lwa Mukama, muluŋŋamye amakubo ge!’ ” |
23911 | MAT 21:16 | Ne bamubuuza nti, “Owulira bano bye bagamba?” Yesu n’abaddamu nti, “Mpulira. Temusomangako nti, “ ‘Abaana abato n’abawere abayonka balimutendereza!’ ” |
23933 | MAT 21:38 | “Naye abalimi bwe baalaba omwana ng’ajja ne bateesa nti, ‘Ono y’agenda okusika, ka tumutte, ebyobusika bwe biriba byaffe!’ |
24003 | MAT 23:16 | “Zibasanze mmwe abakulembeze abazibe b’amaaso abagamba nti, ‘Okulayira Yeekaalu, si nsonga, naye oyo alayira zaabu ali mu Yeekaalu, asaana okukituukiriza!’ |
24005 | MAT 23:18 | Ate mugamba nti, ‘Omuntu okulayira ekyoto, kirina amakulu, naye bw’alayira ebirabo ebireeteddwa ku kyoto, asaana okukituukiriza!’ |
24083 | MAT 25:6 | “Obudde bwe bwatuuka mu ttumbi oluyoogaano ne lubazuukusa, abantu nga baleekaana nti, ‘Awasa omugole atuuse! Mujje mumwanirize!’ |
24088 | MAT 25:11 | Oluvannyuma abawala bali abataano ne bakomawo ne bayita nti, ‘Ssebo, tuggulirewo!’ |
24089 | MAT 25:12 | Naye n’abaddamu nti, ‘Ddala ddala mbagamba nti, sibamanyi!’ |
24117 | MAT 25:40 | “Kabaka, alibaddamu nti, ‘Ddala ddala mbagamba nti bwe mwabikolera baganda bange bano abasembayo wansi kye kimu mwabikolera nze!’ |
25297 | LUK 7:33 | Kubanga Yokaana Omubatiza bwe yajja teyalyanga mmere wadde okunywa omwenge, ne mugamba nti, ‘Aliko dayimooni!’ |
25652 | LUK 14:30 | nga bw’agamba nti, ‘Omuntu ono yatandika okuzimba naye n’alemwa okumaliriza!’ |
25689 | LUK 15:32 | Kaakano kituufu okusanyuka n’okujaguza. Kubanga muganda wo, yali afudde, kaakano mulamu! Yali azaaye, wuuno azaawuse!’ ” |
25713 | LUK 16:24 | N’akoowoola nti, ‘Kitange Ibulayimu, nsaasira, ontumire Laazaalo oyo annyike olugalo Lwe mu mazzi, nkombeko, naye olulimi lumbabuukirira nnyo mu muliro guno ogumbonyaabonya!’ |
25762 | LUK 18:5 | naye olwokubanga nnamwandu ono aneetayiridde nnyo, nzijja kumumalira ensonga ze, kubanga ajja kunkooya olw’okuneetayirira ng’ajja gye ndi buli lunaku!’ ” |
25825 | LUK 19:25 | “Ne bamugamba nti, ‘Naye ssebo, oli alina mina kkumi!’ |
26717 | JHN 13:18 | Ebintu bino byonna sibyogera nammwe mwenna, buli omu ku mmwe be nalonda mmumanyi; ekyawandiikibwa kituukirire ekigamba nti, ‘Oyo bwe tulya emmere anneefuukidde!’ |
27235 | ACT 7:50 | Omukono gwange si gwe gwakola ebyo byonna!’ |
27390 | ACT 11:14 | ajje akutegeeze ggwe n’ab’omu nnyumba yo nga bwe muyinza okulokolebwa!’ |
27785 | ACT 22:13 | n’ajja okundaba n’ayimirira we ndi n’aŋŋamba nti, ‘Owooluganda Sawulo, zibuka amaaso!’ Mu ssaawa eyo yennyini ne nsobola okumulaba! |
27793 | ACT 22:21 | “Naye Mukama waffe n’aŋŋamba nti, ‘Vva mu Yerusaalemi, kubanga nzija kukutuma mu bitundu bye wala mu baamawanga!’ ” |
30831 | REV 3:17 | Olwokubanga ogamba nti, ‘Ndi mugagga era nnina ebintu bingi, sso siriiko kye neetaaga. Sirina kimbulako!’ Sso n’otomanya ng’oli munaku asaasirwa, omwavu, omuzibe w’amaaso era ali obwereere. |
31079 | REV 18:17 | Mu ssaawa emu obugagga obwenkanaawo bwonna buzikiridde!’ “Era abo bonna abalina emmeeri ez’eby’obusuubuzi awamu n’abagoba baazo, n’abo abazikolamu, baayimirira wala. |