5839 | DEU 33:27 | Katonda ataggwaawo bwe buddukiro bwo, era akuwanirira n’emikono gye emirembe gyonna. Anaagobanga abalabe bo nga naawe olaba, n’agamba nti, ‘Bazikirize!’ |
13422 | JOB 22:29 | Abantu abalala bwe balisuulibwa n’ogamba nti, ‘Bayimuse!’ Olwo alirokola abagudde. |
13863 | JOB 39:25 | Ekkondeere bwe livuga n’egamba nti, ‘Awo!’ N’ewunyiriza olutalo olukyali ewala, n’ewulira n’okuleekaana kwa baduumizi b’amaggye. |
22836 | HAB 2:19 | Zimusanze oyo agamba omuti nti, ‘Lamuka;’ agamba ejjinja nti, ‘Golokoka!’ Kino kisobola okuluŋŋamya? Kibikiddwa zaabu ne ffeeza, so tekiriimu bulamu n’akatono. |
23330 | MAT 5:27 | “Mwawulira bwe kyagambibwa nti, ‘Toyendanga!’ |