4440 | NUM 23:23 | Tewali bulogo ku Yakobo, tewali bulaguzi ku Isirayiri. Kiryogerwako ku Yakobo ne ku Isirayiri nti, ‘Mulabe Katonda ky’akoze!’ |
9232 | 1KI 14:11 | Abo bonna aba Yerobowaamu abalifiira mu kibuga, embwa zirirya emirambo gyabwe, n’ennyonyi ez’omu bbanga zirirya egy’abo abalifiira ku ttale, kubanga Mukama y’akyogedde!’ |
18715 | ISA 49:9 | nga mugamba abasibe nti, ‘Muveemu,’ n’abo abali mu kizikiza nti, ‘Mube n’eddembe!’ “Banaaliranga ku mabbali g’ekkubo, ne ku ntikko z’obusozi bwonna obwereere banasangangako omuddo. |
23547 | MAT 11:19 | Omwana w’Omuntu, bwe yajja ng’alya era ng’anywa, ne boogera nti, ‘Wa mululu, muntu munywi, era mukwano gw’abasolooza b’omusolo n’aboonoonyi. B’abeeramu!’ So nga amagezi geeragira mu bikolwa.” |
25298 | LUK 7:34 | Omwana w’Omuntu azze ng’alya emmere era ng’anywa ne mugamba nti, ‘Laba wa mululu era mutamiivu, mukwano gw’abasolooza b’omusolo n’aboonoonyi!’ |
27858 | ACT 24:21 | Mpozzi kino ekimu kye nayogera nti, ‘Ndi wano mu Lukiiko nga mpozesebwa olwokubanga nzikiriza okuzuukira kw’abafu!’ ” |