| 7272 | 1SA 2:30 | “Mukama Katonda wa Isirayiri kyava ayogera nti, ‘Nasuubiza nti ennyumba yo n’ennyumba ya jjajjaawo be banaaweerezanga mu maaso gange ennaku zonna;’ naye kaakano Mukama agamba nti, ‘Kikafuuwe! Abanzisaamu ekitiibwa bennassangamu ekitiibwa, naye abo abonnyooma banaaswazibwanga. |
| 19578 | JER 23:25 | “Mpulidde bannabbi aboogera eby’obulimba mu linnya lyange. Bagamba nti, ‘Naloose! Naloose!’ |
| 20648 | EZK 7:2 | “Omwana w’omuntu, bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda eri ensi ya Isirayiri nti: “ ‘Enkomerero! Enkomerero etuuse ku nsonda ennya ez’ensi. |
| 20854 | EZK 16:23 | “ ‘Zikusanze! Zikusanze, bw’ayogera Mukama Katonda. Mu bikolwa byo ebibi byonna, |
| 21171 | EZK 26:2 | “Omwana w’omuntu, kubanga Ttuulo yakuba mu ngalo n’ayogera ku Yerusaalemi nti, ‘Otyo! Omulyango ogw’amawanga gumenyeddwa, era n’enzigi zinzigguliddwa kaakano nga bw’afuuse amatongo, ndigaggawala,’ |