354 | GEN 14:17 | Ibulaamu bwe yakomawo ng’amaze okuwangula Kedolawomeeri ne bakabaka abaali naye, kabaka wa Sodomu n’afuluma okumusisinkana mu kiwonvu ky’e Save (kye kiwonvu kya kabaka). |
1031 | GEN 35:19 | Awo Laakeeri n’afa n’aziikibwa ku kkubo erigenda Efulasi (ye Besirekemu). |
1671 | EXO 6:15 | Batabani ba Simyoni: Yamweri ne Yamini, ne Okadi, Yakini ne Zokali, Sawuli (omwana w’omukyala Omukanani). Abo be b’omu mu bika bya Simyoni. |
7199 | RUT 4:7 | (Edda mu Isirayiri, empisa ey’okununula n’okuwaanyisa, yali nga bw’eti: omuntu omu yaggyangamu engatto ye, n’agiwa munne. Eno ye yali ng’enkola entuufu mu Isirayiri). |
7402 | 1SA 9:9 | (Edda mu Isirayiri, omuntu bwe yagendanga okwebuuza ku Katonda, yayogeranga nti, “Jjangu tugende ew’omulabi;” kubanga ayitibwa nnabbi mu nnaku zino, edda ye yayitibwanga omulabi). |
10411 | 1CH 4:22 | Yokimu ye yali jjajja w’abasajja ab’e Kozeba, ne Yowaasi ne Salafu abaafuganga Mowaabu ne Yasubirekemu. (Ebigambo bino bya mu biseera bya dda). |
21533 | EZK 39:16 | (Era ne mu kifo ekyo eribaayo ekibuga ekiyitibwa Kamona). Bwe batyo bwe balitukuza ensi.’ |
26154 | JHN 1:41 | Awo Andereya n’agenda anoonya muganda we Simooni n’amugamba nti, “Tulabye Masiya” (amakulu nti Kristo). |