10050 | 2KI 18:22 | Ate era bw’oŋŋamba nti, “Twesize Mukama Katonda waffe,” oyo si y’omu Keezeekiya gwe yaggyirawo ebifo ebigulumivu n’ebyoto, ng’agamba Yuda ne Yerusaalemi nti, “Munaasinzizanga mu maaso g’ekyoto kino mu Yerusaalemi”? |
11892 | 2CH 32:12 | Keezeekiya si ye yaggyawo ebifo ebigulumivu n’ebyoto, n’alagira Yuda ne Yerusaalemi ng’agamba nti, “Munaasinzizanga mu maaso g’ekyoto kimu, era okwo kwe munaayoterezanga obubaane”? |
17395 | ECC 1:10 | Waali wabaddewo ekintu ekyali kigambiddwa nti, “Laba kino kiggya”? Kyaliwo dda mu mirembe egyatusooka? |
30043 | HEB 1:13 | Ani ku bamalayika gwe yali agambye nti, “Tuula wano ku mukono gwange ogwa ddyo, okutuusa lwe ndifufuggaza abalabe bo, ne bafuuka entebe y’ebigere byo”? |
30409 | JAS 4:5 | Oba mulowooza nti Ekyawandiikibwa tekiba na makulu bwe kigamba nti, “Omwoyo gwe yassa mu ffe, atulabirira n’okwagala okujjudde obuggya”? |